Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okukolera ku Maloboozi g’Amakondeere Leero

Okukolera ku Maloboozi g’Amakondeere Leero

FFENNA tukimanyi nti Yakuwa awa abantu be obulagirizi era abalabirira mu by’omwoyo mu nnaku zino “ez’enkomerero.” (2 Tim. 3:1) Kiri eri buli omu ku ffe okugondera Yakuwa. Embeera yaffe tusobola okugigeraageranya ku y’Abayisirayiri bwe baali mu ddungu. Baalina okubaako kye bakolawo nga bawulidde eddoboozi ly’ekkondeere.

Yakuwa yagamba Musa okukola amakondeere abiri mu ffeeza “okuyita abantu okukuŋŋaana n’okulagira ebibinja okusimbula.” (Kubal. 10:2) Bakabona baalina okufuuwa amakondeere ago mu ngeri ez’enjawulo okutegeeza abantu ekyo kye baalina okukola. (Kubal. 10:3-8) Leero abantu ba Katonda bafuna obulagirizi mu ngeri ezitali zimu. Tugenda kulabayo engeri ssatu gye bafunamu obulagirizi ezitujjukiza amakondeere ge baafuuyiranga Abayisirayiri nga bali mu ddungu. Abantu ba Katonda leero bayitibwa okubaawo ku nkuŋŋaana ennene, abalabirizi mu kibiina bafuna okutendekebwa, era enteekateeka z’ebibiina byonna zikolebwamu enkyukakyuka.

TUYITIBWA KU NKUŊŊAANA ENNENE

Yakuwa bwe yabanga ayagala “ekibiina kyonna” kikuŋŋaanire ku mulyango gwa weema entukuvu ogw’oku luuyi olw’ebuvanjuba, bakabona baafuuwanga amakondeere gombi. (Kubal. 10:3) Ebika byonna ebyali bisiisidde mu bibinja ebina okwetooloola weema, byawuliranga eddoboozi ly’amakondeere ago. Abo abaasiisiranga okumpi n’omulyango kyabatwaliranga eddakiika ntono okutuukawo. Ate abo abaasiisiranga ewalako, kyabatwaliranga ekiseera kiwanvuko n’okufuba kungiko okutuukawo. Abayisirayiri ka babe nga baalinga basiisira kumpi oba wala, bonna Yakuwa yali abeetaagisa okukuŋŋaana bawulirize bye yabanga agenda okubagamba.

Leero tetukuŋŋaanira ku weema, naye tuyitibwa ku nkuŋŋaana ennene ez’abantu ba Katonda. Mu nkuŋŋaana ezo, mwe muli ez’ennaku essatu, ez’olunaku olumu, n’endala, era tutegeezebwa ebintu ebikulu era ne tuweebwa obulagirizi. Okwetooloola ensi, abantu ba Yakuwa bayigirizibwa ebintu bye bimu. N’olwekyo, abo bonna abajja ku nkuŋŋaana ezo baba ekibinja kimu eky’abantu ba Katonda abasanyufu. Abamu baba bava walako okusinga abalala. Naye abo bonna abafuba ne babaawo bakiraba nti okufuba kwabwe si kwa bwereere.

Ate abo ababeera mu bibinja eby’esudde ennyo, nga tebasobola kutuuka mu bifo awaba enkuŋŋaana ennene? Olwa tekinologiya aliwo, bangi ku bo basobola okuganyulwa mu programu era ne bawulira ng’abakuŋŋaanidde awamu ne baganda baabwe ababa bali mu bifo awali enkuŋŋaana ennene. Ng’ekyokulabirako, ku lukuŋŋaana olumu olwaliko omulabirizi eyali akiikiridde ekitebe kyaffe ekikulu, ofiisi y’ettabi ey’omu Benin yakola enteekateeka ab’oluganda ababeera mu kabuga k’e Arlit, Niger, mu Ddungu Sahara, ne bayungibwa ku programu eyo. Ab’oluganda ne bannyinaffe awamu n’abayizi ba Bayibuli 21 be baayungibwa ku programu eyo. Wadde nga baali wala nnyo, baawulira ng’abaali awamu n’ab’oluganda 44,131 abaali mu kifo olukuŋŋaana olwo we lwali. Ow’oluganda omu yagamba nti: “Tubeebaza okuva ku ntobo y’emitima gyaffe olw’okutuyunga ku programu eyo. Ekyo kyongedde okutulaga nti mutufaako nnyo.”

ABAKADDE BAYITIBWA OKUTENDEKEBWA

Bakabona bwe baafuuwanga ekkondeere limu lyokka, “abaami b’enkumi za Isirayiri bokka” be baalina okujja ku weema entukuvu. (Kubal. 10:4) Musa yabategeezanga ebintu ebitali bimu era yabatendekanga. Ekyo kyabayambanga okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe baalina mu bika byabwe. Singa wali omu ku baami abo, tewandikoze kyonna ekisoboka okubaawo osobole okuganyulwa?

Leero, abakadde mu kibiina si ‘baami’; era tebakajjala ku kisibo kya Katonda ekyabakwasibwa. (1 Peet. 5:1-3) Naye bakola kyonna ekisoboka okulabirira ekisibo. N’olwekyo, basitukiramu bwe bayitibwa okwongera okutendekebwa, gamba nga mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka. Okutendekebwa okwo kubayamba okumanya engeri gye bayinza okutuukirizaamu obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe mu kibiina. Ekyo kiviirako buli omu mu kibiina okwongera okunywera mu by’omwoyo. Ne bwe kiba nti togendangako mu masomero ago, ogaganyulwamu kubanga abo abagagendamu bakozesa bye bayigayo okuyamba ekibiina.

TUGAMBIBWA OKUKOLA ENKYUKAKYUKA

Oluusi bakabona baafuuwanga amakondeere nga bakyusakyusa mu nvuga yaago. Ekyo kyali kiraga nti Yakuwa yali yeetaagisa olusiisira lwonna olw’Abayisirayiri okusitula okuva mu kifo ekimu okugenda mu kirala. (Kubal. 10:5, 6) Abayisirayiri bwe baabanga basitula okuva mu kifo ekimu okugenda mu kirala, baakikolanga mu ngeri entegeke obulungi, kyokka kyalimu okusoomooza okutali kumu. Oluusi n’oluusi Abayisirayiri abamu bayinza okuba nga baali bawulira nti tebandyagadde kugenda mu kifo kirala. Lwaki?

Oboolyawo abamu baali bawulira nti amakondeere agaali gabeetaagisa okugenda mu kifo ekirala gaali gajjira kumu kumu era nga gavugira mu biseera we baali batagasuubirira. “Oluusi ekire kyabeeranga ku weema okuva akawungeezi okutuuka ku makya.” Ate ebiseera ebirala kyabeerangako okumala “ennaku bbiri oba omwezi oba n’okusingawo” ne kiryoka kisimbula. (Kubal. 9:21, 22) Olusiisira lw’Abayisirayiri lwasitula emirundi emeka okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala? Okubala essuula 33 woogera ku bifo nga 40 Abayisirayiri bye baasiisiramu.

Ebiseera ebimu Abayisirayiri bayinza okuba nga baasiisiranga mu bifo ebyalimu ebisiikirize. Kiteekwa okuba nga kyabaleeteranga okuwulira obulungi nga basiisidde mu bifo ng’ebyo mu ‘ddungu eddene era ery’entiisa.’ (Ma. 1:19) N’olwekyo kyali kyangu omuntu okulowooza nti okuva mu bifo ng’ebyo okudda mu birala, kyandibadde kibazza mu mbeera etali nnungi.

Ebika bwe byatandikanga okusimbula, ebika ebimu byalina okwoleka obugumiikiriza okutuusa ekiseera kyabyo eky’okusimbula lwe kyandituuse. Bonna baawuliranga amakondeere nga gavuga gakyukakyuka, naye bonna tebaalina kusimbulira mu kiseera kye kimu. Eddoboozi ly’amakondeere erikyukakyuka bwe lyavuganga, kyalaganga nti ebika ebyasiisiranga ku luuyi olw’ebuvanjuba, kwe kugamba, ekya Yuda, ekya Isakaali, n’ekya Zebbulooni, byalina okusimbula. (Kubal. 2:3-7; 10:5, 6) Ebyo bwe byamalanga okusimbula, bakabona baddangamu okufuuwa amakondeere mu ddoboozi erikyukakyuka, era ekyo kyalaganga nti ebika ebisatu ebyabanga bisiisidde ebukiikaddyo bye baalina okusimbula. Bakabona baakola bwe batyo, okutuusa olusiisira lwonna bwe lwasitulanga ne lugenda.

Oboolyawo waliwo enkyukakyuka ezaakolebwa mu kibiina ezitaakubeerera nnyangu kukkiriza. Oboolyawo wawulira nti enkyukakyuka ezikoleddwa ziyitiridde obungi. Oba oyinza okuba nga wali owulira nti enteekateeka ezimu ezaaliwo zaali nnungi era nga tezeetaaga kukyusibwa. K’obe nga walina nsonga ki, kiyinza okuba nga kyagezesa obugumiikiriza bwo era nga kyakutwalira ekiseera okumanyiira enkyukakyuka ezo. Naye bwe tufuba okukolera ku nkyukakyuka eziba zikoleddwa, Yakuwa atuwa emikisa, kubanga tuba tukoze ky’atwetaagisa.

Mu kiseera kya Musa, Yakuwa yakulembera abasajja, abakazi, n’abaana bangi, n’abayisa mu ddungu. Awatali buyambi bwa Yakuwa n’obulagirizi bwe tebandisobodde kuliyitamu. Leero Yakuwa atukulembera mu nnaku zino embi. Atuyamba okusigala nga tulina enkolagana ennungi naye era nga tulina okukkiriza okunywevu! N’olwekyo ka ffenna tube bamalirivu okuba abawulize ng’Abayisirayiri abeesigwa bwe baali abawulize nga bawulidde amaloboozi ag’enjawulo ag’amakondeere!