EKITUNDU EKY’OKUSOMA 29
Weetegekedde Ekibonyoobonyo Ekinene
“Mubeerenga beetegefu.”—MAT. 24:44.
OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule
OMULAMWA a
1. Lwaki kya magezi okweteekerateekera obutyabaga?
OKWETEEKATEEKA kiwonyaawo obulamu. Ng’ekyokulabirako, akatyabaga bwe kagwawo, abo ababa bakeeteekeddeteekedde basobola okuwonawo era n’okuyamba abalala. Ekitongole ekimu mu Bulaaya ekikola ogw’okudduukirira abantu abali mu buzibu kyagamba nti: “Okweteekateeka obulungi kisobola okuwonyaawo obulamu.”
2. Lwaki tusaanidde okweteekerateekera ekibonyoobonyo ekinene? (Matayo 24:44)
2 “Ekibonyoobonyo ekinene” kijja kutandika mu bwangu nga tekisuubirwa. (Mat. 24:21) Kyokka obutafaananako butyabaga bungi obugwawo obugwi, ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika wajja kubaawo abakisuubira era abakyetegekedde. Emyaka nga 2,000 emabega, Yesu yagamba abagoberezi be okweteekerateekera olunaku olwo. (Soma Matayo 24:44.) Bwe tunaaba tweteeseteese, kijja kutubeerera kyangu okugumira ekiseera ekyo ekizibu, n’okuyamba abalala okukola kye kimu.—Luk. 21:36.
3. Obugumiikiriza, obusaasizi, n’okwagala, binaatuyamba bitya okweteekerateekera ekibonyoobonyo ekinene?
3 Lowooza ku ngeri ssatu ze tusaanidde okukulaakulanya okusobola okweteekerateekera ekibonyoobonyo ekinene. Tunaakola ki nga tugambiddwa okubuulira obubaka obw’omusango, ate nga mu kiseera kye kimu abantu abatasinza Yakuwa batuyigganya? (Kub. 16:21) Kijja kutwetaagisa okuba abagumiikiriza okusobola okugondera Yakuwa, nga tumwesiga nti ajja kutukuuma. Tunaakola ki nga baganda baffe bafiiriddwa ebimu ku bintu byabwe oba nga bafiiriddwa ebintu byabwe byonna? (Kaab. 3:17, 18) Kijja kutwetaagisa okuba abasaasizi okusobola okubayamba. Tunaakola ki nga tulumbiddwa amawanga aganaaba geegasse awamu, nga kitwetaagisa okubeera mu kifo kye kimu ne baganda baffe bangi? (Ezk. 38:10-12) Kijja kutwetaagisa okubaagala ennyo basobole okutuyamba okuyita mu kiseera ekyo ekijja okuba ekizibu ennyo.
4. Bayibuli ekiraga etya nti tulina okweyongera okukulaakulanya obugumiikiriza, obusaasizi, n’okwagala?
4 Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okweyongera okukulaakulanya obugumiikiriza, obusaasizi, n’okwagala. Lukka 21:19 wagamba nti: “Bwe muligumiikiriza, muliwonyaawo obulamu bwammwe.” Abakkolosaayi 3:12 wagamba nti: “Mwambale obusaasizi.” Ate 1 Abassessalonika 4:9, 10 wagamba nti: “Mmwe kennyini Katonda abayigiriza okwagalana. . . . Naye ab’oluganda, tubakubiriza okweyongera okukikola ku kigero ekisingawo.” Okubuulirira okuli mu nnyiriri ezo kwaweebwa Abakristaayo abaali baatandika edda okwoleka obugumiikiriza, obusaasizi, n’okwagala. Kyokka baalina okweyongera okukulaakulanya engeri ezo. Naffe tulina okukola kye kimu. Tugenda kwekenneenya engeri Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka gye baakulaakulanyaamu buli emu ku ngeri ezo, era ekyo naffe kijja kutuyamba okweyongera okuzikulaakulanya. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okubakoppamu, kituyambe okweteekerateekera ekibonyoobonyo ekinene.
WEEYONGERE OKUBA OMUGUMIIKIRIZA
5. Kiki ekyayamba Abakristaayo b’omu kyasa ekyasooka okugumira ebigezo bye baali boolekagana nabyo?
5 Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baalina okuba abagumiikiriza. (Beb. 10:36) Ng’oggyeeko okuba nti baali boolekagana n’ebizibu abantu bonna bye boolekagana nabyo, waliwo n’ebizibu ebirala bye baali boolekagana nabyo. Bangi ku bo baali bayigganyizibwa abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya, ab’obuyinza Abaruumi, n’ab’eŋŋanda zaabwe. (Mat. 10:21) Ate mu kibiina baalina okukakasa nti tebatwalirizibwa njigiriza ez’obulimba eza bakyewaggula abaali bagezaako okuleetawo enjawukana. (Bik. 20:29, 30) Wadde kyali kityo, Abakristaayo abo baagumiikiriza. (Kub. 2:3) Kiki ekyabayamba? Baafumiitiriza ku byokulabirako by’abantu aboogerwako mu Byawandiikibwa, gamba nga, Yobu. (Yak. 5:10, 11) Baasaba Katonda okubawa amaanyi. (Bik. 4:29-31) Ate era bassa ebirowoozo byabwe ku birungi ebyandivudde mu kugumiikiriza.—Bik. 5:41.
6. Kiki ky’oyigidde ku ekyo Merita kye yakola ekyamuyamba okugumira okuyigganyizibwa?
6 Naffe tusobola okuba abagumiikiriza bwe tusoma era ne tufumiitiriza ku byokulabirako by’abo abaayoleka obugumiikiriza aboogerwako mu Bayibuli ne mu bitabo byaffe. Okukola ekyo kyayamba nnyo Merita, abeera mu Albania, okugumira okuyigganyizibwa ab’eŋŋanda ze. Agamba nti: “Nnakwatibwako nnyo bwe nnasoma ebikwata ku Yobu. Wadde nga yabonaabona nnyo era nga tamanyi ani yali amuleetera okubonaabona okwo, yagamba nti: ‘Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange!’ (Yob. 27:5) Bwe nnafumiitiriza nnakiraba nti ebigezo bye nnali njolekagana nabyo byali bitono nnyo ku ebyo Yobu bye yayolekagana nabyo. Yobu yali tamanyi eyali amuleetera bigezo ebyo, naye nze nnali mmanyi abindeetera.”
7. Ne bwe kiba nti mu kiseera kino tetulina bizibu bya maanyi bye twolekagana nabyo, kiki kye tulina okwemanyiiza okukola?
7 Ate era tusobola okweyongera okuba abagumiikiriza nga tusaba Yakuwa enfunda n’enfunda, ne tumutegeeza ebyo byonna ebitweraliikiriza. (Baf. 4:6; 1 Bas. 5:17) Oboolyawo mu kiseera kino tolina kizibu kya maanyi ky’oyolekagana nakyo. Wadde kiri kityo, bw’ofuna ebikweraliikiriza, ebikuleetera okusoberwa, oba bw’owulira ng’embeera ekuyitiriddeko, osaba Yakuwa okukuwa obulagirizi? Bwe weemanyiiza okusaba Katonda waffe okukuyamba mu bizibu ebitonotono by’oyolekagana nabyo, kijja kukwanguyira okumusaba okukuyamba ng’oyolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi mu biseera eby’omu maaso. Ekyo kijja kukuyamba okuba omukakafu nti amanyi bulungi ddi lw’alina okukuyamba, na ngeri ki gy’alina okukuyambamu.—Zab. 27:1, 3.
8. Ekyokulabirako kya Mira kiraga kitya nti bwe tugumira ebizibu kati, tujja kusobola n’okubigumira mu kiseera eky’omu maaso? (Yakobo 1:2-4) (Laba n’ekifaananyi.)
8 Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa nga twolekagana n’ebizibu mu kiseera kino, kiyinza okutubeerera ekyangu okusigala nga tuli beesigwa gy’ali mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. (Bar. 5:3) Lwaki tugamba bwe tutyo? Ab’oluganda bangi bakirabye nti buli lwe boolekagana n’ekizibu ne bagumiikiriza, kibayamba okugumira ekizibu kye baddako okufuna. Obugumiikiriza bwongera okunyweza okukkiriza kwabwe, ne baba bakakafu nti Yakuwa mwetegefu okubayamba. Okukkiriza kubayamba okugumira ekizibu ekiddako. (Soma Yakobo 1:2-4.) Mwannyinaffe ayitibwa Mira, aweereza nga payoniya mu Albania, akirabye nti okugumira ebizibu mu biseera eby’emabega, kimuyambye okweyongera okugumira ebizibu by’ayolekagana nabyo kati. Agamba nti kyo kituufu waliwo lw’awulira nti y’asingayo okuba n’ebizibu. Naye bw’afuna endowooza eyo, afumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’amuyambyemu emyaka 20 emabega, era muli ne yeegamba nti: ‘Sigala ng’oli mwesigwa. Tolekera awo kuweereza Yakuwa oluvannyuma lw’okukuyamba okugumira ebizibu eby’amaanyi emyaka egyo gyonna.’ Naawe osobola okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’akuyambye okugumira ebizibu. Ba mukakafu nti buli lw’ogumira ekizibu, Yakuwa alaba era ajja kukuwa empeera. (Mat. 5:10-12) Ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika, ojja kuba oyize okugumiikiriza, era ojja kuba mumalirivu okweyongera okugumiikiriza.
BEERA MUSAASIZI
9. Abakristaayo mu kibiina ky’e Antiyokiya ekya Busuuli, baayoleka batya obusaasizi?
9 Lowooza ku ekyo ekyaliwo Abakristaayo mu Buyudaaya bwe baagwirwa enjala ey’amaanyi. Abakristaayo mu kibiina ky’e Antiyokiya ekya Busuuli bwe baawulira ku njala eyo, kya lwatu nti baasaasira baganda baabwe ab’omu Buyudaaya. Naye tebaakoma ku kubasaasira busaasizi, wabula baabaako kye bakolawo. Baasalawo “nti buli omu ku bo okusinziira ku busobozi bwe, aweeyo obuyambi buweerezebwe eri ab’oluganda ab’omu Buyudaaya.” (Bik. 11:27-30) Wadde ng’ab’oluganda abaali bakoseddwa enjala baali babeera wala nnyo, Abakristaayo mu Antiyokiya baali bamalirivu okubayamba.—1 Yok. 3:17, 18.
10. Mu ngeri ki gye tuyinza okukiraga nti tusaasira bakkiriza bannaffe ababa bakoseddwa obutyabaga? (Laba n’ekifaananyi.)
10 Twoleka obusaasizi bwe tukimanyaako nti bakkiriza bannaffe bakoseddwa akatyabaga. Tubaako kye tukolawo mu bwangu, oboolyawo nga tubuuza abakadde obanga tusobola okuyambako ku projekiti emu, nga tubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna, oba nga tusabira abo ababa bakoseddwa akatyabaga. b (Nge. 17:17) Ng’ekyokulabirako, mu 2020, Obukiiko Obudduukirira Abakoseddwa Obutyabaga, obusukka mu 950 bwe bwassibwawo mu nsi yonna okuyamba abo abaali bakoseddwa ekirwadde kya COVID-19. Tusiima nnyo bakkiriza bannaffe abakolera awamu n’obukiiko obwo okudduukirira ababa mu bwetaavu. Olw’okuba basaasira bakkiriza bannaabwe, babatwalidde obuyambi, babalabiridde mu by’omwoyo, era mu mbeera ezimu baddaabirizza oba bazzeemu okubazimbira amayumba n’ebifo eby’okusinzizaamu.—Geraageranya 2 Abakkolinso 8:1-4.
11. Bwe tulaga abalala obusaasizi, tuweesa tutya Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa?
11 Bwe twoleka obusaasizi ne tuyamba ababa bakoseddwa akatyabaga, abalala bakiraba. Ng’ekyokulabirako, mu 2019, Omuyaga Dorian gwasaanyawo Ekizimbe ky’Obwakabaka ekimu mu Bahamas. Baganda baffe bwe baali baddamu okuzimba ekizimbe ekyo, baagamba omuzimbi omu atali Mujulirwa wa Yakuwa okubaako omulimu gw’akola, era ababuulire ssente ezeetagisa. Yabagamba nti: “Ebintu nja kubibaweera ku bwereere, era n’emirimu egyetaagisa okukolebwa nja kugikolera ku bwereere. . . . Kino njagala okukibakolera. Nkwatiddwako nnyo olw’engeri gye mufaayo ku bannammwe.” Abantu abasinga obungi mu nsi tebamanyi Yakuwa. Naye bangi ku bo balaba ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bakola okuyamba abalala. Mazima ddala nkizo ya maanyi okukimanya nti ebyo bye tukola olw’okusaasira abalala, biviirako abantu okwagala okumanya ebisingawo ku “Katonda ow’okusaasira okungi”!—Bef. 2:4.
12. Okulaga abalala obusaasizi mu kiseera kino, kinaatuyamba kitya mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene? (Okubikkulirwa 13:16, 17)
12 Lwaki kijja kutwetaagisa okulaga abalala obusaasizi mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene? Bayibuli ekiraga nti abo abatawagira nteekateeka ya bya bufuzi, bajja kwolekagana n’obuzibu obw’amaanyi mu kiseera kino ne mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. (Soma Okubikkulirwa 13:16, 17.) Bakkiriza bannaffe bayinza okuba nga bajja kwetaaga okuyambibwako okufuna ebyetaago by’obulamu. Bulijjo ka tweyongere okulaga abalala obusaasizi. Bwe tunaakola bwe tutyo, Kabaka waffe Yesu Kristo bw’anajja okutuukiriza omusango Yakuwa gwe yasala, ajja kutugamba nti: ‘Mujje musikire Obwakabaka.’—Mat. 25:34-40.
WEEYONGERE OKWAGALA BAKKIRIZA BANNO
13. Nga bwe kiragibwa mu Abaruumi 15:7, kiki ekyayamba Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka okweyongera okulagaŋŋana okwagala?
13 Okwagala ke kabonero akaali kaawulawo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. Naye kyali kyangu gye bali okulagaŋŋana okwagala? Lowooza ku kibiina ky’omu Rooma. Kyalimu Abayudaaya abaali baakuzibwa nga bayigirizibwa Amateeka ga Musa, ate era kyalimu n’ab’Amawanga abaali baakulira mu mbeera ey’enjawulo ennyo ku y’Abayudaaya. Kirabika Abakristaayo abamu baali baddu, ate abalala baali ba ddembe, oboolyawo nga balina n’abaddu abaabwe ku baabwe. Kiki ekyandiyambye Abakristaayo abo okulagaŋŋana okwagala? Omutume Pawulo yabakubiriza ‘okusembezaganyanga.’ (Soma Abaruumi 15:7.) Kiki kye yali ategeeza? Ekigambo ‘okusembeza’ kitegeeza okwaniriza omuntu mu maka go, oba okumufuula omu ku mikwano gyo. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yagamba Firemooni ‘okwaniriza n’ekisa’ Onesimo, omuddu eyali amudduseeko. (Fir. 17) Ate Pulisikira ne Akula baayaniriza Apolo eyali yeetaaga okumanya ebisingawo ku njigiriza z’Ekikristaayo, nga “bamutwala” mu maka gaabwe. (Bik. 18:26) Abakristaayo abo tebakkiriza mbeera ez’enjawulo ze baakuliramu oba ze baalimu, okubalemesa okusembezaganya.
14. Anna n’omwami we baalaga batya abalala okwagala?
14 Naffe tusobola okulaga bakkiriza bannaffe okwagala nga tubafuula mikwano gyaffe, era nga tuwaayo ebiseera okubeerako nabo. Emirundi mingi ekyo nabo kibaleetera okutulaga okwagala. (2 Kol. 6:11-13) Lowooza ku mwannyinaffe Anna n’omwami we. Bwe baali baakagenda mu nsi emu mu Afirika okuweereza ng’abaminsani, ekirwadde kya COVID-19 kyabalukawo. Olw’ekirwadde ekyo, baali tebasobola kukuŋŋaana wamu na bakkiriza bannaabwe ku kizimbe ky’Obwakabaka. Bandisobodde batya okubalaga okwagala? Baakozesa enkola ya Zoom okuwuliziganya nabo, era ne babagamba nti baali baagala nnyo okweyongera okubamanya. Ekyo kyakwata nnyo ku bakkiriza bannaabwe ne kibaviirako okubakubiranga essimu n’okubaweerezanga mesegi. Lwaki Anna n’omwami we baafuba okumanya bakkiriza bannaabwe? Anna agamba nti: “Okwagala okwandagibwa nze n’ab’ewaffe mu biseera ebizibu, kwankwatako nnyo era kwe kundeetera okulaga abalala okwagala.”
15. Kiki ky’oyigidde ku Vanessa bwe kituuka ku kwagala bakkiriza bannaffe bonna? (Laba n’ekifaananyi.)
15 Bangi ku ffe tuli mu bibiina ebirimu abantu abaakulira mu mbeera ez’enjawulo, era abalina engeri ez’enjawulo. Bwe tussa ebirowoozo ku ngeri zaabwe ennungi tusobola okweyongera okubaagala. Mwannyinaffe Vanessa, abeera mu New Zealand, yazibuwalirwanga okukolagana n’abamu ku bakkiriza banne mu kibiina mwe yali. Kyokka mu kifo ky’okweyawula ku abo abaalina engeri ezimunyiiza, yasalawo okweyongera okubamanya. Ekyo kyamuyamba okutegeera lwaki Yakuwa abaagala. Agamba nti: “Okuva omwami wange lwe yafuuka omulabirizi akyalira ebibiina, tusisinkana ab’oluganda bangi abalina engeri ez’enjawulo, era kinnyanguyira okukolagana nabo. Kati eky’okuba nti ab’oluganda balina engeri ez’enjawulo kinsanyusa. Yakuwa naye kimusanyusa, kubanga yasembeza gy’ali abantu ab’enjawulo okumusinza.” Bwe tuyiga okutunuulira abalala nga Yakuwa bw’abatunuulira, tuba tukiraga nti tubaagala.—2 Kol. 8:24.
16. Lwaki kijja kutwetaagisa nnyo okulagaŋŋana okwagala mu kiseera eky’omu maaso? (Laba n’ekifaananyi.)
16 Kijja kutwetaagisa nnyo okulagaŋŋana okwagala mu kiseera eky’omu maaso. Yakuwa anaatukuuma atya ng’ekibonyoobonyo ekinene kituuse? Lowooza ku ekyo kye yalagira abaweereza be okukola mu biseera eby’edda ng’ekibuga Babulooni kirumbiddwa. Yabagamba nti: “Mmwe abantu bange, muyingire mu bisenge byammwe eby’omunda, era muggalewo enzigi. Mwekweke okumala akaseera katono okutuusa obusungu lwe bunaggwaawo.” (Is. 26:20) Kirabika ebigambo ebyo bikwata ne ku ffe abajja okubaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. ‘Ebisenge eby’omunda’ biyinza okuba nga bitegeeza ebibiina mwe tukuŋŋaanira. Yakuwa atusuubizza nti ajja kutukuuma bwe tuneeyongera okusigala nga tuli bumu ne bakkiriza bannaffe. N’olwekyo kati tulina okufuba okulaba nti bakkiriza bannaffe tetubagumiikiriza bugumiikiriza, wabula tubaagala. Ekyo kiyinza okuba nga kye kijja okutuyamba okuwonawo!
WEETEEKETEEKE KATI
17. Okweteekateeka mu kiseera kino, kinaatuyamba kitya mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene?
17 “Olunaku lwa Yakuwa” lujja kuleeta ennaku ey’amaanyi ku bantu bonna. (Zef. 1:14, 15) Ekiseera ekyo kijja kuba kizibu nnyo n’eri abantu ba Yakuwa. Naye bwe tweteekateeka kati, tujja kusobola okusigala nga tuli bakkakkamu, era n’okuyamba abalala. Tujja kusobola okugumira ekizibu kyonna kye tunaafuna. Bakkiriza bannaffe bwe banaaba babonaabona, tujja kufuba okubayamba nga tubalaga obusaasizi, era nga tubawa bye beetaaga. Ate era bwe tuyiga okwagala bakkiriza bannaffe kati, kijja kutwanguyira okubaagala ne mu kiseera eky’omu maaso. Bwe tunaakola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa empeera ey’obulamu obutaggwaawo mu nsi etajja kubaamu butyabaga wadde okubonaabona kwonna.—Is. 65:17.
OLUYIMBA 144 Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!
a Ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutandika. Okukulaakulanya engeri gamba nga, obugumiikiriza, obusaasizi, n’okwagala, kijja kutuyamba okwetegekera ebintu ebigenda okubaawo ebitabangawoko. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka gye baakulaakulanyaamu engeri ezo, engeri naffe gye tuyinza okuzikulaakulanyamu, era n’engeri gye zigenda okutuyamba okwetegekera ekibonyoobonyo ekinene.
b Abo abaagala okuyambako ku projekiti y’okudduukirira abo ababa bakoseddwa akatyabaga, balina okusooka okujjuzaamu foomu eyitibwa Local Design/Construction Volunteer Application (DC-50) oba eyo eyitibwa Application for Volunteer Program (A-19), oluvannyuma ne balindirira okuyitibwa.