Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tokkiriza Nsobi z’Abalala Kukwesittaza

Tokkiriza Nsobi z’Abalala Kukwesittaza

“Mweyongere . . . okusonyiwagananga.”​—BAK. 3:13.

ENNYIMBA: 121, 75

1, 2. Bayibuli yakiraga etya nti omuwendo gw’abaweereza ba Yakuwa gwandyeyongedde obungi?

EKIBIINA ky’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abali ku nsi kya njawulo nnyo. Kyo kituufu nti abaweereza ba Katonda ku nsi tebatuukiridde era balina obunafu obutali bumu. Wadde kiri kityo, Katonda akozesa omwoyo gwe okuyamba abaweereza be okwongera okumuweereza obulungi. Lowooza ku bintu ebimu Yakuwa by’akoze okuyitira mu baweereza be abatatuukiridde.

2 Ennaku ez’enkomerero we zaatandikira mu 1914, abaweereza ba Katonda ku nsi baali batono ddala. Wadde kyali kityo, Yakuwa yabawa omukisa mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. Mu myaka egyaddirira, abantu bangi nnyo baayiga amazima agali mu Bayibuli ne bafuuka Bajulirwa ba Yakuwa. Enkulaakulana eyo Yakuwa yali yagyogerako dda. Yagamba nti: “Omutono alifuuka lukumi era oyo anyoomebwa alifuuka ggwanga ery’amaanyi. Nze Yakuwa, ndikyanguyaako mu kiseera kyakyo.” (Is. 60:22) Obunnabbi obwo butuukiridde mu nnaku zino ez’oluvannyuma. Mu butuufu, leero waliwo amawanga mangi ng’omuwendo gw’abantu abagalimu gonna awamu tegwenkana muwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna.

3. Abaweereza ba Katonda boolese batya okwagala?

3 Mu nnaku zino ez’enkomerero Yakuwa era ayambye abantu be okukulaakulanya okwagala, ng’eno ye ngeri ye esinga obukulu. (1 Yok. 4:8) Yesu, eyayoleka obulungi engeri za Katonda, yagamba abagoberezi be nti: “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga . . . Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange​—bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:34, 35) Okubuulirira okwo kuyambye nnyo abantu ba Katonda naddala mu nnaku zino ng’amawanga mangi geenyigidde mu ntalo ku kigero ekitabangawo mu byafaayo. Ng’ekyokulabirako, abantu ng’obukadde 55 be baafiira mu Ssematalo II. Naye Abajulirwa ba Yakuwa tebeenyigira mu Ssematalo oyo. (Soma Mikka 4:1, 3.) Ekyo kyabayamba ‘obutavunaanibwa musaayi gwa muntu yenna.’​—Bik. 20:26.

4. Lwaki kyewuunyisa okuba nti abaweereza ba Yakuwa beeyongera obungi buli lukya?

4 Abantu ba Katonda beeyongera obungi buli lukya wadde nga bali mu nsi efugibwa Sitaani, “katonda w’ensi eno.” (2 Kol. 4:4) Sitaani akozesa bannabyabufuzi n’emikutu gy’empuliziganya okutuukiriza ebigendererwa bye. Naye tasobola kulemesa mulimu gwa kubuulira kugenda mu maaso. Kyokka olw’okuba Sitaani akimanyi nti asigazza akaseera katono, akola kyonna ekisoboka okuggya abantu ku Yakuwa, era ekyo akikola mu ngeri ezitali zimu.​—Kub. 12:12.

EKINTU EKIGEZESA OBWESIGWA BWAFFE

5. Lwaki abalala oluusi bakola ebintu ebitunyiiza? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.)

5 Ekibiina kya Yakuwa kitukubiriza okwagala Katonda ne bantu bannaffe. Yesu yagamba nti: “ ‘Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka. Ery’okubiri eririfaanana lye lino: ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.’ ” (Mat. 22:35-39) Kyokka Bayibuli eraga nti olw’okuba twasikira ekibi kya Adamu, ffenna tetutuukiridde. (Soma Abaruumi 5:12, 19.) N’olwekyo, ebiseera ebimu bakkiriza bannaffe bayinza okwogera oba okukola ekintu ekitunyiiza. Ekyo kisobola okugezesa ennyo okwagala kwe tulina eri Yakuwa n’eri abantu be. Singa ekyo kibaawo, kiki ky’onookola? N’abaweereza ba Katonda abeesigwa ab’edda baayogera oba baakola ebintu ebyanyiiza abalala, era tulina bingi bye tusobola okuyigira ku ebyo Bayibuli by’eboogerako.

Singa wali obeera mu Isirayiri mu kiseera kya Eli ne batabani be, wandyeyisizza otya? (Laba akatundu 6)

6. Eli yalemererwa atya okukangavvula batabani be?

6 Ng’ekyokulabirako, Kabona Asinga Obukulu Eli yalina batabani be babiri abaali batassa kitiibwa mu mateeka ga Yakuwa. Bayibuli egamba nti: “Batabani ba Eli baali bantu babi nnyo, era baali tebawa Yakuwa kitiibwa.” (1 Sam. 2:12) Wadde nga kitaabwe yakola kinene mu kutumbula okusinza okw’amazima, batabani be ababiri baakola ebibi eby’amaanyi ennyo. Ekyo Eli yali akimanyi era yandibadde abakangavvula, naye talina kye yakolawo. N’ekyavaamu, Katonda yasalira ennyumba ya Eli omusango. (1 Sam. 3:10-14) Ekiseera kyandituuse, abantu b’omu lunyiriri lwe ne baba nga tebakyakkirizibwa kuweereza nga bakabona abasinga obukulu. Singa waliwo mu kiseera kya Eli, wandyeyisizza otya ng’olaba Eli teyeefiirayo ng’alaba batabani be bakola ebintu ebibi? Ekyo wandikikkirizza okukwesittaza, oboolyawo n’otuuka n’okulekera awo okuweereza Katonda?

7. Kibi ki eky’amaanyi Dawudi kye yakola, era kiki Katonda kye yakolawo?

7 Yakuwa yali ayagala nnyo Dawudi era Bayibuli egamba nti Dawudi yali “asanyusa omutima [gwa Yakuwa].” (1 Sam. 13:13, 14; Bik. 13:22) Naye lumu Dawudi yayenda ku Basuseba, era Basuseba n’afuna olubuto. Mu kiseera ekyo Uliya omwami wa Basuseba yali agenze mu lutalo kulwana. Bwe yakomawo awaka okumala akaseera, Dawudi yagezaako okumusalira amagezi yeegatte ne mukyala we kirabike nga gy’obeera nti olubuto lwali lwa Uliya. Uliya yagaana okukola ekyo Dawudi kye yali ayagala akole, ekyaleetera Dawudi okukola enteekateeka Uliya attibwe mu lutalo. Yakuwa yabonereza Dawudi olw’ekibi ekyo kye yakola era Dawudi yafuna ebizibu bingi awamu n’ab’ennyumba ye. (2 Sam. 12:9-12) Wadde kyali kityo, Katonda yalaga Dawudi ekisa kubanga okutwalira awamu Dawudi yatambulira mu maaso ga Yakuwa “n’omutima gwe gwonna.” (1 Bassek. 9:4) Singa waliwo mu kiseera ekyo, kiki kye wandikoze? Wandikkirizza enneeyisa ya Dawudi okukwesittaza n’ova ku Yakuwa?

8. (a) Omutume Peetero yalemererwa atya okutuukiriza ekyo kye yali asuubizza? (b) Wadde nga Peetero yakola ensobi, lwaki Yakuwa yeeyongera okumukozesa?

8 Ate lowooza ku Peetero. Yesu yamulonda okuba omu ku batume be; kyokka, ebiseera ebimu Peetero yayogeranga oba yakolanga ebintu bye yejjusa oluvannyuma. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera Yesu we yali yeetaagira ennyo abatume be, bonna baamwabulira. Emabegako, Peetero yali agambye nti abalala bonna ne bwe bandyabulidde Yesu, ye teyandimwabulidde. (Mak. 14:27-31, 50) Kyokka Yesu bwe yakwatibwa, abatume bonna, nga mw’otwalidde ne Peetero, baamwabulira. Peetero yatuuka n’okwegaana Yesu emirundi esatu miramba. (Mak. 14:53, 54, 66-72) Wadde kyali kityo, Peetero yeenenya era Yakuwa yeeyongera okumukozesa. Singa wali muyigirizwa wa Yesu mu kiseera ekyo, ekyo Peetero kye yakola kyandikwesittazza n’olekera awo okwesigwa Yakuwa?

9. Kiki ekikukakasa nti Katonda mwenkanya?

9 Abo be bamu ku bantu Bayibuli b’eyogerako, abaakola ebintu ebyalumya abalala. Waliwo n’abaweereza ba Katonda abalala bangi mu biseera eby’edda ne mu kiseera kyaffe abaakola ebintu ebyalumya abalala. Singa ekyo kikutuukako, oneeyisa otya? Onokkiriza ensobi zaabwe okukwesittaza, oboolyawo n’otuuka n’okuva ku Yakuwa n’abantu be, omuli n’abo abali mu kibiina mw’okuŋŋaanira? Oba onookijjukira nti Yakuwa ayinza okuleka ekiseera okuyitawo omwonoonyi okusobola okwenenya era nti ajja kubaako ky’akolawo okutereeza ensonga? Oluusi abantu abamu abakola ebibi eby’amaanyi tebasiima kisa Yakuwa ky’abalaga era bagaana okwenenya. Mu mbeera ng’eyo, oneesiga Yakuwa nti ajja kubaako ky’akolawo mu kiseera ekituufu, oboolyawo aggye omwonoonyi mu kibiina?

SIGALA NG’OLI MWESIGWA

10. Yesu yatunuulira atya ensobi za Yuda Isukalyoti ne Peetero?

10 Bayibuli eyogera ku baweereza ba Katonda bangi abaasigala nga beesigwa eri Yakuwa n’eri abantu be wadde ng’abalala baakola ebintu ebibalumya. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okumala ekiro kiramba ng’asaba Kitaawe, Yesu yalonda abatume 12, era Yuda Isukalyoti yali omu ku bo. Yuda bwe yalyamu Yesu olukwe era ne Peetero n’amwegaana, ekyo Yesu teyakikkiriza kumuleetera kuva ku Yakuwa. (Luk. 6:12-16; 22:2-6, 31, 32) Yesu yali akimanyi nti Yakuwa oba abantu be si be baali bavunaanyizibwa ku nsobi z’abasajja abo. Yesu yeeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa wadde ng’abamu ku bagoberezi be baakola ebintu ebimulumya. Yakuwa yawa Yesu emikisa. Yamuzuukiza bw’atyo n’amuggulirawo ekkubo ery’okufuuka Kabaka ow’Obwakabaka obw’omu ggulu.​—Mat. 28:7, 18-20.

11. Bunnabbi ki obuli mu Bayibuli obutuukiridde mu bantu ba Katonda leero?

11 Yesu yali mutuufu okwesiga Yakuwa n’abantu be. Bwe tulowooza ku bintu Yakuwa by’akola okuyitira mu bantu be mu nnaku zino ez’enkomerero, kitwewuunyisa nnyo. Be bokka ababuulira amawulire amalungi mu nsi yonna. Ekyo abantu abalala tebasobodde kukikola kubanga tebalina bulagirizi Yakuwa bw’awa abantu be leero. Isaaya 65:14 woogera ku mbeera ennungi ey’eby’omwoyo abantu ba Katonda gye balimu. Wagamba nti: “Laba! Abaweereza bange balyogerera waggulu n’essanyu, olw’essanyu eririba mu mitima gyabwe.”

12. Tusaanidde kutunuulira tutya ensobi z’abalala?

12 Abaweereza ba Yakuwa basanyufu nnyo olw’okuba Yakuwa abawa obulagirizi ne basobola okukola ebintu ebirungi. Naye abantu abali mu nsi ya Sitaani bo bakaaba kubanga tebalina ssuubi lya biseera bya mu maaso. Tekiba kya magezi kunenya Yakuwa oba ekibiina kye olw’ensobi ezikolebwa abantu abamu mu kibiina. Tusaanidde okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’eri ekibiina kye era tulina okuyiga engeri entuufu gye tusaanidde okutunuuliramu ensobi z’abalala n’engeri gye tusaanidde okweyisaamu.

TUSAANIDDE KWEYISA TUTYA?

13, 14. (a) Lwaki tusaanidde okugumiikiriza ensobi z’abalala? (b) Kisuubizo ki kye tusaanidde okukuumira mu birowoozo byaffe?

13 Kati olwo tusaanidde kweyisa tutya nga waliwo omuweereza wa Katonda ayogedde oba akoze ekintu ekitulumya? Tusaanidde okukolera ku musingi guno: “Toyanguyirizanga kusunguwala, kubanga abasirusiru be baba ab’obusungu.” (Mub. 7:9) Tusaanidde okukijjukira nti ffenna tetutuukiridde era tukola ensobi. N’olwekyo, tetusaanidde kusuubira bingi mu bakkiriza bannaffe ne tukkiriza ensobi zaabwe okutumalako essanyu lye tufuna mu kubeera mu kibiina kya Yakuwa mu nnaku zino ez’enkomerero. N’ekisinga okuba eky’akabi, kwe kukkiriza ensobi z’abalala okutwesittaza ne tuva mu kibiina kya Yakuwa. Singa ekyo tukikkiriza okututuukako, tufiirwa enkizo ey’okukola Katonda by’ayagala era tufiirwa n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna mu nsi ya Katonda empya.

14 Kati olwo kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli basanyufu ng’abalala bakoze ebintu ebitulumya? Tusaanidde okujjukira ekisuubizo kya Yakuwa kino: “Laba! Ntonda eggulu eriggya n’ensi empya; ebintu ebyasooka tebirijjukirwa, era tebirisigala mu mutima.” (Is. 65:17; 2 Peet. 3:13) Tokkiriza nsobi z’abalala kukulemesa kufuna mikisa egyo egy’ekitalo.

15. Kiki Yesu kye yatugamba okukola ng’abalala bakoze ebintu ebitunyiiza?

15 Kyokka olw’okuba tetunnatuuka mu nsi empya, omuntu bw’akola oba bw’ayogera ekintu ekitulumya, tusaanidde okufumiitiriza ku ekyo Yakuwa ky’ayagala tukole. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okufumiitiriza ku bigambo bino Yesu bye yayogera: “Bwe musonyiwa abantu ensobi zaabwe, ne Kitammwe ali mu ggulu ajja kubasonyiwa; naye bwe mutabasonyiwa, ne Kitammwe ali mu ggulu tajja kubasonyiwa nsobi zammwe.” Ate era tusaanidde okukijjukira nti Peetero bwe yabuuza Yesu obanga asaanidde okusonyiwa “emirundi musanvu,” Yesu yamuddamu nti: “Nkugamba nti si mirundi musanvu, wabula emirundi 77.” Kyeyoleka lwatu nti Yesu yalaga nti bulijjo tulina okuba abeetegefu okusonyiwa abalala.​—Mat. 6:14, 15; 18:21, 22.

16. Kyakulabirako ki ekirungi Yusufu kye yateekawo?

16 Yusufu, omu ku baana ababiri Yakobo be yazaala mu Laakeeri, yateekawo ekyokulabirako ekirungi ku ngeri gye tusaanidde okweyisaamu ng’abalala batuyisizza bubi. Baganda ba Yusufu ekkumi baamukwatirwa obuggya olw’okuba kitaawe yali amwagala nnyo. N’ekyavaamu, baamutunda mu buddu. Nga wayise emyaka mingi, Falaawo yawa Yusufu obuyinza bungi n’aba nga y’amuddirira mu buyinza olw’okuba yamusiima olw’omulimu omulungi gwe yali akoze. Enjala bwe yagwa mu nsi, baganda ba Yusufu baagenda e Misiri okugula emmere naye tebaamutegeera. Yusufu yali asobola okukozesa obuyinza bwe yalina okwesasuza baganda be olw’engeri embi gye baamuyisaamu. Mu kifo ky’ekyo, yabagezesa okulaba obanga kati baali bakyusizza endowooza yaabwe. Bwe yakiraba nti baganda be abo baali bakyusizza endowooza yaabwe, Yusufu yeemanyisa gye bali n’abagamba nti: “Temutya. Nja kubawanga emmere, mmwe awamu n’abaana bammwe abato.” Bayibuli era egamba nti: “Bw’atyo n’ababudaabuda era n’abagumya.”​—Lub. 50:21.

17. Kiki ky’omaliridde okukola ng’abalala bakoze ensobi?

17 Ate era tusaanidde okukijjukira nti olw’okuba ffenna tetutuukiridde, naffe tukola ebintu ebinyiiza abalala. Bwe tukimanya nti tulina omuntu gwe tunyiizizza, Bayibuli etugamba nti tusaanidde okugenda gy’ali tutereeze ensonga. (Soma Matayo 5:23, 24.) Kitusanyusa abalala bwe batusonyiwa ensobi ze tuba tubakoze, era naffe tusaanidde okubasonyiwa. Abakkolosaayi 3:13 watugamba nti: “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.” Ate 1 Abakkolinso 13:5 wagamba nti okwagala “tekusiba kiruyi.” Bwe tusonyiwa abalala, naffe Yakuwa ajja kutusonyiwa. N’olwekyo, abalala bwe batusobya tusaanidde okukoppa Kitaffe ow’omu ggulu omusaasizi, atusonyiwa ensobi zaffe.​—Soma Zabbuli 103:12-14.