EKITUNDU EKY’OKUSOMA 32
Koppa Yakuwa nga Toba Mukakanyavu
“Obutali bukakanyavu bwammwe bweyoleke eri abantu bonna.”—BAF. 4:5.
OLUYIMBA 89 Wulira, Ssa mu Nkola, Oweebwe Emikisa
OMULAMWA a
1. Mu ngeri ki Abakristaayo gye balina okuba ng’omuti? (Laba n’ekifaananyi.)
“EMBUYAGA tesobola kumenya muti ogusobola okwewetamu.” Enjogera eyo eraga nti emiti kigyetaagisa okuba nga gisobola okwewetamu okusobola okugumira embuyaga ey’amaanyi. Naffe okusobola okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo, tusaanidde okuba nga tusobola okwewetamu, kwe kugamba, nga tusobola okukyuka. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Embeera bwe zikyuka mu bulamu bwaffe, tulina okwewala okuba abakakanyavu, nga tutuukana n’embeera ezo era nga tussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala n’ebyo bye basalawo.
2. Ngeri ki ezijja okutuyamba okutuukana n’embeera ezikyuka, era biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
2 Tusaanidde okwewala okuba abakakanyavu, era tusaanidde okuba abeetoowaze era abasaasizi. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri okukulaakulanya engeri ezo gye kiyambye abamu ku Bakristaayo okutuukana n’enkyukakyuka ezajjawo mu bulamu bwabwe. Ate era tugenda kulaba engeri naffe gye tuyinza okuganyulwa mu kukulaakulanya engeri ezo. Naye ka tusooke tulabe ekyo kye tuyigira ku Yakuwa ne Yesu, abataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu butaba bakakanyavu.
YAKUWA NE YESU SI BAKAKANYAVU
3. Tumanya tutya nti Yakuwa si mukakanyavu?
3 Yakuwa ayitibwa “Olwazi” kubanga munywevu era tasagaasagana. (Ma. 32:4) Wadde kiri kityo, si mukakanyavu. Ng’embeera zigenda zikyuka mu nsi, Yakuwa atuukana nazo era akakasa nti byonna bye yasuubiza bijja kutuukirira. Yakuwa yatonda abantu mu kifaananyi kye nga balina obusobozi obw’okutuukana n’embeera ezikyukakyuka. Mu Kigambo kye Bayibuli, yatuwa emisingi egitegeerekeka obulungi egituyamba okusalawo obulungi embeera k’ebe nzibu etya. Ekyokulabirako Yakuwa ky’ataddewo awamu n’emisingi gye yatuwa, biraga nti wadde ng’ayitibwa “Olwazi,” era si mukakanyavu.
4. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yakuwa si mukakanyavu. (Eby’Abaleevi 5:7, 11)
4 Amakubo ga Yakuwa gatuukiridde era gooleka nti si mukakanyavu. Akyusaamu we kisaanidde mu ngeri gy’akolaganamu n’abantu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yakyolekamu nti si mukakanyavu mu ebyo bye yali yeetaaza Abayisirayiri. Yali teyeetaagisa bantu bonna kuwaayo ssaddaaka ze zimu, ka babe bagagga oba baavu. Mu mbeera ezimu yakkirizanga buli muntu okuwaayo ssaddaaka gye yabanga asobola okusinziira ku mbeera ye.—Soma Eby’Abaleevi 5:7, 11.
5. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yakuwa mwetoowaze era musaasizi.
5 Obwetoowaze bwa Yakuwa n’obusaasizi bwe bumuleetera obutaba mukakanyavu. Ng’ekyokulabirako, obwetoowaze bwa Yakuwa bweyoleka bwe yali ng’anaatera okuzikiriza abantu ababi ab’omu Sodomu. Ng’ayitira mu malayika, Yakuwa yalagira Lutti, omusajja eyali omutuukirivu, okuddukira mu nsozi. Naye Lutti yatya okugendayo, era n’asaba akkirizibwe ye n’abomu maka ge okuddukira mu Zowaali, akabuga akatono nako akaali ak’okuzikirizibwa. Yakuwa yandibadde akalambira nti Lutti akole ekyo kye yamulagira. Mu kifo ky’ekyo, yakkiriza Lutti kye yamusaba era n’atazikiriza Zowaali. (Lub. 19:18-22) Nga wayiseewo emyaka mingi, Yakuwa yasaasira abantu b’omu Nineeve. Yatuma nnabbi Yona e Nineeve alangirire nti ekibuga ekyo kyali kinaatera okuzikirizibwa awamu n’abantu baamu abaali ababi. Naye abantu b’omu Nineeve bwe beenenya, Yakuwa yabasaasira n’atazikiriza kibuga ekyo.—Yon. 3:1, 10; 4:10, 11.
6. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yesu yakoppa Yakuwa mu butaba mukakanyavu.
6 Yesu yakoppa Yakuwa mu butaba mukakanyavu. Yatumibwa ku nsi okubuulira “endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri.” Kyokka teyali mukakanyavu ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Lumu omukazi ataali Muyisirayiri yamusaba okuwonya muwala we eyali “atawaanyizibwa dayimooni.” Yesu yasaasira omukyala oyo n’awonya muwala we. (Mat. 15:21-28) Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Bwe waali waakayita ekiseera kitono ng’atandise obuweereza bwe ku nsi, Yesu yagamba nti: ‘Buli anneegaana, nange ndimwegaana.’ (Mat. 10:33) Naye yeegaana Peetero oluvannyuma lwa Peetero okumwegaana emirundi esatu? Nedda. Yesu yakiraba nti Peetero yali yeenenyezza era nti yalina okukkiriza okw’amaanyi. Oluvannyuma lw’okuzuukizibwa, Yesu yalabikira Peetero era kirabika n’amukakasa nti yali amusonyiye era nti yali akyamwagala.—Luk. 24:33, 34.
7. Nga bwe kiragibwa mu Abafiripi 4:5, twandyagadde abalala batutwale batya?
7 Nga bwe tulabye, Yakuwa ne Yesu si bakakanyavu. Ate ffe? Yakuwa atusuubira obutaba bakakanyavu. (Soma Abafiripi 4:5.) Mu nkyusa ya Bayibuli emu, olunyiriri olwo lwavvuunulwa bwe luti: “Mubeere abantu abamanyiddwa ng’abatali bakakanyavu.” Tuyinza okwebuuza: ‘Abantu bantwala nti siri mukakanyavu, sigugubira ku nsonga, era nti nkyusaamu we kiba kisaanidde? Oba bantwala ng’omuntu akalambira ku nsonga? Nkalambira nti abalala balina okukola ebintu nga nze bwe ndowooza nti bwe birina okukolebwa? Oba mpuliriza abalala nga baliko kye bagamba era ne nzikiriza ekyo kye baba bagambye kasita kiba nti si kikyamu?’ Gye tukoma obutaba bakakanyavu, gye tukoma okukyoleka nti tukoppa Yakuwa ne Yesu. Kati ka tulabeyo ebintu bino bibiri ebitwetaagisa obutaba bakakanyavu: Embeera zaffe bwe zikyuka, oba bwe kiba nti endowooza y’abalala n’ebyo bye basazeewo bya njawulo ku byaffe.
TOBA MUKAKANYAVU NG’EMBEERA ZIKYUSE
8. Biki ebiyinza okutuyamba obutaba bakakanyavu ng’embeera yaffe ekyuse? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
8 Obutaba bakakanyavu kizingiramu okuba abeetegefu okukyuka ng’embeera zaffe zikyuse. Embeera bwe zikyuka tuyinza okwolekagana n’okusoomooza kwe tubadde tutasuubira. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okwesanga nga kitwetaagisa okufuna obujjanjabi obw’amangu. Oba mu kitundu gye tubeera embeera eyinza okukyuka amangu mu by’enfuna oba mu by’obufuzi ne kikosa obulamu bwaffe. (Mub. 9:11; 1 Kol. 7:31) Oba tuyinza okusindikibwa okuweereza mu kitundu ekirala nga tubadde tetukisuubira. Ka kube kusoomooza ki kwe tuba twolekagana nakwo, tusobola okutuukagana n’enkyukakyuka eziba zizzeewo singa tukola ebintu bino bina: (1) tukkiriza nti ebintu bikyuse, (2) tulowooza ku bye tuba tugenda okukola so si ku ebyo bye tubadde tukola, (3) tussa ebirowoozo ku bintu ebirungi, ne (4) tubaako ebintu bye tukolera abalala. b Kati ka tulabe engeri abamu ku bakkiriza bannaffe gye baganyuddwa mu kukolera ku bintu ebyo.
9. Muganda waffe omu ne mwannyinaffe abaali basindikiddwa okuweereza ng’abaminsani, baasobola batya okugumira ebigezo bye baali batasuubira?
9 Kiriza nti ebintu bikyuse. Emanuele ne Francesca baasindikibwa okuweereza ng’abaminsani mu nsi endala. Bwe baali baakatandika okuyiga olulimi olulala era n’okumanyiira ekibiina ekipya kye baali bagenzeemu, ekirwadde kya COVID-19 kyabalukawo ne baba nga balina okweyawula ku balala. Mu kiseera ekyo maama wa Francesca yafa. Francesca yali ayagala nnyo okugenda okubeera awamu n’ab’ewaabwe, naye olw’ekirwadde yali tasobola kugenda. Yasobola atya kugumira embeera eyo eyali enzibu ennyo? Okusookera ddala, Emanuele ne Francesca baasabanga Yakuwa buli lunaku abayambe okugumira ebizibu by’olunaku olwo era baleme okweraliikirira ekisukkiridde. Yakuwa yaddamu okusaba kwabwe ng’ayitira mu kibiina kye. Ng’ekyokulabirako, bazzibwamu nnyo amaanyi ebigambo bino ow’oluganda omu bye yayogera mu vidiyo emu: “Gye tukoma okukkiriza amangu embeera eba ekyuse, gye tukoma okwanguwa okuddamu okufuna essanyu n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mbeera eyo.” c Eky’okubiri, baafuba okweyongera okukuguka mu kubuulira nga bakozesa essimu era baafuna n’omuyizi wa Bayibuli. Eky’okusatu, baasiima nnyo obuyambi obwabaweebwa ab’oluganda mu kitundu gye baali basindikiddwa. Buli lunaku okumala omwaka mulamba, mwannyinaffe omu yabasindikiranga mesegi eyalingamu ekyawandiikibwa. Naffe bwe tukkiriza embeera eziba zikyuse, tufuna essanyu mu ebyo bye tuba tusobola okukola.
10. Mwannyinaffe omu yatuukagana atya n’enkyukakyuka ey’amaanyi eyajjawo mu bulamu bwe?
10 Ebirowoozo byo bisse ku bintu by’osobola okukola mu mbeera eba ezzeewo ne ku bintu ebirungi. Mwannyinaffe Christina enzaalwa y’omu Romania, naye ng’abeera mu Japan, yawulira bubi ekibiina eky’Olungereza kye yali akuŋŋaaniramu bwe kyaggibwawo. Kyokka ebirowoozo bye teyabimalira ku ekyo ekyali kibaddewo. Mu kifo ky’ekyo, yagenda mu kibiina ekyogera Olujapani era n’afuba okubuulira mu Lujapani. Yasaba omukyala omu edda gwe yakolanga naye okumuyamba okweyongera okuyiga Olujapani. Omukyala oyo yakkiriza okuyigiriza Christina Olujapani ng’akozesa Bayibuli ne brocuwa Nnyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Christina yeeyongera okuyiga Olujapani, naye n’ekisinga obukulu, omukyala oyo naye yayagala okuyiga ebisingawo ku mazima agali mu Bayibuli. Bwe tussa ebirowoozo ku ebyo bye tuba tusobola okukola era ne ku bintu ebirungi, tusobola okufuna emikisa gye tubadde tutasuubira mu nkyukakyuka eba ezzeewo.
11. Ow’oluganda omu ne mwannyinaffe baagumira batya ekizibu ky’eby’enfuna kye baayolekagana nakyo?
11 Baako by’okolera abalala. Ow’oluganda omu ne mukyala we ababeera mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa, baatandika okuzibuwalirwa okufuna ssente ez’okweyimirizaawo embeera y’eby’enfuna mu nsi eyo bwe yadobonkana. Baasobola batya okutuukana n’embeera eyo? Ekisooka, baakendeeza ku nsaasaanya yaabwe. Ate era mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku bizibu byabwe, baasalawo okubissa ku ngeri gye baali bayinza okuyambamu abalala, nga beenyigira mu mulimu gw’okubuulira. (Bik. 20:35) Ow’oluganda agamba nti: “Olw’okuba twamalanga ebiseera bingi nga tubuulira, tetwabanga na biseera bingi kulowooza ku bizibu byaffe, wabula ebiseera byaffe twabimaliranga ku kukola Katonda by’ayagala.” Embeera zaffe bwe zikyuka, tusaanidde okukijjukira nti kikulu okweyongera okuyamba abalala, naddala nga tubabuulira amawulire amalungi.
12. Ekyokulabirako omutume Pawulo kye yassaawo kiyinza kitya okutuyamba okukyusakyusa mu ngeri gye tubuuliramu?
12 Nga tukola omulimu gw’okubuulira, tusaanidde okuba abeetegefu okukyusakyusaamu. Abantu be tubuulira balina endowooza za njawulo ku Katonda, bava mu bitundu bya njawulo, era ba buwangwa bwa njawulo. Omutume Pawulo yali akyusakyusaamu okusobola okutuukagana n’abantu be yali abuulira, era tusobola okumukoppa. Yesu yalonda Pawulo okuba “omutume eri amawanga.” (Bar. 11:13) Ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa obwo, Pawulo yabuulira Abayudaaya, Abayonaani, abayivu, abantu aba bulijjo, abakungu, ne bakabaka. Okusobola okutuuka ku mitima gy’abantu abo ab’ebiti eby’enjawulo, Pawulo yafuuka “byonna eri abantu aba buli ngeri.” (1 Kol. 9:19-23) Yalowoozanga ku buwangwa bw’abantu, embeera gye baakuliramu, n’ebyo bye baali bakkiririzaamu, n’asobola okukyusakyusa mu ngeri gye yababuulirangamu. Naffe tusobola okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu bwe tuba abeetegefu okukyusakyusaamu era ne tulowooza ku ngeri esingayo obulungi gye tuyinza okuyambamu buli muntu.
SSA EKITIIBWA MU NDOWOOZA Z’ABALALA
13. Kintu ki ekibi ekyogerwako mu 1 Abakkolinso 8:9 kye tusobola okwewala bwe tuba nga tussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala?
13 Bwe tutaba bakakanyavu era kituyamba okussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala. Ng’ekyokulabirako, abamu ku bannyinnaffe baagala okwekolako ate abalala tebaagala. Abakristaayo abamu baagala okunywa omwenge ogw’ekigero, ate abalala tebagukomberako ddala. Abakristaayo bonna baagala okuba abalamu obulungi, naye balondawo enzijanjaba za njawulo. Bwe tuba nga tulowooza nti buli kiseera ffe batuufu era ne tugezaako okukakaatika endowooza zaffe ku bakkiriza bannaffe, tuyinza okubaako be twesittaza oba okuleetawo enjawukana mu kibiina. Kya lwatu, ekyo tetwandyagadde kukikola! (Soma 1 Abakkolinso 8:9; 10:23, 24) Kati ka tulabeyo ebyokulabirako bibiri ebiraga engeri okukolera ku misingi gya Bayibuli gye kisobola okutuyamba okuba n’endowooza etagudde lubege era n’okukuuma emirembe mu kibiina.
14. Misingi ki gye tusaanidde okulowoozaako nga tusalawo engeri gye tunaayambalamu n’engeri gye tuneekolako?
14 Ennyambala n’okwekolako. Mu kifo ky’okutuwa olukalala lw’amateeka agakwata ku ngeri gye tulina okwambalamu, Yakuwa yatuwa emisingi gye tusaanidde okugoberera. Tusaanidde okwambala mu ngeri esaana, eweesa Katonda ekitiibwa, era ‘eraga nti tuli beegendereza.’ (1 Tim. 2:9, 10; 1 Peet. 3:3) N’olwekyo, tulina okwewala okwambala mu ngeri ereetera abalala okutussaako ebirowoozo. Ate era emisingi gya Bayibuli giyamba abakadde okwewala okussaawo amateeka agaabwe ku bwabwe agakwata ku nnyambala ne ku misono gy’enviiri. Ng’ekyokulabirako, abakadde mu kibiina ekimu baali baagala okuyamba abavubuka abaali bakoppye omusono gw’enviiri ogwali gukyase mu kitundu ekyo, nga basala enviiri zaabwe ne ziba nnyimpi naye nga ziba ntaankuufu. Abakadde bandisobodde batya okuyamba abavubuka abo awatali kubateerawo mateeka? Omulabirizi w’ekitundu yawa abakadde amagezi okugamba ab’oluganda abo nti, “Bw’oba ku pulatifoomu abakuwuliriza ne baba ng’ebirowoozo babimalira ku ngeri gy’olabikamu so si ku ebyo by’oyogera, kiba kiraga nti waliwo obuzibu ku ngeri gy’oyambaddemu oba engeri gy’oba weekozeeko.” Ekyo kyayamba abavubuka abo okumanya kye baali basaanidde okukola era n’abakadde obutabateerawo tteeka lyabwe ku bwabwe. d
15. Mateeka ki mu Bayibuli era misingi ki gye tusaanidde okulowoozaako nga tusalawo ebikwata ku bujjanjabi? (Abaruumi 14:5)
15 Obujjanjabi. Buli Mukristaayo asaanidde okwesalirawo bujjanjabi ki bw’anaakozesa. (Bag. 6:5) Abakristaayo bwe baba basalawo obujjanjabi bwe banaakozesa, bagondera etteeka lya Bayibuli erikwata ku kwewala omusaayi n’okwewala eby’obusamize. (Bik. 15:20; Bag. 5:19, 20) Omukristaayo asobola okweronderawo obujjanjabi bwonna bw’aba ayagadde kasita buba nga tebumenya mateeka ago. Abakristaayo abamu bakozesa bujjanjabi obwo bwokka obubaweebwa abasawo mu malwaliro, ate abalala bakozesa obujjanjabi obw’engeri endala. Ka tube nga tuwulira nti obujjanjabi obw’ekika ekimu bulungi nnyo, tusaanidde okussa ekitiibwa mu ddembe lya baganda baffe ery’okwesalirawo bujjanjabi ki bwe banaakozesa. Ku nsonga eyo, tusaanidde okujjukira bino wammanga: (1) Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalirawo ddala endwadde. (Is. 33:24) (2) Buli Mukristaayo alina ‘okwekakasiza’ ku lulwe ekyo ky’atwala nti kye kisinga obulungi gy’ali. (Soma Abaruumi 14:5.) (3) Tetulina kusalira balala musango olw’ebyo bye baba basazeewo, era tetulina kukola kintu kyonna kiyinza kubeesittaza. (Bar. 14:13) (4) Abakristaayo balaga abalala okwagala, era bakitwala nti obumu mu kibiina bukulu nnyo okusinga endowooza zaabwe. (Bar. 14:15, 19, 20) Bwe tukuumira ebintu ebyo mu birowoozo, kituyamba okuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza bannaffe, era kiyamba ekibiina okuba mu mirembe.
16. Omukadde akyoleka atya nti si mukakanyavu mu ngeri gy’akolaganamu ne bakadde banne? (Laba n’ebifaananyi.)
16 Abakadde basaanidde okussaawo ekyokulabirako ekirungi mu butaba bakakanyavu. (1 Tim. 3:2, 3) Ng’ekyokulabirako, omukadde tasaanidde kukitwala nti endowooza ye bulijjo erina okukkirizibwa olw’okuba y’asinga abakadde abalala obukulu. Alina okukimanya nti omwoyo omutukuvu gusobola okuleetera omukadde yenna okwogera ekintu ekisobola okuyamba abakadde okusalawo obulungi. Era bwe watabaawo musingi gwa Bayibuli gumenyeddwa, omukadde atali mukakanyavu awagira ekyo ekiba kisaliddwawo abasinga obungi ku kakiiko k’abakadde, ne bwe kiba nti abadde alina ndowooza ya njawulo.
EMIKISA EGIVA MU BUTABA BAKAKANYAVU
17. Miganyulo ki Abakristaayo gye bafuna olw’obutaba bakakanyavu?
17 Bwe tutaba bakakanyavu, tuganyulwa mu ngeri nnyingi. Tuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza bannaffe, era ekibiina kibaamu emirembe. Tufuna essanyu mu kuweerereza awamu ne bakkiriza bannaffe abalina engeri ez’enjawulo era ab’obuwangwa obw’enjawulo. N’ekisinga obukulu, tufuna essanyu okukimanya nti tukoppa Kitaffe Yakuwa, Katonda atali mukakanyavu.
OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi
a Yakuwa ne Yesu si bakakanyavu, era baagala naffe tuleme kuba bakakanyavu. Bwe tutaba bakakanyavu, kitubeerera kyangu okutuukana n’embeera ezikyuka mu bulamu bwaffe, gamba nga tulwadde oba ng’eby’enfuna bigootaanye. Ate era bwe tutaba bakakanyavu, tuyambako mu kuleetawo emirembe n’obumu mu kibiina.
b Laba ekitundu, “Ky’Oyinza Okukola nga Wazzeewo Enkyukakyuka,” mu Zuukuka! Na. 4 2016.
c Laba vidiyo Okubuuza Ebibuuzo ow’Oluganda Dmitriy Mikhaylov, ekwatagana n’ekitundu “Okuyigganyizibwa Kwavaamu Akakisa ak’Okuwa Obujulirwa,” ekyafulumira mu Akatabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe aka Maaki-Apuli 2021.
d Okumanya ebisingawo ebikwata ku nnyambala n’okwekolako, laba essomo 52 mu kitabo Nnyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!