Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Engeri ezoogerwako mu Abaggalatiya 5:22, 23 ze ngeri zokka eziri mu “kibala eky’omwoyo”?
Ennyiriri ezo zimenya engeri mwenda Abakristaayo ze balina okwoleka: “Ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo kwe kwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, okwefuga.” Kyokka tetusaanidde kukitwala nti ezo zokka ze ngeri omwoyo gwa Katonda ze gusobola okutuyamba okukulaakulanya.
Weetegereza ebyo omutume Pawulo bye yayogera nga tannayogera ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo: “Ebikolwa eby’omubiri . . . bye bino: ebikolwa eby’obugwenyufu, obutali bulongoofu, obugwagwa, okusinza ebifaananyi, eby’obusamize, empalana, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawulamu, okwekutulamu obubiina, ensaalwa, obutamiivu, ebinyumu, n’ebiringa ebyo.” (Bag. 5:19-21) N’olwekyo, waliwo n’ebikolwa ebirala eby’omubiri Pawulo bye yali asobola okumenya, gamba ng’ebyo ebyogerwako mu Abakkolosaayi 3:5. Mu ngeri y’emu, bwe yamala okumenya engeri mwenda ennungi, yagamba nti: “Ebiri ng’ebyo tebiriiko tteeka libikugira.” N’olwekyo, Pawulo teyayogera ku ngeri zonna ennungi omwoyo omutukuvu ze gusobola okutuyamba okukulaakulanya.
Ekyo kyeyoleka bulungi bwe tugeraageranya ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo n’ebibala by’ekitangaala Pawulo bye yayogerako bwe yali awandiikira ekibiina ky’e Efeso. Yagamba nti: “Ebibala by’ekitangaala bibaamu obulungi n’obutuukirivu n’amazima ebya buli kika.” (Bef. 5: 8, 9) Mazima ddala, “obulungi,” awamu n’obutuukirivu n’amazima bye bimu ku ‘bibala by’ekitangaala,’ kyokka era bye bimu ku biri mu “kibala eky’omwoyo.”
Ate era Pawulo yakubiriza Timoseewo okufuba okwoleka engeri mukaaga ennungi era nga ze zino: “obutuukirivu, okwemalira ku Katonda, okukkiriza, okwagala, obugumiikiriza, n’obukkakkamu.” (1 Tim. 6:11) Ku ngeri ezo, nnya zokka (okukkiriza, okwagala, obugumiikiriza, n’obukkakkamu) Pawulo ze yayogerako bwe yali amenya engeri eziri mu ‘kibala ky’omwoyo.’ Kyokka Timoseewo era yali yeetaaga obuyambi bw’omwoyo mutukuvu okukulaakulanya engeri zino endala ezimenyeddwa: obutuukirivu n’okwemalira ku Katonda.—Geraageranya Abakkolosaayi 3:12; 2 Peetero 1:5-7.
N’olwekyo, engeri ezoogerwako mu Abaggalatiya 5:22, 23 si ze zokka Abakristaayo ze balina okukulaakulanya. Omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba okukulaakulanya engeri omwenda ezimenyembwa mu “kibala eky’omwoyo.” Naye waliwo n’engeri endala nnyingi ze tusaanidde okukulaakulanya okusobola okufuuka Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo, n’okusobola okwambala “omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima ne mu bwesigwa.”—Bef. 4:24.