OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Jjuuni 2020

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Agusito 3-30, 2020.

“Erinnya Lyo Litukuzibwe”

Ekitundu eky’okusoma 23: Agusito 3-9, 2020. Nsonga ki enkulu ekwata ku bitonde byonna ebitegeera? Lwaki ensonga eyo nkulu nnyo, era buvunaanyizibwa ki bwe tulina mu nsonga eyo? Okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo n’ebirala kijja kutuyamba okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa.

“Gatta Wamu Omutima Gwange Nsobole Okutya Erinnya Lyo”

Ekitundu eky’Okusoma 24: Agusito 10-16, 2020. Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ebigambo Kabaka Dawudi bye yayogera ng’asaba Yakuwa mu Zabbuli 86:11, 12. Kitegeeza ki okutya erinnya lya Yakuwa? Kiki kye tusinziirako okutya erinnya eryo ekkulu? Era okutya Katonda kuyinza kutya okutuyamba obutatwalirizibwa nga tukemeddwa?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Engeri ezoogerwako mu Abaggalatiya 5:22, 23 ze ngeri zokka eziri mu “kibala eky’omwoyo”?

“Nze Kennyini Nja Kunoonya Endiga Zange”

Ekitundu eky’okusoma 25: Agusito 17-23, 2020. Lwaki abantu abamu ababadde baweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka balekera awo okumuweereza? Katonda abatwala atya? Ekitundu kino kigenda kuddamu ebibuuzo ebyo. Era kigenda kulaga ebyo bye tusobola okuyigira ku ngeri Yakuwa gye yayambamu abantu abamu edda abataakola ebyo bye yali abagambye.

“Mudde Gye Ndi”

Ekitundu eky’okusoma 26: Agusito 24-30, 2020. Yakuwa ayagala abo abatakyabuulira era abatakyakuŋŋaana na bantu be badde gy’ali. Tulina bingi bye tusobola okukola okuyamba abantu abo abaagala okudda eri Yakuwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tusobola okubayamba okudda eri Yakuwa.