EKITUNDU EKY’OKUSOMA 31
‘Nnywera, Tosagaasagana’
“Baganda bange abaagalwa, munywere, temusagaasagana.”—1 KOL. 15:58.
OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!
OMULAMWA a
1-2. Mu ngeri ki Omukristaayo gy’ayinza okuba ng’ekizimbe ekiwanvu? (1 Abakkolinso 15:58)
MU MWAKA gwa 1978, ekizimbe ekiwanvu ennyo kyazimbibwa mu kibuga Tokyo, mu Japan. Abantu beebuuza obanga ekizimbe ekyo kyandisobodde okugumira musisi atera okuyita mu kibuga ekyo. Kiki abazimbi kye baakola okukakasa nti ekizimbe ekyo tekisuulibwa musisi? Baakizimba nga kigumu era nga kisobola okwewetamu katono nga musisi ayita, ne kiba nti kisigala kinywevu. Abakristaayo nabo balinga ekizimbe ekyo. Mu ngeri ki?
2 Omukristaayo alina okuba n’endowooza etagudde lubege bwe kituuka ku kuba omunywevu, n’okukyuka we kyetaagisa. Alina okuba omunywevu era nga tasagaasagana bwe kituuka kukukolera ku mateeka ga Yakuwa n’okutambulira ku mitindo gye. (Soma 1 Abakkolinso 15:58.) Alina okuba ‘omuwulize’ era nga teyekkiriranya. Ku luuyi olulala, tasaanidde kuba ‘mukakanyavu,’ kwe kugamba, alina okuba omwetegefu okukyusaamu bwe kiba nga kyetaagisa. (Yak. 3:17) Omukristaayo alina endowooza eyo etagudde lubege, takalambira ku mateeka, ate mu kiseera kye kimu teyekkiriranya bwe kituuka ku kukola ebintu ebikyamu. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tusobola okuba abanywevu nga tetusagaasagana. Ate era tugenda kulaba ebintu bitaano Sitaani by’akozesa okugezaako okukifuula ekizibu gye tuli okugondera Yakuwa, n’engeri gye tuyinza okumuziyizaamu.
TUYINZA TUTYA OKUBA ABANYWEVU?
3. Mateeka ki Yakuwa, Omuwi w’Amateeka ow’Oku Ntikko, ge yawa mu Ebikolwa 15:28, 29?
3 Olw’okuba Yakuwa ye Muwi w’Amateeka ow’Oku Ntikko, bulijjo azze awa abantu be amateeka agategeerekeka obulungi. (Is. 33:22) Ng’ekyokulabirako, akakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka, kaalaga ebintu bino bisatu ebyandiyambye Abakristaayo okusigala nga banywevu: (1) okwewala okusinza ebifaananyi, (2) okutwala omusaayi nga mutukuvu, era (3) n’okunywerera ku mitindo gya Bayibuli egy’empisa. (Soma Ebikolwa 15:28, 29.) Abakristaayo leero bayinza batya okukiraga nti bagondera Yakuwa mu bintu ebyo ebisatu?
4. Tukiraga tutya nti tusinza Yakuwa yekka? (Okubikkulirwa 4:11)
4 Twewala okusinza ebifaananyi era tusinza Yakuwa yekka. Yakuwa yalagira Abayisirayiri okuba nga basinza ye yekka. (Ma. 5:6-10) Ate era Yesu bwe yali akemebwa Omulyolyomi, yakyoleka bulungi nti Yakuwa yekka y’alina okusinzibwa. (Mat. 4:8-10) N’olwekyo tetusinza bifaananyi. Ate era tetusinza bantu, ka babe abakulembeze b’amadiini, bannabyabufuzi, oba abantu abatutumufu mu nsi, gamba nga bannabyamizannyo oba bannakatemba. Mu kifo ky’ekyo, tunywerera ku Yakuwa era tusinza oyo yekka ‘eyatonda ebintu byonna.’—Soma Okubikkulirwa 4:11.
5. Lwaki tugondera etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi?
5 Tussa ekitiibwa mu tteeka lya Katonda erikwata ku musaayi. Lwaki? Kubanga Yakuwa agamba nti omusaayi gukiikirira bulamu, ekirabo eky’omuwendo ennyo kye yatuwa. (Leev. 17:14) Yakuwa lwe yasooka okukkiriza abantu okulya ennyama y’ebisolo, yabalagira obutalya musaayi. (Lub. 9:4) Ekiragiro ekyo yakiddamu mu Mateeka ge yawa Abayisirayiri. (Leev. 17:10) Era yawa obulagirizi akakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka, okulagira Abakristaayo bonna “okwewalanga . . . omusaayi.” (Bik. 15:28, 29) Tugondera ekiragiro ekyo bwe tuba nga tusalawo bujjanjabi ki bwe tunaafuna. b
6. Kiki kye tulina okukola okusobola okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa?
6 Tunywerera ku mitindo gya Yakuwa egya waggulu egikwata ku mpisa. (Beb. 13:4) Omutume Pawulo yatukubiriza ‘okufiisa’ ebitundu byaffe eby’omubiri. Kino kitegeeza nti tulina okukola kyonna kye tusobola okweggyamu okwegomba kwonna okubi okuyinza okutujjira. Tulina okwewala okutunuulira oba okukola ekintu kyonna ekiyinza okutuviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Bak. 3:5; Yob. 31:1) Bwe tukemebwa, tulina okweggyamu mu bwangu ekirowoozo kyonna oba okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okutuleetera okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.
7. Tusaanidde kuba bamalirivu ku ki, era lwaki?
7 Yakuwa atusuubira okuba abawulize “okuva mu mitima.” (Bar. 6:17) Byonna by’atulagira biganyula ffe, era tetusobola kukyusa mateeka ge. (Is. 48:17, 18; 1 Kol. 6:9, 10) Tufuba okusanyusa Yakuwa, era naffe tulina endowooza y’emu ng’ey’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Mmaliridde okukwata amateeka go.” (Zab. 119:112) Kyokka Sitaani agezaako nnyo okukifuula ekizibu gye tuli okugondera Yakuwa. Bukodyo ki bw’akozesa?
SITAANI AGEZAAKO ATYA OKUTULEMESA OKUGONDERA YAKUWA?
8. Sitaani akozesa atya okuyigganyizibwa ng’agezaako okutulemesa okugondera Yakuwa?
8 Okuyigganyizibwa. Sitaani akozesa ebikolwa eby’obukambwe n’okupikirizibwa ng’agezaako okutulemesa okugondera Yakuwa. Ayagala ‘kutulya,’ kwe kugamba, ayagala tufiirwe enkolagana yaffe ne Yakuwa. (1 Peet. 5:8) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baatiisibwatiisibwa, baakubibwa, era abamu battibwa olw’okuba baali bamalirivu okugondera Yakuwa. (Bik. 5:27, 28, 40; 7:54-60) Ne leero Sitaani akyeyongera okukozesa okuyigganyizibwa. Kino tukirabira ku ngeri embi ennyo abo abatatwagala gye bayisaamu baganda baffe mu Russia ne mu nsi endala.
9. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Sitaani gy’ayinza okutupikiriza mu ngeri enneekusifu.
9 Okupikirizibwa mu ngeri enneekusifu. Ng’oggyeeko okutulumba obutereevu, Sitaani akozesa obukodyo obwekusifu. (Bef. 6:11) Lowooza ku w’Oluganda Bob eyaweebwa ekitanda ng’alina okulongoosebwa. Yategeeza abasawo nti k’ebeere mbeera ki, yali takkiriza kuteekebwako musaayi. Omusawo eyali agenda okumukolako yakkiriza nti yali ajja kumulongoosa nga tamutaddeeko musaayi. Naye ekiro nga tannaba kulongoosebwa, omusawo eyali agenda okumusirisa yajja n’ayogerako naye ng’ab’eŋŋanda ze bamaze okugenda. Yagamba Bob nti baali tebajja kumuteekako musaayi, naye nti baali bajja kuguleeta gubeere awo kumpi basobole okugukozesa singa embeera y’andikyuse ne kiba nga kyetaagisa okugumuteekako. Oboolyawo omusawo oyo yalowooza nti Bob yali ajja kwekkiriranya singa ayogera naye ng’ab’eŋŋanda ze tebaliiwo. Kyokka Bob yanywerera ku ekyo kye yali asazeewo, era n’ayongera okukiggumiza k’ebeere mbeera ki yali takkiriza kuteekebwako musaayi.
10. Lwaki kya bulabe okutwalirizibwa endowooza z’abantu? (1 Abakkolinso 3:19, 20)
10 Endowooza z’abantu abataweereza Yakuwa. Bwe tutandika okulowooza ng’abantu abatagoberera mitindo gya Yakuwa, naffe tuyinza okulekera awo okugigoberera. (Soma 1 Abakkolinso 3:19, 20.) “Amagezi g’ensi eno” emirundi mingi galeetera abantu okujeemera Katonda. Abamu ku Bakristaayo mu Perugamo ne Suwatira baatwalirizibwa endowooza z’abantu abaali mu bibuga ebyo abaali basinza ebifaananyi era abaali abagwenyufu. Yesu yanenya nnyo Abakristaayo mu bibiina ebyo olw’okugumiikiriza abo abaali beenyigira mu bikolwa ebyo. (Kub. 2:14, 20) Leero abantu abatwetoolodde bayinza okugezaako okutuleetera okutwalirizibwa endowooza enkyamu. Ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe bayinza okugezaako okutukakasa nti ekibiina kyaffe kikugira nnyo, era nti si kikyamu okumenya amateeka ga Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, bayinza okutugamba nti si kikyamu okukolera ku kwegomba kwaffe, era nti emitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa gyava dda ku mulembe.
11. Nga tufuba okugondera Yakuwa, kiki kye tulina okwewala?
11 Oluusi tuyinza okulowooza nti obulagirizi Yakuwa bw’atuwa tebumala. Tuyinza n’okugezaako ‘okusukka ku bintu ebyawandiikibwa.’ (1 Kol. 4:6) Ekyo kyennyini abakulembeze b’eddiini mu kiseera kya Yesu kye baakola, ne baba nga baliko omusango mu maaso ga Katonda. Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri baagongeramu amateeka agaabwe ku bwabwe ne kiviirako abantu okukaluubirirwa okukwata Amateeka ago. (Mat. 23:4) Yakuwa atuwa obulagirizi obutegeerekeka obulungi ng’ayitira mu Kigambo kye ne mu kibiina kye. Tewali nsonga yonna etuleetera kwongera ku bulagirizi obwo bw’atuwa. (Nge. 3:5-7) N’olwekyo, tetusaanidde kusukka ku bintu ebyawandiikibwa mu Bayibuli, oba okuteerawo bakkiriza bannaffe amateeka agaffe ku bwaffe ku bintu omuntu by’alina okwesalirawo kinnoomu.
12. Sitaani akozesa atya ‘eby’obulimba ebitaliimu’?
12 Obulimba. Sitaani akozesa ‘eby’obulimba ebitaliimu,’ “n’ebintu eby’omu nsi ebisookerwako,” okubuzaabuza abantu n’okubaleetera okuba n’enjawukana. (Bak. 2:8) Mu kyasa ekyasooka, eby’obulimba ebitaliimu n’ebintu by’omu nsi ebisookerwako byali bizingiramu obufirosoofo obwesigamiziddwa ku ndowooza z’abantu, enjigiriza z’Abayudaaya ezitaali za mu Byawandiikibwa, n’enjigiriza eyali egamba nti Abakristaayo balina okukwata Amateeka ga Musa. Ebintu ebyo byali bya bulimba kubanga byali biremesa abantu okuwuliriza Yakuwa Katonda, Ensibuko y’amagezi. Leero Sitaani akozesa emikutu gy’empuliziganya n’emikutu emigatta bantu okusaasaanya ebintu eby’obulimba, era ng’emirundi mingi obulimba obwo buva eri bannabyabufuzi. Obulimba obw’engeri eyo bwasaasaanyizibwa nnyo mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19. c Abantu abaawuliriza obulimba obwo baafuna okweraliikirira okw’amaanyi, naye Abajulirwa ba Yakuwa abaali bawuliriza obulagirizi obwali butuweebwa ekibiina, baawona okweraliikirira okwo.—Mat. 24:45.
13. Lwaki tusaanidde okwekuuma ebintu ebiwugula?
13 Ebintu ebiwugula. Tetusaanidde kwerabira “ebintu ebisinga obukulu.” (Baf. 1:9, 10) Ebintu ebituwugula biyinza okututwalako ebiseera byaffe, era biyinza okutulemesa okussa ebirowoozo ku bintu ebisinga obukulu. Ebintu ebya bulijjo gamba ng’okulya, okunywa, okwesanyusaamu, n’emirimu gye tukola okweyimirizaawo, biyinza okutuwugula singa bye tutwala ng’ebisinga obukulu. (Luk. 21:34, 35) Ate era buli lunaku tuwulira oba tusoma ku bukuubagano obuli mu nsi, ne ku bantu ababa bakubaganya ebirowoozo ku by’obufuzi. Tetulina kukkiriza kutwalirizibwa ndowooza z’abantu ng’abo, kubanga tuyinza okwesanga nga mu mitima gyaffe tuliko oludda lwe tuwagira. Sitaani akozesa ebintu ebyo waggulu ng’alina ekigendererwa eky’okutuleetera okulekera awo okunywerera ku kituufu. Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okuziyiza enkwe ze tusobole okusigala nga tunyweredde ku Yakuwa.
TUYINZA TUTYA OKUSIGALA NGA TULI BANYWEVU?
14. Ekimu ku bintu ebisobola okutuyamba okunywerera ku ludda lwa Yakuwa kye kiruwa?
14 Fumiitiriza ku nsonga lwaki weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa. Weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa olw’okuba wali oyagala kubeera ku ludda lwe. Lowooza ku ekyo ekyakuleetera okuba omukakafu nti wali ozudde amazima. Wayiga amazima agakwata ku Yakuwa, n’otandika okumussaamu ekitiibwa era n’okumwagala ennyo. Okukkiriza kwo kweyongera era ne kikuleetera okwenenya. Walekera awo okwenyigira mu bintu ebimenya Amateeka ga Yakuwa, era n’otandika okukola by’ayagala. Wawulira obuweerero bwa maanyi bwe wakitegeera nti Katonda yali akusonyiye. (Zab. 32:1, 2) Watandika okubangawo mu nkuŋŋaana, era n’otandika n’okubuulirako abalala ebintu ebirungi bye wali oyiga. Kati nga wamala okwewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa, otambulira mu kkubo erijja okukutuusa mu bulamu, era oli mumalirivu obutalivaamu.—Mat. 7:13, 14.
15. Lwaki kikulu nnyo okwesomesa n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda?
15 Soma Ekigambo kya Katonda era okifumiitirizengako. Ng’omuti bwe gusobola okuba omunywevu bwe guba nga gulina emirandira egikka wansi, naffe tusobola okusigala nga tuli banywevu bwe tuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Omuti bwe gugenda gweyongera okukula, emirandira gyagwo nagyo gyeyongera okukka wansi era gyeyongera n’okusaasaana. Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tukifumiitirizaako, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera era tweyongera okuba abakakafu nti amakubo ga Yakuwa ge gasingayo obulungi. (Bak. 2:6, 7) Lowooza ku ngeri amateeka ga Yakuwa, obulagirizi bwe, awamu n’obukuumi bw’awa, gye byayambamu abaweereza be mu biseera eby’edda. Ng’ekyokulabirako, mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, yassaayo omwoyo ng’atunuulira malayika eyali apima yeekaalu. Okwolesebwa okwo kwanyweza nnyo okukkiriza kwe, era naffe tulina ebintu ebikulu bye tukuyigirako ku ngeri gye tusobola okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egikwata ku kusinza okulongoofu. d (Ezk. 40:1-4; 43:10-12) Naffe tuganyulwa nnyo bwe tuwaayo ekiseera okwesomesa n’okufumiitiriza ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda.
16. Okuba n’omutima omunywevu kyakuuma kitya Bob? (Zabbuli 112:7)
16 Nnyweza omutima gwo. Kabaka Dawudi yakyoleka nti okwagala kwe yalina eri Yakuwa kwali kwa maanyi nnyo bwe yagamba nti: “Omutima gwange munywevu, Ai Katonda.” (Zab. 57:7) Naffe tusobola okuba n’omutima omunywevu, nga twesigira ddala Yakuwa. (Soma Zabbuli 112:7.) Lowooza ku ngeri ekyo gye kyayamba Bob ayogeddwako waggulu. Bwe baamugamba nti baali bajja kuteeka awo omusaayi kumpi gukozesebwe singa kyali kyetaagisa, mangu ddala yabagamba nti bwe kiba nti baalina ekirowoozo kyonna eky’okumussaamu omusaayi, yali agenda kuva mu ddwaliro ekiro ekyo. Oluvannyuma Bob yagamba nti: “Saalina kulonzalonza kwonna, era nnali seeraliikirira kyali kiyinza kuntuukako.”
17. Kiki kye tuyigira ku Bob? (Laba n’ekifaananyi.)
17 Bob yali munywevu olw’okuba yali yasalawo dda okunywerera ku mateeka ga Yakuwa nga tannaba na kujja mu ddwaliro. Okusookera ddala, yali ayagala okusanyusa Yakuwa. Eky’okubiri, yeekenneenya ekyo Bayibuli n’ebitabo byaffe ebyesigamiziddwa ku Bayibuli kye byogera ku musaayi. Eky’okusatu, yali mukakafu nti okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa kivaamu emiganyulo egy’olubeerera. Naffe tusobola okuba n’omutima omunywevu ka tube nga twolekaganye na kigezo ki.
18. Ebyo bye tusoma ku Balaka bituyigiriza ki ku bikwata ku kwesiga Yakuwa? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
18 Weesige Yakuwa. Lowooza ku ngeri okwesiga obulagirizi bwa Yakuwa gye kyayamba Balaka okutuuka ku buwanguzi. Wadde nga mu Isirayiri yonna mwali temukyalimu ffumu na limu wadde engabo, Yakuwa yalagira Balaka okugenda okulwanyisa eggye ly’Abakanani eryali liduumirwa Sisera, eryalina eby’okulwanyisa eby’amaanyi. (Balam. 5:8) Nnabbi omukazi eyali ayitibwa Debola, yagamba Balaka okugenda mu kiwonvu okusisinkana Sisera eyalina amagaali ag’olutalo 900. Wadde nga mu kiwonvu Abayisirayiri kyandibabeeredde kizibu okulwana n’Abakanani abaalina amagaali agadduka ennyo, Balaka yakolera ku bulagirizi obwamuweebwa. Abalwanyi bwe baali baserengeta nga bava ku Lusozi Taboli, Yakuwa yatonnyesa nnamutikwa w’enkuba. Amagaali ga Sisera gaatubira mu bisooto, era Yakuwa n’asobozesa Balaka okuwangula olutalo olwo. (Balam. 4:1-7, 10, 13-16) Naffe Yakuwa ajja kutusobozesa okutuuka ku buwanguzi, singa tumwesiga era ne twesiga n’obulagirizi bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye.—Ma. 31:6.
BA MUMALIRIVU OKUSIGALA NG’OLI MUNYWEVU
19. Lwaki omaliridde okusigala ng’oli munywevu?
19 Nga tukyali mu nteekateeka y’ebintu eno, kijja kutwetaagisa okweyongera okufuba ennyo okusigala nga tuli banywevu. (1 Tim. 6:11, 12; 2 Peet. 3:17) Ka tube bamalirivu obutasuukundibwa kuyigganyizibwa, kupikirizibwa mu ngeri enneekusifu, endowooza z’abantu abataweereza Yakuwa, obulimba, n’ebintu ebiwugula. (Bef. 4:14) Mu kifo ky’ekyo, ka tusigale nga tuli banywevu nga tetusagaasagana, era bulijjo tweyongere okugondera Yakuwa n’okumwagala. Ate era tusaanidde okwewala okuba abakakanyavu. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri Yakuwa ne Yesu gye batuteereddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu butaba bakakanyavu.
OLUYIMBA 129 Tujja Kweyongera Okugumiikiriza
a Okuviira ddala mu kiseera kya Adamu ne Kaawa, Sitaani azze aleetera abantu okulowooza nti be balina okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu. Bw’atyo naffe bw’ayagala tulowooze ku mateeka ga Yakuwa n’obulagirizi obutuweebwa ekibiina kye. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okwewala endowooza ya kyetwala eri mu nsi ya Sitaani, ate era kigenda kutuyamba okuba abamalirivu okugondera Yakuwa.
b Okumanya ebisingawo ku ngeri Omukristaayo gy’asaanidde okussa ekitiibwa mu tteeka lya Yakuwa erikwata ku musaayi, laba essomo 39 mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!
c Laba ekitundu “Protect Yourself From Misinformation” (Weekuume Obubaka Obubuzaabuza) ekiri ku jw.org.
d Okumanya ebisingawo, laba essuula 13 ne 14 ez’ekitabo Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!