Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Yakuwa Yambudaabuda mu Bizibu Byange Byonna

Yakuwa Yambudaabuda mu Bizibu Byange Byonna

Nnazaalibwa nga Noovemba 9, 1929 mu kibuga Sukkur mu nsi kati eyitibwa Pakistan. Mu kiseera ekyo, bazadde bange baafuna ebitabo okuva ku muminsani omu Omungereza. Bwe nnagenda nkula, ebitabo ebyo ebyali byesigamiziddwa ku Bayibuli byannyamba okuyiga amazima.

EBITABO ebyo byalimu ebifaananyi ebyali birabika obulungi ebyannyamba okufumiitiriza ku bintu ebyogerwako mu Bayibuli. Bwe kityo, okuva mu buto nnayagala nnyo okuyiga ebiri mu Bayibuli.

Ssematalo II bwe yali agenda mu maaso, obulamu bwange bwakaluba. Bazadde bange baayawukana era oluvannyuma ne bagattululwa. Kyanzibuwalira okutegeera ensonga lwaki abantu ababiri be nnali njagala ennyo baayawukana. Ekyo kyannuma nnyo era nnawulira nga njabuliddwa. Banzaala omu nzekka, era nnawulira nga tewali yali asobola kumbudaabuda, ate ng’ekyo kye nnali nsinga okwetaaga mu kiseera ekyo.

Nze ne maama twali tubeera mu kibuga Karachi. Lumu omusawo eyali akuze mu myaka eyali ayitibwa Fred Hardaker, era nga yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa yajja awaka. Yali wa ddiini y’emu n’omuminsani oli eyawa bazadde bange ebitabo. Hardaker yategeeza maama ku nteekateeka ey’okuyiga Bayibuli. Maama yagaana naye n’amugamba nti nze nnyinza okwagala okuyiga. Wiiki eyaddako nnatandika okuyiga Bayibuli n’Ow’oluganda Hardaker.

Nga wayise wiiki ntono, nnatandika okugenda mu nkuŋŋaana ezaabanga ku kalwaliro k’Ow’oluganda Hardaker. Enkuŋŋaana ezo zaabangamu Abajulirwa ba Yakuwa nga 12 era nga bonna bakulu mu myaka. Bambudaabuda era banfaako, nga nninga mutabani waabwe. Baatuulanga nange era bakkangako wansi ne boogera nange nga mukwano gwabwe. Ekyo nnali nkyetaaga nnyo mu kiseera ekyo.

Nga wayise ekiseera kitono, Ow’oluganda Hardaker yaŋŋamba ŋŋendenga naye okubuulira. Yanjigiriza okukozesa gramufoomu nsobole okuteerangako abantu obutambi obwaliko emboozi ezaali zeesigamiziddwa ku Bayibuli. Abantu abamu tebaayagalanga mboozi ezimu kubanga zaalingamu obubaka bwe baali bataagala. Naye nnanyumirwanga nnyo okubuulira. Nnali njagala nnyo amazima agali mu Bayibuli era nga njagala okugabuulirako abalala.

Eggye lya Japani bwe lyali linaatera okutuuka mu Buyindi, ab’obuyinza Abangereza beeyongera okunyigiriza Abajulirwa ba Yakuwa. Mu Jjulaayi 1943, embeera eyo nange yankosa. Omukulu w’essomero eyali omukulu mu ddiini y’Abapolotesitante yangoba mu ssomero ng’agamba nti “saalina bisaanyizo kuba mu ssomero lyabwe.” Yagamba maama wange nti okuba nti nnali nkuŋŋaana wamu n’Abajulirwa ba Yakuwa, saali kyakulabirako kirungi eri bannange ku ssomero. Maama yanyiiga nnyo era n’aŋŋaana okuddamu okukuŋŋaana awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma yansindika okugenda eri taata e Peshawar, akabuga akaali keesudde mayiro nga 850 okuva we twali tubeera. Olw’okuba nnali sikyafuna mmere ya bya mwoyo era nga sikyakuŋŋaana wamu na ba luganda, nnaddirira mu by’omwoyo.

NZIRAMU OKUNYWEZA ENKOLAGANA YANGE NE YAKUWA

Mu 1947, nnaddayo e Karachi okunoonya omulimu. Bwe nnali eyo, nnagendako ku kalwaliro k’ow’oluganda Hardaker. Ow’oluganda oyo yasanyuka nnyo okundaba.

Olw’okuba ow’oluganda Hardaker yali alowooza nti nnali ŋŋenzeeyo kufuna bujjanjabi, yambuuza nti, “Kiki ekikuluma?”

Nnamuddamu nti, “Musawo, siri mulwadde mu mubiri, naye ndi mulwadde mu by’omwoyo. Njagala kuyigirizibwa Bayibuli.”

Yambuuza nti, “Oyagala tutandike ddi okusoma?”

Nnamuddamu nti, “Bwe kiba kisoboka, kati.”

Akawungeezi ako twakamala tuyiga Bayibuli. Nnawulira nga ddala nnali nkomyewo awaka mu baganda bange ab’eby’omwoyo. Maama yagezaako nnyo okunnemesa okukuŋŋaana n’Abajulirwa ba Yakuwa naye ku luno nnali mmaliridde okufuula amazima agange. Nga Agusito 31, 1947, nnabatizibwa. Waayita ekiseera kitono, ne ntandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo, nga nnina emyaka 17.

NFUNA ESSANYU MU KUWEEREZA NGA PAYONIYA

Nnasooka kuweereza nga payoniya mu Quetta edda awaali enkambi y’abasirikale ba Bungereza. Mu 1947 ensi ya Buyindi yagabanyizibwamu ensi bbiri; emu yasigala eyitibwa Buyindi, ate endala n’eyitibwa Pakistan. * Kino kyaleetera abantu ab’amadiini ag’enjawulo okulwanagana era ne kiviirako abantu abakyasinzeeyo obungi mu byafaayo okusenguka okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala. Abantu ng’obukadde 14 baasenguka. Abasiraamu abaali mu Buyindi baagenda mu Pakistan ate Abahindu n’Abasiiki abaali mu Pakistan baagenda mu Buyindi. Mu kiseera ekyo, nnalinnya eggaali y’omukka mu Karachi eyali ekubyeko abantu ne ŋŋenda e Quetta era ekitundu ekisinga obunene eky’olugendo nnakimala ku madaala g’eggaali y’omukka nga neekutte ku byuma.

Nnagenda ku lukuŋŋaana olunene mu Buyindi mu 1948

Bwe nnali mu Quetta, nnasisinkana George Singh, payoniya ow’enjawulo eyalina emyaka nga 25. George yampa akagaali akakadde akannyamba ennyo. Ebiseera ebisinga nnabuuliranga nzekka. Mu bbanga lya myezi mukaaga, nnafuna abayizi ba Bayibuli 17, era abamu ku bo baakulaakulana ne babatizibwa. Omu ku bayizi abo eyali omukulu mu magye yali ayitibwa Sadiq Masih era yatuyamba nze ne George okuvvuunula ebimu ku bitabo byaffe mu lulimi oluyitibwa Urdu, nga luno lwe lulimi lwa Pakistan olutongole. Oluvannyuma, Sadiq yafuuka omubuulizi w’amawulire amalungi omunyiikivu.

Ku mmeeri eyitibwa Queen  Elizabeth nga tugenda mu Gireyaadi

Oluvannyuma nnaddayo e Karachi ne mpeerereza wamu ne Henry Finch ne Harry Forrest, abaminsani abaali baakava mu Ssomero lya Gireyaadi. Nnabayigirako ebintu bingi. Lumu nnagenda n’ow’oluganda Finch okubuulira mu bukiikakkono bwa Pakistan. Ku kyalo ekimu ekyali okumpi n’olusozi, twasanga abantu bangi abaali boogera Urdu. Abantu abo baali baagala nnyo okuyiga Bayibuli. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, nange nnagenda mu Ssomero lya Gireyaadi; era bwe nnaddayo e Pakistan nnayambako mu mulimu gw’okukyalira ebibiina. Nnali mbeera mu maka g’abaminsani e Lahore, nga mbeera wamu n’abaminsani abalala basatu.

NNYAMBIBWA MU BY’OMWOYO

Eky’ennaku, mu 1954, abaminsani abaali mu Lahore baafuna obutakkaanya ne kiviirako ofiisi y’ettabi okubasindika mu bitundu eby’enjawulo. Olw’okuba nnalina oludda lwe nneekubiirako mu butakkaanya obwo, nnafuna okuwabulwa okw’amaanyi. Nnawulira bubi nnyo era ne ndowooza nti nnali sikyali muntu wa bya mwoyo. Nnaddayo e Karachi era oluvannyuma ne ŋŋenda e London, mu Bungereza nga njagala ntandike buto okwezimba mu by’omwoyo.

Ekibiina kye nnalimu mu London kyalimu Ababeseri bangi. Omu ku bo yali ayitibwa Pryce Hughes era yali aweereza ng’omuweereza w’ettabi. Ow’oluganda oyo yannyamba nnyo. Lumu yannyumiza ku kuwabulwa okw’amaanyi okwamuweebwa Ow’oluganda Joseph F. Rutherford, eyali alabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. Ow’oluganda Hughes bwe yagezaako okwewolereza, Ow’oluganda Rutherford yamulabula. Kyanneewuunyisa nnyo okulaba nti ebyo byonna Ow’oluganda Hughes yabinnyumiza aliko akamwenyumwenyu. Yaŋŋamba nti mu kusooka okuwabulwa okwo kwamuyisa bubi. Naye oluvannyuma yakiraba nti yali akwetaaga era nti ekyo kyali kiraga nti Yakuwa amwagala. (Beb. 12:6) Ebyo bye yaŋŋamba, byankwatako nnyo, ne nziramu okuweereza Yakuwa n’essanyu.

Mu kiseera ekyo, maama yasengukira e London era n’atandika okuyiga Bayibuli n’Ow’oluganda John E. Barr, oluvannyuma eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi. Maama yakulaakulana n’abatizibwa mu 1957. Oluvannyuma nnakitegeerako nti taata bwe yali tannafa naye yali atandise okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa.

Mu 1958, nnawasa Lene, eyali yava e Denmark n’ajja e London. Omwaka ogwaddako twazaala muwala waffe, Jane, ng’oyo ye mwana waffe omubereberye mu baana abataano be twazaala. Era nnaweebwa enkizo ezitali zimu mu kibiina ky’e Fulham. Kyokka, ekiseera kyatuuka ng’embeera y’obulamu bwa Lene etwetaagisa okusengukira mu kitundu eky’ebbugumu. Bwe kityo mu 1967 twasengukira e Adelaide, mu Australia.

TUFUNA EKIZIBU EKY’AMAANYI

Ekibiina kye twagendamu mu Adelaide kyalimu ab’oluganda abaafukibwako amafuta 12 abaali bakuze mu myaka. Baali banyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira. Bwe kityo, twamanyiira mangu ekibiina ekyo.

Mu 1979, nze ne Lene twazaala omwana waffe ow’okutaano gwe twatuuma Daniel. Daniel yalina obulwadde obuyitibwa Down syndrome * era abasawo baatugamba nti yali ajja kufa mangu. N’okutuusa leero tekinnyanguyira kunnyonnyola bulumi obw’amaanyi bwe twafuna. Twafuba okumulabirira ate nga mu kiseera kye kimu tetulagajjalidde baana baffe abalala abana. Daniel oluusi yakyukanga langi olw’obutaba na mukka gumala, nga kino kyavanga ku kuba nti yalina ebituli bibiri ku mutima. Twalinanga okumuddusa mu ddwaliro mu bwangu. Wadde nga yalina obulwadde obwo obw’amaanyi, yali mugezi nnyo era ng’ayagala nnyo abantu. Ate era yali ayagala nnyo Katonda. Bwe twabanga tusaba, yeewoombeekanga, era essaala bwe yaggwanga, yanyeenyanga omutwe n’agamba nti “Amiina!” Teyalyanga nga tetunnasaba.

Daniel bwe yali wa myaka ena, yafuna kkansa w’omu musaayi. Nze ne Lene embeera yatusukkirirako era nnennyamira nnyo. Naye mu kiseera ekyo bwe twali nga tuwulira nga tuweddemu nnyo amaanyi, omulabirizi w’ekitundu eyali ayitibwa Neville Bromwich, yajja okutulaba. Mu kiro ekyo, yatuwambaatira n’akaabira wamu naffe. Ebigambo eby’ekisa bye yayogera naffe byatubudaabuda nnyo era yatusiibula ku ssaawa nga musanvu ogw’ekiro. Waayita akaseera katono Daniel n’afa. Okufa kwa Daniel kwatuleetera ennaku etagambika. Wadde kyali kityo twagumira ennaku eyo nga tuli bakakafu nti tewali kyali kiyinza kwawula Daniel ku kwagala kwa Yakuwa, ka kube kufa. (Bar. 8:38, 39) Twesunga nnyo okuddamu okulaba Daniel mu nsi empya ng’azuukidde!​—Yok. 5:28, 29.

NFUNA ESSANYU MU KUYAMBA ABALALA

Wadde nga nnakubwa ppuleesa enfunda bbiri, nkyaweereza ng’omukadde. Ebizibu bye mpiseemu mu bulamu binnyambye okwongera okuyiga okusaasira abalala n’okubakwatirwa ekisa, naddala abo aboolekagana n’ebizibu. Nneewala okubasalira omusango. Mu kifo ky’ekyo, nneebuuza: ‘Ebyo bye bayiseemu mu bulamu bikoze ki ku nneewulira yaabwe ne ku ngeri gye balowoozaamu? Nnyinza ntya okukiraga nti mbafaako? Nnyinza ntya okwongera okubakubiriza okuweereza Yakuwa?’ Nnyumirwa nnyo okukyalira ab’oluganda okubazzaamu amaanyi! Mu butuufu, bwe mbudaabuda abalala era ne mbazzaamu amaanyi mu by’omwoyo, nange mpulira nga nzizeemu amaanyi.

Kinsanyusa nnyo okukyalira ab’oluganda okubazzaamu amaanyi

Mpulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, [Yakuwa] wambudaabuda era n’oŋŋumya.” (Zab. 94:19) Yakuwa yampanirira nga bazadde bange baawukanye, nga njigganyizibwa, nga nkoze ensobi, era nga nnennyamidde. Mazima ddala Yakuwa akiraze nti ye Kitange!

^ lup. 19 Mu kusooka Pakistan yalimu ebitundu bibiri; Pakistan ow’ebugwanjuba (kati ye nsi ya Pakistan) ne Pakistan ow’ebuvanjuba (kati ye Bangladesh).

^ lup. 29 Laba ekitundu ekyogera ku bulwadde bwa Down syndrome mu Awake! eya Jjuuni, 2011.