EBYAFAAYO
Nnakulembeza Yakuwa mu Byonna Bye Nnasalawo
LUMU ku makya mu 1984, nnava mu maka gange agaali mu kitundu ky’e Caracas eky’omu Venezuela omwali abantu abagagga nga ŋŋenda okukola. Bwe nnali ŋŋenda, nnafumiitiriza ku ebyo bye nnali nsomye mu kitundu ekimu ekyali kifulumidde mu Omunaala gw’Omukuumi. Kyali kikwata ku ngeri baliraanwa baffe gye batutwalamu. Bwe nnatunuulira ennyumba ezaali zitwetoolodde, muli nneebuuza nti: ‘Baliraanwa bange bantunuulira ng’omuntu ali obulungi akola mu bbanka? Oba bantwala ng’omuweereza wa Katonda akola mu bbanka okusobola okulabirira ab’omu maka ge?’ Nnakiraba nti baali bantwala ng’omuntu ali obulungi akola mu bbanka. N’olwekyo, nnasalawo okubaako kye nkolawo.
Nnazaalibwa nga Maayi 19, 1940, mu kabuga Amioûn ak’omu Lebanon. Oluvannyuma lw’emyaka mitono, twasengukira mu kibuga Tripoli era nnakulira mu maka amasanyufu, nga ffenna tuweereza Yakuwa. Baatuzaala abaana bataano, abawala basatu n’abalenzi babiri, era nze nnali nsembayo. Bazadde bange, eky’okukola ssente si kye baakulembezanga mu bulamu. Ebintu ebyali bisinga obukulu awaka kwe kusoma Bayibuli, okubangawo mu nkuŋŋaana, n’okuyamba abalala okumanya Katonda.
Mu kibiina kyaffe mwalimu Abakristaayo abaafukibwako amafuta abawerako. Omu ku bo yali ayitibwa Michel Aboud, eyakubirizanga olukuŋŋaana olwali luyitibwa olw’okusoma ekitabo. Amazima yagayigira mu New York, era ye yatuusa amazima mu Lebanon mu 1921. Okusingira ddala nzijukira engeri gye yayambamu era gye yafangayo ku bannyinaffe ababiri, Anne ne Gwen Beavor, abaali bavudde mu ssomero lya Gireyaadi. Anne ne Gwen baafuuka mikwano gyaffe nnyo. Oluvannyuma lw’emyaka egiwerako, nnasanyuka nnyo bwe nnaddamu okusisinkana Anne mu Amerika. Ate oluvannyuma lw’ekiseera, nnaddamu okusisinkana ne Gwen, eyali afumbiddwa Wilfred Gooch era yali aweereza ku Beseri y’omu London, mu Bungereza.
OKUBUULIRA MU LEBANON
Bwe nnali nkyali muvubuka, mu Lebanon mwalimu ababuulizi batono nnyo. Wadde kyali kityo, twabuuliranga n’obunyiikivu. Twabuuliranga, wadde ng’abamu ku bakulu b’amadiini baatuyigganyanga. Nzijukira bulungi ebimu ku bintu ebyatutuukako.
Lumu nze ne mwannyinaze Sana twali tubuulira mu kizimbe ekimu. Twali tukyali awo, omukulu w’eddiini omu n’ajja we twali. Wateekwa okuba nga waliwo eyamuyita. Omukulu w’eddiini oyo yatandika okuvuma mwannyinaze era yamusindika n’agwa ku madaala n’anuubuka. Waliwo eyakubira poliisi, era abapoliisi bwe bajja, baafuba okulaba nti Sana ayambibwa. Baatwala omukulu w’eddiini oyo ku poliisi, era eyo gye baakizuulira nti yalina n’emmundu. Omukulu wa poliisi yamubuuza nti: “Oyigiriza bantu bikwata ku Katonda oba obayigiriza bikolwa bya bukambwe?”
Ekintu ekirala kye nzijukira obulungi ky’ekyo ekyaliwo ekibiina kyaffe bwe kyapangisa bbaasi ne tugenda okubuulira amawulire amalungi mu kabuga akeesudde. Ebintu byali bitambula bulungi okutuusa omukulu w’eddiini omu bwe yamanya ku ekyo kye twali tukola n’akuŋŋaanya ekibinja ky’abantu okutulumba. Baatuyisa bubi nnyo era ne batukasukira n’amayinja era taata wange gaamukwasa. Nzijukira okumulaba nga yenna abunye omusaayi mu maaso. Yaddayo mu bbaasi ne maama wange, era naffe twabagoberera nga tweraliikiridde. Naye siryerabira bigambo maama bye yayogera ng’asiimuula taata omusaayi. Yagamba nti: “Yakuwa, basonyiwe. Tebamanyi kye bakola.”
Ate olulala twagenda okukyalira ab’eŋŋanda zaffe mu kyalo. Bwe twatuuka ewa jjajja, twasangayo bisopu. Bisopu yali akimanyi nti bazadde bange Bajulirwa ba Yakuwa. Wadde nga nnalina emyaka mukaaga gyokka, yannondamu n’ambuuza nti: “Ggwe, lwaki tobatizibwanga?” Nnamuddamu nti nnali nkyali muto era nti okusobola okubatizibwa nnali nneetaaga okweyongera okuyiga ebisingawo ku Bayibuli n’okufuna okukkiriza okunywevu. Olw’okuba teyayagala ebyo bye nnamuddamu, yagamba jjajja wange nti nnali mmuyisizzaamu amaaso.
Kyokka tekiri nti abantu abasinga obungi baatuyisanga bubi. Abantu b’omu Lebanon balungi era basembeza abalala. N’olwekyo, abantu bangi baatuwulirizanga era twafuna abayizi ba Bayibuli bangi.
TUGENDA MU NSI ENDALA
Bwe nnali nkyasoma, waliwo ow’oluganda eyava e Venezuela n’ajja okukyalako mu Lebanon. Yakuŋŋaaniranga mu kibiina kyaffe era yatandika okwogereza mwannyinaze Wafa. Ekiseera kyatuuka ne bafumbiriganwa ne bagenda mu Venezuela. Mu mabaluwa Wafa ge yatuwandiikiranga, yagambanga taata nti tusengukire e Venezuela. Ekyo kyali bwe kityo kubanga yali atusubwa nnyo. Oluvannyuma twasalawo okugenda e Venezuela!
Twatuuka mu Venezuela mu 1953 era ne tubeera mu kitundu ky’e Caracas, okumpi n’amaka g’omukulembeze w’eggwanga. Olw’okuba nnali nkyali mwana, kyansanyusanga nnyo okulabanga omukulembeze w’eggwanga ng’ayitawo mu
mmotoka ye ey’ebbeeyi. Naye tekyali kyangu eri bazadde bange okumanyiira obulamu, olulimi, obuwangwa, emmere, n’embeera y’obudde mu Venezuela. Mu butuufu, baali baakatandika butandisi okumanyiira embeera mu nsi eyo ate ekintu ekibi ennyo ne kibaawo.EKINTU EKIBI ENNYO KIBAAWO
Taata yatandika obuteewulira bulungi. Ekyo kyatwewuunyisa nnyo kubanga taata yali tatera kulwalalwala. Bwe baamukebera, baamusangamu kookolo era ne bamulongoosa. Eky’ennaku, nga wayise wiiki emu, yafa.
Kizibu okunnyonnyola ennaku gye twawulira. Nnalina emyaka 13 gyokka. Twali tetusuubira taata waffe kufa era twali tetulowooza nti tuliddamu okufuna essanyu. Okumala ekiseera, maama kyamuzibuwalira okukikkiriza nti omwami we yali takyaliwo. Kyokka, twakiraba nti obulamu bwalina okugenda mu maaso, era Yakuwa yatuyamba okuguma. Bwe nnamaliriza emisomo gyange egya siniya, nga nnina emyaka 16, nnawulira nga njagala okukola okuyambako ku nsasaanya y’awaka.
Ekiseera bwe kyayitawo, mwannyinaze Sana yafumbirwa Rubén Araujo, eyali yava mu ssomero lya Gireyaadi n’akomawo e Venezuela. Baasalawo okugenda okubeera mu New York. Ab’awaka baasalawo nti ŋŋende ku yunivasite. N’olwekyo, nnasalawo okugenda mu New York ŋŋendenga okusoma nga nviira wa mwannyinaze. Mwannyinaze Sana awamu n’omwami we, bannyamba nnyo mu by’omwoyo mu kiseera kye nnamala nga mbeera ewaabwe. Ate era mu kibiina kyaffe eky’Olusipanisi ekyali mu Brooklyn, mwalimu ab’oluganda bangi abakulu mu by’omwoyo. Nnasanyuka nnyo okumanya n’okubeerako awamu n’ow’oluganda Milton Henschel ne Frederick Franz; bombi abaali baweerereza ku Beseri y’omu Brooklyn.
Omwaka gwange ogusooka ku yunivasite bwe gwali gunaatera okuggwaako, nnatandika okulowooza ennyo ku ngeri gye nnali nkozesaamu obulamu bwange. Nnali nsomye era nga nfumiitirizza ku bitundu mu magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ebikwata ku Bakristaayo okweteerawo ebiruubirirwa eby’amakulu. Nnali nkiraba nti bapayoniya n’Ababeseri mu kibiina kyaffe baali basanyufu, era nnali njagala okubeera nga bo. Kyokka nnali sinnabatizibwa. Nnakiraba nti nnali nneetaaga okwewaayo eri Yakuwa. Nneewaayo eri Yakuwa era nnabatizibwa nga Maaki 30, 1957.
NSALAWO KU BINTU EBIKULU
Oluvannyuma lw’okubatizibwa, nnatandika n’okulowooza ku ky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Nnayagala nnyo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, naye nnakiraba nti tekyandimbeeredde kyangu. Muli nneebuuza engeri gye nnandisobodde okukwasaganya emisomo gyange egya yunivasite n’obuweereza bwange nga payoniya. Nnawandiika amabaluwa mangi nga ngezaako okunnyonnyola ab’eka ensonga lwaki nnalina okukomya emisomo gyange ku yunivasite nzireyo e Venezuela ntandike okuweereza nga payoniya.
Mu Jjuuni 1957 nnaddayo e Caracas. Naye nnali nkiraba nti embeera y’awaka ey’eby’enfuna teyali nnungi. Kyali kyetaagisaayo omuntu omulala
awaka okuyambako mu by’enfuna. Nneebuuza kye nnali nnyinza okukolawo? Nnafuna omulimu mu bbanka, naye era nnali njagala okuweereza nga payoniya. Ekyo kye kyali kinkomezzaawo eka. N’olwekyo, nnali mumalirivu okukola mu bbanka ate nga mu kiseera kye kimu mpeereza nga payoniya. Nnamala emyaka mingi nga nkola ekiseera kyonna mu bbanka ate nga mpeereza nga payoniya. Nnalina eby’okukola bingi nnyo, naye era nnali musanyufu nnyo!Ekintu ekirala ekyandeetera essanyu kwe kusisinkana mwannyinaffe Omugirimaani ayitibwa Sylvia eyali ayagala ennyo Yakuwa era oluvannyuma ne tufumbiriganwa. Ye ne bazadde be baasengukira e Venezuela. Twazaala abaana babiri, mutabani waffe Michel (Mike) ne muwala waffe Samira. Ate era nnatandika n’okulabirira maama. Yajja okubeera naffe. Wadde nga kyanneetaagisa okusooka okuyimirizaamu obuweereza bwange nga payoniya okusobola okulabirira ab’omu maka gange, nnasigala nnina omwoyo gw’obwa payoniya. Nze ne Sylvia twateranga okuweerezanga nga bapayoniya abawagizi mu biseera by’oluwummula.
NNASALAWO EKINTU EKIRALA EKIKULU
Ebyo bye nnayogeddeko ku ntandikwa we byabeererawo, abaana baffe baali bakyasoma. Amazima gali nti nnali mu bulamu obweyagaza era nga n’abakozi mu bbanka endala banzisaamu ekitiibwa. Naye okusingira ddala nnali njagala abantu bammanye ng’omuweereza wa Yakuwa. Nnasigala ndowooza ku ekyo kye nnali nnyinza okukolawo abantu okuba nga bantunuulira bwe batyo. Bwe kityo, nze ne mukyala wange twatuula ne twogera ku by’enfuna byaffe. Bwe nnandirese omulimu gwa bbanka, bandibadde bampa akasiimo akawera. Olw’okuba tetwalina mabanja, twakiraba nti singa tubaako ebintu bye twerekereza, ssente ezo zandibadde zitutwazaako ebbanga.
Tekyali kyangu kusalawo kuleka mulimu ogwo, naye mukyala wange ne maama wange bampagira. Nnali ŋŋenda kuddamu okuweereza nga payoniya. Ekyo kyansanyusa nnyo! Nnalaba nga kati tewali kintu kyonna kyali kigenda kunnemesa. Naye waayita ekiseera kitono ne tumanya ku kintu ekyatwewuunyisa ffenna.
EKINTU EKYATWEWUUNYISA!
Lumu omusawo yatutegeeza nti Sylvia yali lubuto. Ekyo kyatwewuunyisa nnyo! Ate era kyatusanyusa nnyo; kyokka kyandeetera okutandika okulowooza ku ekyo kye nnali nsazeewo, eky’okuweereza nga payoniya. Nnandibadde nkyasobola okuweereza nga payoniya? Embeera eyo twagikkiriza era ne tutandika okwetegekera omwana waffe gwe twali tugenda okuzaala. Naye muli
nnasigala nneebuuza obanga ddala nnali nkyasobola okuweereza nga payoniya?Oluvannyuma lw’okwogera ku biruubirirwa byaffe, twasalawo okunywerera ku ekyo kye twali tusazeewo. Mutabani waffe Gabriel yazaalibwa mu Apuli 1985. Wadde kyali kityo, nnaleka omulimu gwa bbanka ne ntandika okuweereza nga payoniya mu Jjuuni 1985. Nga wayise ekiseera, nnafuna enkizo okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi. Naye ofiisi y’ettabi teyali mu Caracas. N’olwekyo buli wiiki, emirundi ebiri oba esatu, nnalinanga okutindigga olugendo lwa mayiro nga 50 okugenda okukola ku ofiisi y’ettabi.
TUSENGUKIRA MU KIFO EKIRALA
Ofiisi y’ettabi yali mu kabuga k’e La Victoria, n’olwekyo twasalawo okusengukira mu kabuga ako tusobole okubeera okumpi ne Beseri. Eyo yali nkyukakyuka ya maanyi mu bulamu bwaffe. Nsiima nnyo ab’omu maka gange. Bonna baalina endowooza ennuŋŋamu era ekyo kyannyamba nnyo. Mwannyinaze Baha yeewaayo okulabirira maama. Mike yali yawasa dda naye nga Samira ne Gabriel bakyabeera naffe awaka. N’olwekyo, bwe twasengukira e La Victoria, baaleka mikwano gyabwe gye baalina mu Caracas. Ate mukyala wange Sylvia eyali amanyidde okubeera mu kibuga ekinene, yalina okumanyiira okubeera mu kabuga akatono. Ate ffenna twalina okumanyiira okubeera mu nnyumba entono. Mazima ddala okuva e Caracas okudda e La Victoria kyatwetaagisa okukola enkyukakyuka nnyingi.
Kyokka era ebintu byeyongera okukyuka. Gabriel yawasa, ate Samira n’aba ng’asobola okweyimirizaawo. Bwe kityo, mu 2007, nze ne Sylvia twayitibwa okugenda okubeera ku Beseri era n’okutuusa leero tukyaweereza ku Beseri. Mutabani waffe omukulu Mike kati aweereza ng’omukadde, era ye ne mukyala we Monica baweereza nga bapayoniya. Ne Gabriel aweereza ng’omukadde, era ye ne mukyala we Ambra baweerereza mu Italy. Ate ye Samira, ng’oggyeeko okuweereza nga Payoniya, ayambako ku mirimu egikolebwa ku Beseri ng’akolera waka.
NE LEERO NNANDISAZEEWO MU NGERI Y’EMU
Mazima, nnina ebintu bingi ebikulu bye nsazeewo mu bulamu. Kyokka sirina kwejjusa kwonna mu ebyo bye nnasalawo. Ne leero nnandizzeemu okusalawo mu ngeri y’emu. Nsiima nnyo emirimu n’enkizo ze nfunye mu buweereza bwange eri Yakuwa. Emyaka bwe gizze giyitawo, nkirabye nti kikulu nnyo okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Ka kibe nti bye tusalawo binene oba bitono, Yakuwa asobola okutuwa emirembe “egisingira ewala okutegeera kwonna.” (Baf. 4:6, 7) Nze ne Sylvia tunyumirwa nnyo obuweereza bwaffe ku Beseri era tulabye nti Yakuwa awadde omukisa ebyo bye tusazeewo mu bulamu, kubanga gwe tubaddenga tukulembeza.