Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yandibadde Asiimibwa Katonda

Yandibadde Asiimibwa Katonda

TUWEEREZA Yakuwa era twagala okusiimibwa mu maaso ge. Naye baani Yakuwa b’asiima era b’awa emikisa? Abantu abamu ab’edda baasiimibwa mu maaso ga Katonda wadde nga baalina ebibi eby’amaanyi bye baakola. Kyokka era waaliwo n’abantu abamu abaayoleka engeri ennungi naye ne batasiimibwa mu maaso ge. Kati ekyebuuzibwa kiri nti, “Kiki Yakuwa ky’anoonya mu buli omu ku ffe?” Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tulabe ebikwata ku Lekobowaamu, kabaka wa Yuda.

ENTANDIKWA EMBI

Taata wa Lekobowaamu yali Sulemaani, era Sulemaani yafugira Isirayiri okumala emyaka 40. (1 Bassek. 11:42) Sulemaani yafa mu mwaka gwa 997 E.E.T. Oluvannyuma Lekobowaamu yava e Yerusaalemi n’agenda e Sekemu okufuulibwa kabaka. (2 Byom. 10:1) Kyandiba nti eky’okusikira taata we oyo eyali omugezi ennyo kyamutiisaamu? Mu kiseera kitono Lekobowaamu kyali kigenda kumwetaagisa okukyoleka obanga yali alina amagezi ageetaagisa okusobola okugonjoola ekizibu eky’amaanyi.

Olw’okuba Abayisirayiri baali bawulira nga banyigirizibwa, baatuma ababaka eri Lekobowaamu bamugambe nti: “Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye singa ggwe otuwewulira ku mirimu gya kitaawo emizibu ne ku kikoligo ekizito kye yatuteekako, tujja kukuweerezanga.”​—2 Byom. 10:3, 4.

Lekobowaamu ayinza okuba nga yawulira ng’asobeddwa! Bwe yandikoledde ku ekyo abantu kye baali bamusabye kyandibadde kitegeeza nti ye n’ab’omu maka ge awamu n’abakungu be bandibadde bakendeeza ku bintu eby’okwejalabya bye baali bafuna, ekyo ne kiwewula ku mugugu abantu gwe baali beetisse. Ate bwe yandigaanye okukola ekyo abantu kye baali bamusabye, abantu abo bandimwewagguddeko. Kiki kye yandikoze? Lekobowaamu yasooka ne yeebuuza ku basajja abakulu abaali abawi b’amagezi ba Sulemaani. Kyokka oluvannyuma Lekobowaamu yeebuuza ne ku bavubuka ab’emyaka gye. Lekobowaamu yakolera ku magezi abavubuka ge baamuwa n’asalawo okuyisa obubi abantu. Yabagamba nti: “Ekikoligo kyammwe nja kukifuula kizito era nja kukyongerako. Kitange yabakubisanga mbooko eza bulijjo naye nze nja kubakubisa embooko eziriko obufumita.”​—2 Byom. 10:6-14.

Ekyo kituyigiriza ki? Kya magezi okuwuliriza abantu abakulu abakuze mu by’omwoyo. Olw’okuba baba balina obumanyirivu, bayinza okumanya ebyo ebinaava mu ebyo bye tuba twagala okusalawo era ne batuwa amagezi amalungi.​—Yob. 12:12.

‘BAAGONDERA EKIGAMBO KYA YAKUWA’

Ebika ebyo bwe byewaggula, Lekobowaamu yakuŋŋaanya eggye lye okubirwanyisa. Naye Yakuwa yatuma nnabbi Semaaya agambe Lekobowaamu n’eggye lye nti: “Temugenda kulwanyisa baganda bammwe Abayisirayiri. Buli omu addeyo mu nnyumba ye, kubanga ekyo nze nnakireetedde okuba bwe kityo.”​—1 Bassek. 12:21-24. *

Kyali kyangu eri Lekobowaamu okugondera Yakuwa? Kiki abantu kye bandibadde balowooza ku Lekobowaamu? Yali abagambye nti ajja kubakubisa “embooko eziriko obufumita,” kyokka kati yali talina ky’agenda kukolawo nga beewaggudde. (Geraageranya 2 Ebyomumirembe 13:7.) Wadde kyali kityo, Lekobowaamu n’eggye lye baagondera “ekigambo kya Yakuwa ne baddayo ewaabwe nga Yakuwa bwe yabalagira.”

Ekyo kituyigiriza ki? Kya magezi okugondera Katonda ne bwe kiba nti ekyo kiyinza okutuviirako okusekererwa. Bwe tugondera Katonda, atusiima era atuwa emikisa.​—Ma. 28:2.

Biki ebyavaamu Lekobowaamu bwe yawuliriza Yakuwa? Bwe yalekayo eky’okulwanyisa obwakabaka obupya obwali butandikiddwawo, essira yalissa ku kuzimba ebibuga mu kitundu kya Yuda ne Benyamini kye yali afuga. Mu butuufu ebibuga bingi “yabinywereza ddala nnyo.” (2 Byom. 11:5-12) N’ekisinga obukulu, okumala ekiseera, yanywerera ku mateeka ga Yakuwa. Obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi obwali bufugibwa Yerobowaamu bwe bwali bweyongera okwonooneka nga bwenyigira mu kusinza ebifaananyi, bangi okuva mu bwakabaka obwo ‘baawagira Lekobowaamu’ ne bagendanga e Yerusaalemi okusinza Yakuwa mu ngeri entuufu. (2 Byom. 11:16, 17) N’olwekyo, Lekobowaamu okugondera Yakuwa kyanyweza obwakabaka bwe.

AKOLA EKIBI ERA YEENENYA

Kyokka obwakabaka bwa Lekobowaamu bwe bwanywera, yakola ekintu ekyali kitasuubirwa. Yava ku mateeka ga Yakuwa ne yeenyigira ku kusinza okw’obulimba! Kiki ekyaviirako ekyo? Kyandiba nti yatwalirizibwa maama we eyali Omwamoni? (1 Bassek. 14:21) Ka kibe ki ekyamuviirako okukola bw’atyo, okutwalira awamu, abantu b’omu bwakabaka bwe nabo baamugoberera. Bwe kityo Yakuwa yaleka Kabaka Sisaki owa Misiri okuwamba ebibuga bya Yuda bingi wadde nga Lekobowaamu yali abinywezezza!​—1 Bassek. 14:22-24; 2 Byom. 12:1-4.

Embeera yeeyongera okwonooneka Sisaki bwe yatuuka e Yerusaalemi, Lekobowaamu gye yali afugira. Mu kiseera ekyo, nnabbi Semaaya yategeeza Lekobowaamu n’abaami be obubaka buno obwali buvudde eri Yakuwa: “Mundese era nange kyenvudde mbaleka mu mukono gwa Sisaki.” Kiki Lekobowaamu kye yakola ng’awulidde obubaka obwo? Bayibuli egamba nti: “Awo abaami ba Isirayiri ne kabaka ne beetoowaza ne bagamba nti: ‘Yakuwa mutuukirivu.’” N’ekyavaamu, Yakuwa yanunula Lekobowaamu era Yerusaalemi tekyazikirizibwa.​—2 Byom. 12:5-7, 12.

Oluvannyuma, Lekobowaamu yeeyongera okufuga obwakabaka bwa Yuda, obw’ebukiikaddyo. Bwe yali tannafa, Lekobowaamu yawa batabani be abangi ebintu mu bungi, oboolyawo nga tayagala balwanyise muganda waabwe Abiya, gwe yali ayagala okumusikira. (2 Byom. 11:21-23) Ku luno Lekobowaamu yayoleka amagezi g’ataayoleka mu kusooka.

YALI MULUNGI OBA YALI MUBI?

Wadde nga Lekobowaamu yagezaako okukola ebintu ebirungi, Bayibuli bw’eba eyogera ku bufuzi bwe okutwalira awamu egamba nti: “Yakola ebintu ebibi.” Lwaki? Kubanga “yali tamaliridde mu mutima gwe kunoonya Yakuwa.”​—2 Byom. 12:14.

Obutafaananako Kabaka Dawudi, Lekobowaamu yalemererwa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa

Kiki kye tuyigira ku Lekobowaamu? Oluusi n’oluusi yagonderanga Katonda. Ate era alina n’ebintu ebirungi bye yakolera abantu ba Yakuwa. Naye yalemererwa okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era yali tamaliridde mu mutima gwe kumusanyusa. Bwe kityo, yakola ebintu ebibi era yeenyigira mu kusinza okw’obulimba. Ekyebuuzibwa kiri nti: ‘Lekobowaamu bwe yagondera Yakuwa, kyandiba nti yakikola olw’okuba waaliwo abaamugamba okukikola, so si lwa kuba nti yali yeenenyezza okuviira ddala ku mutima era nti yali ayagala okusanyusa Katonda?’ (2 Byom. 11:3, 4; 12:6) Oluvannyuma Lekobowaamu yaddamu okukola ebintu ebibi. Yali wa njawulo nnyo ku jjajjaawe, Kabaka Dawudi. Dawudi yakola ensobi, naye yakyoleka mu bulamu bwe bwonna nti yali ayagala Katonda, yali ayagala nnyo okusinza okw’amazima, era nti yali yeenenyezza mu bwesimbu.​—1 Bassek. 14:8; Zab. 51:1, 17; 63:1.

Waliwo bye tuyigira ku Lekobowaamu. Kirungi okufunira ab’omu maka gaffe bye beetaaga n’okukola ennyo mu mulimu gwa Yakuwa. Naye okusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda tulina okumusinza mu ngeri gy’asiima n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.

Ekyo kijja kusoboka singa okwagala kwe tulina eri Yakuwa tukukuuma nga kunywevu. Ng’okuseesa mu muliro bwe kigusobozesa okusigala nga gwaka, okusoma Ekigambo kya Katonda, okufumiitiriza ku bye tusoma, n’okunyiikirira okusaba bitusobozesa okukuuma okwagala kwe tulina eri Yakuwa nga kunywevu. (Zab. 1:2; Bar. 12:12) Okwagala okw’amaanyi kwe tulina eri Yakuwa kujja kutukubiriza okumugondera mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe. Era bwe kiba kyetaagisa, okwagala okwo kujja kutukubiriza okwenenya mu bwesimbu. Obutafaananako Lekobowaamu, tujja kunywerera ku kusinza okw’amazima.​—Yud. 20, 21.

^ lup. 9 Sulemaani bwe yalekera awo okuba omwesigwa, Katonda yagamba nti obwakabaka bwa Isirayiri bwandibadde bwawuzibwamu.​—1 Bassek. 11:31.