OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Jjuuni 2016

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Agusito 1 okutuuka nga Agusito 28, 2016.

Yakuwa ‘Akufaako’

Lwaki osobola okuba omukakafu nti Yakuwa akufaako? Laba obukakafu.

Yakuwa Ye Mubumbi Waffe

Katonda alonda atya abo b’abumba? Lwaki ababumba? Ababumba atya?

Okkiriza Omubumbi Omukulu Okukubumba?

Bintu ki ebinaakufuula ng’ebbumba eggonvu mu mikono gya Katonda

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Omusajja alina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi n’abasajja omukaaga abakutte eby’okulwanyisa eby’okwasaayasa aboogerwako mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri bakiikirira ki?

“Yakuwa Katonda Waffe Ye Yakuwa Omu”

Mu ngeri ki Yakuwa Katonda waffe gy’ali “Yakuwa omu,” era ekyo kikwata kitya ku ngeri gye tumusinzaamu?

Tokkiriza Nsobi z’Abalala Kukwesittaza

Mu biseera by’edda, waliwo abaweereza ba Katonda abaayogera oba abaakola ebintu ebyanyiiza abalala. Kiki kye tuyinza okubayigirako?

Ekintu eky’Omuwendo Okusinga Alimasi

Kya muwendo nnyo okubeera n’engeri eno.

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba by’ojjukira.