“Yakuwa Katonda Waffe Ye Yakuwa Omu”
“Wulira ggwe Isirayiri: Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu.”—MA. 6:4.
ENNYIMBA: 138, 112
1, 2. (a) Lwaki ebigambo ebiri mu Ekyamateeka 6:4 bimanyiddwa nnyo? (b) Lwaki Musa yayogera ebigambo ebyo?
OKUMALA ebyasa bingi, ab’enzikiriza y’Ekiyudaaya babadde bakozesa ebigambo ebiri mu Ekyamateeka 6:4 mu emu ku ssaala zaabwe. Essaala eyo bagisaba buli lunaku, ku makya n’akawungeezi. Essaala eyo eyitibwa Shema, ng’ekyo kye kigambo ekisooka mu lunyiriri olwo. Ab’enzikiriza y’Ekiyudaaya basaba essaala eyo okulaga nti beemalidde ku Katonda.
2 Ebigambo ebiri mu lunyiriri olwo bye bimu ku bigambo Musa bye yasembayo okwogera n’Abayisirayiri nga bali mu ddungu lya Mowaabu mu mwaka gwa 1473 E.E.T. Abayisirayiri baali banaatera okusomoka Omugga Yoludaani bayingire mu Nsi Ensuubize. (Ma. 6:1) Musa, eyali amaze emyaka 40 ng’abakulembera, yali ayagala Abayisirayiri babeere bavumu basobole okwaŋŋanga okusoomooza kwe baali bagenda okusanga. Baalina okwesiga Yakuwa Katonda waabwe. Ebigambo bya Musa ebyo biteekwa okuba nga byayamba nnyo Abayisirayiri. Oluvannyuma lw’okwogera ku Mateeka Ekkumi n’ebiragiro ebirala Yakuwa bye yali awadde eggwanga lya Isirayiri, Musa yayogera ebigambo ebiri mu Ekyamateeka 6:4, 5. (Soma.)
3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
3 Kati olwo tugambe nti Abayisirayiri abaali bakuŋŋaanidde mu maaso ga Musa baali tebakimanyi nti Yakuwa Katonda waabwe ye “Yakuwa omu”? Kya lwatu nti ekyo baali bakimanyi. Abayisirayiri abeesigwa baali bamanyi Katonda omu yekka ow’amazima era nga gwe basinza. Baali basinza Katonda wa bajjajjaabwe, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Kati olwo lwaki Musa yabagamba nti Yakuwa Katonda waabwe ye “Yakuwa omu”? Okuba nti Yakuwa ye “Yakuwa omu” kirina kakwate ki n’omuntu okwagala Katonda n’omutima gwe gwonna, n’obulamu bwe bwonna, n’amaanyi ge gonna, ng’olunyiriri 5 bwe lugamba? Era ebigambo ebiri mu Ekyamateeka 6:4, 5 bitukwatako bitya leero?
YAKUWA YE “YAKUWA OMU”
4, 5. (a) Agamu ku makulu g’ebigambo “Yakuwa omu” ge galuwa? (b) Yakuwa ayawukana atya ku bakatonda ab’amawanga?
4 Wa njawulo. Mu Lwebbulaniya ne mu nnimi endala nnyingi, ekigambo “omu” buli kiseera kiba tekitegeeza muwendo gwa kintu. Kisobola okutegeeza okuba ow’enjawulo ku balala. Kirabika wano Musa yali tagezaako kuwakanya njigiriza enkyamu egamba nti mu Katonda omu mulimu bakatonda basatu. Yakuwa ye yakola eggulu n’ensi, era ye Mufuzi w’obutonde bwonna. Yekka ye Katonda, teriiyo mulala; era teri amufaanana. (2 Sam. 7:22) N’olwekyo Musa yali ajjukiza Abayisirayiri nti baalina kusinza Yakuwa yekka. Baali tebalina kugoberera bantu abaali babeetoolodde abaali basinza bakatonda abatali bamu. Abantu abaali babeetoolodde baali bakkiriza nti ebintu ebitali bimu mu butonde buli kimu kirina katonda akirinako obuyinza.
5 Ng’ekyokulabirako, Abamisiri baali basinza katonda w’enjuba ayitibwa Ra, katonda w’eggulu ayitibwa Nut, katonda w’olukalu ayitibwa Geb, katonda w’Omugga Kiyira ayitibwa Hapi, n’ensolo ezitali zimu. Bangi ku bakatonda abo Yakuwa yabafeebya bwe yaleeta Ebibonyoobonyo Ekkumi ku Misiri. Ate katonda eyali asinga okusinzibwa mu Bakanani yali ayitibwa Bbaali, katonda w’oluzaalo, era eyali atwalibwa okuba katonda w’eggulu, enkuba, n’embuyaga. Mu bitundu bingi, abantu Bbaali baali bamutwala ng’omukuumi waabwe. (Kubal. 25:3) Abayisirayiri baalina okukijjukiranga nti Katonda waabwe, “Katonda ow’amazima,” ye “Yakuwa omu.”—Ma. 4:35, 39.
6, 7. Ebigambo “Yakuwa omu” birina makulu ki amalala, era Yakuwa yakiraga atya nti ali “omu”?
6 Yeesigika era Mwesigwa. Ebigambo “Yakuwa omu” era biraga nti ekigendererwa kya Yakuwa n’ebyo by’akola byesigika. Yakuwa takyukakyuka. Ate era mwesigwa era wa mazima. Yasuubiza okuwa Ibulayimu ne bazzukulu be Ensi Ensuubize, era yakola ebyamagero bingi okusobola okutuukiriza ekisuubizo ekyo. Wadde nga waali wayiseewo emyaka 430 Yakuwa yali akyali mumalirivu okutuukiriza ekisuubizo ekyo.—Lub. 12:1, 2, 7; Kuv. 12:40, 41.
7 Nga wayise emyaka mingi, Yakuwa yakiraga nti Abayisirayiri baali bajulirwa be era n’abagamba nti: “Sikyuka. Tewali Katonda yakolebwa okusooka nze, era tewali mulala yanziririra.” Ate era Yakuwa yakiraga nti ekigendererwa kye tekikyuka bwe yagamba nti: “Sikyuka.” (Is. 43:10, 13; 44:6; 48:12) Mu butuufu, Abayisirayiri baalina enkizo ey’ekitalo ey’okuweereza Yakuwa, eyeesigika mu makubo ge gonna, era naffe tulina enkizo eyo!—Mal. 3:6; Yak. 1:17.
8, 9. (a) Kiki Yakuwa kye yeetaagisa abaweereza be? (b) Yesu yakkaatiriza atya ebigambo Musa bye yayogera?
8 Musa yayamba Abayisirayiri okukijjukira nti okwagala Yakuwa kwe yalina gye bali kwali tekukyuka. N’olwekyo, nabo baalina okumwemalirako n’okumwagala n’omutima gwabwe gwonna, n’obulamu bwabwe bwonna, n’amaanyi gaabwe gonna. N’abaana abato baalina okwemalira ku Yakuwa kubanga bazadde baabwe baalina okukozesa buli kakisa ke bafuna okubayigiriza ebikwata ku Yakuwa.—9 Olw’okuba Yakuwa takyukakyuka, ekyo kye yali yeetaagisa abaweereza be mu biseera eby’edda era kye yeetaagisa abaweereza be leero. Okusobola okumusinza mu ngeri gy’asiima, naffe tulina okumwemalirako n’okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’amagezi gaffe gonna, n’amaanyi gaffe gonna. Ekyo kyennyini Yesu Kristo kye yagamba omuntu eyali amubuuzizza ekibuuzo. (Soma Makko 12:28-31.) Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okukyoleka mu ebyo bye tukola nti ddala tukimanyi nti “Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu.”
WEEMALIRE KU YAKUWA
10, 11. (a) Kitegeeza ki okwemalira ku Yakuwa? (b) Abavubuka Abebbulaniya baakyoleka batya nti baali beemalidde ku Yakuwa?
10 Okusobola okukiraga nti Yakuwa ye Katonda waffe omu yekka, tulina okumwemalirako. Tetulina kusinza katonda mulala yenna oba okutabika ekintu kyonna ekisibuka mu madiini ag’obulimba mu kusinza kwaffe. Tetusaanidde kumutwala butwazi nga Katonda asukkulumye ku bakatonda abalala bonna oba abasinga amaanyi. Yakuwa yekka ye Katonda era ye yekka gwe tusaanidde okusinza.—Soma Okubikkulirwa 4:11.
11 Ekitabo kya Danyeri kyogera ku bavubuka Abayudaaya Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya. Baakiraga nti baali beemalidde ku Yakuwa bwe baagaana okulya emmere etaali nnongoofu era ne bagaana n’okuvunnamira ekifaananyi ekya zzaabu Nebukadduneeza kye yakola. Yakuwa gwe baali bakulembeza mu bulamu bwabwe era baali beesigwa gy’ali.—Dan. 1:1–3:30.
12. Bwe tuba ab’okwemalira ku Yakuwa, kiki kye tulina okwewala?
12 Okusobola okulaga nti twemalidde ku Yakuwa, tetulina kukkiriza kintu kyonna kutwala kifo Yakuwa ky’alina okuba nakyo mu bulamu bwaffe. Ebimu ku bintu ebyo bye biruwa? Mu Mateeka Ekkumi, Yakuwa yalagira abantu be obutaba na bakatonda balala okuggyako ye era yabalagira n’okwewala okusinza ebifaananyi. (Ma. 5:6-10) Leero waliwo engeri nnyingi abantu gye basinzaamu ebifaananyi era ng’ezimu ku zo si nnyangu kumanya. Naye ekyo Yakuwa kye yeetaagisa abantu be tekikyukanga. Ne leero Yakuwa ye “Yakuwa omu.” Ka tulabe engeri ebigambo ebyo gye bitukwatako leero.
13. Bintu ki bye tuyinza okutandika okwagala okusinga Yakuwa?
13 Abakkolosaayi 3:5 (soma), woogera ku bintu ebiyinza okulemesa Abakristaayo okwemalira ku Yakuwa. Mu lunyiriri olwo omululu gukwataganyizibwa n’okusinza ebifaananyi. Ekyo kiri kityo kubanga ebintu omuntu by’ayagala ennyo, gamba ng’eby’obugagga, bisobola okufuuka ebikulu ennyo mu bulamu bwe ne biba nga katonda gy’ali. Era bwe twetegereza olunyiriri olwo, tukiraba nti ebibi ebirala ebyogerwako mu lunyiriri olwo birina akwate n’omululu, ate ng’okuba n’omululu kuba kusinza bifaananyi. Omuntu asobola okwagala ebintu ebyo okusinga bw’ayagala Katonda. Ddala twandikkirizza ebintu ebyo okututwaliriza ne kiba nti Yakuwa tetukyamutwala nga “Yakuwa omu”? Nedda.
14. Kulabula ki omutume Yokaana kwe yawa?
1 Yok. 2:15, 16) N’olwekyo, tulina okwekebera buli kiseera okulaba nti tetutwalirizibwa bya masanyu by’ensi eno, emikwano emibi, n’ennyambala n’okwekolako ebitasaana. Okwagala ensi era kuyinza okuzingiramu ‘okwenoonyeza ebikulu,’ gamba ng’obuyigirize obwa waggulu. (Yer. 45:4, 5) Ensi empya eneetera okutuuka. Nga kikulu nnyo leero okukuumira ebigambo bya Musa mu birowoozo byaffe! Bwe tuba nga ddala tukkiriza nti Yakuwa ye “Yakuwa omu,” tujja kukola kyonna ekisoboka okumwemalirako n’okumuweereza mu ngeri gy’asiima.—Beb. 12:28, 29.
14 Omutume Yokaana naye yakkaatiriza ensonga eyo bwe yagamba nti omuntu yenna bw’ayagala ebintu ebiri mu nsi, kwe kugamba, “okwegomba kw’omubiri, okwegomba kw’amaaso, n’okweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu,” “okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye.” (OKUKUUMA OBUMU
15. Lwaki Pawulo yajjukiza Abakristaayo nti balina Katonda omu, Yakuwa?
15 Okuba nti Yakuwa ye “Yakuwa omu” kiraga nti ayagala abaweereza be babe bumu era babeere n’ekigendererwa kye kimu. Ekibiina Ekikristaayo ekyaliwo mu kyasa ekyasooka kyalimu Abayudaaya, Abayonaani, Abaruumi, n’abantu ab’amawanga amalala. Baalina obuwangwa bwa njawulo, nga banyumirwa ebintu bya njawulo, era baava mu madiini ga njawulo. N’olwekyo, abamu tekyabanguyira kukola nkyukakyuka ze baalina okukola ng’Abakristaayo n’okulekayo amakubo gaabwe ag’edda. Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yajjukiza Abakristaayo abo nti baalina Katonda omu yekka, Yakuwa.—Soma 1 Abakkolinso 8:5, 6.
16, 17. (a) Bunnabbi ki obutuukiriziddwa leero, era biki ebivuddemu? (b) Kiki ekiyinza okumalawo obumu mu kibiina?
Is. 2:2, 3) Nga kitusanyusa nnyo okulaba ng’obunnabbi obwo butuukirira leero! N’ekivuddemu, ebibiina bingi birimu abantu aba langi ez’enjawulo, abalina obuwangwa obw’enjawulo, era aboogera ennimi ez’enjawulo, ekintu ekiweesa Yakuwa ettendo. Kyokka ekyo kisobola okuleetawo okusoomooza okutali kumu.
16 Ate ekibiina Ekikristaayo leero? Nnabbi Isaaya yagamba nti mu “nnaku ezisembayo,” abantu okuva mu mawanga gonna bandyambuse ku lusozi lwa Yakuwa, olukiikirira okusinza okw’amazima. Bandigambye nti: “[Yakuwa] anaatuyigiriza amakubo ge, era tunaatambulira mu mpenda ze.” (17 Ng’ekyokulabirako, otwala otya bakkiriza banno ab’amawanga amalala? Olulimi lwabwe, engeri gye bambalamu, enneeyisa yaabwe, n’emmere yaabwe biyinza okuba nga byawukana ku by’omanyidde. Otera okubeewala ne kiba nti osinga kukolagana n’abo bokka ab’eggwanga lyo? Ate watya singa abo abatwala obukulembeze mu kibiina kyo, oba omulabirizi akyalira ekibiina kyo, oba abo abali ku Kakiiko k’Ettabi bato ku ggwe oba nga ba ggwanga lya njawulo? Bwe tuba tetwegenderezza, tuyinza okukkiriza enjawulo ezo okutuleetera obutaba na ndowooza nnuŋŋamu ku baganda baffe ekintu ekiyinza okumalawo obumu mu kibiina?
18, 19. (a) Kubuulirira ki okuli mu Abeefeso 4:1-3? (b) Kiki kye tuyinza okukola okuyamba mu kukuuma obumu bw’ekibiina?
18 Tuyinza tutya okwewala obuzibu obwo okubaawo? Pawulo yawa amagezi amalungi Abakristaayo ab’omu Efeso, ekibuga ekyali ekigagga era nga kirimu abantu ab’amawanga ag’enjawulo. (Soma Abeefeso 4:1-3.) Weetegereze nti Pawulo yasooka kwogera ku ngeri gamba ng’obuwombeefu, obukkakkamu, obugumiikiriza, n’okwagala. Engeri ezo ziyinza okugeraageranyizibwa ku mpagi eziwanirira enju. Wadde ng’ennyumba eba n’empagi ezigiwanirira, eba erina okuddaabirizibwa buli luvannyuma lw’ekiseera ereme okwonooneka. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba Abakristaayo b’omu Efeso okufuba ennyo “okukuuma obumu obw’omwoyo.”
19 Buli omu ku ffe alina okufuba ennyo okukuuma obumu bw’ekibiina. Kiki kye tuyinza okukola? Okusookera ddala, tusaanidde okukulaakulanya engeri Pawulo ze yayogerako, omuli obuwombeefu, obukkakkamu, obugumiikiriza, n’okwagala. Ate era tulina okufuba ennyo okuleetawo “emirembe egigatta.” Obutakkaanya buyinza okugeraageranyizibwa ku lwatika oluli mu kisenge ky’ennyumba. N’olwekyo, tusaanide okufuba ennyo okumalawo obutakkaanya bwonna obuyinza okujjawo tusobole okukuuma emirembe n’obumu.
20. Tuyinza tutya okukiraga nti tukkiriza nti “Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu”?
20 “Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu.” Ebigambo ebyo nga bikulu nnyo! Ebigambo ebyo byayamba Abayisirayiri okwaŋŋanga ebizibu ebitali bimu bye baafuna nga bayingira mu Nsi Ensuubize. Naffe bwe tufumiitiriza ku bigambo ebyo, kijja kutuyamba okuyita mu kibonyoobonyo ekinene ekinaatera okutuuka tusobole okuyingira mu nsi empya. N’olwekyo, ka tweyongere okwemalira ku Yakuwa nga tumwagala, nga tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna, era nga tukola kyonna ekisoboka okukuuma obumu bw’ekibiina. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kusobola okulaba ng’ebigambo bya Yesu bino bituukirira ku abo b’anaalamula nti ndiga: “Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire Obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku ntandikwa y’ensi.”—Mat. 25:34.