Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Okufaayo ku Balala Kivaamu Emiganyulo Mingi

Okufaayo ku Balala Kivaamu Emiganyulo Mingi

Nga ndi ne maama wange ne mwannyinaze, Pat, mu 1948

“ABAPOLOTESITANTE tebayigiriza mazima. Fuba okuganoonya.” Oluvannyuma lwa jjajja wange eyali Omupolotesitante okwogera ebigambo ebyo, maama yatandika okunoonya eddiini ey’amazima. Kyokka yali tayagala kwogera na Bajulirwa ba Yakuwa, era yaŋŋamba nneekwekenga buli lwe bajjanga awaka mu Toronto, Canada. Kyokka muto maama wange bwe yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa mu 1950, maama yamwegattako. Baayigiranga wa maama wange oyo omuto, era oluvannyuma bombi baabatizibwa.

Olw’okuba taata yali mukadde mu kkanisa ey’omu kitundu mwe twabeeranga, buli lwa Ssande nze ne mwannyinaze yatusindikanga ku kkanisa mu kusaba kw’abaana okwabangawo ku makya, ate oluvannyuma twamwegattangako mu kusaba okwawamu okwabangawo ku ssaawa ttaano. Kyokka ate mu ttuntu twagendanga ne maama ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Kyali kyangu gye tuli okulaba enjawulo eyaliwo wakati w’Abajulirwa ba Yakuwa n’Abapolotesitante.

Mu 1958 lwe nnagenda ku lukuŋŋaana olunene n’ab’omu maka ga Hutcheson

Ebyo maama bye yayiga mu Bayibuli yabibuulirako mikwano gye, Bob ne Marion Hutcheson, era nabo bakkiriza okuyiga amazima ne bafuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Mu 1958, ow’Oluganda Hutcheson ne mukyala we, bantwala nze awamu ne batabani baabwe abasatu mu kibuga New York ku lukuŋŋaana olw’ennaku omunaana olwaliko ab’oluganda okuva mu nsi ez’enjawulo olwalina omutwe, “Divine Will International Assembly.” Kati nkiraba nti ow’oluganda oyo ne mukyala we beefiiriza nnyo okusobola okuntwala, era olukuŋŋaana olwo kye kimu ku bintu ebikulu ebibaddewo mu bulamu bwange.

OKUFAAYO AB’OLUGANDA KWE BANDAGA KWANNYAMBA OKUGAZIYA KU BUWEEREZA BWANGE

Mu myaka gyange egy’obutiini, twali tubeera ku faamu, era nnanyumirwanga nnyo okulabirira ensolo. Ekyo kyandeetera okwagala okuba omusawo w’ebisolo. Ekyo maama yakitegeezaako omukadde omu mu kibiina. Omukadde oyo yayogerako nange mu ngeri ey’ekisa, n’anzijukiza nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero,” era n’annyamba okulowooza ku ngeri eky’okumala emyaka egiwera ku yunivasite gye kyandikutte ku nkolagana yange ne Yakuwa. (2 Tim. 3:1) Bwe kityo nnasalawo obutagenda ku yunivasite.

Nnali nkyebuuza kye nnandikoze nga mmaze okusoma siniya. Wadde nga nneenyigiranga mu mulimu gw’okubuulira buli wiikendi, nnali sinyumirwa kubuulira era nnali ndowooza nti sisobola kuweereza nga payoniya. Mu kiseera ekyo taata wange ataali Mujulirwa wa Yakuwa, ne taata wange omuto, bankubiriza okufuna omulimu ogwali gunneetaagisa okukola ekiseera kyonna mu kampuni emu eya yinsuwa mu Toronto. Taata wange omuto yalina ekifo ekya waggulu mu kampuni eyo era bwe kityo nnakkiriza omulimu ogwo.

Bwe nnali mu Toronto, ebiseera byange ebisinga nnabimalanga nkola era nga mbeera wamu n’abantu abaali batasinza Yakuwa. Ekyo kyanviirako obuteenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’omwoyo. Mu kusooka nnalinga mbeera ne jjajja wange ataali Mujulirwa wa Yakuwa, naye bwe yafa, nnali nneetaaga ekifo ekirala aw’okubeera.

Ow’Oluganda Hutcheson ne mukyala we, abaali bantwala ku lukuŋŋaana olunene mu 1958, baali nga bazadde bange. Bampita ŋŋende mbeere nabo, era bannyamba okukula mu by’omwoyo. Mu 1960, nnabatizibwa awamu ne mutabani waabwe John. John yatandika okuweereza nga payoniya, era nange ekyo kyandeetera okwongera okugaziya ku buweereza bwange. Ab’oluganda mu kibiina baakiraba nti nnali nkuze mu by’omwoyo, era bannonda okukola ng’omuweereza w’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. a

NFUNA OMUBEEZI ANNYAMBA OKUFUUKA PAYONIYA

Ku lunaku lw’embaga yaffe mu 1966

Mu 1966, nnawasa Randi Berge eyali payoniya omunyiikivu era eyali ayagala okuweereza awali obwetaavu obusingako. Omulabirizi w’ekitundu yayogerako naffe n’atukubiriza okulowooza ku ky’okugenda okuyambako ekibiina ky’omu Orillia, Ontario. N’olwekyo, mangu ddala twasalawo okugenda.

Amangu ddala nga twakatuuka mu Orillia, nange nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Okuba nti Randi yali munyiikivu nnyo, kye kyandeetera nange okwagala okuweereza nga payoniya. Bwe nnafuba okulongoosa mu buweereza bwange, nnafuna essanyu eriva mu kukozesa Bayibuli, n’okuyamba abantu okugitegeera. Mu Orillia twayamba omwami omu ne mukyala we okukola enkyukakyuka ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa, era ekyo kyatuleetera essanyu lingi nnyo.

TUYIGA OLULIMI OLULALA ERA TUKYUSA MU NDOWOOZA YAFFE

Bwe twali tukyaddeko mu Toronto, nnasisinkana ow’Oluganda Arnold MacNamara, eyali omu ku b’oluganda abaali batwala obukulembeze ku Beseri. Yambuuza obanga twandyagadde okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Mangu ddala nnamuddamu nti: “Yee! Naye si mu Quebec!” Nnali ntwaliriziddwa endowooza etali nnungi abantu b’omu Canada aboogera Olungereza gye baalina ku kitundu ky’e Quebec abantu gye boogera Olufalansa. Mu kiseera ekyo, abantu b’omu Quebec baali beekalakaasa nga baagala okwekutula ku Canada.

Arnold yanziramu nti, “Mu kiseera kino Quebec ky’ekitundu kyokka ofiisi y’ettabi gy’esindika bapayoniya ab’enjawulo.” Mangu ddala nnakkiriza okugenda. Nnali nkimanyi nti Randi yali ayagala okugenda okuweereza mu kitundu ekyo. Oluvannyuma nnakiraba nti okukkiriza okugenda okuweereza e Quebec kye kimu ku bintu ebisingayo obulungi bye nnasalawo okukola!

Oluvannyuma lw’okumala wiiki ttaano nga tuyigirizibwa Olufalansa, nze ne Randi awamu n’ow’oluganda omulala ne mukyala we, twagenda e Rimouski ekiri mayiro nga 336 ebukiikakkono w’ekibuga Montreal. Twali tukyetaaga okweyongera okuyiga Olufalansa. Ekyo kyeyoleka lumu mu lukuŋŋaana bwe nnasoma ebirango. Mu kifo ky’okugamba nti olukuŋŋaana olunene lwe twali tugenda okubeera nalwo lwali lugenda kubaako “abagenyi bangi okuva mu nsi ya Austria,” nnakozesa ekigambo ekyali kitegeeza nti lwali lugenda kubaako “ebinyonyi bingi ebiyitibwa maaya.”

Ennyumba gye twabeerangamu nga tuli e Rimouski

Bwe twali mu Rimouski, nze ne Randi n’ow’oluganda ne mukyala we be twali tukola nabo, twegattibwako bannyinaffe bana abaali obwannamunigina, awamu n’ow’Oluganda Huberdeau ne mukyala we ne bawala baabwe ababiri. Ow’Oluganda Huberdeau ne mukyala we baali bapangisa ennyumba ennene eyalimu ebisenge ebisulwamu musanvu, era bapayoniya bonna abaali babeera mu nju eyo baali bayambako mu kusasula ssente ez’okugipangisa. Mu nnyumba eyo twateranga kubeeramu wakati w’abantu 12 ne 14. Olw’okuba nze ne Randi twali tuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo, era ng’emirundi mingi twabeeranga mu buweereza ku makya, mu ttuntu, n’akawungeezi, twasiimanga nnyo okuba nti tewaabulangawo mubuulizi eyatwegattangako mu buweereza, ka kibe mu biseera eby’obutiti akawungeezi.

Twafuna omukwano ogw’oku lusegere ne bapayoniya abo era bafuuka ng’ab’omu maka gaffe. Oluusi twatuulanga wamu akawungeezi nga twota omuliro, oba twabangawo n’olunaku lwe twafumbiranga awamu. Olw’okuba omu ku b’oluganda yali muyimbi, emirundi mingi ku Lwomukaaga akawungeezi twayimbanga era ne tuzina.

Ekitundu ky’e Rimouski kyavaamu ebibala bingi! Mu bbanga lya myaka etaano, twalaba abayizi ba Bayibuli abawerako nga bakulaakulana ne babatizibwa. Ababuulizi mu kibiina ekyo beeyongera ne bawerera ddala nga 35.

Mu Quebec, twafuna okutendekebwa okulungi ennyo mu mulimu gw’okubuulira. Twalaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu mu buweereza era n’okufuna ebyetaago byaffe. Twayiga okwagala abantu aboogera Olufalansa, okwagala olulimi lwabwe n’obuwangwa bwabwe, era ekyo kyatuyamba okwagala n’abantu ab’obuwangwa obulala.​—2 Kol. 6:13.

Nga tetukisuubira, ofiisi y’ettabi yatugamba okugenda mu kibuga Tracadie, ekyali ku lubalama olw’ebuvanjuba olw’essaza New Brunswick. Twawulira nga tusobeddwa olw’okuba twali twakamala okuzza obuggya endagaano y’ennyumba gye twapangisanga, era nga tulina n’endagaano ey’okukola ku kasomero we twasomesanga okumala essaawa ntono buli wiiki. Ng’oggyeeko ekyo, abamu ku bayizi baffe aba Bayibuli baali baakafuuka ababuulizi, ate era twali mu kuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka.

Wiikendi yonna twasaba Yakuwa ku ky’okugenda, era twagenda ne tukyalako ne mu kibuga Tracadie. Twakiraba nti kyali kya njawulo nnyo ku Rimouski. Naye twasalawo okugendayo okuva bwe kiri nti Yakuwa gye yali ayagala tugende. Twagezesa Yakuwa era twalaba engeri gye yatuggirawo emisanvu gyonna. (Mal. 3:10) Olw’okuba Randi muntu wa bya mwoyo, yeefiiriza, era atera okusaagasaaga, kya kifuula kyangu gye tuli okugenda.

Ekibiina kye twagendamu kyalimu omukadde omu yekka eyali ayitibwa Robert Ross. Yali aweereza mu kitundu ekyo nga payoniya awamu ne mukyala we Linda, era baasalawo okusigalayo oluvannyuma lw’okuzaala omwana waabwe asooka. Wadde nga baalina omwana omuto ow’okulabirira, baatuzzaamu nnyo amaanyi nze ne Randi olw’omwoyo gw’okusembeza abagenyi, n’olw’obunyiikivu n’obumalirivu bye baalina mu mulimu gw’okubuulira.

EMIKISA EGIVA MU KUWEEREZA YONNA GYE BATUSINDIKA

Mu kiseera ky’obutiti lwe twasooka okukyalira ebibiina

Oluvannyuma lw’okuweereza nga bapayoniya mu Tracadie okumala emyaka ebiri, twasabibwa okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina, era ekyo twali tetukisuubira. Twakyalira ebibiina ebyogera Olungereza okumala emyaka musanvu, oluvannyuma ne tusindikibwa mu Quebec okukyaliranga ebibiina ebyali byogera Olufalansa. Ow’Oluganda Léonce Crépeault, eyali omulabirizi wa disitulikiti mu Quebec, yansiimanga nnyo nga mmaze okuwa emboozi zange. Naye oluvannyuma yambuuzanga nti, “Oyinza otya okweyongera okulongoosamu?” b Okunfaako mu ngeri eyo kyannyamba okwongera okulongoosa mu ngeri gye mpaamu emboozi, ne zeeyongera okuba ennyangu okutegeera.

Obumu ku buvunaanyizibwa obwampeebwa bwe siyinza kwerabira, bwebwo bwe nnafuna mu 1978 ku lukuŋŋaana olunene olubaako ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo olwali mu kibuga Montreal olwalina omutwe, “Victorious Faith.” Nnakola mu kitongole kya mmere. Twali tusuubira abantu 80,000, era twali tuweereddwa enteekateeka empya ey’okubagabulamu. Buli kintu kyali kipya gye tuli: ebintu eby’okukozesa, emmere, n’engeri y’okugifumbamu. Twalina firiiji ennene nga 20, era ebiseera ebimu zaafunanga obuzibu ne ziba nga tezikola. Ng’ebula olunaku lumu olukuŋŋaana olwo lutandike, twali tetusobola na kuyingira mu kisaawe okutuukira ddala ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro olw’omuzannyo ogumu ogwaliyo. Twalina okussaako eky’enkya ng’obudde tebunnasaasaana! Twali bakoowu nnyo, naye nnayigira bingi ku b’oluganda be nnali nkola nabo abaali bakola n’obunyiikivu, abaali abakulu mu by’omwoyo, era abaali basaagamu. Twafuna omukwano ogw’oku lusegere ogukyaliwo n’okutuusa leero. Mazima ddala olukuŋŋaana olwo olwali mu Quebec, essaza omwali okuyigganyizibwa okw’amaanyi mu myaka gya 1940 ne 1950, lwali lwa byafaayo nnyo era twafuna essanyu lingi nnyo!

Nze ne Randi nga tuyambako mu kuteekateeka olukuŋŋaana olunene olwali mu Montreal mu 1985

Nnina bingi bye nnayigira ku balabirizi bannange ku nkuŋŋaana ennene ezaabanga mu Montreal. Waliwo omwaka ow’Oluganda David Splane, kati aweereza ku Kakiiko Akafuzi, bwe yali nga ye mulabirizi w’olukuŋŋaana olunene. Ku lukuŋŋaana olwaddako obuvunaanyizibwa obwo bwaweebwa nze. Ekyo David teyakifunamu buzibu bwonna, era yannyamba nnyo.

Oluvannyuma lw’okumala emyaka 36 nga tukola omulimu gw’okukyalira ebibiina, mu 2011 nnayitibwa okugenda okusomesa mu Ssomero ly’Abakadde b’Ekibiina. Mu bbanga lya myaka ebiri, nze ne Randi twasula mu buliri bwa mirundi 75. Wadde kyali kityo, twafuna essanyu lingi. Ku nkomerero ya buli wiiki, abakadde baasiimanga nnyo olw’okukiraba nti Akakiiko Akafuzi kaali kafaayo nnyo ku mbeera y’abakadde ey’eby’omwoyo.

Oluvannyuma nnayitibwa okusomesa mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Abayizi oluusi baawuliranga ng’eby’okukola bibasukkiriddeko. Baalinanga okumala essaawa musanvu mu kibiina nga basoma, okumala essaawa ssatu nga bakola ebyo ebyabaweebwanga okukolera awaka buli lunaku, n’okukola ku bitundu bya mirundi ena oba etaano buli wiiki ebyabaweebwanga okukolako mu kibiina. Nze ne munnange gwe nnali nsomesa naye twategeeza abayizi nti baali tebasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo awatali buyambi bwa Yakuwa. Bulijjo nzijukira engeri abayizi gye baakwatibwangako okukiraba nti baakolanga ekyalinga kisinga ne ku ekyo kye baali basuubira, olw’okwesiga Yakuwa.

OKUFAAYO KU BALALA KIVAAMU EMIGANYULO MINGI

Olw’okuba maama yali afaayo ku balala, kyayamba abayizi be aba Bayibuli okukulaakulana, era kyayamba ne taata okukyusa endowooza gye yalina ku Bajulirwa ba Yakuwa. Nga wayise ennaku ssatu nga maama amaze okufa, taata yatwewuunyisa nnyo bwe yajja ku Kizimbe ky’Obwakabaka okuwuliriza emboozi ya bonna. Era yeeyongera okujjanga mu nkuŋŋaana ku Kizimbe ky’Obwakabaka emyaka 26 egyaddako. Wadde nga taata teyabatizibwa, abakadde baŋŋamba nti buli wiiki ye yasookanga ku Kizimbe ky’Obwakabaka.

Ekyokulabirako maama kye yassaawo kyakwata nnyo ne ku baana be. Bannyinaze bonna abasatu awamu n’abaami baabwe, baweereza Yakuwa n’obwesigwa. Ababiri baweereza ku ofiisi z’amatabi, omu mu Portugal ate omulala mu Haiti.

Nze ne Randi kati tuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Hamilton, Ontario. Bwe twali tukyakola omulimu gw’okukyalira ebibiina, twanyumirwanga nnyo okuwerekerako abalala okuddayo eri abantu abaabanga balaze okusiima, oba ku bayizi baabwe. Naye kati tufuna essanyu lingi okulaba abayizi baffe nga bakulaakulana. Era tuzzibwamu nnyo amaanyi bwe tulaba engeri Yakuwa gye yayambamu bakkiriza bannaffe mu kibiina, mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu.

Mazima ddala tusiima nnyo okufaayo bakkiriza bannaffe kwe bazze batulaga. Ekyo naffe kituleetedde ‘okufaayo’ ku balala, era ne tubakubiriza okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. (2 Kol. 7:6, 7) Ng’ekyokulabirako, mu maka g’ow’oluganda omu, mukyala we n’abaana baabwe babiri baali baweereza nga bapayoniya. Nnabuuza ow’oluganda oyo oba naye yali alowoozezzaako okuweereza nga payoniya. Yanziramu nti yali awagira bapayoniya basatu. Nnamubuuza nti, “Osobola okubawagira okusinga Yakuwa?” Nnamukubiriza okulowooza ku ky’okuweereza nga payoniya. Mu bbanga lya myezi mukaaga naye yatandika okuweereza nga payoniya.

Nze ne Randi tukyeyongera “okubuulira omulembe oguliddawo” ebikwata ku ‘bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo,’ era tusuubira nti nabo bajja kunyumirwa okumuweereza nga naffe bwe tunyumiddwa.​—Zab. 71:17, 18.

a Leero amanyiddwa ng’Omulabirizi w’Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo.

b Laba ebyafaayo bya Léonce Crépeault mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 2020, lup. 26-30.