Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 29

Wagira Yesu, Omukulembeze Waffe

Wagira Yesu, Omukulembeze Waffe

“Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.”​—MAT. 28:18.

OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe

OMULAMWA *

1. Mulimu ki Yakuwa gw’ayagala gukolebwe leero?

 KATONDA ayagala amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka gabuulirwe mu nsi yonna. (Mak. 13:10; 1 Tim. 2:3, 4) Omulimu guno gwa Yakuwa, era agutwala nga mukulu nnyo ne kiba nti yalonda Omwana we gw’ayagala ennyo okugulabirira. Olw’okuba Yesu y’atuwa obulagirizi nga tukola omulimu guno, tuli bakakafu nti tujja kugukola tugumalirize nga Yakuwa bw’ayagala ng’enkomerero tennajja.​—Mat. 24:14.

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yesu gy’akozesaamu “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okuwa abagoberezi be emmere ey’eby’omwoyo, n’okubateekateeka okukola omulimu gw’okubuulira ogukyasinzeeyo okukolebwa mu byafaayo. (Mat. 24:45) Ate era tugenda kulaba buli omu ku ffe ky’asobola okukola okuwagira Yesu n’omuddu omwesigwa.

YESU ALABIRIRA OMULIMU GW’OKUBUULIRA

3. Buyinza ki Yesu bwe yaweebwa?

3 Yesu alabirira omulimu gw’okubuulira. Ekyo tukikakasiza ku ki? Bwe yali anaatera okuddayo mu ggulu, yasisinkana n’abamu ku bagoberezi be abeesigwa ku lusozi olumu mu Ggaliraaya. Yabagamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” Weetegereze ebigambo bye yaddako okwogera. Yagamba nti: “N’olwekyo, mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.” (Mat. 28:18, 19) N’olwekyo, obuyinza Yesu bwe yaweebwa buzingiramu n’okulabirira omulimu gw’okubuulira.

4. Lwaki tuli bakakafu nti Yesu akyalabirira omulimu gw’okubuulira?

4 Yesu yagamba nti omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa gwandibadde gukolebwa mu “mawanga gonna,” era nti yandibadde wamu n’abagoberezi be “ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Mat. 28:20) Ebigambo ebyo biraga nti Yesu yandibadde alabirira omulimu gw’okubuulira okutuusiza ddala mu kiseera kyaffe.

5. Tutuukiriza tutya ekyo ekyogerwako mu Zabbuli 110:3?

5 Yesu yali mukakafu nti wandibaddewo bakozi bamala mu kiseera ky’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu. Yali amanyi bulungi ebigambo by’obunnabbi ebiri mu Zabbuli ebigamba nti: “Abantu bo balyewaayo kyeyagalire ku lunaku lw’olikulemberamu eggye lyo.” (Zab. 110:3) Bw’oba nga weenyigira mu mulimu gw’okubuulira, owagira Yesu n’omuddu omwesigwa, era oyambako mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo. Omulimu gw’okubuulira gugenda mu maaso. Naye waliwo okusoomooza okutali kumu.

6. Okumu ku kusoomooza ababuulizi b’Obwakabaka kwe boolekagana nakwo leero kwe kuluwa?

6 Okumu ku kusoomooza ababuulizi b’Obwakabaka kwe boolekagana nakwo kwe kuziyizibwa. Bakyewaggula, abakulembeze b’amadiini, ne bannabyabufuzi, boogedde eby’obulimba bingi ku mulimu gwaffe. Ab’eŋŋanda zaffe, mikwano gyaffe, ne bakozi bannaffe bwe bawuliriza obulimba obwo, bayinza okugezaako okutulemesa okuweereza Yakuwa n’okubuulira. Mu nsi ezimu baganda baffe batiisibwatiisibwa, bakwatibwa, era abamu basibibwa mu makomera. Ebintu ng’ebyo tebitwewuunyisa. Yesu yagamba nti: “Mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange.” (Mat. 24:9) Okuba nti tukyayibwa mu ngeri ng’eyo bukakafu obulaga nti tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (Mat. 5:11, 12) Sitaani y’ali emabega w’obukyayi obwo. Naye Yesu amusingira wala amaanyi. Olw’okuba Yesu y’alabirira omulimu gw’okubuulira, amawulire amalungi gabuulirwa mu mawanga gonna. Ka tulabe ebikakasa ekyo.

7. Bukakafu ki obulaga nti ekyo ekyogerwako mu Okubikkulirwa 14:6, 7 kituukirizibwa?

7 Okusoomooza okulala kwe twolekagana nakwo kuli nti, abantu be tubuulira boogera ennimi za njawulo. Mu kubikkulirwa Yesu kwe yawa omutume Yokaana, yakyoleka nti ekizibu ekyo tekyandiremesezza mawulire malungi kubuulirwa. (Soma Okubikkulirwa 14:6, 7.) Lwaki? Nga tukola omulimu guno, tutuusa obubaka bw’Obwakabaka ku bantu bangi nnyo. Leero okwetooloola ensi, abantu basobola okusoma ebintu ebyesigamiziddwa ku Bayibuli ku mukutu gwaffe, jw.org, mu nnimi ezisukka mu 1,000! Akakiiko Akafuzi kakkiriza ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, okuvvuunulwa mu nnimi ezisukka mu 700, era ng’okusingira ddala kye kitabo kye tukozesa okufuula abantu abayigirizwa. Ate era bakiggala ne bamuzibe nabo baweebwa emmere ey’eby’omwoyo okuyitira mu vidiyo za bakiggala ne mu bitabo bya bamuzibe. Tulaba obunnabbi bwa Bayibuli nga butuukirizibwa. Abantu “okuva mu nnimi zonna ez’amawanga” bayiga okwogera “olulimi olulongoofu,” nga gano ge mazima agali mu Bayibuli. (Zek. 8:23; Zef. 3:9) Yesu Kristo y’alabirira omulimu ogwo gwonna.

8. Biki ebivudde mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira?

8 Leero ekibiina kya Yakuwa kirimu abantu abasukka mu 8,000,000 okuva mu nsi 240, era abantu mitwalo na mitwalo babatizibwa buli mwaka! Kyokka ekisinga obukulu kwe kuba nti abayigirizwa abo abapya bambala “omuntu omuggya,” kwe kugamba, bakulaakulanya engeri z’Ekikristaayo. (Bak. 3:8-10) Bangi balekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, ebikolwa eby’obukambwe, okusosola abalala, n’okuba ne mwoyo ga ggwanga. Obunnabbi obuli mu Isaaya 2:4 butuukirizibwa; ‘tebakyayiga kulwana nate.’ Olw’okuba tufuba okwambala omuntu omuggya, kiviirako abantu okujja mu kibiina kya Yakuwa era kiraga nti tugoberera Kristo Yesu omukulembeze waffe. (Yok. 13:35; 1 Peet. 2:12) Ebintu ebyo byonna tebijjaawo mu butanwa. Yesu atuwa obuyambi bwe twetaaga.

YESU YASSAAWO OMUDDU OMWESIGWA

9. Okusinziira ku Matayo 24:45-47, kiki Yesu kye yagamba nti yandikoze mu kiseera eky’enkomerero?

9 Soma Matayo 24:45-47. Yesu yagamba nti mu kiseera eky’enkomerero yandibadde assaawo “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okuwa abagoberezi be emmere ey’eby’omwoyo. N’olwekyo, twandibadde tusuubira omuddu oyo okuba ng’akola nnyo mu kiseera kyaffe. Era ddala bwe kityo bwe kiri. Omukulembeze waffe akozesa ab’oluganda abaafuukibwako amafuta abatonotono okuwa abantu ba Katonda awamu n’abantu abalala abaagala okuyiga ebikwata ku Katonda, ‘emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu.’ Ab’oluganda abo tebeetwala nti be balina obuyinza ku kukkiriza kw’abalala. (2 Kol. 1:24) Mu kifo ky’ekyo, bakimanyi nti Yesu Kristo ye ‘mukulembeze era omufuzi’ w’abantu be.​—Is. 55:4.

10. Ku butabo obulagiddwa mu bifaananyi, kaluwa ke wasoma n’osobola okutandika okuweereza Yakuwa?

10 Okuva mu 1919, omuddu omwesigwa azze akuba obutabo obw’enjawulo obuyambye abantu abaagala okumanya ebikwata ku Katonda okutandika okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Mu 1921, omuddu omwesigwa yakuba akatabo “The Harp of God” okuyamba abantu abaali baagala okumanya ebikwata ku Katonda okuyiga enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, waliwo obutabo obulala obwakubibwa. Ku butabo buno, kaluwa akaakozesebwa okukuyamba okumanya Kitaffe ow’omu ggulu n’okumwagala? Kaali “Let God Be True,” The Truth That Leads to Eternal Life, Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi, Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, Kiki Ddala Bayibuli Ky’Eyigiriza?, Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?, oba ekitabo kyaffe ekipya, Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!? Obutabo obwo bwonna bwakubibwa okuyambako mu kufuula abantu abayigirizwa, era bwafulumira mu kiseera ekituufu we bwali bwetaagibwa.

11. Lwaki kikulu nnyo ffenna okulya emmere enkalubo?

11 Abantu abaakatandika okuweereza Yakuwa si be bokka abeetaaga okumanya ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda. Ffenna twetaaga okubimanya. Omutume Pawulo yagamba nti: “Emmere enkalubo ya bantu bakulu.” Ate era Pawulo yalaga nti okukolera ku bintu ebyo kituyamba “okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.” (Beb. 5:14) Mu biseera bino ebizibu ng’emitindo gy’empisa gisse nnyo, si kyangu okunywerera ku mitindo gya Yakuwa. Naye Yesu akakasa nti okuyitira mu mmere ey’eby’omwoyo, tufuna amaanyi ge twetaaga okusobola okukuuma okukkiriza kwaffe nga kunywevu. Emmere eyo eva mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli. Omuddu omwesigwa ateekateeka emmere eyo era n’agigaba ng’akolera ku bulagirizi bwa Yesu.

12. Okufaananako Yesu, tukiraze tutya nti erinnya lya Katonda tulitwala nga kkulu nnyo?

12 Okufaananako Yesu, naffe tukitwala nti erinnya lya Katonda kkulu nnyo. (Yok. 17:6, 26) Ng’ekyokulabirako, mu 1931, nga tusinziira ku Byawandiikibwa, twatandika okuyitibwa erinnya, Abajulirwa aba Yakuwa. Bwe kityo twakiraga nti erinnya lya Katonda tulitwala nga kkulu nnyo, era nti twagala okumanyibwa ng’abantu ab’erinnya lye. (Is. 43:10-12) Era okuva mu Okitobba w’omwaka ogwo, erinnya lya Katonda lizze lirabikira ku ddiba lya buli kopi ya magazini eno. Okugatta ku ekyo, mu Enkyusa Ey’Ensi Empya, erinnya lya Katonda lyazzibwa mu bifo byonna we lirina okubeera mu Bayibuli. Mazima ddala twawukana nnyo ku madiini ga Kristendomu agaggye erinnya lya Katonda mu nkyusa zaago nnyingi eza Bayibuli!

YESU ATEGEKA ABAGOBEREZI BE

13. Kiki ekikukakasa nti leero Yesu akozesa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi”? (Yok. 6:68)

13 Okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ Yesu ategese ekibiina ky’abagoberezi be ku nsi okusobola okuba nga basinza Katonda mu ngeri entuufu. Otwala otya ekibiina ekyo? Oboolyawo naawe olina endowooza y’emu ng’ey’omutume Peetero eyagamba Yesu nti: “Tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 6:68) Ddala buli omu ku ffe yandibadde wa singa Yakuwa yali tamuleese mu kibiina kye? Okuyitira mu kibiina ekyo, Kristo akakasa nti tuliisibwa bulungi mu by’omwoyo. Ate era atutendeka okukola obulungi omulimu gw’okubuulira. Era atuyamba okwambala “omuntu omuggya,” tusobole okuba nga tusanyusa Yakuwa.​—Bef. 4:24.

14. Mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19, waganyulwa otya okuba nti oli mu kibiina kya Yakuwa?

14 Yesu atuwa obulagirizi obulungi mu biseera ebya kazigizigi. Ekyo kyeyolekera mu bulagirizi bwe twafuna ng’ekirwadde kya COVID-19 kibaluseewo. Mu kiseera ng’abantu bangi mu nsi beebuuza eky’okukola, Yesu yakakasa nti tufuna obulagirizi obutegeerekeka obulungi obwandituyambye obutakwatibwa kirwadde ekyo. Twakubirizibwa okwambala masiki nga tuli mu bifo ebya lukale n’okwewala okusemberera abalala. Abakadde baakubirizibwa okuwuliziganyanga n’ab’oluganda bonna mu kibiina n’okukakasa nti bamanya ebyetaago byabwe eby’omubiri n’eby’omwoyo. (Is. 32:1, 2) Ate era twafuna obulagirizi obulala era twazzibwamu amaanyi okuyitira mu lipoota ez’enjawulo okuva ku Kakiiko Akafuzi.

15. Bulagirizi ki obukwata ku nkuŋŋaana ne ku mulimu gw’okubuulira bwe twafuna mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19, era biki ebyavaamu?

15 Mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19, era twafuna obulagirizi obutegeerekeka obulungi obukwata ku ngeri y’okuba n’enkuŋŋaana zaffe era n’okukola omulimu gw’okubuulira. Mu kaseera buseera twatandika okuba n’enkuŋŋaana zaffe ennene n’entono nga tukozesa zoom. Ate era twatandika okukola omulimu gw’okubuulira nga tuwandiika amabaluwa oba nga tukuba essimu. Yakuwa yawa omukisa okufuba bwaffe. Ofiisi z’amatabi nnyingi ziraze nti wabaddewo okweyongera kwa maanyi mu muwendo gw’ababuulizi. Mu butuufu, waliwo ebirungi bingi ebyatuukibwako mu kiseera kya COVID-19.​—Laba akasanduuko “ Yakuwa Awa Omukisa Omulimu Gwaffe ogw’Okubuulira.”

16. Tuli bakakafu ku ki?

16 Abamu bayinza okuba nga baali bawulira nti ekibiina kyali kiyitirizza okwekengera ebizibu ebyandivudde mu kirwadde kya COVID-19. Naye oluvannyuma kyeyoleka bulungi nti obulagirizi bwe twafuna bwebwo bwennyini obwali bwetaagisa. (Mat. 11:19) Bwe tufumiitiriza ku ngeri ey’okwagala Yesu gy’akulemberamu abantu be, kituleetera okuba bakakafu nti ka kibe ki ekiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa n’Omwana we gw’ayagala bajja kuba wamu naffe.​—Soma Abebbulaniya 13:5, 6.

17. Otwala otya eky’okukolera wansi w’obukulembeze ba Yesu?

17 Mazima twesiimye nnyo okuba nti Yesu ye mukulembeze waffe! Tuli mu kibiina ekiteeyawuddeyawuddeemu olwa langi oba ennimi. Tuliisibwa bulungi mu by’omwoyo era tulina byonna bye twetaaga okusobola okukola omulimu gw’okubuulira. Ate era buli omu ku ffe ayigirizibwa okwambala omuntu omuggya n’okwagala bantu bannaffe. Mu butuufu, twenyumiririza nnyo mu mukulembeze waffe, Yesu!

OLUYIMBA 16 Mutende Yakuwa olw’Omwana We Eyafukibwako Amafuta

^ Abantu bukadde na bukadde, omuli abasajja, abakazi, n’abaana, babuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi. Oli omu ku bo? Bwe kiba kityo, okolera wansi w’obukulembeze bwa Mukama waffe Yesu Kristo. Mu kitundu kino tugenda kulaba obukakafu obulaga nti Yesu alabirira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa leero. Okufumiitiriza ku nsonga eyo kijja kutuyamba okuba abamalirivu okuweereza Yakuwa nga tukolera wansi w’obukulembeze bwa Kristo.