Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 28

Obwakabaka Bwa Katonda Bufuga!

Obwakabaka Bwa Katonda Bufuga!

“Obwakabaka bw’ensi bufuuse Bwakabaka bwa Mukama waffe era bwa Kristo we.”​—KUB. 11:15.

OLUYIMBA 22 Obwakabaka Bwassibwawo​—Ka Bujje!

OMULAMWA *

1. Tuli bakakafu ku ki, era lwaki?

 BW’OLABA ebizibu ebingi ebiri mu nsi, kikuzibuwalira okukkiriza nti embeera ejja kutereera? Abantu bangi tebakyayagala ba ŋŋanda zaabwe, era okutwalira awamu beeyongedde okuba abakambwe era beefaako bokka. Ate era abantu bangi tebakyesiga bali mu buyinza. Naye ebintu ebyo ebibi ebigenda mu maaso bisobola okukuyamba okuba n’essuubi nti embeera ejja kutereera. Lwaki? Kubanga engeri abantu gye beeyisaamu yali yayogerwako dda mu bunnabbi obukwata ku “nnaku ez’enkomerero.” (2 Tim. 3:1-5) Tewali ayinza kugamba nti obunnabbi obwo tebutuukiridde, era ekyo kiraga nti Kristo Yesu yatandika okufuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Naye obwo bwe bumu ku bunnabbi obungi obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Okwekenneenya obunnabbi obulala obutuukiriziddwa kijja kutuyamba okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe.

Ng’obutundutundu bw’ekifaananyi bwe bagattibwa awamu ne bukwatagana bulungi omuntu n’aba ng’asobola okulaba ekifaananyi mu bulambalamba bwakyo, n’obunnabbi obuli mu kitabo kya Danyeri n’eky’Okubikulirwa bukwatagana bulungi, era butuyamba okumanya wa we tuli mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa (Laba akatundu 2)

2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino, era lwaki? (Yogera ku kifaananyi ekiri ku ddiba.)

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba (1) obunnabbi obutuyamba okumanya ddi Obwakabaka bwa Katonda lwe bwatandika okufuga, (2) obunnabbi obutuyamba okumanya nti kati Yesu afuga mu ggulu nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, (3) obunnabbi obulaga engeri abalabe b’Obwakabaka bwa Katonda gye bajja okusaanyizibwawo. Tugenda kukiraba nti obunnabbi obwo bukwatagana bulungi era nti engeri gye bukwataganamu etuyamba okumanya wa we tuli mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa.

ENGERI GYE TUMANYAAMU DDI OBWAKABAKA BWA KATONDA LWE BWATANDIKA OKUFUGA

3. Obunnabbi obuli mu Danyeri 7:13, 14 bwogera ki ku Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda?

3 Obunnabbi obuli mu Danyeri 7:13, 14 bulaga nti Yesu ye yandirondeddwa okufuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, era nti yandibadde mufuzi mulungi nnyo. Abantu okuva mu mawanga gonna ‘bandimuweerezza’ n’essanyu, era tewandibaddewo mufuzi mulala adda mu bigere bye. Obunnabbi obulala obuli mu kitabo kya Danyeri bulaga nti Yesu yanditandise okufuga ku nkomerero y’ebiseera musanvu. Kisoboka okumanya ddi Yesu lwe yafuuka Kabaka?

4. Laga engeri Danyeri 4:10-17 gye watuyambamu okumanya omwaka Yesu gwe yatandikiramu okufuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. (Laba n’obugambo obuli wansi.)

4 Soma Danyeri 4:10-17. ‘Ebiseera omusanvu’ byenkana emyaka 2,520. Ebiseera ebyo byatandika mu 607 E.E.T., Abababulooni bwe baggyako kabaka eyasembayo okutuula ku ntebe ya Yakuwa mu Yerusaalemi. Byakoma mu 1914 E.E., Yakuwa bwe yatuuza Yesu ku ntebe y’Obwakabaka. *​—Ezk. 21:25-27.

5. Tuganyulwa tutya mu kumanya obunnabbi obukwata ku ‘biseera omusanvu’?

5 Tuganyulwa tutya mu bunnabbi obwo? Okumanya obunnabbi obukwata ku ‘biseera omusanvu’ kituyamba okuba abakakafu nti Yakuwa atuukiriza ebisuubizo bye mu kiseera ekituufu. Nga bwe yassaawo Obwakabaka bwe mu kiseera kyennyini kye yali ataddewo, era ajja kukakasa nti n’obunnabbi obulala bwonna butuukirira mu kiseera kyennyini kye yassaawo. Mazima ddala olunaku lwa Yakuwa ‘terujja kulwa!’​—Kaab. 2:3.

ENGERI GYE TUMANYAAMU NTI KATI KRISTO AFUGA NGA KABAKA W’OBWAKABAKA BWA KATONDA

6. (a) Kiki ekiraga nti Kristo yatandika okufuga mu ggulu? (b) Obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa 6:2-8 bukakasa butya ekyo?

6 Bwe yali anaatera okumaliriza obuweereza bwe ku nsi, Yesu alina ebintu bye yayogera ebyandibaddewo mu nsi ebyandiyambye abagoberezi be okumanya nti yatandika okufuga mu ggulu. Mu bintu bye yayogera mwe muli entalo, enjala, ne musisi. Ate era yagamba nti wandibaddewo endwadde ez’amaanyi “mu bifo ebitali bimu,” era ekirwadde kya COVID-19 kyakulabirako kimu eky’endwadde ezo. Ebintu ebyo bye bimu ku ebyo ebiri mu “kabonero” Bayibuli k’eyogerako akalaga nti Kristo yatandika okufuga nga Kabaka. (Mat. 24:3, 7; Luk. 21:7, 10, 11) Emyaka egisukka mu 60 ng’amaze okufa era ng’azzeeyo mu ggulu, Yesu era yawa omutume Yokaana obukakafu obulala obulaga nti ebintu ebyo byandibaddewo. (Soma Okubikkulirwa 6:2-8.) Ebintu ebyo byonna bibaddewo okuva mu 1914 Yesu lwe yatandika okufuga nga Kabaka.

7. Lwaki Yesu bwe yatandika okufuga kyaviirako ensi okubaamu bizibu bingi?

7 Lwaki embeera mu nsi yayonooneka nnyo oluvannyuma lwa Yesu okutandika okufuga nga Kabaka? Okubikkulirwa 6:2 walaga ekintu Yesu kye yasooka okukola nga yaakafuuka Kabaka. Ekintu kye yasooka okukola kwali kulwana. Yalwanyisa ani? Yalwanyisa Sitaani Omulyolyomi ne badayimooni. Okubikkulirwa essuula 12 eraga nti Sitaani yawangulwa, era ye ne badayimooni ne basuulibwa wano ku nsi. Sitaani yasunguwala nnyo era obusungu bwe yabumalira ku bantu, ne kiviirako ensi okubaamu ebizibu bingi nnyo.​—Kub. 12:7-12.

Tetusanyuka kulaba mawulire mabi, naye bwe tulaba ng’obunnabbi bwa Bayibuli butuukirizibwa, kituyamba okweyongera okuba abakakafu nti Obwakabaka bwa Katonda kati bufuga (Laba akatundu 8)

8. Bwe tulaba obunnabbi obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda nga butuukirira, kituganyula kitya?

8 Tuganyulwa tutya mu bunnabbi obwo? Ebintu ebiriwo mu nsi n’enkyukakyuka mu nneeyisa y’abantu bituyamba okumanya nti Yesu yatandika okufuga. N’olwekyo, mu kifo ky’okuggweebwako emirembe bwe tulaba abantu abeefaako bokka era abooleka obukyayi, tusaanidde okukijjukira nti ebyo bye bakola bituukiriza obunnabbi obuli mu Bayibuli. Obwakabaka bwa Katonda kati bufuga! (Zab. 37:1) Era nga Amagedoni agenda asembera, tusuubira embeera mu nsi okweyongera okwonooneka. (Mak. 13:8; 2 Tim. 3:13) Mazima ddala twebaza nnyo Kitaffe ow’omu ggulu atwagala okutuyamba okumanya ensonga lwaki waliwo ebizibu bingi mu nsi.

ENGERI ABALABE B’OBWAKABAKA BWA KATONDA GYE BAJJA OKUSAANYIZIBWAWO

9. Obufuzi kirimaanyi obusembayo bwogerwako butya mu Danyeri 2:28, 31-35, era bwatandika ddi okufuga?

9 Soma Danyeri 2:28, 31-35. Na buno obunnabbi tubulaba nga butuukirira leero. Ekirooto kya Nebukadduneeza kyalaga ekyandibaddewo “mu nnaku ezisembayo,” nga Kristo atandise okufuga nga Kabaka. Mu balabe ba Yesu ab’oku nsi mwe mwandibadde n’Obufuzi Kirimaanyi obwandisembyeyo okufuga mu nsi, Bayibuli bwe yayogerako ng’ebigere “eby’ekyuma n’ebbumba.” Obufuzi obwo bwatandika dda okufuga. Bwatandika okufuga mu kiseera kya Ssematalo I, Bungereza ne Amerika bwe zaatandika okukolaganira awamu. Obunnabbi obukwata ku kirooto Nebukadduneeza kye yaloota era bwalaga ebintu bibiri ebyandibadde bifuula obufuzi obwo kirimaanyi okuba obw’enjawulo ku bufuzi obulala obwabusooka. 

10. (a) Kiki kye tulaba mu bufuzi kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika ekyayogerwako mu bunnabbi bwa Danyeri? (b) Kiki kye tusaanidde okwegendereza? (Laba akasanduuko “ Weegendereze Ebbumba!”)

10 Ekisooka, okwawukana ku bufuzi kirimaanyi obulala obwayogerwako mu kwolesebwa, obufuzi bwa Bungereza ne Amerika tebukiikirirwa kyuma kimu, gamba nga zzaabu oba ffeeza, wabula bukiikirirwa ekyuma ekitabuddwamu ebbumba. Ebbumba likiikirira “abaana b’abantu,” oba abantu aba bulijjo. (Dan. 2:43, obugambo obuli wansi.) Nga bwe kyeyoleka obulungi leero, ebyo abantu bye bakola, gamba ng’okulwanirira eddembe ly’obuntu, okulonda abakulembeze, okwekalakaasa, n’ebirala, biremesa obufuzi buno kirimaanyi okutuukiriza mu bujjuvu enteekateeka zaabwo.

11. Okuba nti Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika bwe buliwo, kyongera kitya okutukakasa nti tuli mu nnaku ez’enkomerero?

11 Eky’okubiri, obufuzi bwa Bungereza ne Amerika obukiikirirwa ebigere ku kibumbe ekinene, bwe bufuzi kirimaanyi obusembayo Bayibuli bw’eyogerako. Tewaliiwo bufuzi bulala kirimaanyi obujja okubuddirira. Bujja kusaanyizibwawo mu bwangu ku Amagedoni, Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaabubetenta awamu n’obufuzi bw’abantu obulala bwonna. *​—Kub. 16:13, 14, 16; 19:19, 20.

12. Kiki ekirala obunnabbi bwa Danyeri kye bulaga ekituzzaamu amaanyi era ekyongera okunyweza essuubi lyaffe?

12 Tuganyulwa tutya mu bunnabbi obwo? Waliwo obukakafu obulala obuli mu bunnabbi bwa Danyeri obulaga nti tuli mu nnaku ez’enkomerero. Emyaka egisukka mu 2,500 emabega, Danyeri yalaga nti oluvannyuma lw’obufuzi bwa Babulooni, wandibaddewo obufuzi obulala kirimaanyi bwa mirundi ena obwandibaddeko n’eky’amaanyi kye bukola ku bantu ba Katonda. Ate era yalaga nti ku bufuzi obwo, Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika bwe bwandibadde busembayo okufuga. Ekyo kyongera okutuyamba okuba abakakafu nti mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda bujja kusaanyaawo obufuzi bw’abantu bwonna era bwo bufuge mu bujjuvu ensi yonna.​—Dan. 2:44.

13. “Kabaka ow’omunaana” ne ‘bakabaka ekkumi,’ aboogerwako mu Okubikkulirwa 17:9-12 bakiikirira ki, era obunnabbi obwo butuukiriziddwa butya?

13 Soma Okubikkulirwa 17:9-12. Olw’okuba Ssematalo I yaviirako abantu bangi okufa n’ebintu bingi okwonoonebwa, kyaviirako obunnabbi obulala obukwata ku nnaku ez’enkomerero okutuukirira. Abafuzi mu nsi baali baagala okukakasa nti wabaawo emirembe mu nsi yonna mu biseera eby’omu maaso. N’olwekyo, mu Jjanwali 1920, bassaawo Ekinywi ky’Amawanga, era oluvannyuma Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kyadda mu kifo kyakyo mu Okitobba 1945. Ekibiina ekyo kiyitibwa “kabaka ow’omunaana.” Naye ekibiina ekyo si bufuzi kirimaanyi obw’ensi yonna. Obufuzi obutali bumu obukiwagira bwe bukiwa amaanyi n’obuyinza. Mu ngeri ey’akabonero, obufuzi obwo Bayibuli ebuyita “bakabaka kkumi.”

14-15. (a) Okubikkulirwa 17:3-5 woogera ki ku “Babulooni Ekinene”? (b) Kiki ekituuse ku buwagizi bw’amadiini ag’obulimba?

14 Soma Okubikkulirwa 17:3-5. Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba malaaya, kwe kugamba, “Babulooni Ekinene,” ekikiikirira amadiini gonna ag’obulimba. Obunnabbi obwo butuukiriziddwa butya? Amadiini ag’obulimba gamaze ekiseera kiwanvu nga gakolagana ne gavumenti z’ensi era nga gaziwagira. Kyokka mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuleetera gavumenti z’ensi “okutuukiriza ekirowoozo kye.” Kiki ekinaavaamu? ‘Bakabaka abo ekkumi,’ kwe kugamba, gavumenti z’ensi, zijja kwefuulira amadiini ag’obulimba zigazikirize.​—Kub. 17:1, 2, 16, 17.

15 Tumanya tutya nti Babulooni ekinene kinaatera okuzikirizibwa? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, tusaanidde okukijjukira nti ekimu bintu ebyasobozesanga Babulooni eky’edda okuba n’obukuumi, ge mazzi g’Omugga Fulaati. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kigeraageranya obukadde n’obukadde bw’abantu abawagira Babulooni Ekinene ku ‘mazzi’ agakiwa obukuumi. (Kub. 17:15) Kyokka era kigamba nti amazzi ago ‘gandikalidde,’ ekiraga nti abantu bangi bandirekedde awo okuwagira Babulooni Ekinene. (Kub. 16:12) Leero tulaba obunnabbi obwo nga butuukirizibwa. Abantu bangi tebakyettanira bya ddiini, era kati banoonyeza walala ekiyinza okubayamba okugonjoola ebizibu byabwe.

16. Tuganyulwa tutya mu kutegeera obunnabbi obukwata ku kussibwawo kw’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ne ku kuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene?

16 Tuganyulwa tutya mu bunnabbi obwo? Okussibwawo kw’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte n’okuba nti abantu bangi tebakyettanira bya ddiini, bukakafu obulaga nti tuli mu nnaku ez’enkomerero. Wadde ng’amazzi ga Babulooni Ekinene gakalira, kwe kugamba, obuwagizi bwakyo bugenda bweyongera kukendeera, okuzikirizibwa kwakyo kugenda kuva walala. Nga bwe kyogeddwako waggulu, Yakuwa agenda kukissa mu mitima gya ‘bakabaka ekkumi,’ kwe kugamba, gavumenti eziwagira Ekibiina ky’Amawanga Amagatte, “okutuukiriza ekirowoozo kye.” Okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba kujja kubaawo mu bwangu, era ekyo kijja kwewuunyisa nnyo abantu mu nsi yonna. * (Kub. 18:8-10) Okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene kujja kukosa nnyo ensi yonna, naye bo abantu ba Katonda bajja kuba n’ensonga nga bbiri kwe banaasinziira okujaganya. Omulabe wa Katonda oyo amaze ekiseera ekiwanvu ng’amulwanyisa ajja kuba asaanyiziddwawo ddala, era tujja kuba tunaatera okununulibwa okuva mu nteekateeka ya Sitaani eno embi!​—Luk. 21:28.

BA MUKAKAFU NTI YAKUWA AJJA KUKUUMA ABANTU BE MU BISEERA EBY’OMU MAASO

17-18. (a) Tuyinza tutya okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Danyeri yagamba nti: “Okumanya okutuufu kulyeyongera.” Era ddala kweyongedde! Tusobodde okutegeera amakulu g’obunnabbi obukwata ku kiseera kyaffe. (Dan. 12:4, 9, 10) Okuba nti obunnabbi obwo butuukiriziddwa mu bujjuvu, kituleetera okweyongera okuwa Yakuwa n’Ekigambo kye ekitiibwa. (Is. 46:10; 55:11) N’olwekyo, weeyongera okunyweza okukkiriza kwo ng’onyiikira okusoma Ekigambo kya Katonda, era ng’ofuba okuyamba abantu abalala okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. Yakuwa ajja kukuuma abo bonna abamwesiga, era ajja kubawa “emirembe egitaggwaawo.”​—Is. 26:3.

18 Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba obunnabbi obukwata ku kibiina Ekikristaayo mu nnaku ez’enkomerero. Nga bwe tujja okulaba, obunnabbi obwo bukwatagana bulungi n’obunnabbi obulala obukwata ku nnaku ez’enkomerero. Tujja kulaba obukakafu obulala obulaga nti Yesu, Kabaka waffe, akulembera abagoberezi be.

OLUYIMBA 61 Mugende mu Maaso, Mmwe Abajulirwa!

^ Ekiseera kye tulimu kikulu nnyo mu byafaayo. Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga, ng’obunnabbi bwa Bayibuli obutali bumu bwe bulaga. Mu kitundu kino, tugenda kulaba obumu ku bunnabbi obwo. Ekyo kijja kutuyamba okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe, n’okusigala nga tuli bakkakkamu era n’okweyongera okwesiga Yakuwa kati ne mu biseera eby’omu maaso.

^ Laba ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essuula 32 akatundu 4, era laba vidiyo, Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Okufuga mu 1914, ku jw.org/lg.

^ Okusobola okumanya ebisingawo ebikwata ku bunnabbi bwa Danyeri, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 15, 2012, lup. 14-19.

^ Okumanya ebisingawo ku ebyo ebinaatera okubaawo, laba ekitabo God’s Kingdom Rules!, essuula 21.