Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 25

“Nze Kennyini Nja Kunoonya Endiga Zange”

“Nze Kennyini Nja Kunoonya Endiga Zange”

“Nze kennyini nja kunoonya endiga zange, era nja kuzirabirira.”​—EZK. 34:11.

OLUYIMBA 105 “Katonda Kwagala”

OMULAMWA *

1. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali nga maama ayonsa?

“OMUKAZI ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa?” Yakuwa yabuuza ekibuuzo ekyo mu kiseera kya nnabbi Isaaya. Katonda yagamba abantu nti: “Abakazi bano ne bwe beerabira, nze sirikwerabira.” (Is. 49:15) Yakuwa tatera kwegeraageranya ku maama. Naye ku luno yeegeraageranya ku maama. Yakuwa yakozesa enkolagana ebaawo wakati wa maama n’omwana we okulaga okwagala okungi kw’alina eri abaweereza be. Bamaama bangi bakkiriziganya n’ebigambo bino mwannyinaffe Jasmin bye yayogera: “Bw’oba oyonsa omwana wo, ofuna omukwano ogw’amaanyi naye ogubaawo obulamu bwammwe bwonna.”

2. Yakuwa awulira atya omu ku baweereza be bw’alekera awo okumuweereza?

2 Omuweereza wa Yakuwa, ne bw’aba omu bw’ati, bw’alekera awo okugenda mu nkuŋŋaana n’okubuulira, Yakuwa akiraba. Lowooza ku bulumi Yakuwa bw’awulira bw’alaba abaweereza be nkumi na kumi buli mwaka nga balekera awo okumuweereza. *

3. Kiki Yakuwa ky’ayagala?

3 Bangi ku bakkiriza bannaffe abalekera awo okuweereza Yakuwa bamala ne bakomawo eri ekibiina era kitusanyusa nnyo bwe bakomawo! Yakuwa ayagala bakomewo, era naffe ekyo tukyagala. (1 Peet. 2:25) Tuyinza tutya okubayamba okukomawo? Nga tetunnaddamu kibuuzo ekyo, kikulu okumanya ensonga lwaki abamu balekera awo okujja mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu kubuulira.

LWAKI ABAMU BALEKERA AWO OKUWEEREZA YAKUWA?

4. Abantu abamu emirimu gibaleetera kukola ki?

4 Abamu beemalira nnyo ku mirimu gyabwe. Ow’oluganda Hung, abeera mu nsi emu ey’omu Asiya, agamba nti: “Nneemalira nnyo ku mulimu gwe nnali nkola okweyimirizaawo. * Nneerimbalimba nti bwe nnaaba obulungi mu by’ensimbi, nja kusobola okuweereza Yakuwa mu ngeri esingawo obulungi. Bwe kityo, nneeyongera okumala obudde bungi ku mulimu. Nnatandika okwosanga enkuŋŋaana okutuusa lwe nnalekera awo okukuŋŋaana. Sitaani akozesa ensi ye okuwugula abantu, mpolampola balekere awo okuweereza Katonda.”

5. Ebizibu mwannyinaffe omu bye yafuna byamukwatako bitya?

5 Baganda baffe ne bannyinaffe abamu ebizibu bibayitirirako. Lowooza ku mwannyinaffe Anne abeera mu Bungereza era alina abaana bataano. Agamba nti: “Omu ku baana bange nnamuzaala ng’aliko obulemu obw’amaanyi. Nga wayise ekiseera, omu ku bawala bange yagobebwa mu kibiina ate mutabani wange omu n’alwala obulwadde bw’obwongo. Nnennyamira nnyo ne ndekera awo okugenda mu nkuŋŋaana n’okubuulira. Bwe kityo, nnalekera awo okuweereza Yakuwa.” Tusaasira nnyo Anne n’ab’omu maka ge awamu n’abalala aboolekagana n’ebizibu ng’ebyo!

6. Obutakolera ku magezi agali mu Abakkolosaayi 3:13 kireetera kitya abamu okwesala ku kibiina kya Yakuwa?

6 Soma Abakkolosaayi 3:13. Abamu ku baweereza ba Yakuwa baanyiiga olw’ekyo omu ku bakkiriza bannaabwe kye yakola. Omutume Pawulo yalaga nti oluusi tuyinza okuba “n’ensonga” ku mukkiriza munnaffe. Ate era tuyinza n’okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Bwe tuteegendereza, tuyinza okusiba ekiruyi. Omuntu asibye ekiruyi ayinza okwesanga nga yeeyawudde ku bantu ba Yakuwa. Lowooza ku w’oluganda Pablo abeera mu nsi emu eya Amerika ow’ebukiikaddyo. Waliwo abaamuwaayiriza nti yali akoze ekintu ekikyamu ne kimuviirako okuggibwako enkizo gye yalina mu kibiina. Kiki kye yakola? Pablo agamba nti: “Nnanyiiga nnyo era mpolampola ne nneesala ku kibiina.”

7. Okulumirizibwa omuntu ow’omunda kiyinza kukwata kitya ku muntu?

7 Omuntu bw’aba yakola ekibi eky’amaanyi ayinza okulumirizibwa omuntu ow’omunda okumala ekiseera kiwanvu, n’atuuka n’okuwulira nti Yakuwa tasobola kumwagala. Ne bw’aba nga yeenenya era nga yalagibwa ekisa, ayinza okuwulira nti tasaana kuba mu bantu ba Katonda. Ow’oluganda ayitibwa Francisco bw’atyo bwe yali awulira. Agamba nti: “Nnakangavvulwa olw’okwenyigira mu kikolwa eky’obugwenyufu. Wadde nga mu kusooka nneeyongera okujja mu nkuŋŋaana, nnennyamira era ne mpulira nga sigwana kuba mu bantu ba Yakuwa. Omuntu wange ow’omunda yannumirizanga nnyo era nnali ndowooza nti Yakuwa teyansonyiwa. Oluvannyuma lw’ekiseera, nnalekera awo okukuŋŋaana.” Otwala otya ab’oluganda ne bannyinaffe aboolekagana n’embeera ng’ezo ezoogeddwako waggulu? Obalumirirwa? N’ekisinga obukulu, Yakuwa abatwala atya?

YAKUWA AYAGALA ENDIGA ZE

Omusumba Omuyisirayiri yafangayo nnyo ku ndiga eyabanga ebuze (Laba akatundu 8-9) *

8. Yakuwa yeerabira abo abaali bamuweereza? Nnyonnyola.

8 Yakuwa teyeerabira abo abaali bamuweereza naye nga kati okumala akaseera tebakyamuweereza, era teyeerabira ebyo bye baakola nga bamuweereza. (Beb. 6:10) Mu kitabo kya Isaaya mulimu ekyokulabirako ekirungi ekiraga engeri Yakuwa gy’afaayo ku bantu be. Nnabbi Isaaya yagamba nti: “Okufaananako omusumba, ajja kulabirira ekisibo kye. Ajja kukuŋŋaanya endiga ento n’omukono gwe, era ajja kuzisitulira mu kifuba kye.” (Is. 40:11) Yakuwa, Omusumba Asingiridde, awulira atya ng’emu ku ndiga ze ewabye n’eva ku kisibo? Yesu yalaga engeri Yakuwa gy’awuliramu bwe yagamba abayigirizwa be nti: “Mulowooza mutya? Omuntu bw’aba n’endiga 100, emu n’ebula, taleka 99 mu nsozi n’agenda okunoonya emu ebuze? Mazima mbagamba nti, bw’agizuula, agisanyukira nnyo okusinga endiga 99 ezitaabuze.”​—Mat. 18:12, 13.

9. Abasumba abalungi mu biseera by’edda baayisanga batya endiga zaabwe? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

9 Lwaki kituukirawo okuba nti Yakuwa ageraageranyizibwa ku musumba? Kubanga omusumba omulungi mu biseera by’edda yafangayo nnyo ku ndiga ze. Ng’ekyokulabirako, Dawudi yalwanyisa empologoma n’eddubu okusobola okukuuma endiga ze. (1 Sam. 17:34, 35) Ne bwe kyabanga nti endiga emu yokka ye yabanga ebuze, omusumba omulungi yabanga asobola okukimanya. (Yok. 10:3, 14) Omusumba ng’oyo yalekanga endiga ze endala mu kiyumba kyazo oba yazikwasanga abasumba abalala okuzimukuumira n’agenda n’anoonya endiga eyabanga ebuze. Yesu yakozesa ekyokulabirako ekyo okutuyamba okutegeera ekintu kino ekikulu: “Kitange ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.”​—Mat. 18:14.

Omusumba mu Isirayiri ey’edda ng’afaayo ku ndiga eyali ebuze (Laba ekitundu eky’okusoma 25, akatundu 9)

YAKUWA ANOONYA ENDIGA ZE

10. Okusinziira ku Ezeekyeri 34:11-16, kiki Yakuwa kye yasuubiza okukolera endiga ze ezaabula?

10 Ffenna kinnoomu Yakuwa atwagala, nga mw’otwalidde n’abo abaawaba okuva ku kisibo. Okuyitira mu nnabbi Ezeekyeri, Katonda yagamba nti ajja kunoonya endiga ze ezaabula aziyambe okuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye. Era yalaga ebintu ebitali bimu bye yandikoze okununula endiga ezo, era ng’ebintu ebyo omusumba Omuyisirayiri bye yakolanga nga waliwo endiga ye ebuze. (Soma Ezeekyeri 34:11-16.) Ekisooka, omusumba yanoonyanga endiga, era ng’ekyo kyabanga kyetaagisa ebiseera n’okufuba. Bwe yazuulanga endiga eyo, yagikomyangawo mu kisibo. Ate singa endiga yabanga efunye ebisago oba ng’eweddemu amaanyi olw’obutalya, yasibanga ebiwundu byayo, n’agisitula, era n’agiriisa. Abakadde, abasumba ‘b’ekisibo kya Katonda,’ basaanidde okukola ebintu bye bimu okuyamba abo ababa balekedde awo okuweereza Yakuwa. (1 Peet. 5:2, 3) Abakadde basaanidde okubanoonya, babayambe okukomawo mu kisibo, n’okubalaga okwagala nga babayamba okufuna obuyambi obw’eby’omwoyo bwe beetaaga. *

11. Kiki omusumba omulungi kye yalinga amanyi?

11 Omusumba omulungi yalinga akimanyi nti endiga zisobola okubula. Era endiga bwe yabulanga, omusumba bwe yagizuulanga teyagiyisanga bubi. Lowooza ku kyokulabirako Yakuwa kye yassaawo bwe yali ayamba abamu ku baweereza be abataakola ebyo bye yali abagambye okukola.

12. Yakuwa yayisa atya Yona?

12 Nnabbi Yona yajeemera Yakuwa n’atagenda Nineeve. Wadde kiri kityo, Yakuwa teyayanguwa kuleka Yona. Okufaananako omusumba omulungi, Yakuwa yanunula Yona era n’amuyamba okufuna amaanyi ge yali yeetaaga okusobola okutuukiriza obuweereza bwe. (Yon. 2:7; 3:1, 2) Oluvannyuma Yakuwa yakozesa ekiryo okuyamba Yona okukimanya nti obulamu bwa buli muntu bwa muwendo nnyo. (Yon. 4:10, 11) Ekyo kituyigiriza ki? Abakadde tebasaanidde kwanguwa kuleka abo abatakyaweereza Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, basaanidde okufuba okumanya ekiba kyaviirako endiga okuwaba n’eva ku kisibo. Era endiga eyo bw’ekomawo eri Yakuwa, basaanidde okweyongera okugyagala ennyo n’okugifaako.

13. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yakwatamu omuwandiisi wa Zabbuli 73?

13 Omuwandiisi wa Zabbuli 73 yaggwamu amaanyi bwe yalaba abantu ababi nga balabika ng’abali obulungi. Yeebuuza obanga kyali kigasa okukola Katonda by’ayagala. (Zab. 73:12, 13, 16) Kiki Yakuwa kye yakola? Teyavunaana muweereza we oyo. Mu butuufu, Yakuwa yawandiisa ebigambo by’omuweereza we oyo mu Bayibuli. Oluvannyuma omuwandiisi wa zabbuli oyo yakiraba nti okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi era nti kye kifuula obulamu okuba obw’amakulu. (Zab. 73:23, 24, 26, 28) Ekyo kituyigiriza ki? Abakadde tebasaanidde kwanguwa kusalira musango abo ababuusabuusa obanga kigasa okuweereza Yakuwa. Mu kifo ky’okubasalira omusango, basaanidde okugezaako okutegeera ensonga lwaki boogera oba beeyisa bwe batyo. Ekyo bwe bakimanya, baba basobola okukozesa ebyawandiikibwa ebituukirawo okubayamba.

14. Lwaki Eriya yali yeetaaga obuyambi, era Yakuwa yamuyamba atya?

14 Nnabbi Eriya yadduka Nnaabakyala Yezebeeri. (1 Bassek. 19:1-3) Yali alowooza nti ye yekka eyali aweereza nga nnabbi wa Yakuwa, era yali alowooza nti omulimu gwe tegwavaamu kibala kyonna. Eriya yennyamira nnyo n’atuuka n’okwagala afe. (1 Bassek. 19:4, 10) Yakuwa teyanenya Eriya, wabula yamukakasa nti si ye yekka eyali amuweereza, nti yali ajja kumuwa amaanyi, era nti waali wakyaliwo emirimu emirala mingi egy’okukola. Yakuwa yawuliriza bulungi nga Eriya amweyabiza era yamuwa n’emirimu emirala. (1 Bassek. 19:11-16, 18) Ekyo kituyigiriza ki? Ffenna, naddala abakadde, tusaanidde okuyisa obulungi endiga za Yakuwa. Omuntu k’abe ng’ayolese obusungu oba ng’awulira nti Yakuwa tasobola kumusonyiwa, abakadde basaanidde okumuwuliriza obulungi ng’abeeyabiza. Era basaanidde okumukakasa nti Yakuwa amwagala.

TUSAANIDDE KUTWALA TUTYA ENDIGA ZA YAKUWA EZAABULA?

15. Okusinziira ku Yokaana 6:39, Yesu yali atwala atya endiga za Kitaawe?

15 Yakuwa ayagala tutwale tutya endiga ze ezaabula? Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ku ngeri gye tusaanidde okuzitwalamu. Yali akimanyi nti endiga za Yakuwa zonna za muwendo nnyo eri Yakuwa, era yafuba nnyo okuyamba “endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri” zisobole okudda eri Yakuwa. (Mat. 15:24; Luk. 19:9, 10) Ng’omusumba omulungi, Yesu era yafuba nnyo okulaba nti tabuza ndiga ya Yakuwa n’emu.​—Soma Yokaana 6:39.

16-17. Abakadde basaanidde kutwala batya abo abaalekera awo okuweereza Yakuwa? (Laba Akasanduuko “ Engeri Endiga Eyabula gy’Eyinza Okuba ng’Ewuliramu.”)

16 Omutume Pawulo yakubiriza abakadde b’omu kibiina kye Efeso okukoppa Yesu. Yabagamba nti, ‘Mulina okuyamba abeetaaga obuyambi, era mulina okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu, bwe yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”’ (Bik. 20:17, 35) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti abakadde balina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okulabirira endiga za Yakuwa. Omukadde omu ayitibwa Salvador abeera mu Sipeyini agamba nti, “Bwe ndowooza ku ngeri Yakuwa gy’afaayo ennyo ku ndiga ze ezaabula, mpulira nga nnina okukola kyonna kye nsobola okuziyamba. Nkimanyi nti Yakuwa ayagala nzifeeko.”

17 Abo bonna aboogeddwako mu kitundu kino abaali balekedde awo okuweereza Yakuwa, baayambibwa ne baddamu okumuweereza. Mu kiseera kino bangi abaalekera awo okuweereza Yakuwa baagala okuddamu okumuweereza. Ekitundu ekiddako kijja kulaga ebintu ebirala bye tusobola okukola okubayamba okuddamu okumuweereza.

OLUYIMBA 139 Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya

^ lup. 5 Lwaki abantu abamu ababadde baweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka balekera awo okumuweereza? Katonda abatwala atya? Ekitundu kino kigenda kuddamu ebibuuzo ebyo. Era kigenda kulaga ebyo bye tusobola okuyigira ku ngeri Yakuwa gye yayambamu abantu abamu edda abataakola ebyo bye yali abagambye.

^ lup. 2 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Omubuulizi atwalibwa okuba nti alekedde awo okuweereza Yakuwa singa amala emyezi mukaaga oba n’okusingawo nga tabuulira. Wadde kiri kityo, abantu ng’abo baba bakyali baganda baffe ne bannyinaffe era tubaagala.

^ lup. 4 Amannya agamu gakyusiddwa.

^ lup. 10 Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri abakadde gye bayinza okukola ebintu ebyo ebisatu.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Omusumba Omuyisirayiri yafangayo nnyo ku ndiga eyabanga ebuze, era yaginoonyanga n’agiyamba okudda mu kisibo. Ne leero abasumba ab’eby’omwoyo basaanidde okukola kye kimu.

^ lup. 64 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe eyalekera awo okuweereza Yakuwa bw’aba alinda bbaasi gy’alimu esimbule, alaba Abajulirwa ba Yakuwa babiri nga babuulira era nga basanyufu.