Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 27

Yoleka Obugumiikiriza nga Yakuwa

Yoleka Obugumiikiriza nga Yakuwa

“Bwe muligumiikiriza, muliwonyaawo obulamu bwammwe.”​—LUK. 21:19.

OLUYIMBA 114 “Mugumiikirize”

OMULAMWA *

1-2. Ebigambo bya Yakuwa ebiri mu Isaaya 65:16, 17 bituyamba bitya obutaggwaamu maanyi?

“TOGGWAAMU MAANYI.” Ogwo gwe gwali omutwe gw’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwa 2017. Mu lukuŋŋaana olwo, twalaba engeri gye tuyinza okugumiikiriza nga twolekagana n’ebizibu. Kati wayise emyaka ena bukya tuba n’olukuŋŋaana olwo, naye tukyagumidde ebizibu ebitali bimu mu nsi eno embi.

2 Bizibu ki by’oyolekaganye nabyo gye buvuddeko awo? Wafiirwa omu ku b’eŋŋanda zo oba mukwano gwo? Wafuna obulwadde obw’amaanyi? Ofunye ebizibu ebijjawo olw’obukadde? Wakosebwa akatyabaga, wakolebwako ebikolwa eby’obukambwe, oba wayigganyizibwa? Oyolekaganye n’ebizibu ebivudde mu kirwadde kya COVID-19 oba endwadde endala eziri ng’eyo? Nga twesunga nnyo ekiseera ebizibu ebyo byonna lwe biriba nga biweddewo, tubyerabirire ddala!​—Soma Isaaya 65:16, 17.

3. Kiki kye tulina okukola mu kiseera kino, era lwaki?

3 Obulamu mu kiseera kino buzibu nnyo, era tuyinza n’okwolekagana n’ebizibu ebirala eby’amaanyi ennyo mu biseera eby’omu maaso. (Mat. 24:21) N’olwekyo, tulina okweyongera okuba abagumiikiriza. Lwaki? Kubanga Yesu yagamba nti: “Bwe muligumiikiriza, muliwonyaawo obulamu bwammwe.” (Luk. 21:19) Bwe tulowooza ku balala abagumidde ebizibu ebifaananako ng’ebyaffe, kituleetera okuba abamalirivu okweyongera okugumiikiriza.

4. Lwaki tusobola okugamba nti Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obugumiikiriza?

4 Ani ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obugumiikiriza? Ye Yakuwa Katonda. Ekyo kikwewuunyisa? Kiyinza okukwewuunyisa, naye bw’okirowoozaako, olekera awo okukyewuunya. Ensi eno eri mu buyinza bw’omubi, era ejjudde ebizibu bingi. Yakuwa alina obusobozi okukomya ebizibu ebyo byonna ekiseera kyonna w’aba ayagalidde, naye alinda ekiseera ekituufu okukikola. (Bar. 9:22) Katonda waffe akyagumiikiriza okutuusa ekiseera ekyo lwe kinaatuuka. Kati ka tulabe ebintu mwenda Yakuwa by’agumiikirizza.

BIKI YAKUWA BY’AGUMIIKIRIZZA?

5. Erinnya lya Katonda lireeteddwako litya ekivume, era ekyo kikuleetera kuwulira otya?

5 Ekivume ekireeteddwa ku linnya lye. Yakuwa ayagala nnyo erinnya lye, era ayagala buli omu okulissaamu ekitiibwa. (Is. 42:8) Naye okumala emyaka nga 6,000, erinnya lye libadde lisiigibwa enziro. (Zab. 74:10, 18, 23) Kino kyatandikira mu lusuku Edeni, Omulyolyomi (ekitegeeza “Oyo Awaayiriza Abalala”) bwe yawaayiriza Katonda nti yalina ekintu ekireeta essanyu kye yali tayagala Adamu ne Kaawa bafune. (Lub. 3:1-5) Okuva olwo, Yakuwa azze awaayirizibwa nti amma abantu ebintu bye beetaaga oba nti abibaggyako. Yesu yayisibwa bubi olw’ekivume ekyaleetebwa ku linnya lya Kitaawe. Eyo ye nsonga lwaki yagamba abayigirizwa be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.”​—Mat. 6:9.

6. Lwaki Yakuwa alese ekiseera kiwanvu okuyitawo nga tannagonjoola nsonga ekwata ku bufuzi bwe?

6 Abo abawakanya obufuzi bwe. Yakuwa y’agwanidde okufuga eggulu n’ensi, era obufuzi bwe bwe busingayo obulungi. (Kub. 4:11) Naye Omulyolyomi yabuzaabuza bamalayika abamu era abuzaabuzizza n’abantu abamu n’abaleetera okulowooza nti Katonda si y’agwanidde okufuga. Ensonga ekwata ku kuba nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna yali tesobola kugonjoolwa mu kiseera kitono. Mu magezi ge amangi, Yakuwa alese ekiseera kiwanvu okuyitawo ng’abantu beefuga ne kyeyoleka lwatu nti tebasobola kwefuga bokka awatali Mutonzi. (Yer. 10:23) Olw’okuba Katonda ayolese obugumiikiriza, ensonga eyo ejja kugonjoolerwa ddala. Buli omu ajja kukiraba nti engeri Yakuwa gy’afugamu y’esingayo obulungi era nti Obwakabaka bwe bwe bwokka obusobola okuleeta emirembe n’obutebenkevu ebya nnamaddala ku nsi.

7. Baani abaajeemera Yakuwa, era kiki ky’agenda okubakola?

7 Abaana be abamu okumujeemera. Yakuwa yatonda bamalayika n’abantu nga batuukiridde. Naye malayika omu ayitibwa Sitaani (ekitegeeza “Omuziyiza,”) yaleetera abantu abaali batuukiridde, Adamu ne Kaawa, okujeemera Yakuwa. Waliwo ne bamalayika abalala awamu n’abantu abaasalawo okujeemera Katonda. (Yud. 6) Ate era n’abamu ku bantu b’omu ggwanga lya Isirayiri, eryali eggwanga lya Katonda eddonde, baajeemera Katonda ne batandika okusinza bakatonda ab’obulimba. (Is. 63:8, 10) Yakuwa yawulira ng’aliiriddwamu olukwe. Wadde kiri kityo, Yakuwa agumiikirizza, era ajja kweyongera okugumiikiriza okutuusa ekiseera lwe kinaatuuka azikirize abajeemu bonna. Obwo nga bujja kuba buweerero bwa maanyi eri abantu abeesigwa, nabo okufaananako Yakuwa, abagumiikiriza ebintu ebibi ebiri mu nsi eno!

8-9. Bya bulimba ki ebyogerwa ku Yakuwa, era kiki kye tuyinza okukolawo?

8 Eby’obulimba Omulyolyomi by’ayogera. Sitaani yawaayiriza Yobu awamu n’abaweereza ba Yakuwa abalala abeesigwa nti baweereza Yakuwa olw’okuba balina bye beenoonyeza. (Yob. 1:8-11; 2:3-5) Ne leero Sitaani akyawaayiriza abaweereza ba Katonda. (Kub. 12:10) Tusobola okukiraga nti ebyo Sitaani by’ayogera bya bulimba nga tugumira ebizibu bye tufuna era nga tusigala tuli beesigwa eri Yakuwa olw’okuba tumwagala. Okufaananako Yobu, naffe bwe tugumiikiriza tujja kufuna emikisa.​—Yak. 5:11.

9 Sitaani akozesa abakulu b’amadiini okuwaayiriza Yakuwa nti mukambwe era nti y’aleetera abantu ebizibu. Omwana omuto bw’afa, abakulu b’amadiini abamu bagamba nti Katonda y’aba amututte olw’okuba aba ayagalayo malayika omulala. Ekyo kireeta ekivume kya maanyi ku Katonda! Naye ffe tukimanyi nti Kitaffe Yakuwa atwagala nnyo. Bwe tufuna obulwadde obw’amaanyi oba bwe tufiirwa omuntu waffe, tetunenya Katonda. Mu kifo ky’ekyo, tukimanyi nti mu kiseera kye ekituufu ajja kuggyawo ebizibu byonna. Bwe tuba tubuulira, tufuba okuyamba abantu bonna okukimanya nti Yakuwa ye Katonda ow’okwagala. Ekyo kiwa Yakuwa eky’okuddamu eri oyo amusoomooza.​—Nge. 27:11.

10. Ebyo ebiri mu Zabbuli 22:23, 24 bitulaga ki ku Yakuwa?

10 Okubonaabona abaweereza be kwe bayitamu. Yakuwa ye Katonda omusaasizi. Awulira bubi okulaba nga tubonaabona oboolyawo olw’okuyigganyizibwa, olw’obulwadde, oba olw’obutali butuukirivu bwaffe. (Soma Zabbuli 22:23, 24.) Yakuwa atulumirirwa era ajja kuggyawo ebintu byonna ebituleetera okubonaabona. (Geraageranya Okuva 3:7, 8; Isaaya 63:9.) Ekiseera kijja kutuuka ‘asangule buli zziga mu maaso gaffe, era okufa kube nga tekukyaliwo, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.’​—Kub. 21:4.

11. Yakuwa awulira atya bwe kituuka ku baweereza be abeesigwa abaafa?

11 Okufiirwa mikwano gye. Yakuwa awulira atya bwe kituuka ku baweereza be abeesigwa abaafa? Yeesunga nnyo okuddamu okubalaba nate! (Yob. 14:15) Yakuwa ateekwa okuba nga yeesunga nnyo okuddamu okulaba mukwano gwe Ibulayimu. (Yak. 2:23) Era ateekwa okuba nga yeesunga nnyo okuddamu okulaba mukwano gwe Musa, gwe yayogeranga naye “maaso ku maaso.” (Kuv. 33:11) Ate era ateekwa okuba nga yeesunga nnyo okuddamu okuwulira Dawudi awamu n’abawandiisi ba zabbuli abalala nga bayimba ennyimba ezimutendereza! (Zab. 104:33) Wadde nga mikwano gya Yakuwa abo baafa, tabeerabiranga. (Is. 49:15) Ajjukira byonna ebibakwatako nga mw’otwalidde n’engeri zaabwe. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti, “eri ye bonna balamu.” (Luk. 20:38) Ekiseera kigenda kutuuka abazuukize era addemu okuwulira essaala zaabwe nga bamusaba mu bwesimbu era nga bamusinza. Bw’oba nga wafiirwa omuntu wo, ebyo ebyogeddwako ka bikugumye era ka bikubudeebude.

12. Kiki ekinakuwaza Yakuwa mu nnaku zino ez’enkomerero?

12 Abantu ababi okunyigiriza abalala. Obujeemu bwe bwatandikawo mu Edeni, Yakuwa yakimanya nti embeera mu nsi yali egenda kwonooneka oluvannyuma eryoke etereere. Yakuwa akyayira ddala obutali bwenkanya, ebikolwa eby’obukambwe, n’ebikolwa ebirala ebibi ebiri mu nsi leero. Bulijjo Yakuwa abadde afaayo nnyo ku bantu abasinga okunyigirizibwa, gamba nga bamulekwa ne bannamwandu. (Zek. 7:9, 10) Yakuwa awulira bubi nnyo bw’alaba abaweereza be abeesigwa nga banyigirizibwa oba nga basibibwa mu makomera. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa ayagala nnyo abo bonna abagumiikiriza nga naye bw’agumiikiriza.

13. Bintu ki ebibi ennyo Katonda by’alaba ng’abantu bakola, era kiki ky’ajja okukolawo?

13 Ebikolwa eby’obugwenyufu ebyeyongedde ennyo mu bantu. Abantu baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, naye Sitaani ayagala okubaleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Yakuwa Katonda bwe ‘yalaba ng’ebikolwa by’omuntu ebibi biyitiridde mu nsi’ mu kiseera kya Nuuwa, “yejjusa olw’okutonda abantu ku nsi, era n’anakuwala mu mutima gwe.” (Lub. 6:5, 6, obugambo obuli wansi, 11) Kati embeera ekyuseeko? Nedda! Omulyolyomi musanyufu nnyo okulaba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu biyitiridde mu nsi! (Bef. 4:18, 19) Sitaani kimusanyusa nnyo bw’aleetera abaweereza ba Yakuwa okukola ebibi eby’amaanyi. Ekiseera kya Yakuwa eky’okugumiikiriza bwe kinnaggwaako, ajja kukiraga nti akyayira ddala ebikolwa eby’obugwenyufu ng’azikiriza abantu abagwenyufu abagaanye okukyuka.

14. Kiki abantu kye bakoze ensi n’ebitonde ebigiriko?

14 Okwonoonebwa kw’obutonde. Ng’oggyeeko okuba nti omuntu ‘abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi,’ era talabiridde bulungi nsi n’ebisolo ebigiriko nga Yakuwa bwe yamulagira okukola. (Mub. 8:9; Lub. 1:28) Bannassaayansi abamu bagamba nti ebintu abantu bye bakola bijja kuviirako ebika by’ensolo n’ebimera ng’akakadde kamu okusaanawo mu myaka mitono. N’olwekyo tekyewuunyisa nti abantu bangi beeraliikirivu nti obutonde buli mu kabi! Naye kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa asuubizza “okuzikiriza abo aboonoona ensi” n’okufuula ensi yonna olusuku lwe.​—Kub. 11:18; Is. 35:1.

KYE TUYIGIRA KU BUGUMIIKIRIZA BWA YAKUWA

15-16. Kiki ekyandituleetedde okugumiikiriza nga Yakuwa bw’agumiikiriza? Waayo ekyokulabirako.

15 Lowooza ku bintu ebibi ebingi Kitaffe ow’omu ggulu by’agumiikirizza okumala emyaka mingi. (Laba akasanduuko “ Ebyo Yakuwa by’Agumiikirizza.”) Yakuwa asobola okuzikiriza ensi eno embi ekiseera kyonna w’aba ayagalidde. Naye agumiikirizza era ekyo kituganyudde nnyo! Lowooza ku kyokulabirako kino. Watya singa omwami ne mukyala we ababa basuubira okuzaala omwana, bagambibwa nti omwana waabwe akyali mu lubuto alina ekizibu eky’amaanyi era nti bw’anaazaalibwa, obulamu tebugenda kumubeerera bwangu era nti ajja kufa akyali muto. Naye omwana oyo bw’azaalibwa, abazadde abo kibasanyusa wadde nga baba bakimanyi nti tekijja kubanguyira kulabirira mwana oyo. Okwagala kwe baba balina eri omwana oyo kubaleetera okugumira ebizibu byonna bye bayinza okwolekagana nabyo basobole okukola kyonna ekisoboka okumulabirira obulungi.

16 Mu ngeri y’emu, olw’okuba abantu bonna baava mu Adamu ne Kaawa, bazaalibwa balina ekibi. Wadde kiri kityo, Yakuwa abaagala era abafaako. (1 Yok. 4:19) Naye obutafaananako bazadde mu kyokulabirako ekyo kye tulabye, Yakuwa ye alina ky’asobola okukolawo okuggyawo ebizibu by’abaana be. Yassaawo dda olunaku kw’agenda okuggirawo ebizibu by’abantu byonna. (Mat. 24:36) Okwagala Yakuwa kw’alina naffe kusaanidde okutukubiriza okugumiikiriza.

17. Ebyo ebyogerwa ku Yesu mu Abebbulaniya 12:2, 3, bitukubiriza bitya okweyongera okugumiikiriza?

17 Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obugumiikiriza. Yesu naye yayoleka obugumiikiriza nga Kitaawe. Yagumira ebigambo ebimufeebya, okuswala, n’omuti ogw’okubonaabona ku lwaffe. (Soma Abebbulaniya 12:2, 3.) Obugumiikiriza bwa Yakuwa bwaleetera Yesu okuba omumalirivu okugumiikiriza, era naffe busaanidde okutuleetera okuba abamalirivu okugumiikiriza.

18. Ebiri mu 2 Peetero 3:9 bituyamba bitya okulaba ebirungi ebivudde mu bugumiikiriza bwa Yakuwa?

18 Soma 2 Peetero 3:9. Yakuwa amanyi ekiseera ekituufu eky’okuzikiririzaamu ensi eno embi. Obugumiikiriza bwe busobozesezza ekibiina ekinene okukuŋŋaanyizibwa, kati ekirimu abantu abali mu bukadde, abamusinza era abamutendereza. Bonna basiima nnyo Yakuwa olw’okuba nti agumiikirizza ne basobola okuzaalibwa, ne bayiga ebimukwatako era ne bamwagala, era ne basobola okwewaayo gy’ali. Abantu bukadde na bukadde bajja kusobola okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero, era ekyo kijja kulaga nti Yakuwa yakola bulungi okugumiikiriza!

19. Kiki kye tusaanidde okumalirira okukola, era kiki kye tujja okufuna?

19 Yakuwa atuteereddewo ekyokulabirako ekirungi eky’okugumiikiriza n’essanyu. Wadde nga Sitaani aleeseewo ennaku n’okubonaabona kungi, Yakuwa asigadde nga ‘musanyufu.’ (1 Tim. 1:11) Naffe tusobola okusigala nga tuli basanyufu nga bwe tulindirira n’obugumiikiriza Yakuwa okutukuza erinnya lye, okukyoleka nti y’agwanidde okufuga, okumalawo ebintu ebibi, n’okuggyawo ebizibu byonna ebiri mu nsi. N’olwekyo, ka tube bamalirivu okweyongera okugumiikiriza nga tukimanyi nti ne Kitaffe ow’omu ggulu naye agumiikiriza. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kulaba ebigambo bino nga bituukirira: “Alina essanyu omuntu agumiikiriza ng’agezesebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa, alifuna engule ey’obulamu Yakuwa gye yasuubiza abo abeeyongera okumwagala.”​—Yak. 1:12.

OLUYIMBA 139 Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya

^ lup. 5 Ffenna twolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Bingi ku byo tebisobola kuvaawo mu kiseera kino; tulina kubigumira bugumizi. Naye si ffe ffekka abagumiikiriza. Ne Yakuwa alina ebintu bingi by’agumiikirizza. Mu kitundu kino, tugenda kulabayo ebintu mwenda. Tugenda kulaba ebirungi ebivudde mu kuba nti Yakuwa agumiikirizza n’engeri gye tuyinza okumukoppamu.