Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa ‘Akufaako’

Yakuwa ‘Akufaako’

LWAKI wandibadde mukakafu nti Yakuwa akufaako? Emu ku nsonga eyandikuleetedde okuba omukakafu eri nti Bayibuli ekiraga nti akufaako. Mu 1 Peetero 5:7 tusoma nti: ‘Mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’ Biki ebikukakasa nti Yakuwa akufaako?

KATONDA AKOLA KU BYETAAGO BY’ABANTU EBY’OMUBIRI

Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekirungi ng’ayoleka ekisa era ng’atuwa bye twetaaga

Katonda alina engeri ennungi ze twandyagadde mu mikwano gyaffe. Abantu bwe balagaŋŋana ekisa era nga buli omu ayoleka omwoyo omugabi, batera okufuuka ab’omukwano. Yakuwa alaga abantu ekisa era abawa bye beetaaga buli lunaku. Ng’ekyokulabirako: “Omusana gwe agwakiza ababi n’abalungi, era enkuba agitonnyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Mat. 5:45) Omusana n’enkuba bituganyula bitya? Ng’akozesa omusana n’enkuba, Katonda ‘awa abantu emmere mu bungi, era ajjuza emitima gyabwe essanyu.’ (Bik. 14:17) Yakuwa akakasa nti ensi ebala emmere mu bungi, era ekimu ku bintu ebisinga okutuleetera essanyu, kwe kulya emmere.

Naye lwaki abantu bangi leero balumwa enjala? Emu ku nsonga eri nti abakulembeze beemalira ku kwenywereza mu buyinza n’okwefunira eby’obugagga mu kifo ky’okukola ku byetaago by’abantu. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kugonjoola ekizibu ekyo ng’aggyawo gavumenti z’abantu, era asseewo Obwakabaka bwe obw’omu ggulu, ng’Omwana we Yesu Kristo ye Kabaka mu Bwakabaka obwo. Mu kiseera ekyo, tewali n’omu ajja kulumwa njala. Naye ne mu kiseera kino, Katonda alabirira abaweereza be abeesigwa. (Zab. 37:25) Ekyo tekiraga nti atufaako?

YAKUWA ATUWA OBUDDE BWE

Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekirungi ng’atuwa obudde bwe

Ow’omukwano omulungi akuwa obudde bwe. Ayinza okumala ekiseera ekiwerako ng’anyumya naawe ku bintu ebibanyumira mmwembi. Era ow’omukwano omulungi akuwuliriza bulungi ng’omubuulira ebizibu byo n’ebikweraliikiriza. Yakuwa bw’atyo bw’ali? Yee! Awuliriza essaala zaffe. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etukubiriza ‘okunyiikirira okusaba,’ ‘n’okusaba obutayosa.’​—Bar. 12:12; 1 Bas. 5:17.

Yakuwa mwetegefu okutuwuliriza kumala kiseera ki? Lowooza ku kyokulabirako kino okuva mu Bayibuli. Yesu bwe yali agenda okulonda abatume be, yamala “ekiro kyonna ng’asaba Katonda.” (Luk. 6:12) Mu ssaala eyo, Yesu ayinza okuba nga yayogera ku mannya g’abayigirizwa be abawerako, era nga yayogera ku ngeri zaabwe ne ku bunafu bwabwe, era n’asaba Kitaawe amuyambe okulonda obulungi abatume. Obudde we bwakeerera, Yesu yali mukakafu nti abo be yali alonze baalina ebisaanyizo okubeera abatume be. Ng’Oyo “awulira okusaba,” Yakuwa mwetegefu okuwulira essaala z’abantu bonna abeesimbu. (Zab. 65:2) Omuntu ne bw’amala essaawa nnyingi ng’asaba ku nsonga emu emuli ku mutima, ekyo Yakuwa takirinaako buzibu.

KATONDA MWETEGEFU OKUSONYIWA

Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekirungi ng’atusonyiwa

Oluusi n’abantu ab’emikwano ennyo balemererwa okusonyiwagana. Abantu ababa bamaze ekiseera ekiwanvu nga ba mukwano oluusi omukwano gwabwe gufa olw’okulemererwa okusonyiwagana. Yakuwa si bw’atyo bw’ali. Bayibuli ekubiriza abantu ab’emitima emirungi okusaba Katonda okubasonyiwa, ‘kubanga asonyiyira ddala.’ (Is. 55:6, 7) Kiki ekikubiriza Yakuwa okusonyiwa?

Okwagala kwe kukubiriza Katonda okusonyiwa. Katonda ayagala nnyo abantu ne kiba nti yawaayo Omwana we, Yesu, okununula abantu mu kibi n’ebizibu ebyajjawo olw’ekibi. (Yok. 3:16) Mu butuufu, ekinunulo kirabo kya muwendo nnyo. Okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu, Katonda asonyiwa abo bonna b’ayagala. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Bwe twatula ebibi byaffe, Katonda mwesigwa era mutuukirivu, ajja kutusonyiwa.” (1 Yok. 1:9) Olw’okuba Yakuwa atusonyiwa, kitusobozesa okweyongera okuba mikwano gye, era kituleetera okuwulira nti atufaako nnyo.

BW’OBA OMWETAAGA ABAAWO

Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekirungi ng’abaawo we tumwetaagira

Ow’omukwano owa nnamaddala ayamba mikwano gye nga beetaaga obuyambi. Yakuwa bw’atyo bw’ali? Yee. Bayibuli egamba nti: “[Omuweereza wa Katonda] bw’aneesittala tajja kugwa wansi, kubanga Yakuwa amukwata ku mukono n’amuwanirira.” (Zab. 37:24) Yakuwa ‘awanirira’ abaweereza be mu ngeri ezitali zimu. Lowooza ku kyokulabirako kino okuva ku kizinga ekiyitibwa St. Croix ekisangibwa mu Caribbean.

Omuwala omu bayizi banne baamujerega olw’okugaana okukubira bbendera saluti. Oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa amuyambe, omuwala oyo yasalawo okwogerako ne bayizi banne ku nsonga eyo. Ng’akozesa Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, yabannyonnyola nti yagaana okukubira bbendera saluti ng’asinziira ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. Yabagamba nti, “Yakuwa yakuuma Abebbulaniya abo abasatu olw’okuba baagaana okusinza ekifaananyi.” Oluvannyuma yagamba abo bonna abaaliwo nti yali asobola okubawa ekitabo ekyo. Abaana 11 bakkiriza ekitabo ekyo. Bwe yalaba engeri Yakuwa gye yamuwaamu obuvumu n’amagezi okwogera ku nsonga eyo etaali nnyangu kwogerako, omuwala oyo yasanyuka nnyo.

Singa weesanga ng’obuusabuusa obanga Yakuwa akufaako, fumiitiriza ku byawandiikibwa nga bino, Zabbuli 34:17-19; 55:22; ne 145:18, 19. Buuza abo abamaze ekiseera ekiwanvu nga baweereza Yakuwa bakubuulire engeri Yakuwa gy’abalabiriddemu. Era bw’oba olina ebikweraliikiriza, bitegeeze Yakuwa. Bw’onookola bw’otyo, ojja kukiraba nti Yakuwa ‘akufaako.’