OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Jjuuni 2018
Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Agusito 6 okutuuka nga Ssebutemba 2, 2018.
“Obwakabaka Bwange Si bwa mu Nsi Muno”
Engeri Yesu gye yeeyisaamu etuyamba etya okumanya engeri gye tusaanidde okutwalamu eby’obufuzi n’obutabanguko obuliwo mu nsi?
Ka Ffenna Tube Bumu nga Yakuwa ne Yesu Bwe Bali Obumu
Biki by’oyinza okukola okwongera okuleetawo obumu mu kibiina?
Yandibadde Asiimibwa Katonda
Ebyo bye tusoma ku Lekobowaamu, kabaka wa Yuda, bituyamba okumanya ekyo Katonda ky’atunoonyaamu.
Kkiriza Amateeka ga Katonda n’Emisingi Gye Okutendeka Omuntu Wo ow’Omunda
Katonda yatuwa omuntu ow’omunda, naye tulina okumutendeka.
‘Muleke Ekitangaala Kyammwe Kyake,’ Yakuwa Agulumizibwe
Ng’oggyeeko okubuulira amawulire amalungi, waliwo n’ebirala bye tulina okukola.
EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA
Yakuwa Yambudaabuda mu Bizibu Byange Byonna
Bazadde ba Edward Bazely baayawukana nga muto, yayigganyizibwa, yakola ensobi, era yennyamira.
Amaanyi Agali mu Kubuuza
N’okulamusa obulamusa omuntu kirina kinene kye kikola.
Okyajjukira?
Osobola okuddamu ebibuuzo bino ebyaddibwamu mu magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita?