Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 30

Obunnabbi obw’Edda Obukulu Ennyo gy’Oli

Obunnabbi obw’Edda Obukulu Ennyo gy’Oli

“Nja kuteekawo obulabe wakati wo n’omukazi.”​—LUB. 3:15.

OLUYIMBA 15 Tendereza Omwana wa Yakuwa Omubereberye!

OMULAMWA *

1. Kiki Yakuwa kye yakola amangu ddala nga Adamu ne Kaawa baakoonoona? (Olubereberye 3:15)

 AMANGU ddala nga Adamu ne Kaawa baakoonoona, Yakuwa yawa abantu essuubi okuyitira mu bunnabbi bwe yawa. Ebyo bye yayogera bisangibwa mu Olubereberye 3:15.​—Soma.

2. Lwaki obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 bukulu nnyo?

2 Obunnabbi obwo buli mu kitabo ekisooka mu Bayibuli. Kyokka mu ngeri emu oba endala ebyo biri mu bitabo bya Bayibuli ebirala byonna birina akakwate n’obunnabbi obwo. Obunnabbi obwo tuyinza okubugeraageranya ku wuzi egatta awamu empapula z’ekitabo. Nga wuzi bw’egatta awamu empapula z’ekitabo, n’obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 bugatta wamu ebyo ebiri mu bitabo bya Bayibuli byonna mu bubaka buno bumu: Katonda yandisindise Omununuzi eyandisaanyizzaawo Sitaani n’abagoberezi be bonna. * Ekyo bwe kinaabaawo, abo bonna abaagala Yakuwa bajja kufuna obuweerero bwa maanyi!

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino tugenda kuddamu ebibuuzo bino ebikwata ku bunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15: Baani aboogerwako mu bunnabbi obwo? Obunnabbi obwo butuukirizibwa butya? Tuganyulwa tutya mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo?

BAANI ABOOGERWAKO MU BUNNABBI?

4. “Omusota” y’ani era ekyo tukimanya tutya?

4 Mu abo aboogerwako mu bunnabbi obuli mu Olubereberye 3:14, 15 mwe muli “omusota,” “ezzadde” ly’omusota, ‘omukazi,’ ‘n’ezzadde’ ly’omukazi. Bayibuli etuyamba okubamanya. * Ka tutandike ‘n’omusota.’ Omusota ogwa bulijjo gwali tegusobola kutegeera ebyo Yakuwa bye yayogera mu lusuku Edeni. N’olwekyo Yakuwa ateekwa okuba ng’omusango gwe yasala yagusalira kitonde ekitegeera. Kitonde ki ekyo? Okubikkulirwa 12:9 watuyamba okumanya ekitonde ekyo. Olunyiriri olwo lulaga nti “omusota ogw’edda” ye Sitaani omulyolyomi. Naye baani abali mu zzadde ly’omusota?

OMUSOTA

Sitaani Omulyolyomi ayogerwako mu Okubikkulirwa 12:9 ‘ng’omusota ogw’edda’ (Laba akatundu 4)

5. Baani abali mu zzadde ly’omusota?

5 Oluusi Bayibuli ekozesa ekigambo ezzadde okutegeeza abo abalowooza era abeeyisa ng’oyo ayinza okuyitibwa kitaabwe mu ngeri ey’akabonero. N’olwekyo ezzadde ly’omusota bye bitonde eby’omwoyo ebitali byesigwa n’abantu abajeemera Yakuwa Katonda. Mu zzadde eryo mulimu bamalayika abaaleka ebifo byabwe mu ggulu mu kiseera kya Nuuwa, awamu n’abantu ababi abeeyisa nga kitaabwe Omulyolyomi.​—Lub. 6:1, 2; Yok. 8:44; 1 Yok. 5:19; Yud. 6.

EZZADDE LY’OMUSOTA

Bamalayika ababi awamu n’abantu abajeemera Yakuwa Katonda era abayigganya abantu be (Laba akatundu 5)

6. Lwaki “omukazi” tayinza kuba nga ye Kaawa?

6 Kati ate ka tulabe “omukazi.” Omukazi oyo tayinza kuba nga ye Kaawa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ka tulabeyo ensonga emu. Obunnabbi bulaga nti ezzadde ly’omukazi lyandibadde ‘libetenta’ omutwe gw’omusota. Nga bwe tulabye, omusota ye Sitaani. Sitaani kitonde kya mwoyo era tewali muntu n’omu atatuukiridde asobola kumubetenta. Kati olwo Sitaani yandizikiriziddwa atya?

7. Nga bwe kiragibwa mu Okubikkulirwa 12:1, 2, 5, 10, omukazi ayogerwako mu Olubereberye 3:15 y’ani?

7 Ekitabo ekisembayo mu Bayibuli kituyamba okumanya omukazi ayogerwako mu Olubereberye 3:15. (Soma Okubikkulirwa 12:1, 2, 5, 10.) Ono si mukazi wa bulijjo! Omukazi ono alina omwezi wansi w’ebigere bye, era ku mutwe gwe kuliko engule ey’emmunyeenye 12. Azaala omwana atali wa bulijjo. Omwana oyo bwe Bwakabaka bwa Katonda. Obwakabaka obwo bwa mu ggulu, n’olwekyo omukazi oyo naye ateekwa okuba nga wa mu ggulu. Akiikirira ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa, ekirimu bamalayika abeesigwa.​—Bag. 4:26.

OMUKAZI

Ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa, ekirimu ebitonde eby’omwoyo ebyesigwa (Laba akatundu 7)

8. Ani kitundu ekikulu eky’ezzadde ly’omukazi, era yafuuka ddi ekitundu ekikulu eky’ezzadde eryo? (Olubereberye 22:15-18)

8 Bayibuli era etuyamba okutegeera ani kitundu ekikulu eky’ezzadde ly’omukazi. Yalina okuba ng’ava mu lunyiriri lwa Ibulayimu. (Soma Olubereberye 22:15-18.) Ng’obunnabbi obwo bwe bulaga, Yesu yali wa mu lunyiriri lwa Ibulayimu. (Luk. 3:23, 34) Naye ezzadde eryo lyalina okuba n’amaanyi n’obuyinza okusinga eby’abantu, kubanga lyalina okubetenta Sitaani ne limusaanyaawo. N’olwekyo Yesu bwe yali nga wa myaka nga 30, yafukibwako omwoyo omutukuvu. Bwe yafukibwako omwoyo omutukuvu yafuuka ekitundu ekikulu eky’ezzadde ly’omukazi. (Bag. 3:16) Oluvannyuma lwa Yesu okufa era n’okuzuukizibwa, Katonda ‘yamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,’ era n’amuwa “obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi,” nga mwe muli n’obuyinza ‘obw’okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi.’​—Beb. 2:7; Mat. 28:18; 1 Yok. 3:8.

EZZADDE LY’OMUKAZI

Yesu Kristo awamu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000 abajja okufugira awamu naye (Laba akatundu 8-9)

9-10. (a) Baani abalala abali mu zzadde ly’omukazi era ddi lwe bafuuka ekitundu ky’ezzadde ly’omukazi? (b) Kiki kye tugenda okuddako okulaba?

9 Naye waliwo n’abalala abandibadde mu zzadde ly’omukazi. Omutume Pawulo yaboogerako bwe yagamba Abakristaayo Abayudaaya n’ab’Amawanga nti: “Bwe kiba nti muli ba Kristo, ddala muli zzadde lya Ibulayimu, abasika okusinziira ku kisuubizo.” (Bag. 3:28, 29) Yakuwa bw’afuka omwoyo omutukuvu ku Mukristaayo, omuntu oyo afuuka kitundu ky’ezzadde ly’omukazi. N’olwekyo ezzadde ly’omukazi lirimu Yesu Kristo, awamu n’abalala 144,000 abajja okufugira awamu naye. (Kub. 14:1) Abo bonna balowooza era beeyisa nga Kitaabwe, Yakuwa Katonda.

10 Kati okuva bwe tumaze okumanya abo aboogerwako mu Olubereberye 3:15, ka tulabe mu bumpimpi engeri Yakuwa gy’azze atuukirizaamu obunnabbi obwo era n’engeri gye tuganyulwamu.

OBUNNABBI BUTUUKIRIZIDDWA BUTYA?

11. Mu ngeri ki ezzadde ly’omukazi gye lyabetentebwa “ekisinziiro”?

11 Okusinziira ku bunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15, omusota gwandibadde gubetenta “ekisinziiro” ky’ezzadde ly’omukazi. Ekyo kyatuukirizibwa Sitaani bwe yaleetera Abayudaaya n’Abaruumi okutta Omwana wa Katonda. (Luk. 23:13, 20-24) Ng’ekiwundu ekiba ku kisinziiro bwe kiyinza okulemaza omuntu okumala ekiseera, okufa kwa Yesu kwamuleetera okuba nga talina ky’asobola kukola okumala ekiseera, ng’ali mu ntaana okumala ennaku ssatu.​—Mat. 16:21.

12. Mu ngeri ki omutwe gw’omusota gye gujja okubetentebwa, era ekyo kinaabaawo ddi?

12 Obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 okusobola okutuukirizibwa, Yesu teyalina kusigala mu ntaana. Lwaki? Kubanga okusinziira ku bunnabbi obwo, ezzadde lyalina okubetenta omutwe gw’omusota. Ekyo kitegeeza nti Yesu yali alina okuwona ekiwundu ku kisinziiro. Era ddala yawona! Nga wayise ennaku ssatu ng’amazze okuttibwa, Yesu yazuukizibwa ng’ekitonde eky’omwoyo ekitasobola kufa. Mu kiseera kya Katonda ekituufu, Yesu ajja kubetenta Sitaani amusaanyeewo. (Beb. 2:14) Abo abajja okufugira awamu ne Kristo bajja kwenyigira mu kusaanyaawo abalabe ba Katonda bonna ku nsi, kwe kugamba, ezzadde ly’omusota.​—Kub. 17:14; 20:4, 10. *

TUGANYULWA TUTYA MU BUNNABBI BUNO?

13. Tuganyulwa tutya mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15?

13 Bw’oba ng’oli muweereza wa Katonda eyeewaayo gy’ali, oganyulwa mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi buno. Yesu yajja ku nsi ng’omuntu, era yayoleka engeri za Kitaawe mu ngeri etuukiridde. (Yok. 14:9) N’olwekyo okuyitira mu Yesu, tusobodde okumanya n’okwagala Yakuwa Katonda. Ate era tuganyuddwa mu ebyo Yesu bye yayigiriza, awamu n’obulagirizi bw’awa ekibiina Ekikristaayo leero. Atuyigirizza engeri y’okutambuzaamu obulamu bwaffe mu ngeri etuviirako okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Ate era ffenna tuganyulwa mu kufa kwa Yesu, kwe kugamba, okubetentebwa kw’ekisinziiro kye. Mu ngeri ki? Yesu bwe yazuukizibwa, yawaayo omuwendo omungi ogw’omusaayi gwe, ‘ogutunaazaako ebibi byonna.’​—1 Yok. 1:7.

14. Tumanya tutya nti obunnabbi Yakuwa bwe yawa mu lusuku Edeni tebwali bwa kutuukirizibwa mu kiseera ekyo? Nnyonnyola.

14 Ebigambo Yakuwa bye yayogera mu lusuku Edeni byalaga nti wandiyiseewo ekiseera obunnabbi obwo okusobola okutuukirira mu bujjuvu. Kyandibadde kyetaagisa ekiseera okuyitawo omukazi okusobola okuzaala ezzadde lye, Omulyolyomi okukuŋŋaanya abagoberezi be, n’obulabe okubaawo wakati w’ezzadde ly’omukazi n’ezzadde ly’omusota. Tuganyulwa nnyo okumanya amakulu g’obunnabbi obwo, kubanga butuyamba okumanya nti ensi ya Sitaani yandibadde ekyawa abaweereza ba Yakuwa. Yesu yalabula abayigirizwa be ku kintu kye kimu. (Mak. 13:13; Yok. 17:14) Mazima ddala tulabye okutuukirizibwa kw’ekitundu ky’obunnabbi obwo naddala mu myaka 100 egiyise. Ekyo kibaddewo kitya?

15. Lwaki ensi yeeyongedde okukyawa abantu ba Katonda, naye lwaki tetusaanidde kutya Sitaani?

15 Yesu bwe yali nga yaakatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu 1914, Sitaani yagobebwa mu ggulu. Kati Sitaani ali wano ku nsi era alindiridde kuzikirizibwa. (Kub. 12:9, 12) Naye tatudde butuuzi. Musunguwavu nnyo, era obusungu bwe abwolekeza abantu ba Katonda. (Kub. 12:13, 17) Eyo ye nsonga lwaki ensi ya Sitaani yeeyongedde okukyawa abantu ba Katonda. Kyokka tetusaanidde kutya Sitaani n’abagoberezi be. Tetulina kubuusabuusa kwonna nti Katonda ali naffe. Tulina endowooza y’emu ng’ey’omutume Pawulo eyagamba nti: “Katonda bw’aba ku ludda lwaffe, ani ayinza okutulwanyisa?” (Bar. 8:31) Tulina obwesige mu Yakuwa, kubanga nga bwe tulabye, ekitundu ekisinga obunene eky’obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 kimaze okutuukirizibwa.

16-18. Curtis, Ursula, ne Jessica baganyuddwa batya mu kutegeera obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15?

16 Ekisuubizo kya Yakuwa ekiri mu Olubereberye 3:15 kituyamba okugumira ebigezo bye twolekagana nabyo, ka bibe bya ngeri ki. Curtis aweereza ng’omuminsani mu Guam, agamba nti: “Waliwo ebiseera lwe njolekaganye n’ebintu ebigezesa obwesigwa bwange eri Yakuwa. Naye okufumiitiriza ku bunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 kinnyambye okusigala nga nneesiga Kitange ow’omu ggulu.” Curtis yeesunga ekiseera Yakuwa lw’aliggyawo ebizibu byonna bye twolekagana nabyo.

17 Mwannyinaffe ayitibwa Ursula, abeera mu Bavaria agamba nti okutegeera obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 kyamuyamba okuba omukakafu nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Yalaba engeri obunnabbi obulala bwonna gye bukwataganamu n’obunnabbi buno, era ekyo kyamukwatako nnyo. Ate era agamba nti: “Nnakwatibwako nnyo bwe nnakitegeera nti Yakuwa yabaako ky’akolawo mu bwangu abantu basobole okuba n’essuubi.”

18 Jessica abeera mu Micronesia agamba nti: “Nkyajjukira engeri gye nnawuliramu bwe nnakitegeera nti nnali nzudde amazima! Obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 bwali butuukirizibwa. Obunnabbi obwo bunnyambye okukijjukira nti obulamu bwe tulimu kati si bwe bulamu obwa nnamaddala. Obunnabbi buno era bunnyambye okweyongera okuba omukakafu nti okuweereza Yakuwa kye kinsobozesa okuba n’essanyu erya nnamaddala kati, era nti nja kufuna essanyu erisingawo mu biseera eby’omu maaso.”

19. Lwaki tuli bakakafu nti ekitundu ekisembayo eky’obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 nakyo kijja kutuukirizibwa?

19 Nga bwe tulabye, obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 butuukirizibwa. Tumanyi ezzadde ly’omukazi n’ezzadde ly’omusota. Yesu, ekitundu ekikulu eky’ezzadde ly’omukazi, yawona ekiwundu ekyali ku kisinziiro era kati afuga nga Kabaka, era tasobola kufa. Okulondebwa kw’abo abali mu kitundu eky’okubiri eky’ezzadde ly’omukazi kunaatera okuggwa. Okuva bwe kiri nti ekitundu ekisooka eky’obunnabbi obwo kituukiridde, tuli bakakafu nti n’ekitundu ekisembayo eky’obunnabbi obwo, kwe kugamba, okubetentebwa kw’omutwe gw’omusota, nakyo kijja kutuukirizibwa. Abantu abeesigwa nga bajja kufuna obuweerero bwa maanyi nga Sitaani asaanyiziddwaawo! Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, weeyongere okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Katonda waffe mwesigwa. Okuyitira mu zzadde ly’omukazi, ajja kuwa “amawanga gonna ag’oku nsi” emikisa mingi.​—Lub. 22:18.

OLUYIMBA 23 Yakuwa Atandika Okufuga

^ Tetusobola kutegeerera ddala bulungi bubaka obuli mu Bayibuli bwe tuba nga tetutegeera makulu ga bunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15. Okwekenneenya obunnabbi obwo kituyamba okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe, n’okwongera okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo bye byonna.

^ Laba Ebyongerezeddwako B1, “Obubaka Obuli mu Bayibuli,” mu Enkyusa ey’Ensi Empya.

^ Laba akasanduuko “Abo Aboogerwako mu Olubereberye 3:14, 15.”