Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kkiriza Amateeka ga Katonda n’Emisingi Gye Okutendeka Omuntu Wo ow’Omunda

Kkiriza Amateeka ga Katonda n’Emisingi Gye Okutendeka Omuntu Wo ow’Omunda

“Nfumiitiriza ku ebyo by’otujjukiza.”​—ZAB. 119:99.

ENNYIMBA: 127, 88

1. Ekimu ku bintu ebifuula abantu okuba ab’enjawulo ku nsolo kye kiruwa?

EKIMU ku bintu ebifuula abantu okuba ab’enjawulo ku nsolo kwe kuba nti abantu balina omuntu ow’omunda. Ne Adamu ne Kaawa baalina omuntu ow’omunda. Ekyo tukimanyira ku ki? Adamu ne Kaawa bwe baamala okujeemera Yakuwa, beekweka. Ekyo kiraga nti omuntu waabwe ow’omunda yali abalumiriza.

2. Omuntu waffe ow’omunda afaananako atya kampasi? (Laba ekifaananyi waggulu.)

2 Omuntu ow’omunda, bwe busobozi bwe tulina obw’okumanya ekituufu n’ekikyamu. Abo abalina omuntu ow’omunda atatendekeddwa bulungi baba ng’emmeeri erina kampasi etakola bulungi. Omuntu bw’avuga emmeeri nga kampasi yaayo tekola bulungi, kiyinza okuvaamu obuzibu obw’amaanyi. Kiba kyangu embuyaga n’amayengo ebiba ku nnyanja okuggya emmeeri mu kkubo ettuufu. Naye kampasi bw’eba ekola bulungi, eyamba omugoba w’emmeeri okukuumira emmeeri mu kkubo ettuufu. Mu ngeri y’emu bwe tutendeka obulungi omuntu waffe ow’omunda, asobola okutuwa obulagirizi obutuufu.

3. Kiki ekiyinza okubaawo singa omuntu ow’omunda tatendekebwa bulungi?

3 Omuntu ow’omunda bw’aba tatendekeddwa bulungi, tasobola kuyamba muntu kwewala kukola kibi. (1 Tim. 4:1, 2) Omuntu ow’omunda ng’oyo ayinza n’okuleetera omuntu okuyita ‘ekibi ekirungi.’ (Is. 5:20) Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Ekiseera kijja, buli anaabatta alowooze nti aweereza Katonda.” (Yok. 16:2) Abo abatta Siteefano bwe batyo bwe baali balowooza. (Bik. 6:8, 12; 7:54-60) Waliwo abantu bangi abagamba nti baweereza Katonda abakola ebikolobero, gamba ng’okutta abantu, nga bagamba nti ekyo bakikolera Katonda. Naye ekituufu kiri nti ebyo bye bakola bimenya amateeka ga Katonda! (Kuv. 20:13) Omuntu waabwe ow’omunda abalimba.

4. Tuyinza tutya okukakasa nti omuntu waffe ow’omunda akola bulungi?

4 Tuyinza tutya okukakasa nti omuntu waffe ow’omunda akola bulungi? Amateeka n’emisingi ebiri mu Kigambo kya Katonda bigasa “mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kutereeza ebintu, ne mu kukangavvula mu butuukirivu.” (2 Tim. 3:16) N’olwekyo, bwe tunyiikirira okusoma Bayibuli, ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, era ne tubikolerako, kituyamba okuba n’endowooza ng’eya Katonda. Ekyo kisobozesa omuntu waffe ow’omunda okutuwa obulagirizi obwesigika. Kati ka tulabe engeri amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye gye biyinza okutuyamba okutendeka omuntu waffe ow’omunda.

KKIRIZA AMATEEKA GA KATONDA OKUKUTENDEKA

5, 6. Okukolera ku mateeka ga Katonda kituganyula kitya?

5 Okusobola okuganyulwa mu mateeka ga Katonda, tetulina kukoma bukomi ku kugasoma na kugamanya. Tulina n’okugaagala era n’okugakolerako. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Mukyawe ekibi, mwagale ekirungi.” (Am. 5:15) Ekyo tukikola tutya? Tulina okuyiga okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira. Lowooza ku kyokulabirako kino: Watya singa teweebaka bulungi era n’ogenda okulaba omusawo. Omusawo abaako amagezi g’akuwa ku mmere gy’osaanidde okulya n’okwewala, era n’akugamba okukolanga dduyiro, n’okubaako enkyukakyuka endala z’okola mu bulamu. Oluvannyuma lw’okukolera ku magezi g’aba akuwadde, okiraba nti gakola! Kya lwatu nti osiima nnyo omusawo oyo olw’okukuwa amagezi agakuyambye.

6 Mu ngeri y’emu, Omutonzi waffe yatuwa amateeka agatukuuma ne tutatuukibwako bintu ebibi ebiva mu kukola ekibi era agatuyamba okuba n’obulamu obulungi. Lowooza ku ngeri gye tuganyulwa mu kukolera ku mateeka agali mu Bayibuli agakwata ku kwewala okulimba, okubba, ebikolwa eby’obugwenyufu, ebikolwa eby’obukambwe, n’eby’obusamize. (Soma Engero 6:16-19; Kub. 21:8) Bwe tulaba emiganyulo egiva mu kugondera Katonda, tweyongera okumwagala n’okwagala amateeka ge.

7. Okusoma n’okufumiitiriza ku bantu aboogerwako mu Bayibuli kituyamba kitya?

7 Tekitwetaagisa kusooka kufuna bizibu ebiva mu kumenya amateeka ga Katonda ne tulyoka tumanya ekituufu n’ekikyamu. Tusobola okuyigira ku nsobi z’abantu aboogerwako mu Bayibuli. Engero 1:5 wagamba nti: “Omuntu ow’amagezi awuliriza era ne yeeyongera okuyiga.” Tufuna obulagirizi obusingayo obulungi okuva eri Katonda bwe tusoma era ne tufumiitiriza ku bintu ebyaliwo mu bulamu bw’abantu aboogerwako mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bulumi Kabaka Dawudi bwe yafuna oluvannyuma lw’okumenya etteeka lya Katonda n’ayenda ku Basuseba. (2 Sam. 12:7-14) Bwe tuba tusoma ku ekyo Dawudi kye yakola, tusobola okwebuuza nti: ‘Kabaka Dawudi yandisobodde atya okwewala obulumi obw’amaanyi bwe yafuna ng’ayenze ku Basuseba? Kiki kye nnandikoze nga njolekaganye n’ekikemo ng’ekyo? Nnandigudde mu bwenzi nga Dawudi, oba nnandibudduse nga Yusufu bwe yakola?’ (Lub. 39:11-15) Bwe tulowooza ku bizibu ebiva mu kukola ekibi, kituyamba okuba abamalirivu ‘okukyawa ekibi.’

8, 9. (a) Omuntu ow’omunda atuyamba atya? (b) Emisingi gya Yakuwa giyinza gitya okutendeka omuntu waffe ow’omunda?

8 Tusobola okwewala ebintu Katonda by’akyawa. Kyokka waliwo embeera ze twolekagana nazo ezitalina tteeka lizoogerako butereevu mu Bayibuli. Mu mbeera ng’ezo, tuyinza tutya okumanya ekyo ekisanyusa Katonda? Awo omuntu ow’omunda atendekeddwa Bayibuli w’atuyambira.

9 Olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo, yatuwa emisingi egiri mu Bayibuli egisobola okutuyamba okutendeka omuntu waffe ow’omunda. Yagamba nti: “Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa, akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata.” (Is. 48:17, 18) Bwe tufumiitiriza ku misingi egiri mu Bayibuli ne tugikkiriza okukwata ku mitima gyaffe, kiruŋŋamya omuntu waffe ow’omunda. N’ekivaamu, omuntu waffe ow’omunda atuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

KKIRIZA EMISINGI GYA KATONDA OKUKULUŊŊAMYA

10. Emisingi kye ki, era Yesu yagikozesa atya ng’ayigiriza?

10 Emisingi ge mazima amakulu agasobola okuluŋŋamya endowooza yaffe ne kituyamba okusalawo mu ngeri entuufu. Okusobola okutegeera emisingi gya Yakuwa, tuba twetaaga okutegeera endowooza ye n’ensonga lwaki yassaawo amateeka agamu. Bwe yali ku nsi, Yesu yayigiriza abayigirizwa be emisingi okubayamba okumanya ebiva mu ndowooza n’ebikolwa ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, yabayigiriza nti obusungu busobola okuleetera omuntu okukola ebikolwa eby’obukambwe ate era nti okwegomba okubi kusobola okuleetera omuntu okwenda. (Mat. 5:21, 22, 27, 28) Bwe tukolera ku misingi egiri mu Bayibuli kituyamba okutendeka obulungi omuntu waffe ow’omunda, era ekyo kituyamba okusalawo mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa.​—1 Kol. 10:31.

Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo afaayo ku muntu w’omunda ow’abalala (Laba akatundu 11, 12)

11. Omuntu ow’omunda ayinza atya okwawukana?

11 Oluusi Abakristaayo ababiri abalina omuntu ow’omunda atendekeddwa Bayibuli basobola okusalawo mu ngeri ez’enjawulo ku nsonga emu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mwenge. Bayibuli tevumirira kunywa mwenge ku kigero ekisaana. Naye evumirira okunywa omwenge omungi n’obutamiivu. (Nge. 20:1; 1 Tim. 3:8) Ekyo kitegeeza nti tewali kirala Mukristaayo ky’asaanidde kulowoozaako kasita aba ng’omwenge agunywa ku kigero ekisaana? Nedda. Wadde ng’omuntu we ow’omunda ayinza okuba nga tamulumiriza, Omukristaayo asaanidde n’okulowooza ku muntu ow’omunda ow’abalala.

12. Ebigambo ebiri mu Abaruumi 14:21 biyinza bitya okutuyamba okussa ekitiibwa mu muntu ow’omunda ow’abalala?

12 Ng’alaga ensonga lwaki kikulu Omukristaayo okufaayo ku muntu ow’omunda ow’abalala, Pawulo yagamba nti: “Kiba kirungi obutalya nnyama, oba obutanywa mwenge, oba obutakola kintu kyonna ekyesittaza muganda wo.” (Bar. 14:21) Oli mwetegefu okwefiiriza ebintu ebimu by’olina eddembe okukola singa okiraba nti bisobola okwesittaza abalala abalina omuntu ow’omunda ayawukana ku wuwo? Ekyo ky’osaanidde okukola. Abamu ku baganda baffe bwe baali tebannayiga mazima baakozesanga bubi omwenge, era kati bafuba okulaba nga bagwewalira ddala. Tewali n’omu ku ffe yandyagadde kukola kintu kyonna kiyinza kuleetera muganda waffe kuddamu kwenyigira mu mize emibi gye yalekayo! (1 Kol. 6:9, 10) N’olwekyo, singa tukyaza muganda waffe n’agaana okunywa omwenge, tetusaanidde kumupikiriza kunywa.

13. Timoseewo yakiraga atya nti yali afaayo ku muntu ow’omunda ow’abalala asobole okubayamba okuwuliriza amawulire amalungi?

13 Timoseewo bwe yali wa myaka nga 20, yakkiriza okukomolebwa wadde ng’ekyo kyandimuleetedde obulumi obw’amaanyi. Ekyo yakikola asobole okwewala okwesitazza Abayudaaya be yali agenda okubuulira. Okufaananako Pawulo, Timoseewo naye yali tayagala kwesittaza balala. (Bik. 16:3; 1 Kol. 9:19-23) Naawe oli mwetegefu okwefiiriza ebintu ebimu ku lw’obulungi bw’abalala?

‘FUBA OKUKULA’

14, 15. (a) Okukula mu by’omwoyo kuzingiramu ki? (b) Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bayisa batya abalala?

14 Tetusaanidde kukoma ku kumanya ‘njigiriza ezisookerwako ezikwata ku Kristo,’ wabula tusaanidde ‘okufuba okukula.’ (Beb. 6:1) Ekyo tekijja kyokka. Kyetaagisa ‘okufuba.’ Okusobola okukula mu by’omwoyo kitwetaagisa okwongera ku kumanya ne ku kutegeera kwe tulina. Eyo ye nsonga lwaki enfunda n’enfuda tukubirizibwa okusoma Bayibuli buli lunaku. (Zab. 1:1-3) Bw’otyo bw’okola? Okusoma Bayibuli buli lunaku kisobola okukuyamba okwongera okutegeera obulungi amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye.

15 Etteeka erisinga obukulu Abakristaayo lye balina okugondera lye tteeka ery’okwagala. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange—bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:35) Omuyigirizwa Yakobo etteeka ery’okwagala yaliyita “etteeka lya Kabaka.” (Yak. 2:8) Pawulo yagamba nti: “Okwagala kutuukiriza amateeka.” (Bar. 13:10) Tekyewuunyisa nti okwagala kintu kikulu nnyo kubanga Bayibuli egamba nti: “Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:8) Okwagala kwa Katonda tekukoma mu nneewulira. Yokaana yagamba nti: “Bwe kuti okwagala kwa Katonda bwe kwayolesebwa gye tuli, Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka tusobole okufuna obulamu okuyitira mu ye.” (1 Yok. 4:9) Okwagala Katonda kw’alina gye tuli kwamuleetera okubaako ky’akolawo okutuyamba. Bwe twagala Katonda n’Omwana we ne bakkiriza bannaffe awamu n’abantu abalala, kiba kiraga nti tuli bakulu mu by’omwoyo.​—Mat. 22:37-39.

Bwe tufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli, omuntu waffe ow’omunda asobola okutuwa obulagirizi obwesigika (Laba akatundu 16)

16. Bwe tweyongera okukula mu by’omwoyo, lwaki tweyongera okwagala ennyo emisingi?

16 Gye tukoma okukula mu by’omwoyo gye tukoma okweyongera okwagala ennyo emisingi gya Bayibuli. Ekyo kiri kityo kubanga etteeka likwata ku kintu kimu naye omusingi gukwata ku bintu bingi. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba omwana omuto aba tamanyi kabi kali mu kubeera na mikwano mibi, omuzadde ow’amagezi aba alina okumuteerawo amateeka okumukuuma. (1 Kol. 15:33) Naye omwana bw’akula, obusobozi bwe obw’okulowooza bweyongera era aba asobola okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli. Emisingi egyo gimuyamba okulonda emikwano emirungi. (Soma 1 Abakkolinso 13:11; 14:20.) Bwe tufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli, kitendeka omuntu waffe ow’omunda n’aba ng’atuwa obulagirizi obwesigika, kubanga tuba tulina endowooza ya Katonda.

17. Lwaki tuyinza okugamba nti tulina bye twetaaga okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

17 Ddala tulina byonna bye twetaaga okusobola okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa? Yee. Mu Bayibuli mulimu amateeka n’emisingi ebisobola okutuyamba ‘okuba ne byonna bye twetaaga okusobola okukola buli mulimu omulungi.’ (2 Tim. 3:16, 17) N’olwekyo, bw’oba osoma Bayibuli, noonyaamu emisingi osobole ‘okutegeera Yakuwa ky’ayagala.’ (Bef. 5:17) Kozesa mu bujjuvu ebintu ebituyamba mu kwesomesa, gamba nga Watch Tower Publications Index, Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, Watchtower Library, Watchtower ONLINE LIBRARY, ne JW Library app. Ebintu ebyo bituyamba okuganyulwa ennyo mu kwesomesa.

OMUNTU OW’OMUNDA ATENDEKEDDWA BAYIBULI ATUGANYULA NNYO

18. Birungi ki ebiva mu kukolera ku mateeka ga Katonda n’emisingi gye?

18 Waliwo emiganyulo mingi egiva mu kukolera ku mateeka ga Katonda n’emisingi gye. Zabbuli 119:97-100 wagamba nti: “Amateeka go nga ngaagala nnyo! Ngafumiitirizaako okuzibya obudde. Ebiragiro byo bingeziwaza okusinga abalabe bange, kubanga biri wamu nange emirembe n’emirembe. Ntegeera okusinga abayigiriza bange bonna, kubanga nfumiitiriza ku ebyo by’otujjukiza. Nneeyisa mu ngeri ey’amagezi okusinga abasajja abakadde, kubanga nkwata ebiragiro byo.” Bwe tufumiitiriza ku mateeka ga Yakuwa n’emisingi gye kituyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi era kituyamba okuba n’okutegeera. Era bwe tukozesa amateeka ga Katonda n’emisingi gye okutendeka omuntu waffe ow’omunda, tujja kusobola ‘okutuuka ku kigero ky’obukulu bwa Kristo.’​—Bef. 4:13.