Obadde Okimanyi?
Misolo ki abantu gye baasasulanga mu kiseera kya Yesu?
OKUMALA emyaka mingi, Abayisirayiri baawangayo ssente okuwagira okusinza okw’amazima. Naye ekiseera kya Yesu we kyatuukira, Abayudaaya baalina emisolo mingi gye baalina okuwa, era ekyo kyakaluubiriza nnyo obulamu bwabwe.
Okusobola okuwagira okusinza ku yeekaalu, Abayudaaya bonna abakulu baasasulanga ekitundu kya sekeri (oba dulakima bbiri). Mu kiseera kya Yesu, omusolo ogwo gwakozesebwa okufuna ebiweebwayo n’okulabirira yeekaalu Kerode gye yazimba. Abayudaaya abamu baabuuza Peetero ku ndowooza Yesu gye yalina ku musolo ogwo, naye Yesu yalaga nti tekyali kikyamu okusasula omusolo ogwo. Mu butuufu, yalagirira Peetero aw’okufuna ssente okusasula omusolo ogwo.—Mat. 17:24-27.
Abantu ba Katonda mu kiseera ekyo era baalina okuwaayo ekimu eky’ekkumi ku birime byabwe oba ku musaala gwabwe. (Leev. 27:30-32; Kubal. 18:26-28) Abakulembeze b’eddiini baali bakitwala nti kikulu nnyo abantu okuwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kimera, gamba ng’ekya “nnabbugira, ekya aneta, n’ekya kkumino.” Yesu teyavumirira kuwaayo kimu kya kkumi, naye yavumirira obunnanfuusi bw’abawandiisi n’Abafalisaayo.—Mat. 23:23.
Ate era mu kiseera ekyo Abayudaaya baalina okusasulanga Abaruumi emisolo kubanga Abaruumi be baali bafuga ekitundu kyabwe. Ng’ekyokulabirako, abo abaalina ettaka baalina okusasula omusolo nga bawaayo ssente oba ebintu. Kigambibwa nti abantu baalinanga okusasula wakati w’ebitundu 20 ne 25 ku buli kikumi ku ebyo bye baabanga bakungudde. Ate era buli Muyudaaya yalinanga okusasula omusolo ogw’omutwe. Ogwo gwe musolo Abafalisaayo gwe baabuuza Yesu obanga kyali kituufu okugusasula. Yalaga endowooza abantu gye baalina okuba nayo ku kusasula emisolo bwe yagamba nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”—Mat. 22:15-22.
Ate era baawanga omusolo ku bintu ebyayingizibwanga n’ebyafulumizibwanga mu masaza. Emisolo egyo gyasoloozebwanga ku myalo, ku ntindo, mu masaŋŋanzira, ne ku nguudo ezaali ziyingira ebibuga n’obutale.
Emisolo abantu gye baasasulanga wansi w’obufuzi bw’Abaruumi gyali mingi nnyo era nga gibakaluubiriza. Munnabyafaayo Omuruumi ayitibwa Tacitus, yagamba nti mu kiseera ky’obufuzi bwa Empula Tiberiyo, ekiseera Yesu we yabeerera ku nsi, “Abantu b’omu Busuuli ne mu Buyudaaya baasaba okukendeezebwa ku misolo kubanga gyali gibazitooweredde.”
Ekirala ekyeyongera okukaluubiriza abantu ye ngeri emisolo egyo gye gyasoloozebwangamu. Omuntu okusobola okuweebwa omulimu gw’okusolooza omusolo yabangako ssente z’awaayo. Era oyo eyawangayo ssente ezisinga obungi ye yaweebwanga omulimu ogwo. Abo abaaweebwanga omulimu gw’okusolooza omusolo, baafunangayo abantu abaabayambangako mu kugusolooza. Zaakayo ateekwa okuba nga y’omu ku abo abaalina abantu abaamuyambangako okusolooza omusolo. (Luk. 19:1, 2) N’olwekyo tekyewuunyisa nti abantu baali tebaagala abo abajjanga okubasoloozaako emisolo.