Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 30

Weeyongera Okukula mu Kwagala

Weeyongera Okukula mu Kwagala

“Ka tukule mu bintu byonna . . . nga tuyitira mu kwagala.”​—BEF. 4:15.

OLUYIMBA 2 Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa

OMULAMWA a

1. Biki ebyakukwatako nga waakatandika okuyiga Bayibuli?

 OJJUKIRA lwe watandika okuyiga Bayibuli? Oyinza okuba nga weewuunya nnyo okukimanya nti Katonda alina erinnya. Oboolyawo wawulira obuweerero obw’amaanyi bwe wakimanya nti Katonda tabonereza bantu mu muliro ogutazikira. Era oboolyawo wakwatibwako nnyo bwe wakimanya nti eriyo essuubi ery’okuddamu okulaba abantu bo abaafa mu lusuku lwa Katonda ku nsi.

2. Bwe weeyongera okuyiga Bayibuli, weeyongera otya okukula mu by’omwoyo? (Abeefeso 5:1, 2)

2 Gye wakoma okuyiga ebiri mu Kigambo kya Katonda, n’okwagala kwe walina eri Yakuwa gye kwakoma okweyongera. Okwagala okwo kwakuleetera okukolera ku ebyo bye wali oyiga. Watandika okusalawo obulungi ng’osinziira ku misingi gya Bayibuli. Wayongera okutereeza endowooza yo n’enneeyisa yo olw’okuba wali oyagala okusanyusa Katonda. Ng’omwana bw’akoppa muzadde we, wali okoppa Kitaawo ow’omu ggulu.​—Soma Abeefeso 5:1, 2.

3. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

3 Tusaanidde okwebuuza: ‘Nneeyongedde okwagala Yakuwa okusinga bwe nnali mmwagala nga nnaakafuuka Omukristaayo? Okuva lwe nnabatizibwa, nneeyongedde okukoppa Yakuwa mu ngeri gye ndowoozaamu ne mu ngeri gye nneeyisaamu, naddala bwe kituuka ku kulaga bakkiriza bannange okwagala?’ Bwe kiba nti “okwagala kwe walina olubereberye” kugenze kuwola, toggwaamu maanyi. Ekyo kyatuuka ne ku bamu ku Bakristaayo mu kyasa ekyasooka. Yesu teyakitwala nti baali tebasobola kukyusaamu, era naffe bw’atyo bw’atutwala. (Kub. 2:4, 7) Akimanyi nti tusobola okuddamu okuba n’okwagala okw’amaanyi kwe twalina nga twakayiga amazima.

4. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okweyongera okwagala Yakuwa ne bakkiriza bannaffe. Ate era tugenda kulaba ebimu ku birungi ebivaamu bwe tweyongera okwagala Yakuwa ne bakkiriza bannaffe.

WEEYONGERE OKWAGALA YAKUWA

5-6. Bizibu ki omutume Pawulo bye yayolekagana nabyo ng’aweereza, naye kiki ekyamuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa?

5 Omutume Pawulo yafuna essanyu lingi mu kuweereza Yakuwa, naye era yayolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Pawulo yatambulanga eŋŋendo empanvu era tezaabanga nnyangu. Oluusi ng’ali ku ŋŋendo ezo, yayolekagana ‘n’akabi ak’oku migga, n’akabi ak’abanyazi.’ Ate emirundi egimu abalabe be baamukubanga. (2 Kol. 11:23-27) Ate era wadde nga yafubanga nnyo okuyamba Bakristaayo banne, oluusi tebaasiimanga.​—2 Kol. 10:10; Baf. 4:15.

6 Kiki ekyayamba Pawulo okweyongera okuweereza Yakuwa? Yayiga bingi ebikwata ku Yakuwa okuyitira mu Byawandiikibwa ne mu bintu bye yayitamu. Ekyo kyamuyamba okuba omukakafu nti Yakuwa amwagala nnyo. (Bar. 8:38, 39; Bef. 2:4, 5) N’ekyavaamu, naye yayagala nnyo Yakuwa. Pawulo yakiraga nti ayagala nnyo Yakuwa ‘ng’aweereza abatukuvu era nga yeeyongera okuweereza.’​—Beb. 6:10.

7. Engeri emu gye tuyinza okweyongera okwagala Yakuwa y’eruwa?

7 Tusobola okweyongera okwagala Yakuwa nga tunyiikirira okusoma Ekigambo kye. Bw’oba osoma Bayibuli, gezaako okulaba engeri ebyo by’osoma gye biragamu engeri za Yakuwa. Weebuuze: ‘Bino bye nsomye biraga bitya nti Yakuwa anjagala nnyo? Nsonga ki kwe nsinziira nange okumwagala?’

8. Okusaba kutuyamba kutya okweyongera okwagala Yakuwa?

8 Ekintu ekirala ekiyinza okutuyamba okweyongera okwagala Yakuwa kwe kumusabanga buli lunaku ne tumubuulira ebituli ku mutima. (Zab. 25:4, 5) Yakuwa ajja kuddamu essaala zaffe. (1 Yok. 3:21, 22) Mwannyinaffe ayitibwa Khanh abeera mu Asiya, agamba nti: “Ebyo bye nnayiga ku Yakuwa byandeetera okutandika okumwagala. Naye bwe nnalaba engeri gye yalinga addamu essaala zange, nneeyongera okumwagala ennyo. Ekyo kyandeetera okwagala okukola ebimusanyusa.” b

WEEYONGERE OKWAGALA BAKKIRIZA BANNO

9. Timoseewo yakiraga atya nti yali yeeyongera okukula mu kwagala?

9 Nga wayise emyaka nga Pawulo amaze okufuuka Omukristaayo, yasisinkana omuvubuka eyali ayitibwa Timoseewo. Timoseewo yali ayagala nnyo Yakuwa n’abantu. Pawulo yagamba Abafiripi nti: “Sirina mulala alina ndowooza [ng’eya Timoseewo] ajja okubafaako mu bwesimbu.” (Baf. 2:20) Ng’ekyawandiikibwa ekyo bwe kiraga, ekyasinga okukwata ku Pawulo si bwe busobozi Timoseewo bwe yalina obw’okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi oba obw’okuba omwogezi omulungi, wabula kwe kwagala Timoseewo kwe yalina eri bakkiriza banne. Tewali kubuusabuusa nti ab’oluganda mu bibiina Timoseewo bye yakyaliranga baamwesunganga.​—1 Kol. 4:17.

10. Anna n’omwami we baalaga batya okwagala kwe baalina eri bakkiriza bannaabwe?

10 Naffe tunoonya buli kakisa okulaga bakkiriza bannaffe okwagala. (Beb. 13:16) Lowooza ku mwannyinaffe Anna eyayogerwako mu kitundu ekyayita. Oluvannyuma lw’omuyaga ogw’amaanyi, Anna n’omwami we baagenda okulaba ku bakkiriza bannaabwe ab’omu maka agamu era ne bakizuula nti omuyaga gwali gwonoonye akasolya k’ennyumba yaabwe. Ekyo kyaviirako engoye z’ab’omu maka ago okukyafuwala. Anna agamba nti: “Twatwala engoye zaabwe ne tuzooza, ne tuzigolola, era ne tuzizingako bulungi ne tuzibaleetera. Ekyo kye twakola twalaba nga kintu kitono nnyo, naye kyatuviirako okuba ab’omu mukwano n’ab’omu maka ago n’okutuusa leero.” Okwagala Anna n’omwami we kwe baalina eri bakkiriza bannaabwe, kwabaleetera okubaako kye bakolawo okubayamba.​—1 Yok. 3:17, 18.

11. (a) Ebyo bye tukola okuyamba abalala olw’okuba tubaagala, biyinza bitya okubakwatako? (b) Okusinziira ku Engero 19:17, bwe tuyamba abalala Yakuwa akitwala atya?

11 Bwe tulaga abalala okwagala n’ekisa, emirundi mingi bakiraba nti tuba tufuba okukoppa Yakuwa. Era basiima nnyo ebyo bye tubakolera okusinga bwe tulowooza. Mwannyinaffe Khanh, ayogeddwako waggulu, asiima nnyo abo abaamuyamba. Agamba nti: “Nsiima nnyo baganda bange abaantwalanga ne mbuulirako wamu nabo. Bannonanga awaka, baantwalanga ne tubaako kye tuliirako awamu, era oluvannyuma baankomyangawo awaka. Kati nkiraba nti kyalinga kibeetaagisa okufuba ennyo okusobola okukola ebintu ebyo. Era baabikola olw’okuba baali banjagala.” Kya lwatu nti abamu bayinza obutasobola kutwebaza olw’ebyo bye batukolera. Khanh ayogera bw’ati ku abo abaamuyamba: “Mpulira nga nnandyagadde okubaako kye nkola okubasasula olw’okwagala okungi kwe bandaga, naye simanyi gye babeera. Naye ye Yakuwa amanyi, era mmusaba abasasule olw’ekyo kye bankolera.” Khanh mutuufu. Yakuwa alaba n’ebintu ebisingayo obutono bye tukolera abalala olw’okuba tubaagala. Abitwala nga ssaddaaka ey’omuwendo, era ng’ebbanja ly’alina okutusasula.​—Soma Engero 19:17.

Omuntu bwe yeeyongera okukula mu by’omwoyo, anoonya engeri y’okuyambamu abalala (Laba akatundu 12)

12. Ab’oluganda bayinza batya okulaga abalala mu kibiina okwagala? (Laba n’ebifaananyi.)

12 Bw’oba ng’oli wa luganda, oyinza otya okulaga abalala okwagala ng’obaako ebintu by’obakolera? Ow’oluganda akyali omuvubuka ayitibwa Jordan, yabuuza omukadde ekyo kye yali asobola okukola okwongera okuyamba abalala mu kibiina kye. Omukadde yamwebaza olw’ebyo bye yali akola okuyamba abalala, era n’abaako amagezi g’amuwa ku ngeri gy’ayinza okwongera okubayambamu. Ng’ekyokulabirako, yagamba Jordan okutuukanga nga bukyali ku Kizimbe ky’Obwakabaka asobole okubuuza ku b’oluganda, okwenyigiranga mu nkuŋŋaana, okubuuliranga obutayosa ng’ali wamu n’ekibinja kye eky’obuweereza, n’okulowooza ku bintu by’asobola okukolera abalala okubayamba. Jordan bwe yakolera ku magezi ago, kyamuyamba okubaako ebintu ebipya by’ayiga era n’okweyongera okwagala bakkiriza banne. Yakitegeera nti ow’oluganda bw’afuuka omuweereza mu kibiina, aba tatandika butandisi kuyamba balala, wabula aba yeeyongera bweyongezi kubayamba.​—1 Tim. 3:8-10, 13.

13. Okwagala kwayamba kutya ow’oluganda ayitibwa Christian okuddamu okuweereza ng’omukadde?

13 Watya singa wali muweereza oba mukadde mu kibiina naye nga kati enkizo eyo tokyagirina? Yakuwa ajjukira ebyo bye wakola mu biseera eby’emabega, era ajjukira n’okwagala okwakuleetera okukola ebintu ebyo. (1 Kol. 15:58) Ate era alaba okwagala kw’okyeyongera okwoleka. Ow’oluganda ayitibwa Christian yawulira bubi nnyo bwe yaggibwako enkizo ey’okuweereza ng’omukadde. Wadde kyali kityo, agamba nti: “Nnasalawo okukola kyonna kye nsobola okuweereza Yakuwa olw’okwagala, ka mbe nga nnina enkizo oba nedda.” Oluvannyuma lw’ekiseera yaddamu okulondebwa okuweereza ng’omukadde. Christian agamba nti: “Muli nnawulira nga ntiddemu okuddamu okuweereza ng’omukadde. Naye muli nnagamba nti bwe kiba nti Yakuwa andaze okusaasira n’anzikiriza okuddamu okuweereza ng’omukadde, nja kuddamu okuweereza olw’okuba mmwagala era njagala bakkiriza bannange.”

14. Kiki ky’oyigidde ku ebyo mwannyinaffe omu ow’omu Georgia bye yayogera?

14 Abaweereza ba Yakuwa balaga n’abantu abalala okwagala. (Mat. 22:37-39) Ng’ekyokulabirako, Mwannyinaffe Elena abeera mu Georgia, agamba nti: “Mu kusooka, ekintu kyokka ekyandeetera okubuulira abalala, kwe kwagala kwe nnalina eri Yakuwa. Naye okwagala kwe nnalina eri Kitange ow’omu ggulu bwe kweyongera, n’okwagala kwe nnalina eri abantu nakwo kweyongera. Nnagezaako okufumiitiriza ku bizibu bye boolekagana nabyo, na biki bye nsobola okwogera ebiyinza okubakwatako. Gye nnakoma okubalowoozaako bw’entyo, gye nnakoma okwagala okubayamba.”​—Bar. 10:13-15.

EBIRUNGI EBIVA MU KULAGA ABALALA OKWAGALA

Ekintu ekimu kye tukolera omuntu olw’okuba tumwagala, kisobola okuganyula abalala bangi (Laba akatundu 15-16)

15-16. Nga bwe kiragibwa mu bifaananyi, birungi ki ebiva mu kulaga abalala okwagala?

15 Bwe tulaga bakkiriza bannaffe okwagala, si be bokka abaganyulwa. Oluvannyuma lw’ekirwadde kya COVID-19 okubalukawo, ow’oluganda ayitibwa Paolo ne mukyala we baayamba bannyinaffe bannamukadde bangi okuyiga okukozesa amasimu gaabwe aga seereza okubuulira abalala. Mwannyinaffe omu eyali akaluubirirwa ennyo okukozesa essimu ye, oluvannyuma yayiga okugikozesa. Yasobola okugikozesa okuyita ab’eŋŋanda ze okubaawo ku kijjukizo. Nkaaga ku abo be yayita baasobola okubaawo ku mukolo gw’ekijjukizo nga bakozesa Zoom! Mwannyinaffe oyo awamu n’ab’eŋŋanda ze baaganyulwa nnyo olw’ekyo Paolo kye yamukolera eky’okumuyigiriza okukozesaamu essimu ye. Oluvannyuma mwannyinaffe oyo yawandiikira Paolo n’amugamba nti: “Weebale nnyo okutuyigiriza ffe bannamukadde. Siyinza kwerabira engeri Yakuwa gy’atufaako, era n’engeri naawe gy’ofubye okutuyamba.”

16 Paolo alina ekintu ekikulu ennyo kye yayiga okuva mu byokulabirako ebiringa ekyo. Yakiraba nti okwagala kukulu nnyo okusinga okumanya ebintu ebingi oba obusobozi bwe tuyinza okuba nabwo. Agamba nti: “Edda nnaweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Leero nkiraba nti wadde ng’ababuulizi bayinza okuba nga beerabira emboozi ze nnawanga, bakyajjukira ebintu bye nnakola okubayamba.”

17. Bwe tulaga okwagala, baani abalala abanaaganyulwa?

17 Bwe tulaga abalala okwagala, naffe tuganyulwa mu ngeri gye tutasuubira. Ekyo Jonathan, abeera mu New Zealand, yakiraba nti ddala kituufu. Lumu ku Lwomukaaga mu ttuntu yalaba payoniya omu ng’abuulira ku luguudo. Jonathan yasalawo okubuulira awamu ne payoniya oyo buli Lwamukaaga okuva mu ttuntu n’okweyongerayo. Mu kiseera ekyo teyakimanya nti yali agenda kuganyulwa nnyo mu kikolwa ekyo eky’okwagala kye yakola. Jonathan agamba nti: “Edda nnali sinyumirwa kubuulira. Naye bwe nnawulirizanga engeri payoniya oyo gye yali ayigirizaamu, era ne ndaba n’ebirungi ebyavanga mu buweereza bwe, kyandeetera okwagala ennyo omulimu gw’okubuulira. Ate era payoniya oyo yafuuka mukwano gwange ow’oku lusegere ennyo eyannyamba okukula mu by’omwoyo, okunyumirwa obuweereza, n’okweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.”

18. Kiki Yakuwa ky’ayagala tukole?

18 Yakuwa ayagala okwagala kwe tulina gy’ali n’eri bakkiriza bannaffe kweyongere okuba okw’amaanyi. Nga bwe tulabye, tusobola okweyongera okwagala Yakuwa nga tusoma Ekigambo kye era nga tukifumiitirizaako, ate era nga twogera naye obutayosa okuyitira mu kusaba. Tusobola okweyongera okwagala bakkiriza bannaffe nga tubaako ebintu bye tukola okubayamba. Okwagala kwe tulina bwe kuneeyongera, tujja kweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa awamu ne bakkiriza bannaffe. Era tujja kuba mikwano gyabwe emirembe gyonna!

OLUYIMBA 109 Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima

a Ka tube nga twakatandika okuweereza Yakuwa oba nga tubadde tumuweereza okumala emyaka mingi, ffenna tusobola okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo nga tweyongera okwagala Yakuwa ne bakkiriza bannaffe. Nga twekenneenya ekitundu kino, fumiitiriza ku ngeri gye weeyongedde okukulaakulana mu kwagala, ne ky’oyinza okukola okusobola okwongera ku kwagala okwo.

b Amannya agamu gakyusiddwa.