Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okkiriza Omubumbi Omukulu Okukubumba?

Okkiriza Omubumbi Omukulu Okukubumba?

“Laba! Ng’ebbumba bwe liba mu mukono gw’omubumbi, nammwe bwe muli bwe mutyo mu mukono gwange.”​—YER. 18:6.

ENNYIMBA: 60, 22

1, 2. Lwaki Danyeri yali ‘musajja wa muwendo nnyo’ mu maaso ga Katonda, era tuyinza tutya okuba abawulize nga Danyeri?

ABAYUDAAYA abaali batwaliddwa mu buwambe bwe baatuuka mu kibuga Babulooni, baalaba nga buli wamu waaliwo ebifaananyi ebisinzibwa era ng’abantu baayo beenyigira mu by’obusamize. Wadde kyali kityo, Abayudaaya abeesigwa, gamba nga Danyeri ne banne abasatu, tebakkiriza kwonoonebwa bantu b’omu Babulooni. (Dan. 1:6, 8, 12; 3:16-18) Danyeri ne banne baali bamalirivu okwemalira ku Mubumbi waabwe Yakuwa. Era baasobola okumwemalirako! Wadde nga Danyeri yamala emyaka mingi ng’ali mu Babulooni, yasigala nga ‘wa muwendo nnyo’ mu maaso ga katonda.​—Dan. 10:11, 19.

2 Mu biseera by’edda, omubumbi yateekanga ebbumba ku lubumbiro n’akolamu ekintu kyonna kye yabanga ayagala okukola. Abaweereza ba Yakuwa bakimanyi nti Yakuwa ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna, era nti y’alina obuyinza okubumba abantu n’amawanga. (Soma Yeremiya 18:6.) Katonda era y’alina obuyinza okutubumba kinnoomu. Wadde kiri kityo, atuwa eddembe okwesalirawo era ayagala tumugondere kyeyagalire. Okusobola okulaba engeri gye tuyinza okusigala nga tuli ng’ebbumba eggonvu mu mikono gya Katonda, tugenda kwekenneenya eby’okuddamu mu bibuuzo bino: (1) Tuyinza tutya okwewala ebintu ebiyinza okutulemesa okukkiriza obulagirizi Katonda bw’atuwa? (2) Tuyinza tutya okukulaakulanya engeri ezituyamba okusigala nga tuli ng’ebbumba eggonvu? (3) Abazadde bayinza batya okukiraga nti bagondera Katonda nga babumba abaana baabwe?

WEEWALE EBINTU EBIYINZA OKUKAKANYAZA OMUTIMA GWO

3. Bintu ki ebisobola okukakanyaza omutima gwaffe? Waayo ekyokulabirako.

3 Engero 4:23 wagamba nti: “Kuumanga omutima gwo okusinga ekintu ekirala kyonna, kubanga gwe gusibukamu ensulo ez’obulamu.” Bintu ki ebiyinza okukakanyaza emitima gyaffe bye tusaanidde okwewala? Mu bintu ebyo muzingiramu amalala, okwemanyiiza okukola ekibi, n’obutaba na kukkiriza. Ebintu ebyo bisobola okutuleetera okuba abajeemu. (Dan. 5:1, 20; Beb. 3:13, 18, 19) Ng’ekyokulabirako, Kabaka Uzziya owa Yuda yayoleka amalala. (Soma 2 Ebyomumirembe 26:3-5, 16-21.) Mu kusooka, Uzziya yakola “ebirungi mu maaso ga Yakuwa,” era “yanoonya Katonda.” Naye “olwafuna amaanyi, n’afuna amalala mu mutima,” wadde nga Katonda ye yali amuyambye okufuna amaanyi ago! Yagezaako n’okwotereza obubaani mu yeekaalu ate nga bakabona ab’omu lunyiriri lwa Alooni be bokka abaalina okwotereza obubaani. Kyokka bakabona bwe baagezaako okumuziyiza, Uzziya yasunguwala busunguwazi! Biki ebyavaamu? Katonda yamukuba ebigenge era yafa nga mugenge.​—Nge. 16:18.

4, 5. Singa tetwewala malala kiki ekiyinza okuvaamu? Waayo ekyokulabirako.

4 Bwe tuteewala malala, naffe tuyinza okutandika okwetwala ng’aba waggulu ennyo, oboolyawo ne tutuuka n’okugaana okukolera ku magezi agali mu Byawandiikibwa. (Bar. 12:3; Nge. 29:1) Lowooza ku w’oluganda Jim aweereza ng’omukadde. Lumu yafuna obutakkaanya ne bakadde banne ku nsonga emu eyali ekwata ku kibiina. Jim agamba nti: “Nnagamba abakadde abo nti tebaalina kwagala era nnasituka ne nva mu lukuŋŋaana.” Nga wayise emyezi nga mukaaga, Jim yagenda mu kibiina ekirala naye ne batamulonda kuba mukadde. Agamba nti: “Ekyo kyannuma nnyo. Okwerowoozaako ennyo kyanviiramu emitawaana ne ntuuka n’okuleka amazima.” Jim yamala emyaka kkumi nga tegenda mu nkuŋŋaana. Agamba nti: “Amalala gandeetera okutandika okunenya Yakuwa olw’ebyo ebyali bibaddewo. Mu bbanga eryo lyonna, ab’oluganda baankyaliranga ne bagezaako okunnyamba naye ne ŋŋaana.”

5 Ekyo ekyatuuka ku Jim kiraga engeri amalala gye gayinza okutuleetera obutatunuulira bintu mu ngeri entuufu, ne kiviirako omutima gwaffe okukakanyala. (Yer. 17:9) Jim agamba nti: “Nnawuliranga nti nze nnali omutuufu era ekyo nnalemwa okukiggya mu birowoozo.” Mukkiriza munno yali akozeeko ekintu ne kikunyiiza oba wali oyisiddwaako obubi olw’okuggibwako enkizo mu kibiina? Bwe kiba kityo, weeyisa otya? Wafuna amalala? Oba kyandiba nti kye watwala ng’ekikulu kwe kuzzaawo emirembe wakati wo ne mukkiriza munno n’okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa?​—Soma Zabbuli 119:165; Abakkolosaayi 3:13.

6. Kiki ekiyinza okuvaamu singa twemanyiiza okukola ekibi?

6 Okwemanyiiza okukola ekibi, oboolyawo n’okukola ebibi mu nkukutu, nakyo kisobola okuleetera omuntu obutakolera ku magezi agali mu Byawandiikibwa. N’ekivaamu, omuntu kimwanguyira okukola ekibi. Ow’oluganda omu agamba nti ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, omutima gwe gwali tegukyamulumiriza olw’ebintu ebibi bye yali akola. (Mub. 8:11) Ow’oluganda omulala eyalina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, oluvannyuma yagamba nti: “Nneesanga nga ntandise okunoonya ensobi mu bakadde.” Omuze gwe ogwo omubi gwali gumukosezza nnyo mu by’omwoyo. Ekiseera kyatuuka abalala ne bakimanyaako nti yalina omuze ogwo era n’afuna obuyambi. Kyo kituufu nti ffenna tetutuukiridde. Kyokka singa tutandika okunoonya ensobi mu balala oba ne tutandika okwekwasa obusongasonga olw’ebibi bye tukola mu kifo ky’okukkiriza Yakuwa okutuyamba, kiyinza okulaga nti omutima gwaffe gukakanyadde.

7, 8. (a) Ekyo ekyatuuka ku Bayisirayiri kiraga kitya nti obutaba na kukkiriza kireetera omutima gw’omuntu okukakanyala? (b) Ekyo kituyigiriza ki?

7 Ekyo ekyatuuka ku Bayisirayiri Yakuwa be yanunula mu Misiri kitulaga engeri obutaba na kukkiriza gye kiyinza okukakanyaza omutima gw’omuntu. Abayisirayiri abo baalaba ebyamagero bingi Katonda bye yakola, ng’ebimu ddala byali byewuunyisa nnyo! Naye bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, bangi ku bo tebaayoleka kukkiriza. Mu kifo ky’okwesiga Yakuwa, baatya era ne beemulugunya ku Musa. Baatuuka n’okwagala okuddayo e Misiri gye baali abaddu! Ekyo kyanyiiza nnyo Yakuwa. Yagamba nti: “Abantu bano balituusa wa obutanzisaamu kitiibwa?” (Kubal. 14:1-4, 11; Zab. 78:40, 41) Olw’okuba abantu abo baakakanyaza emitima gyabwe era olw’okuba tebaalina kukkiriza, baafiira mu ddungu.

8 Leero, nga tunaatera okuyingira mu nsi empya, okukkiriza kwaffe kugezesebwa nnyo. Kirungi okwekebera okulaba obanga okukkiriza kwaffe kunywevu. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okwekebera ne tulaba endowooza gye tulina ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:33. Weebuuze: ‘Ebyo bye nkola n’ebyo bye nsalawo biraga nti nzikiririza mu bigambo bya Yesu ebyo? Njosa enkuŋŋaana oba okugenda okubuulira olw’okwagala okwongera ku ssente ze nfuna? Kiki kye nnaakola singa omulimu gwange gutandika okuntwalira ebiseera bingi? Nnakkiriza ebintu by’ensi okuntwaliriza oboolyawo ne ntuuka n’okuva mu mazima?’

9. Lwaki tusaanidde okwekebera okulaba obanga tuli mu kukkiriza, era ekyo tuyinza kukikola tutya?

9 Singa oluusi tetugoberera bulagirizi Yakuwa bw’atuwa obukwata ku mikwano, ku bantu ababa bagobeddwa mu kibiina, ne ku by’okwesanyusaamu, omutima gwaffe guyinza okukakanyala. Singa tukiraba nti bwe tutyo bwe tuli kiki kye tuyinza okukola? Tusaanidde okwekebera okulaba obanga okukkiriza kwaffe kutandise okukendeera! Bayibuli etugamba nti: “Mwekeberenga mulabe obanga muli mu kukkiriza; mwegezese mumanyire ddala ekyo kye muli.” (2 Kol. 13:5) Bulijjo tusaanidde okukozesa Ekigambo kya Katonda okwekebera mu bwesimbu.

SIGALA NG’OLINGA EBBUMBA EGGONVU

10. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli ng’ebbumba eggonvu mu mikono gya Yakuwa?

10 Ebimu ku bintu Yakuwa by’akozesa okutuyamba okusigala nga tuli ng’ebbumba eggonvu kye Kigambo kye, ekibiina kye, n’omulimu gw’okubuulira. Ng’amazzi bwe gagonza ebbumba, okusoma Bayibuli buli lunaku n’okufumiitiriza ku bye tusoma kituyamba okuba ng’ebbumba eggonvu mu mikono gya Yakuwa. Yakuwa yalagira bakabaka ba Isirayiri okukoppolola Amateeka n’okugasomanga buli lunaku. (Ma. 17:18, 19) Abatume baali bakimanyi nti okusoma Ebyawandiikibwa n’okubifumiitirizaako kyandibayambye nnyo mu mulimu gw’okubuulira. Emirundi mingi baajuliza Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya mu ebyo bye baawandiika era baakubirizanga abantu be baabuuliranga okukola kye kimu. (Bik. 17:11) Naffe leero tusaanidde okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku n’okukifumiitirizaako. (1 Tim. 4:15) Bwe tukola tutyo, kituyamba okusigala nga tuli beetoowaze era n’okubeera ng’ebbumba eggonvu mu mikono gya Yakuwa.

Kozesa ebintu Katonda by’atuwadde okutuyamba okusigala nga tuli ng’ebbumba eggonvu (Laba akatundu 10-13)

11, 12. Yakuwa ayinza atya okukozesa ekibiina kye okutubumba kinnoomu? Waayo ekyokulabirako.

11 Yakuwa akozesa ekibiina kye okutubumba kinnoomu. Jim, eyayogeddwako waggulu yatandika okukyusa endowooza ye, omukadde omu bwe yakiraga nti amufaako. Jim agamba nti: “Tewali mulundi na gumu omukadde oyo lwe yannenya olw’embeera gye nnalimu. Mu kifo ky’ekyo, yanzizaamu amaanyi era n’akiraga nti yali mwetegefu okunnyamba.” Nga wayise emyezi ng’esatu, omukadde oyo yagamba Jim okujja mu nkuŋŋaana. Jim agamba nti: “Ab’oluganda mu kibiina bannyaniriza n’essanyu era okwagala kwe bandaga kwankwatako nnyo. Nnatandika okukiraba nti sisaanidde kwerowoozaako kisukkiridde. Ab’oluganda awamu ne mukyala wange bannyamba nnyo ne nsobola okuddamu okuweereza Yakuwa. Ate era ebitundu ‘Yakuwa Si y’Alina Okunenyezebwa’ ne ‘Weereza Yakuwa n’Obwesigwa,’ ebyafulumira mu Watchtower eya Noovemba 15, 1992 nabyo byannyamba nnyo.”

12 Oluvannyuma lw’ekiseera, Jim yaddamu okulondebwa okuweereza ng’omukadde. Okuva olwo, ayambye ab’oluganda abawerako abaalina ekizibu ng’ekikye okukivvuunuka n’okuddamu okuweereza Yakuwa. Agamba nti: “Nnali ndowooza nti nnalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, naye nga mu butuufu si bwe kyali! Nnejjusa okuba nti nnakkiriza amalala okundeetera okubuusa amaaso ebintu ebisinga obukulu n’okukuliriza ensobi z’abalala.”​—1 Kol. 10:12.

13. Ngeri ki omulimu gw’okubuulira ze gutuyamba okukulaakulanya, era birungi ki ebivaamu?

13 Yakuwa akozesa atya omulimu gw’okubuulira okutubumba tusobole okuganyulwa? Okubuulira abalala amawulire amalungi kisobola okutuyamba okukulaakulanya obwetoowaze n’engeri endala ennungi eziri mu kibala eky’omwoyo. (Bag. 5:22, 23) Lowooza ku ngeri ennungi z’okulaakulanyizza olw’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Bwe twoleka engeri ez’Ekikristaayo, kireetera abalala okwagala obubaka bwaffe era kisobola n’okuleetera abamu okukyusa endowooza yaabwe. Ng’ekyokulabirako, Abajulirwa ba Yakuwa babiri mu Australia baasigala nga bakkakkamu ng’omukazi omu ayogedde nabo bubi. Kyokka oluvannyuma omukazi oyo yejjusa olw’engeri gye yayogeramu nabo era n’awandiikira ofiisi y’ettabi ebbaluwa. Ebimu ku bigambo ebyali mu bbaluwa eyo bye bino: “Nneetondera Abajulirwa ba Yakuwa abo ababiri abaali abagumiikiriza ennyo era abeetoowaze olw’engeri embi gye nnabayisaamu. Mpulira nga nnakola kya busiru okuyisa bwe ntyo abantu abaali babuulira Ekigambo kya Katonda.” Olowooza omukazi oyo yandiwandiise ebigambo ebyo singa baganda baffe abo baamuddamu bubi? Nedda. Tewali kubuusabuusa nti ng’oggyeeko okuba nti omulimu gw’okubuulira guganyula abalala, naffe gutuyamba okukulaakulanya engeri ennungi!

GONDERA KATONDA NG’OBUMBA ABAANA BO

14. Kiki abazadde kye balina okukola bwe baba ab’okuyamba abaana baabwe okuyiga amazima n’okugaagala?

14 Abaana abasinga obungi baagala nnyo okuyiga era batera okuba abeetoowaze. (Mat. 18:1-4) N’olwekyo, kiba kya magezi abazadde okutandika okuyigiriza abaana baabwe amazima n’okubayamba okugaagala nga bakyali bato. (2 Tim. 3:14, 15) Kya lwatu nti abazadde okusobola okuyamba abaana baabwe okuyiga amazima n’okugaagala, bo bennyini balina okusooka okugaagala n’okugakolerako mu bulamu bwabwe. Abazadde bwe bakola batyo, kyanguyira abaana baabwe okwagala amazima. Ate era kiyamba abaana baabwe okukiraba nti okukangavvula kwe bafuna kulaga nti bazadde baabwe babaagala era nti ne Yakuwa abaagala.

15, 16. Abazadde bayinza batya okukyoleka nti beesiga Yakuwa ng’omwana waabwe agobeddwa mu kibiina?

15 Wadde ng’abazadde bafuba okuyamba abaana baabwe okukulira mu mazima, oluvannyuma abamu bava ku Yakuwa oba bagobebwa mu kibiina, ekintu ekireetera ab’omu maka gaabwe obulumi obw’amaanyi. Mwannyinaffe omu abeera mu South Africa yagamba nti: “Mwannyinaze bwe yagobebwa mu kibiina nnawulira ng’eyali afudde. Kyannuma nnyo!” Kiki mwannyinaffe oyo ne bazadde be kye baakola? Baakolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. (Soma 1 Abakkolinso 5:11, 13.) Bazadde be baagamba nti: “Twali bamalirivu okukolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli, nga tukimanyi nti okukola ebintu nga Katonda bw’ayagala kivaamu emiganyulo. Okugoba omwana waffe mu kibiina twakitwala ng’okukangavvula okwava eri Yakuwa era twali bakakafu nti Yakuwa akangavvula abantu olw’okuba abaagala era abakangavvula ku kigero ekisaanira. N’olwekyo, twewala okukolagana ne mutabani waffe oyo, okuggyako we kyabanga kyetaagisa okwogera naye ku bintu ebyo byokka ebyali bikwata ku maka gaffe.”

16 Mutabani waabwe yawulira atya? Oluvannyuma yagamba nti: “Nnali nkimanyi nti ab’omu maka gange baali tebankyawa, wabula baali bagondera Yakuwa n’ekibiina kye.” Era yagamba nti: “Bwe weesanga mu mbeera nga kikukakatako okusaba Yakuwa akuyambe era akusonyiwe, okitegeera nti ddala omwetaaga nnyo.” Lowooza ku ssanyu ab’omu maka ago lye baafuna ng’omuvubuka oyo akomezeddwaawo mu kibiina! Tewali kubuusabuusa nti bwe tulowooza ku Katonda mu byonna bye tukola, ebivaamu biba birungi nnyo.​—Nge. 3:5, 6; 28:26.

17. Lwaki tusaanidde okwewombeeka wansi w’omukono gwa Yakuwa, era ekyo kinaatuganyula kitya?

17 Nnabbi Isaaya yayogera ku kiseera Abayudaaya abaali mu buwambe e Babulooni lwe bandyenenyezza ne bagamba nti: “Ai Yakuwa, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, era ggwe Mubumbi waffe; ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.” Era bandimwegayiridde nga bagamba nti: “Tojjukira nsobi zaffe mirembe na mirembe. Tukwegayiridde, tutunuulire, kubanga ffenna tuli bantu bo.” (Is. 64:8, 9) Naffe bwe twewombeeka wansi w’omukono gwa Yakuwa, okufaananako Danyeri, Yakuwa ajja kututwala ng’abantu ab’omuwendo. Ate era Yakuwa ajja kweyongera okutubumba ng’akozesa Ekigambo kye, omwoyo gwe omutukuvu, n’ekibiina kye. Era lumu tujja kusobola okuyimirira mu maaso ge ng’abaana be abatuukiridde.​—Bar. 8:21.