EKITUNDU EKY’OKUSOMA 26
Osobola Okuyambako mu Mulimu gw’Okufuula Abantu Abayigirizwa?
‘Katonda abawa amaanyi okukola era abaagazisa okukola.’—BAF. 2:13.
OLUYIMBA 64 Okwenyigira mu Makungula n’Essanyu
OMULAMWA *
1. Kiki Yakuwa ky’akukoledde?
WAFUUKA otya Omujulirwa wa Yakuwa? Okusookera ddala, wawulira “amawulire amalungi,” oboolyawo okuva ku bazadde bo, ku mukozi munno, ku muyizi munno, oba ng’Abajulirwa ba Yakuwa baakusanga wuwo bwe baali babuulira nnyumba ku nnyumba. (Mak. 13:10) Oluvannyuma waliwo omuntu eyakuyigiriza Bayibuli okumala ekiseera. Ebyo bye wayiga byakuleetera okwagala Yakuwa n’okukiraba nti naye akwagala. Yakuwa yakuleeta mu mazima, era kati olw’okuba oli muyigirizwa wa Yesu Kristo, olina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 6:44) Awatali kubuusabuusa, osiima nnyo Yakuwa olw’okuba yaleetera omuntu okukuyigiriza amazima n’okuba nti yakukkiriza okuba omu ku baweereza be.
2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
2 Kati olw’okuba tumanyi amazima, tulina enkizo okuyamba abalala okutwegattako mu kkubo erituusa mu bulamu. Kiyinza okuba nga kitwanguyira okubuulira nnyumba ku nnyumba naye nga kituzibuwalira okuyigiriza abantu Bayibuli. Naawe bw’otyo bw’owulira? Bwe kiba kityo, amagezi agali mu kitundu kino gasobola okukuyamba. Tugenda kulaba ekituleetera okukola omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okuvvuunukamu ebyo ebiyinza okutulemesa okuyigiriza abantu Bayibuli. Naye ka tusooke tulabe ensonga lwaki tusaanidde okubuulira abantu amawulire amalungi n’okubayigiriza.
YESU YATULAGIRA OKUBUULIRA N’OKUYIGIRIZA
3. Lwaki tubuulira?
3 Yesu bwe yali ku nsi, yalagira abagoberezi be okukola omulimu Mat. 10:7; Luk. 8:1) Ng’ekyokulabirako, Yesu yabuulira abayigirizwa be kye bandikoze abantu bwe bandigaanye okuwuliriza obubaka bwabwe oba bwe bandibukkirizza. (Luk. 9:2-5) Ate era yalaga ekigero omulimu gw’okubuulira kwe gwandikoleddwa. Yagamba nti abagoberezi be bandiwadde “obujulirwa eri amawanga gonna.” (Mat. 24:14; Bik. 1:8) Ka kibe nti abantu bandiwulirizza oba nedda, abayigirizwa ba Yesu baalina okubabuulira ku Bwakabaka bwa Katonda n’ebyo bye bunaakola.
oguzingiramu ebintu bibiri. Ekisooka, yabagamba okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, era yabalaga n’engeri y’okukikolamu. (4. Okusinziira ku Matayo 28:18-20, kiki ekirala kye tulina okukola ng’oggyeeko okubuulira ku Bwakabaka?
4 Kintu ki eky’okubiri Yesu kye yalagira abagoberezi be okukola? Yabalagira okuyigiriza abantu okukwata ebyo byonna bye yalagira. Naye omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza gwalina kukolebwa Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka bokka ng’abamu bwe bagamba? Nedda, Yesu yakiraga nti omulimu guno omukulu gwandikoleddwa okutuukira ddala mu kiseera kyaffe, “ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Soma Matayo 28:18-20.) Oboolyawo Yesu yawa ekiragiro ekyo bwe yalabikira abayigirizwa be abasukka mu 500. (1 Kol. 15:6) Ate mu kubikkulirwa kwe yawa Yokaana, Yesu yakiraga bulungi nti, abayigirizwa be bonna balina okuyigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa.—Kub. 22:17.
5. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 3:6-9, kyakulabirako ki Pawulo kye yawa okulaga akakwate akaliwo wakati w’okubuulira n’okuyigiriza?
5 Omutume Pawulo omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa yagugeraageranya ku mulimu gw’okulima, n’akiraga nti tetulina kukoma ku kusiga busizi nsigo. Yagamba Abakkolinso nti: “Nze nnasiga, Apolo n’afukirira . . . muli nnimiro ya Katonda erimwamu.” (Soma 1 Abakkolinso 3:6-9.) Tuli bakozi mu “nnimiro ya Katonda,” n’olwekyo bwe tubuulira tuba tusiga ensigo, ate bwe tuyigiriza tuba tufukirira. (Yok. 4:35) Ate era tukimanyi nti Katonda y’akuza ensigo.
6. Omulimu gwaffe ogw’okuyigiriza guzingiramu ki?
6 Tunoonya abo ‘abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.’ (Bik. 13:48) Okusobola okuyamba abantu abo okufuuka abayigirizwa, tulina okubayamba, (1) okutegeera ebyo bye bayiga mu Bayibuli, (2) okubikkiriza, ne (3) okubikolerako. (Yok. 17:3; Bak. 2:6, 7; 1 Bas. 2:13) Ffenna mu kibiina tusobola okuyamba abayizi ba Bayibuli nga tubalaga okwagala era nga tubaaniriza n’essanyu nga bazze mu nkuŋŋaana. (Yok. 13:35) Oyo ayigiriza omuntu Bayibuli kiyinza okumwetaagisa okuwaayo ebiseera ebiwerako, n’amaanyi okuyamba omuyizi okusiguukulula enjigiriza n’emize “ebyasimba amakanda.” (2 Kol. 10:4, 5) Kiyinza okutwala emyezi egiwerako okuyamba omuntu okukola enkyukakyuka ezeetaagisa asobole okubatizibwa. Naye okufuba okwo tekuba kwa bwereere.
OKWAGALA KUTULEETERA OKUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA
7. Kiki ekitukubiriza okukola omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa?
7 Lwaki tukola omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa? Ekisooka, bw’ogondera ekiragiro ky’okubuulira, n’okufuula abantu abayigirizwa, oba okiraga nti oyagala Yakuwa. (1 Yok. 5:3) Lowooza ku kino, okwagala kw’olina eri Yakuwa kwakuleetera okutandika okubuulira nnyumba ku nnyumba. Ekyo kyakwanguyira okukola? Oboolyawo nedda. Bwe wali ogenda okubuulira omuntu ku mulundi gwo ogwasooka wafunamu ekiwuggwe? Awatali kubuusabuusa wafunamu okutya! Naye wali okimanyi nti ogwo gwe mulimu Yesu gw’ayagala okole, era wagondera ekiragiro kye. Era oboolyawo ekiseera bwe kigenze kiyitawo, kati kikwanguyira okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Naye ate kwo okuyigiriza abantu Bayibuli? Oboolyawo bw’okirowoozaako kikuleetera okutya. Naye bw’osaba Yakuwa akuwe obuvumu osobole okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli ajja kukuleetera okwagala okufuula abantu abayigirizwa.
8. Okusinziira ku Makko 6:34, kiki ekirala ekiyinza okutuleetera okwagala okuyigiriza abalala?
8 Eky’okubiri, Okwagala kwe tulina eri bantu bannaffe kutuleetera okwagala okubayigiriza amazima. Lumu Yesu n’abayigirizwa be baali bakooye nnyo. Naye ekibinja ky’abantu kyabasanga gye baali bagenze okuwummulirako. Olw’okuba Yesu yabasaasira, yatandika okubayigiriza “ebintu bingi.” (Soma Makko 6:34.) Lwaki Yesu yababuulira wadde nga yali mukoowu? Kubanga yessa mu bigere byabwe. Bwe yalaba engeri gye baali babonaabonamu yakiraba nti baali beetaaga okufuna essuubi, bw’atyo n’ayagala okubayamba. Ne leero abantu bali mu mbeera efaananako ng’eyo. Ka babe nga balabika ng’abasanyufu, tobuzaabuzibwa ndabika yaabwe. Balinga endiga ezisaasaanye era ezitalina musumba. Omutume Pawulo yagamba nti abantu ng’abo tebalina Katonda era tebalina ssuubi. (Bef. 2:12) Bali mu kkubo erigenda “mu kuzikirira”! (Mat. 7:13) Bwe tulowooza ku mbeera embi ey’eby’omwoyo abantu abali mu kitundu gye tubuulira gye balimu, okwagala kwe tulina gye bali n’obusaasizi bituleetera okubayamba. Era engeri esingayo obulungi gye tuyinza okubayambamu kwe kubayigiriza Bayibuli.
9. Okusinziira ku Abafiripi 2:13, Yakuwa ayinza kukuyamba atya?
9 Oboolyawo muli otya okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli kubanga okimanyi nti kijja kukwetaagisa ebiseera bingi okutegekera omuyizi, n’okumusomesa. Bw’oba nga bw’otyo bw’owulira, kibuulireko Yakuwa ng’oyitira mu kusaba. Musabe akuyambe okwagala okufuna omuyizi wa Bayibuli n’okumuyigiriza. (Soma Abafiripi 2:13.) Omutume Yokaana yagamba nti Katonda addamu okusaba okutuukana ne by’ayagala. (1 Yok. 5:14, 15) N’olwekyo, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba okwagala okwenyigira mu mulimu ogw’okufuula abantu abayigirizwa.
ENGERI GYE TUYINZA OKUVVUUNUKAMU OKUSOOMOOZA OKULALA
10-11. Kiki ekiyinza okutulemesa okuyigiriza omuntu Bayibuli?
10 Tukimanyi nti kikulu nnyo okuyigiriza abantu Bayibuli. Naye kiyinza okutuzibuwalira okukola omulimu ogwo nga bwe twandyagadde. Ka tulabe okumu ku kusoomooza kwe tuyinza okwolekagana nakwo, n’engeri gye tuyinza okukuvvuunuka.
11 Tuyinza okuwulira ng’embeera yaffe tetusobozesa kukola nga bwe twandyagadde. Ng’ekyokulabirako, ababuulizi abamu bakaddiye oba bayinza okuba nga balwalalwala. Naawe embeera yo bw’etyo bw’eri? Bwe kiba bwe kityo, lowooza ku kimu ku ebyo bye tuyize mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19. Tukizudde nti tusobola okuyigiriza abantu Bayibuli ne bakulaakulana nga tukozesa essimu oba kompyuta. N’olwekyo osobola okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli ng’oli waka. Ate era waliwo n’ekirala ekirungi ekikirimu. Abamu bandyagadde okuyiga Bayibuli naye tebabeerayo mu maka gaabwe baganda baffe we bagenderayo okubabuulira. Kyokka bayinza okuba nga basobola okufuna obudde okuyiga ku makya ennyo, oba ekiro. Osobola okubayigiriza mu biseera ebyo? Yesu yayigiriza Nikodemu ekiro, kubanga kye kiseera Nikodemu kye yali ayagala.—Yok. 3:1, 2.
12. Biki ebituleetera okuba abakakafu nti tusobola okuba abayigiriza abalungi?
2 Kol. 3:5) Eky’okubiri, Yesu ‘eyaweebwa obuyinza mu ggulu ne ku nsi,’ akuwadde obuyinza okuyigiriza abalala. (Mat. 28:18) Eky’okusatu, abalala basobola okukuyamba. Ebyo Yesu bye yayogera yabiyigira ku Kitaawe; naawe osobola okukola kye kimu. (Yok. 8:28; 12:49) Ate era osobola okusaba oyo atwala ekibinja kyammwe eky’okubuulira, payoniya, oba omubuulizi alina obumanyirivu, okukuyamba okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli. Ekimu ku ebyo ebisobola okukuyamba okufuna obumanyirivu okuyigiriza omuntu Bayibuli, kwe kuwerekerako omu ku babuulizi abali ng’abo abalina obumanyirivu ng’agenda okuyigiriza omuyizi we.
12 Tuyinza okuba nga tulowooza nti tetusobola kuyigiriza bulungi bantu Bayibuli. Oboolyawo muli tuyinza okuba nga tulowooza nti twetaaga okwongera ku kumanya kwe tulina ne ku bumanyirivu bwe tulina mu kuyigiriza nga tetunnatandika kuyigiriza muntu Bayibuli. Bw’oba nga bw’otyo bw’owulira, lowooza ku bintu bisatu ebisobola okukuyamba okuba omukakafu nti osobola okuyigiriza omuntu Bayibuli. Ekisooka, Yakuwa akutwala nti osobola okuyigiriza abalala. (13. Lwaki tulina okutuukana n’embeera?
13 Kiyinza obutatwanguyira kukozesa enkola empya ez’okubuulira oba okuyigiriza nga tukozesa eby’okukozesa ebipya. Engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli ekyuse. Kati tukozesa ekitabo, Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! mu kuyigiriza abantu Bayibuli. Era engeri gye tutegekeramu abayizi n’engeri gye tubayigirizaamu bya njawulo ku ngeri gye tubadde tubikolamu. Kati tusoma obutundu butono, era ebiseera ebisinga tubimala tukubaganya birowoozo na muyizi. Bwe tuba tuyigiriza, kati tukozesa nnyo vidiyo n’ebintu ebirala ebikozesebwa ku masimu ne ku kompyuta gamba nga JW Library®. Bwe kiba nga tekikwanguyira kukozesa bintu bino, saba omuntu amanyi okubikozesa akuyambe okuyiga okubikozesa. Emirundi mingi twagala nnyo okukola ebintu nga bwe tuba tumanyidde okubikola. Tekitwanguyira kukyusa mu ngeri gye tubadde tukolamu ebintu. Naye Yakuwa awamu n’abalala basobola okukuyamba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa osobole okunyumirwa okuyigiriza abalala. Payoniya omu yagamba nti enkola eno empya ey’okuyigiriza, “enyumira oyo ayigiriza Bayibuli n’oyo gw’ayigiriza.”
14. Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe kiba nti ekitundu mwe tubuulira abantu abasinga obungi tebatuwuliriza, era ebyo ebiri mu 1 Abakkolinso 3:6, 7 bituzzaamu bitya amaanyi?
14 Tuyinza okuba nga tubeera mu kitundu gye kitali kyangu kutandika kuyigiriza bantu Bayibuli. Abantu bayinza okuba nga tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe oba nga batuyigganya. Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu nga tubuulira mu bitundu ng’ebyo? Kijjukire nti mu nsi eno embi, embeera z’abantu zisobola okukyuka ekiseera kyonna, era mu kusooka abo abaali bataagala kuwuliriza, oluvannyuma bayinza okukiraba nti beetaaga obulagirizi bwa Katonda. (Mat. 5:3) Abantu abamu edda abaagaananga ebitabo byaffe oluvannyuma bakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli. Ate era tukimanyi nti Yakuwa ye Nnannyini makungula. (Mat. 9:38) Ayagala tweyongere okusiga n’okufukirira, ye akuze. (1 Kol. 3:6, 7) Ate era kituzzaamu amaanyi okukimanya nti ne bwe tuba nga tulemereddwa okufuna omuntu gwe tuyigiriza Bayibuli, Yakuwa okutuwa omukisa tasinziira ku bantu bameka be tuyigiriza Bayibuli wabula asinziira ku kufuba kwe tuba tutaddemu! *
FUNA ESSANYU ERIVA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA
15. Yakuwa awulira atya omuntu bw’akkiriza okuyiga Bayibuli era n’akolera ku ebyo by’ayiga?
15 Yakuwa asanyuka nnyo omuntu bw’akkiriza amazima agali mu Bayibuli era n’agabuulirako abalala. (Nge. 23:15, 16) Yakuwa ateekwa okuba nga musanyufu nnyo bw’alaba ekyo ekigenda mu maaso leero! Ng’ekyokulabirako, wadde nga wabaddewo ekirwadde ekya COVID-19 mu nsi yonna, mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2020, abantu abaayigirizibwa Bayibuli baali 7,705,765 era abantu 241,994 be beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa. Abayigirizwa abo abapya nabo bayigiriza abantu Bayibuli era babafuula abayigirizwa. (Luk. 6:40) Awatali kubuusabuusa kisanyusa nnyo Yakuwa bwe twenyigira mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa.
16. Kiruubirirwa ki ekirungi kye tusaanidde okweteerawo?
16 Okufuula abantu abayigirizwa si mulimu mwangu, naye Yakuwa asobola okutuyamba okuyigiriza abantu ne basobola okumwagala. Tusobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okubaako waakiri omuntu omu gwe tuyigiriza Bayibuli. Singa tufuba okubuuza buli muntu gwe tubuulira obanga yandyagadde tumuyigirize Bayibuli, ebivaamu bisobola okutwewuunyisa. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwaffe.
17. Kiki kye tujja okufuna singa tufuna omuntu gwe tuyigiriza Bayibuli?
17 Nga nkizo ya maanyi okubuulira n’okuyigiriza abantu amazima agali mu Bayibuli! Omulimu guno gutusanyusa nnyo. Omutume Pawulo eyayamba abantu bangi mu Ssessalonika okufuuka abayigirizwa yagamba nti: “Essuubi lyaffe n’essanyu lyaffe n’engule ey’okusanyuka mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kubeerawo kwe, bye biruwa? Si ye mmwe? Mazima ddala mmwe kitiibwa kyaffe n’essanyu lyaffe.” (1 Bas. 2:19, 20; Bik. 17:1-4) Bangi leero nabo bawulira bwe batyo. Mwannyinaffe ayitibwa Stéphanie n’omwami we, bayambye abantu abawerako okutuuka ku kubatizibwa. Mwannyinaffe oyo agamba nti: “Tewali ssanyu lisinga eryo omuntu ly’afuna ng’ayambye omuntu okwewaayo eri Yakuwa.”
OLUYIMBA 57 Okubuulira Abantu aba Buli Ngeri
^ lup. 5 Yakuwa atuwadde enkizo ey’okubuulira n’okuyigiriza abantu okukwata ebyo byonna Yesu bye yalagira. Kiki ekituleetera okwagala okuyigiriza abalala? Kusoomooza ki kwe tufuna mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa? Era tuyinza tutya okuvvuunuka okusoomooza okwo? Ekitundu kino kigenda kuddamu ebibuuzo ebyo.
^ lup. 14 Okusobola okumanya ebisingawo ku ngeri buli omu mu kibiina gy’asobola okuyambako mu kufuula abantu abayigirizwa, laba ekitundu “Ffenna mu Kibiina, ka Tuyambe Abayizi ba Bayibuli Okukulaakulana Babatizibwe,” ekyafulumira mu Omunaala gw’omukuumi ogwa Maaki 2021.
^ lup. 53 EBIFAANANYI: Enkyukakyuka omuntu z’asobola okukola singa ayigirizibwa Bayibuli: Mu kusooka omusajja awulira nti obulamu bwe tebulina makulu, olw’okuba tamanyi Yakuwa. Oluvannyuma Abajulirwa bamusanga nga babuulira, era n’akkiriza okuyigirizibwa Bayibuli. By’ayigirizibwa bimuleetera okwewaayo n’okubatizibwa. Ekiseera bwe kiyitawo, naye ayamba abalala okufuuka abayigirizwa. Oluvannyuma bonna banyumirwa obulamu mu nsi empya.