Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amaanyi Agali mu Kubuuza

Amaanyi Agali mu Kubuuza

“OLI otya leero?”

Oteekwa okuba ng’otera okubuuza abantu mu ngeri efaananako bw’etyo. Oyinza okuba ng’oluusi okwo ogattako okukwata oyo gw’obuuza mu ngalo oba okumugwa mu kifuba. Ebigambo abantu bye boogera n’ebikolwa bye bakola nga babuuza abalala bikyukakyuka okusinziira ku kitundu, naye okutwalira awamu waliwo ebintu bye bafaanaganya nga babuuza. Mu butuufu omuntu bw’atabuuza oba bw’ataanukula nga bamubuuzizza ayinza okutwalibwa ng’eyeewulira oba atalina mpisa.

Naye abantu abamu tebanguyirwa kubuuza balala. Abantu abamu batya okubuuza abalala olw’okuba balina ensonyi oba olw’okuba beenyooma. Abalala kibazibuwalira okubuuza abantu ab’eggwanga eddala, ab’ekikula ekirala, oba abatalina nfuna y’emu n’eyaabwe. Wadde kiri kityo, n’okulamusa obulamusa omuntu kirina kinene kye kikola.

Weebuuze: ‘Birungi ki ebiva mu kubuuza abalala? Era Ekigambo kya Katonda kinjigiriza ki ku kubuuza?’

BUUZA “ABANTU ABA BULI NGERI”

Bwe yali ewa Koluneeriyo, Munnaggwanga eyasooka okwegatta ku kibiina Ekikristaayo, Omutume Peetero yagamba nti: “Katonda tasosola.” (Bik. 10:34) Oluvannyuma Peetero yagamba nti Katonda ayagala abantu “bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9) Ebigambo ebyo bisobola okukwataganyizibwa n’abo abayiga Bayibuli. Naye era Peetero yagamba Abakristaayo nti: “Muwenga abantu aba buli ngeri ekitiibwa, mwagalenga baganda bammwe bonna.” (1 Peet. 2:17) Ekyo kiraga nti tusaanidde okubuuza abantu aba buli ngeri, ka babe ba ggwanga ki oba ka babe nga baakulira mu mbeera ki. Eyo y’emu ku ngeri gye tulagamu nti tubawa ekitiibwa era nti tubaagala.

Omutume Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne nti: “Musembezeganyenga nga Kristo bwe yabasembeza.” (Bar. 15:7) Pawulo yamenya n’amannya g’ab’oluganda abamu ‘abaamuzzaamu amaanyi.’ Mu kiseera kino nga Sitaani alumba abantu ba Katonda ng’alina obusungu bungi, ab’oluganda beetaaga nnyo okuzzibwamu amaanyi.​—Bak. 4:11; Kub. 12:12, 17.

Ng’oggyeeko okulaga nti omuntu ayaniriziddwa, Ebyawandiikibwa biraga nti okubuuza kuganyula ne mu ngeri endala.

OKUGUMYA, OKUZZAAMU AMAANYI, OKWAGALA

Ekiseera bwe kyatuuka Katonda okuteeka obulamu bw’Omwana we mu lubuto lwa Maliyamu, yatuma malayika okwogera ne Maliyamu. Ng’atandika okwogera ne Maliyamu, malayika yagamba nti: “Emirembe gibe naawe, ggwe asiimibwa ennyo; Yakuwa ali naawe.” Maliyamu ‘yasoberwa’ nga yeebuuza ensonga lwaki malayika yali ayogera naye. Bwe kityo malayika yamugamba nti: “Totya Maliyamu, kubanga osiimiddwa mu maaso ga Katonda.” Malayika yamutegeeza nti Katonda yali amukwasizza obuvunaanyizibwa obw’okuzaala Masiya. Ekyo kyagumya nnyo Maliyamu era n’agamba nti: “Laba! ndi muzaana wa Yakuwa! Ka kibeere bwe kityo gye ndi nga bw’ogambye.”​—Luk. 1:26-38.

Wadde nga malayika oyo yalina enkizo ya maanyi ey’okukola ng’omubaka wa Yakuwa, teyakitwala nti kintu kya wansi nnyo gy’ali okwogera n’omuntu atatuukiridde. Bwe yali ayogera ne Maliyamu, yasooka kumubuuza ng’agamba nti: “Emirembe gibe naawe.” Ekyo kituyigiriza ki? Tusaanidde okuba abeetegefu okubuuza abalala n’okubazzaamu amaanyi. Wadde ng’ebigambo bye twogera biyinza okuba ebitono, bisobola okuzzaamu abalala amaanyi era ne bibakakasa nti ddala tuli baganda baabwe.

Pawulo alina ab’oluganda bangi be yali amanyi mu bibiina ebyali mu Asiya Omutono ne mu Bulaaya. Mu bbaluwa ze, yalamusa abantu abatali bamu ng’amenya n’amannya gaabwe. Ekyo tukirabira mu ebyo ebiri mu Abaruumi essuula 16. Pawulo yatumira Bakristaayo banne abawerako. Yayogera ku “mwannyinaffe” Feyibe, era n’akubiriza ab’oluganda ‘okumusembeza mu Mukama waffe mu ngeri egwanira abatukuvu, era bamuwe obuyambi bwonna bwe yali ayinza okuba nga yeetaaga.’ Pawulo yalamusa ne Pulisika ne Akula era n’agamba nti, “Si nze nzekka abeebaza wabula n’ebibiina byonna eby’ab’amawanga.” Yalamusa n’abalala be tutamanyi nnyo leero, omwali “Epayineeto omwagalwa” awamu ne “Terufayina ne Terufoosa, abakyala abakola ennyo mu Mukama waffe.” Pawulo yalamusanga baganda be ne bannyina.​—Bar. 16:1-16.

Lowooza ku ssanyu ab’oluganda abo lye baawulira okukimanya nti Pawulo yali abajjukira era nti yali asiima ebirungi bye baali bakola. Ekyo kiteekwa okuba nga kyabaleetera okweyongera okwagala Pawulo n’okwongera okwagalana! Ate era ebyo Pawulo bye yayogera ng’abalamusa biteekwa okuba nga byazzaamu n’Abakristaayo abalala amaanyi, ne kibakubiriza okweyongera okunywerera mu mazima. Bwe tulamusa abalala era ne tukiraga mu bwesimbu nti tusiima bye bakola, kinyweza enkolagana yaffe nabo era kinyweza obumu bwe tulina.

Pawulo bwe yatuuka ku mwalo gw’e Putiyooli era nga yeeyongerayo e Rooma, Abakristaayo ab’omu kitundu ekyo bajja okumusisinkana. Pawulo bwe yabalengera, “yeebaza Katonda n’aguma.” (Bik. 28:13-15) Oluusi tuyinza okuteekako obuteesi akamwenyumwenyu oba okukubira omuntu kajjambo. Naye n’ekyo kyokka ku bwakyo kisobola okuzzaamu omuntu amaanyi, gamba ng’oyo aba yennyamidde oba aba ali mu nnaku.

OBWETOOWAZE

Omuyigirizwa Yakobo yali ayagala okuwabula Bakristaayo banne. Abakristaayo abamu baali batandise okwenda mu by’omwoyo nga bakola omukwano n’ensi. (Yak. 4:4) Naye weetegereze engeri Yakobo gye yatandikamu ebbaluwa ye:

“Nze Yakobo omuddu wa Katonda era owa Mukama waffe Yesu Kristo, nnamusa ebika ekkumi n’ebibiri ebisaasaanye.” (Yak. 1:1) Okuba nti mu kubalamusa yakiraga nti naye yali muddu wa Katonda nga bo, kiteekwa okuba nga kyakifuula kyangu gye bali okukkiriza okuwabula kwe yabawa. Okulamusa abalala mu ngeri ng’eyo kuyinza okutusobozesa okwogera nabo ku nsonga ezitali nnyangu kwogerako.

Bwe tuba tubuuza abalala tusaanidde okubabuuza mu bwesimbu ne bwe tuba nga tukozesezza ebigambo bitono, oba ne bwe kiba nti be tubuuza balabika ng’abatatutaddeeko mutima. (Mat. 22:39) Mwannyinaffe omu mu Ireland yatuuka ku Kizimbe ky’Obwakabaka ng’enkuŋŋaana zigenda kutandika. Bwe yali ayanguwa afune aw’okutuula, ow’oluganda omu yakyuka n’amutunuulira n’amwenya era n’amugamba nti: “Tusanyuse okukulaba. Weebale kujja.” Naye mwannyinaffe oyo yatuula butuuzi mu kifo kye nga tamunyeze.

Nga wayiseewo wiiki ntono, mwannyinaffe oyo yatuukirira ow’oluganda oyo n’amugamba nti, waliwo ekizibu eky’amaanyi kye yali amaze ebbanga ng’ayolekagana nakyo eka. Mwannyinaffe oyo yagamba nti: “Ku olwo akawungeezi nnali mpulira bubi nnyo era kaabula kata nneme kujja mu nkuŋŋaana. Sirina kya maanyi kye nzijukira mu lukuŋŋaana olwo, okuggyako okuba nti wambuuza. Ekyo kyambudaabuda nnyo. Weebale nnyo.”

Ow’oluganda oyo yali takimanyi nti okubuuza mwannyinaffe oyo kirina kinene nnyo kye kyamukolako. Ow’oluganda oyo agamba nti: “Mwannyinaffe oyo bwe yantegeeza engeri gye yakwatibwako ebigambo byange ebyo ebyali ebitono, kyansanyusa nnyo. Nnakiraba nti okufaayo kwange tekwagwa butaka.”

Sulemaani yagamba nti: “Suula omugaati gwo ku mazzi, kubanga oliddamu n’ogulaba nga wayiseewo ennaku nnyingi.” (Mub. 11:1) Bwe tufuba okubuuza abalala naddala bakkiriza bannaffe kibaganyula nnyo era naffe kituganyula. N’olwekyo, togayanga maanyi gali mu kubuuza.