Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekintu eky’Omuwendo Okusinga Alimasi

Ekintu eky’Omuwendo Okusinga Alimasi

Alimasi (Diamond) lye limu ku mayinja ag’omuwendo ennyo. Abamu basaasaanya obutitimbe bw’ensimbi okusobola okugula ejjinja eryo. Naye obadde okimanyi nti mu maaso ga Katonda waliwo ebintu eby’omuwendo ennyo okusinga alimasi oba amayinja amalala ag’omuwendo?

Haykanush, omubuulizi atali mubatize abeera mu Armenia, yalonda akasawo okumpi n’awaka we. Mu kasawo ako yasangamu kaadi za bbanka ne ssente nnyingi. Ekyo yakitegeezaako omwami we naye eyali omubuulizi atali mubatize.

Haykanush n’omwami we tebaali bulungi mu by’ensimbi era baalina n’amabanja; kyokka baasalawo okuzzaayo ssente ezo eri nnyini zo nga bakozesa endagiriro eyali mu kasawo ako. Ekyo kyewuunyisa nnyo omusajja eyali asudde akasawo ako awamu n’ab’omu maka ge. Haykanush n’omwami we baategeeza omwami oyo n’ab’omu maka ge nti ebyo bye baali bayize mu Bayibuli bye byali bibayambye okuba abeesigwa. Baali bakimanyi nti balina okubeera abeesigwa era baakozesa akakisa ako okubuulira omwami oyo n’ab’omu maka ge ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa era ne babalekera n’ebitabo.

Omwami oyo ne mukyala we baayagala okubaako ssente ze bawa Haykanush naye n’azigaana. Ku lunaku olwaddako, omukyala w’omwami oyo yagenda ewa Haykanush n’amwegayirira waakiri akkirize empeta y’alimasi gye yali amuleetedde.

Okufaananako omwami oyo ne mukyala we, abantu bangi bwe bawulira ku bantu abeesigwa nga Haykanush n’omwami we, beewuunya nnyo. Ekyo Yakuwa naye kimwewuunyisa? Obwesigwa ng’obwo Yakuwa abutwala atya? Ddala obwesigwa bwe baayoleka bwavaamu omuganyulo gwonna?

EBINTU EBY’OMUWENDO OKUSINGA EBY’OBUGAGGA

Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo si bizibu. Abaweereza ba Katonda bakimanyi nti okwoleka engeri ng’eza Yakuwa kintu kya muwendo nnyo okusinga alimasi, zzaabu, n’ebintu ebirala eby’omuwendo. Endowooza ya Yakuwa eyawukana nnyo ku y’abantu bwe kituuka ku ki eky’omuwendo n’ekitali kya muwendo. (Is. 55:8, 9) Abaweereza ba Yakuwa bakitwala nti okwoleka engeri za Yakuwa mu bujjuvu kintu kya muwendo nnyo.

Ekyo kyeyolekera bulungi mu ebyo Bayibuli by’eyogera ku magezi n’okutegeera. Engero 3:13-15 wagamba nti: “Alina essanyu oyo afuna amagezi, n’oyo afuna okutegeera; okufuna amagezi kisinga okufuna ffeeza, okuba nago kisinga okuba ne zzaabu. Ga muwendo okusinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja; tewali kintu ky’oyinza kwegomba ekiyinza okugenkana.” Kyeyoleka lwatu nti engeri ng’ezo Yakuwa azitwala nga za muwendo nnyo okusinga eby’obugagga.

Ate bwo obwesigwa abutwala atya?

Yakuwa mwesigwa; ‘tayinza kulimba.’ (Tit. 1:2) Yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiikira Abakristaayo Abebbulaniya abaaliwo mu kyasa ekyasooka n’abagamba nti: “Mutusabirenga kubanga tumanyi nti tulina omuntu ow’omunda omuyonjo, era twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”​—Beb. 13:18.

Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwesigwa. Lowooza ku ekyo ekyaliwo Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, bwe yamugamba nti: “Nkulayiza mu maaso ga Katonda omulamu otubuulire oba nga ggwe Kristo Omwana wa Katonda!” Yesu yakyoleka lwatu nti ye yali Masiya, wadde ng’ekyo kyandireetedde Olukiiko olukulu olw’Abayudaya okumuyita omuvvoozi era ne kimuviirako okuttibwa.​—Mat. 26:63-67.

Ate ffe? Tunaayoleka obwesigwa ne bwe kiba nti twesanze mu mbeera ng’okukyusaamu akatono mu bigambo byaffe oba okubaako ebigambo bye tulekayo kinaatuleetera okubaako ebintu bye twefunira?

LWAKI SI KYANGU KUBA MWESIGWA?

Ekituufu kiri nti si kyangu Omukristaayo okuba omwesigwa mu nsi eno ejjudde abantu ‘abeeyagala bokka era abaagala ennyo ssente.’ (2 Tim. 3:2) Eby’enfuna ebizibuwadde ennyo awamu n’ebbula ly’emirimu, bireetedde abantu abamu obutaba beesigwa. Bangi balowooza nti si kibi okubba, okukumpanya, oba okwenyigira mu bikolwa ebirala ebiringa ebyo. Endowooza eyo ebunye buli wamu ne kiba nti bangi balowooza nti bwe kituuka ku by’enfuna tekisoboka kuba mwesigwa. N’Abakristaayo abamu basazeewo mu ngeri etali ya magezi mu nsonga eyo, era olw’okwefunira ebintu mu makubo amakyamu boonoonye enkolagana yaabwe ne Yakuwa awamu ne bakkiriza bannaabwe.​—1 Tim. 3:8; Tit. 1:7.

Kyokka Abakristaayo abasinga obungi bakoppa Yesu. Bakimanyi nti okwoleka engeri za Katonda kya muwendo nnyo okusinga okwefunira eby’obugagga oba ekintu ekirala kyonna. N’olwekyo, abavubuka Abakristaayo beewala okubba ebigezo. (Nge. 20:23) Tekiri nti buli kiseera bwe tunaayoleka obwesigwa wajja kubaawo atuwa ekirabo oba akasiimo nga bwe kyali ku Haykanush. Wadde kiri kityo, tukimanyi nti bwe tuba abeesigwa tusanyusa Katonda era tuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo.

Lowooza ku Gagik. Yagamba nti: “Bwe nnali sinnafuuka Mukristaayo, nnali nkolera kampuni emu ennene naye nga nnyini yo yeewala okusasula emisolo egimu. Okuva bwe kiri nti nze nnali maneja, nze nnalina okukolagana n’abo abasolooza emisolo n’okubawa enguzi baleme kutusasuza misolo egimu. N’ekyavaamu, nnatandika okumanyibwa ng’omuntu atali mwesigwa. Naye bwe nnayiga amazima, nnagaana okuddamu okwenyigira mu bikolwa ebyo ebitali bya bwesigwa wadde nga ku mulimu ogwo baali bansasula bulungi. Bwe kityo, nnatandikawo bizineesi eyange ku bwange era ne ngiwandiisa mu mateeka. Era okuva lwe nnagitandikawo mbaddenga nsasula emisolo gyonna gye nnina okusasula.”​—2 Kol. 8:21.

Gagik agamba nti: “Ssente ze nnali nfuna zaakendeera nnyo era tekyannyanguyira kuyimirizaawo ba mu maka gange. Naye kati mpulira essanyu. Nnina omuntu ow’omunda omuyonjo era nteereddewo abaana bange ababiri ekyokulabirako ekirungi. Ate era nfunye n’enkizo mu kibiina. Abantu abasolooza omusolo n’abalala be nkolagana nabo mu bizineesi bammanyi ng’omuntu omwesigwa.”

YAKUWA ATUYAMBA

Yakuwa ayagala nnyo abo abalungiya okuyigiriza kwe nga booleka engeri ze, omuli n’obwesigwa. (Tit. 2:10) Yaluŋŋamya Kabaka Dawudi okuwandiika nti: “Nnali muto, naye kati nkaddiye, kyokka sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa, wadde abaana be nga basabiriza emmere.”​—Zab. 37:25.

Bye tusoma ku Luusi bikakasa obutuufu bw’ebigambo ebyo. Luusi yanywerera ku nnyazaala we Nawomi era teyamwabuulira mu myaka gye egy’obukadde. Luusi yagenda mu Isirayiri gye yali asobola okusinziza Katonda ow’amazima. (Luus. 1:16, 17) Ng’ali mu Isirayiri, Luusi yali mwesigwa era nga mukozi nnyo. Yakolanga n’obunyiikivu ng’alonderera mu nnimiro ng’Amateeka bwe gaali galagira. Nga Dawudi bwe yagamba, Yakuwa teyayabulira Luusi ne Nawomi. (Luus. 2:2-18) Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa yalabirira Luusi mu by’omubiri, yamuwa n’enkizo ey’ekitalo ey’okuba mu lunyiriri omwava Kabaka Dawudi ne Masiya eyasuubizibwa!​—Luus. 4:13-17; Mat. 1:5, 16.

Abaweereza ba Katonda abamu oluusi beesanga mu mbeera nga si kyangu kufuna ssente zimala kukola ku byetaago byabwe eby’obulamu. Mu kifo ky’okufuna ebintu ebyo mu makubo amakyamu, bafuba okukola ennyo. Mu ngeri eyo bakyoleka nti okwoleka engeri za Katonda, omuli n’obwesigwa, bakitwala nga kikulu nnyo okusinga okwefunira ebintu.​—Nge. 12:24; Bef. 4:28.

Okufaananako Luusi, Abakristaayo mu nsi yonna bakiraze nti beesiga Yakuwa okubayamba. Batadde obwesige bwabwe mu Oyo eyasuubiza nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.” (Beb. 13:5) Yakuwa azze ayamba abantu abadaagana naye nga bafuba okuba abeesigwa mu bintu byonna. Atuukirizza ekyo kye yasuubiza, okuwa abantu be ebyo bye beetaaga.​—Mat. 6:33.

Abantu batwala alimasi n’amayinja amalala okuba ag’omuwendo ennyo. Naye tuli bakakafu nti mu maaso ga Kitaffe ow’omu ggulu, okwoleka obwesigwa awamu n’engeri ze endala kya muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo!

Bwe tuba abeesigwa tuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo era tubuulira nga tetulina kitulumiriza kyonna