Obadde Okimanyi?
Ebizuuliddwa awali amatongo ga Babulooni eky’edda ebikwata ku matoffaali n’engeri gye gaakolebwangamu, biraga bitya nti ebyo Bayibuli by’eyogerako bituufu?
ABANOONYEREZA ku bintu eby’edda, bayiikudde amatoffaali amookye mangi nnyo awaali ekibuga Babulooni, agaakozesebwa okuzimba ekibuga ekyo. Okusinziira ku munoonyereza ayitibwa Robert Koldewey, amatoffaali ng’ago gaayokebwanga mu byokero ebyabanga “wabweru w’ekibuga, awaali wasangibwa ebbumba eddungi n’emiti egyakozesebwanga mu kugookya.”
Ebiwandiiko eby’edda biraga nti abakungu ba Babulooni era baakozesanga ebyokero ebyo okukola ekintu ekyesisiwaza ennyo. Profesa ayitibwa Paul-Alain Beaulieu, omukugu mu byafaayo n’olulimi lw’Abasuuli, ow’omu Yunivasite y’e Toronto, agamba nti: “Ebiwandiiko bingi ebyazuulibwa mu Babulooni biraga nti kabaka yalagira nti abo abaamujeemeranga, oba abatassanga kitiibwa mu bintu ebitukuvu, baalinanga okusuulibwa mu kyokero, bookebwe.” Ekiwandiiko ekimu eky’omu kiseera kya Kabaka Nebukadduneeza kigamba bwe kiti: “Basaanyeewo, bookye, bakalirire, bafumbe mu kabiga, omukka gwabwe ka gunyooke, basuule mu muliro bafe.”
Ebigambo ebyo bijjukiza abasomi ba Bayibuli ebyo ebiri mu Danyeri essuula 3. Essuula eyo eraga nti Kabaka Nebukadduneeza yakola ekibumbe ekya zzaabu ekinene ennyo mu lusenyi lw’e Dduula, wabweru w’ekibuga Babulooni. Abavubuka Abebbulaniya abasatu, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, bwe baagaana okuvunnamira ekibumbe ekyo, Nebukadduneeza yasunguwala nnyo era n’alagira abasajja be bakume omuliro “gwake okusinga ogwa bulijjo emirundi musanvu,” basuule abavubuka abo “mu kyokero omwali omuliro ogubumbujja.” Malayika yawonya abavubuka abo abasuulibwa mu muliro ne batafa.—Dan. 3:1-6, 19-28.
Amatoffaali agali awali amatongo ga Babulooni nago galaga nti ebyo Bayibuli by’eyogerako bituufu. Mangi ku go gasangiddwako ebigambo ebitendereza kabaka. Erimu ku matoffaali ago lyaliko ebigambo bino: “Nebukadduneeza, Kabaka wa Babulooni . . . Olubiri, Nze Kabaka ow’Ekitiibwa Ennyo lwe nnazimba . . . Bazzukulu bange ka balufugirengamu emirembe gyonna.” Ebigambo ebyo bifaananako n’ebyo ebiri mu Danyeri 4:30, Nebukadduneeza we yeewaanira ng’agamba nti: “Kino si ye Babulooni Ekinene kye nnazimba n’amaanyi gange okubaamu ennyumba y’obwakabaka, era kye nnazimba olw’ekitiibwa ky’obukulu bwange?”