Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 25

Temwesittaza “Bato Bano”

Temwesittaza “Bato Bano”

“Temunyoomanga omu ku bato bano.”​—MAT. 18:10.

OLUYIMBA 113 Emirembe Gye Tulina

OMULAMWA *

1. Kiki Yakuwa kye yakolera buli omu ku ffe?

YAKUWA yasembeza buli omu ku ffe gy’ali. (Yok. 6:44) Kirowoozeeko, Yakuwa bwe yeekenneenya obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu mu nsi, yakulabamu ekintu eky’omuwendo; yakulaba nti oli mwesimbu era nti osobola okumwagala. (1 Byom. 28:9) Yakuwa akumanyi, akutegeera bulungi, era akwagala. Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi!

2. Kyakulabirako ki Yesu kye yakozesa okulaga nti Yakuwa afaayo nnyo ku buli emu ku ndiga ze?

2 Yakuwa akufaako nnyo era afaayo nnyo ne ku bakkiriza banno bonna. Okusobola okutuyamba okutegeera ensonga eno, Yesu yageraageranya Yakuwa ku musumba. Singa omusumba aba n’endiga 100 emu n’ebula, kiki ky’akola? Aleka “99 mu nsozi n’agenda okunoonya emu ebuze.” Bw’agizuula tagiboggolera olw’okuba ebadde ebuze. Mu kifo ky’ekyo, asanyuka nnyo. Ekyo kituyigiriza ki? Buli ndiga ya muwendo eri Yakuwa. Yesu yagamba nti: “Kitange ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.”​—Mat. 18:12-14.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Tetwandyagadde kuviirako muganda waffe yenna kuggwaamu maanyi. Tuyinza tutya okwewala okwesittaza abalala? Era kiki kye tusaanidde okukola singa omu ku baganda baffe atukola ekintu ekitunyiiza? Ekitundu kino kigenda kuddamu ebibuuzo ebyo. Naye ka tusooke tulabe ‘abato bano’ aboogerwako mu Matayo essuula 18.

‘ABATO BANO’ BE BAANI?

4. ‘Abato bano’ be baani?

4 ‘Abato bano’ be bayigirizwa ba Yesu ab’emyaka egy’enjawulo. Abayigirizwa ba Yesu ka babe ba myaka emeka, bageraageranyizibwa ku baana abato kubanga beetegefu okuyigirizibwa Yesu. (Mat. 18:3) Wadde nga bayinza okuba nga baakulira mu mbeera za njawulo era nga balina engeri za njawulo, bonna bakyoleka nti bakkiririza mu Kristo era abaagala nnyo.​—Mat. 18:6; Yok. 1:12.

5. Yakuwa awulira atya omuntu yenna bwe yeesittaza oba bw’ayisa obubi omu ku bantu be?

5 ‘Abato bano’ bonna ba muwendo eri Yakuwa. Okusobola okumanya engeri Yakuwa gy’abatwalamu, lowooza ku ngeri gye tutwalamu abaana. Tubatwala nga ba muwendo. Twagala okubakuuma kubanga tebalina maanyi, bumanyirivu, na magezi ng’ag’abantu abakulu. Mu butuufu tetwagala kulaba muntu yenna ng’ayisibwa bubi, naye ate bwe tulaba omwana ng’ayisiddwa bubi, ekyo kituluma nnyo era kisobola n’okutuleetera okusunguwala. Mu ngeri y’emu, Yakuwa ayagala okutukuuma era kimuluma nnyo, mu butuufu kimuleetera n’okusunguwala, omuntu yenna bwe yeesittaza oba bw’alumya omu ku bantu be!​—Is. 63:9; Mak. 9:42.

6. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 1:26-29, ensi etwala etya abayigirizwa ba Yesu?

6 Mu ngeri ki endala abayigirizwa ba Yesu gye bali ‘ng’abaana abato’? Baani ensi beetwala ng’ab’omugaso? Abagagga, abatutumufu, n’ab’ebitiibwa. Naye abayigirizwa ba Yesu tebatera kuba bwe batyo. N’olwekyo abantu mu nsi babatwala ng’abato oba abatali ba mugaso. (Soma 1 Abakkolinso 1:26-29.) Naye Yakuwa ye tabatwala bw’atyo.

7. Yakuwa ayagala tutwale tutya bakkiriza bannaffe?

7 Yakuwa ayagala nnyo abaweereza be bonna ka babe nga bamaze emyaka mingi nga bamuweereza oba nga bapya mu mazima. Baganda baffe bonna Yakuwa abatwala nga ba muwendo, naffe tulina okubatwala nga ba muwendo. N’olwekyo, tulina ‘okwagala baganda baffe bonna’ so si bamu na bamu. (1 Peet. 2:17) Tulina okuba abeetegefu okukola kyonna kye tusobola okubakuumu n’okubafaako. Bwe tukimanya nti tulina ekintu kye tukoze ekirumizza mukkiriza munnaffe oba ekimunyiizizza, tetusaanidde kukibuusa maaso nga tugamba nti omuntu oyo yeerondalonda era nti alina okutusonyiwa. Lwaki abamu banyiiganyiiga? Oboolyawo olw’embeera gye baakuliramu, abamu beenyooma nnyo ate abalala olw’okuba bapya mu mazima tebannayiga ngeri ya kukwatamu butali butuukirivu bw’abalala. K’ebe nsonga ki eba etuviiriddeko okunyiiga oba eviiriddeko abalala okunyiiga, tulina okukola kyonna ekisoboka okuzzaawo emirembe. Okugatta ku ekyo, omuntu anyiiganyiiga asaanidde okukimanya nti eyo ngeri mbi gye yeetaaga okukolako. Ekyo yeetaaga okukikola asobole okufuna emirembe ku mutima era abeere n’enkolagana ennungi n’abalala.

KITWALE NTI ABALALA BAKUSINGA

8. Ndowooza ki abantu abaaliwo mu kiseera kya Yesu gye baalina eyali etwalirizza abayigirizwa be?

8 Kiki ekyaleetera Yesu okwogera ku “bato bano”? Abayigirizwa be baali bamubuuzizza nti: “Ani asinga obukulu mu Bwakabaka obw’omu ggulu?” (Mat. 18:1) Abayudaaya bangi mu kiseera ekyo baali baagala nnyo abalala okubatwala nti ba waggulu. Munnabyafaayo omu yagamba nti: “Abantu kye baali basinga ennyo okwagala be bantu okubawa ebitiibwa n’okuba n’ettutumu.”

9. Kiki abayigirizwa ba Yesu kye baalina okukola?

9 Yesu yali akimanyi nti abayigirizwa be baalina okukola ennyo okweggyamu omwoyo gw’okuvuganya Abayudaaya bangi gwe baalina. Yabagamba nti: “Omukulu mu mmwe abeere ng’asembayo obuto, n’oyo akulembera abalala abeere ng’omuweereza waabwe.” (Luk. 22:26) Tukiraga nti tuli ng’abaana abato bwe tukitwala nti abalala batusinga. (Baf. 2:3) Bwe tukulaakulanya endowooza eyo, kijja kutuyamba obuteesittaza balala.

10. Kubuulirira ku Pawulo kwe yawa kwe tusaanidde okukolerako?

10 Buli omu ku baganda baffe alina ekintu ky’atusingako. Ekyo kyangu okukiraba bwe tulowooza ku ngeri ennungi ze balina. Tusaanidde okukolera ku kubuulirira kuno Pawulo kwe yawa Abakkolinso: “Ani akufuula ow’enjawulo ku mulala? Mazima ddala kiki ky’olina ky’otaaweebwa? Kaakano bw’oba nga waweebwa buweebwa, lwaki weewaana nga gy’obeera nti tewaweebwa buweebwa?” (1 Kol. 4:7) Tusaanidde okwewala okweraga oba okwetwala nti tuli ba waggulu ku balala. Singa ow’oluganda awa bulungi emboozi, oba mwannyinaffe ng’alina ekitone eky’okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli, buli omu ku bo asaanidde ettendo okuliwa Yakuwa.

SONYIWA ABALALA OKUVIIRA DDALA KU MUTIMA

11. Kiki Yesu kye yayagala tuyigire ku kyokulabirako kya kabaka n’omuddu we?

11 Oluvannyuma lwa Yesu okulabula abagoberezi be obuteesittaza balala, yawa ekyokulabirako ekikwata ku kabaka n’omuddu we. Kabaka yasonyiwa omuddu we ebbanja eddene lye yali tasobola kusasula. Kyokka oluvannyuma omuddu oyo ye yagaana okusonyiwa muddu munne ssente entono ennyo ze yali amubanja. N’ekyavaamu, kabaka yalagira omuddu oyo ataalina kisa okusibibwa mu kkomera. Ekyo kituyigiriza ki? Yesu yagamba nti: “Ne Kitange ow’omu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa buli omu ku mmwe tasonyiyira ddala muganda we kuva ku mutima.”​—Mat. 18:21-35.

12. Bwe tugaana okusonyiwa kirumya kitya abalala?

12 Ekyo omuddu kye yakola tekyalumya ye yekka naye kyalumya n’abalala. Ekisooka, yalumya muddu munne bwe yamusibisa mu kkomera okutuusa lwe yandimaze okusasula ebbanja. Eky’okubiri, yalumya abaddu abalala abaalaba ekyo kye yali akoze. Bayibuli egamba nti: “Baddu banne bwe baalaba ebyali bibaddewo, ne banakuwala nnyo.” Mu ngeri y’emu, ebyo bye tukola bikwata ku balala. Singa wabaawo omuntu atukola ekintu ekibi ne tugaana okumusonyiwa, kiki ekibaawo? Ekisooka, tumulumya kubanga tuba tugaanye okumusonyiwa, oboolyawo ne tutandika n’okumwewulirirako oba ne tugaana n’okumulaga okwagala. Eky’okubiri, tumalako abalala mu kibiina emirembe bwe bakiraba nti tewakyali mirembe wakati waffe n’omuntu oyo.

Onoosiba ekiruyi oba onoosonyiwa? (Laba akatundu 13-14) *

13. Kiki ky’oyigira ku payoniya omu?

13 Bwe tusonyiwa baganda baffe, kituganyula era kiganyula n’abalala. Ekyo tukirabira ku payoniya omu gwe tujja okuyita Crystal. Mwannyinaffe omu mu kibiina yakola ekintu ekyamunyiiza. Crystal agamba nti: “Oluusi ebigambo bye yayogeranga byansalanga ng’akambe. Nnatuuka n’ekiseera nga saagala kubuulira naye. Nnatandika okuddirira mu mulimu gw’okubuulira era essanyu lyange lyakendeera.” Crystal muli yali awulira nti yalina ensonga entuufu okunyiiga. Naye yafuba nnyo okwewala okusibira mwannyinaffe oyo ekiruyi n’okumalira ebirowoozo ku ngeri gye yali awuliramu. Yakolera ku magezi agava mu Byawandiikibwa agali mu kitundu “Sonyiwa Okuva mu Mutima Gwo” ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 1999. Yasonyiwa muganda we. Agamba nti: “Kati nkiraba nti ffenna tufuba okwambala omuntu omuggya era nti bulijjo Yakuwa atusonyiwa. Kati mpulira obuweerero era nnaddamu okufuna essanyu.”

14. Okusinziira ku Matayo 18:21, 22, kizibu ki omutume Peetero ky’ayinza okuba nga yalina, era tuyigira ki ku ekyo Yesu kye yamugamba?

14 Tukimanyi nti tulina okusonyiwa, era ekyo kye kituufu okukola. Naye oluusi kiyinza okutukaluubirira okukikola. N’omutume Peetero naye oluusi ayinza okuba nga yawuliranga bw’atyo. (Soma Matayo 18:21, 22.) Kiki ekiyinza okutuyamba? Ekisooka, tulina okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’azze atusonyiwamu. (Mat. 18:32, 33) Yakuwa tateekwa kutusonyiwa naye atusonyiwa. (Zab. 103:8-10) Okugatta ku ekyo, Ebyawandiikibwa bitugamba nti “tugwanidde okwagalana.” N’olwekyo, okusonyiwa si kye kintu kye tuyinza okusalawo okukola oba obutakola. Tulina okusonyiwa baganda baffe. (1 Yok. 4:11) Eky’okubiri, fumiitiriza ku ekyo ekivaamu singa tusonyiwa. Kisobola okuyamba omuntu oyo aba atuyisizza obubi, kireetawo obumu mu kibiina, tusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa, era kituyamba okwetikkula omugugu gwe tuba nagwo. (2 Kol. 2:7; Bak. 3:14) N’ekisembayo, saba Oyo atulagira okusonyiwa. Tokkiriza Sitaani kumalawo mirembe gy’olina wakati wo ne bakkiriza banno. (Bef. 4:26, 27) Twetaaga obuyambi bwa Yakuwa bwe tuba ab’okwewala okugwa mu katego ka Sitaani ako.

TOKKIRIZA KWESITTALA

15. Okusinziira ku Abakkolosaayi 3:13, kiki ky’oyinza okukola singa mukkiriza munno akola ekintu ekikumalako emirembe?

15 Naye watya singa mukkiriza munno akola ekintu ne kikumalako emirembe? Kiki ky’osaanidde okukola? Fuba nga bw’osobola okuzzaawo emirembe. Tegeeza Yakuwa engeri gye weewuliramu. Musabe ayambe oyo eyakola ekintu ekikunyiiza era naawe akuyambe okulaba engeri ennungi omuntu oyo z’alina, engeri Yakuwa z’amulabamu. (Luk. 6:28) Bwe kiba nti tosobola kubuusa maaso ekyo mukkiriza munno kye yakukola, lowooza ku ngeri gy’osobola okumutuukiriramu. Kiba kirungi okukitwala nti ow’oluganda tasobola kukola mu bugenderevu kintu kitulumya. (Mat. 5:23, 24; 1 Kol. 13:7) Bw’oba ng’omutuukiridde okwogera naye, kitwale nti alina ebiruubirirwa ebirungi. Watya singa tayagala kuzzaawo mirembe. ‘Weeyongere okumugumiikiriza.’ Tokoowa. (Soma Abakkolosaayi 3:13.) N’ekisinga obukulu, tomusibira kiruyi kubanga ekyo kiyinza okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa. Tokkirizanga kintu kyonna kukwesittaza. Bw’okola bw’otyo, kiba kiraga nti oyagala Yakuwa okusinga ekintu ekirala kyonna.​—Zab. 119:165.

16. Buvunaanyizibwa ki buli omu ku ffe bw’alina?

16 Tugitwala nga nkizo ya maanyi okuweereza Yakuwa nga tuli bumu ‘ng’ekisibo kimu,’ wansi “w’omusumba omu”! (Yok. 10:16) Akatabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala, olupapula 165, kagamba nti: Olw’okuba oganyuddwa mu bumu obuli mu kibiina, “olina okufuba okulaba nti okola ebintu ebinyweza obumu” obwo. N’olwekyo, tulina “okutunuulira baganda baffe nga Yakuwa bw’abatunuulira.” Eri Yakuwa, ffenna tuli ba muwendo ng’abaana abato. Bw’otyo bw’otwala bakkiriza banno? Yakuwa alaba buli kimu ky’okola okubayamba n’okubafaako.​—Mat. 10:42.

17. Kiki kye tumaliridde okukola?

17 Twagala bakkiriza bannaffe. N’olwekyo, tuli bamalirivu “obutateerawo wa luganda [yenna kintu] kyesittaza oba ekimuviirako okugwa.” (Bar. 14:13) Tukitwala nti bakkiriza bannaffe batusinga era tusaanidde okubasonyiwa okuviira ddala ku mutima. Ka tuleme kukkiriza muntu yenna kutwesittaza. Mu kifo ky’ekyo, ka “tukole ebyo ebireeta emirembe era ebituyamba okuzimbagana.”​—Bar. 14:19.

OLUYIMBA 130 Sonyiwanga

^ lup. 5 Olw’okuba tetutuukiridde, tuyinza okwogera oba okukola ebintu ebirumya baganda baffe. Tweyisa tutya mu mbeera ng’eyo? Tukola kyonna ekisoboka okuzzaawo enkolagana ne baganda baffe? Twanguwa okwetonda? Oba muli tugamba nti, bwe kiba kibayisizza bubi obwo buzibu bwabwe? Ate watya singa tutera okunyiiga amangu olw’ebyo abalala bye baba boogedde oba bye bakoze? Tutera okukitwala nti ffe bwe tutyo bwe tuli ne tulema okukyusa? Oba obwo tubutwala ng’obunafu bwe tulina bwe twetaaga okulwanyisa?

^ lup. 53 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe ng’anyiigidde mwannyinaffe omulala. Bwe bamala okugonjoola obutategeeragana obwo, basonyiwagana era beeyongera okuweerereza awamu nga basanyufu.