Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Lwaki Yakuwa yakkiriza entalo ezimu Abayisirayiri ze baalwana okubaawo?

Yakuwa alina okwagala kungi. Naye ebiseera ebimu abantu ababi bwe baalumbanga oba bwe baanyigirizanga abantu be, yakkirizanga abantu be okubalwanyisa. Katonda ye yasalangawo baani abandirwanye olutalo na ddi lwe bandirwanye.​—w15 11/1, lup. 4-5.

Bintu ki abazadde bye basobola okukola okuyamba abaana baabwe abatiini okuweereza Yakuwa?

Kikulu abazadde okulaga abaana baabwe abatiini okwagala, n’okuteekawo ekyokulabirako eky’okwoleka obwetoowaze. Era kikulu abazadde okwoleka amagezi nga bafuba okutegeera obulungi abaana baabwe abatiini.​—w15 11/15, lup. 9-11.

Lwaki paapa tasaanidde kutwalibwa ng’omusika wa Peetero?

Matayo 16:17, 18 tewagamba nti omutume Peetero ye yandibadde omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. Wabula Bayibuli eraga nti Yesu ye yandibadde ejjinja ekkulu ery’oku nsonda ery’ekibiina Ekikristaayo. (1 Peet. 2:4-8)​—w15 12/1, lup. 12-14.

Biki bye tusaanidde okulowoozaako nga tetunnayogera?

Okusobola okukozesa obulungi olulimi lwaffe, tulina okumanya (1) ddi lwe tusaanidde okwogera (Mub. 3:7), (2) eky’okwogera (Nge. 12:18), ne (3) engeri gye tusaanidde okwogeramu (Nge. 25:15).​—w15 12/15, lup. 19-22.

Ebimu ku bintu ebyoleka obutali bwesigwa Abakristaayo bye balina okwewala bye biruwa?

Abakristaayo ab’amazima beewala okulimba n’okuwaayiriza abalala. Teboogera bigambo bya bulimba ebigendereddwa okwonoona erinnya ly’abalala, era beewala okukumpanya oba okubba.​—wp16.1, lup. 5.

“Bakabona abakulu” aboogerwako mu Bayibuli baali baani?

“Bakabona abakulu” baabanga basajja ab’ebitiibwa ab’omu lunyiriri olwavangamu bakabona, nga muno mwe mwali n’abo abaabanga baaweerezaako nga bakabona abasinga obukulu naye ne bawummuzibwa.​—wp16.1, lup. 10.

Twanditutte tutya abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo?

Abakristaayo tebasaanidde kutwala bantu ng’abo kuba ba waggulu ku balala. Omuntu Katonda gwe yafukako amafuta aba tayagala kutwalibwa nga wa waggulu ku balala, era aba tayagala kumanyisa buli omu nti yafukibwako amafuta. (Mat. 23:8-12)​—w16.01, lup. 23-24.

Kiki kye tuyigira ku ngeri Ibulayimu gye yafuukamu mukwano gwa Katonda?

Kirabika Ibulayimu yayiga ebikwata ku Katonda okuyitira mu Seemu. Era Ibulayimu alina bingi bye yayigira ku ngeri Katonda gye yakolaganamu naye awamu n’ab’omu maka ge. Naffe tusaanidde okumukoppa.​—w16.02, lup. 9-10.

Sitaani yatwalira ddala Yesu ku yeekaalu bwe yali ng’amukema?

Tetumanyidde ddala kituufu. Okusinziira ku Matayo 4:5 ne Lukka 4:9 kisoboka okuba nti Yesu yatwalibwayo mu kwolesebwa oba nga yagenderayo ddala n’ayimirira ku kisenge kya Yeekaalu.​—w16.03, lup. 31-32.

Mu ngeri ki obuweereza bwaffe gye buyinza okuba ng’omusulo?

Omusulo gugwa mpolampola, guweweeza era guyamba ebimera okuba ebiramu. Omusulo ogugwa ku bimera mukisa okuva eri Katonda. (Ma. 33:13) N’omulimu ogw’okubuulira abantu ba Katonda gwe bakola bwe gutyo bwe guli.​—w16.04, lup. 4.