Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 23

Toli Wekka, Yakuwa Ali Naawe

Toli Wekka, Yakuwa Ali Naawe

“Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola.”​—ZAB. 145:18.

OLUYIMBA 28 Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa

OMULAMWA *

1. Lwaki oluusi abaweereza ba Yakuwa bawulira ekiwuubaalo?

BANGI ku ffe olumu tuwulira ekiwuubaalo. Abamu kibatwalira ekiseera kitono okuvvuunuka ekizibu ekyo. Ate abalala kiyinza okubatwalira ebbanga ddene. Omuntu ayinza okuwulira ekiwuubaalo ne bw’aba ng’ali n’abantu bangi. Abamu tekibanguyira kumanyiira kibiina kipya. Abalala bawulira ekiwuubaalo bwe bava ewaabwe ne bagenda mu kifo ekyesudde ne baba nga bali wala n’ab’eŋŋanda zaabwe. Ate abalala bawulira ekiwuubaalo olw’okufiirwa omuntu waabwe. Ate Abakristaayo abamu, naddala abo ababa baakayiga amazima, bawulira ekiwuubaalo ab’eŋŋanda zaabwe oba mikwano gyabwe abatasinza Yakuwa bwe babaabulira oba bwe babayigganya.

2. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

2 Yakuwa amanyi era ategeera byonna ebitukwatako. Bwe tuba tuwulira ekiwuubaalo akimanya, era aba ayagala okutuyamba okuvvuunuka ekizibu ekyo. Yakuwa atuyamba atya? Biki bye tuyinza okukola ebisobola okutuyamba? Era biki bye tuyinza okukola okuyamba bakkiriza bannaffe abalina ekiwuubaalo? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino.

YAKUWA ATUFAAKO

Yakuwa yatuma malayika we okuzzaamu Eriya amaanyi ng’amukakasa nti teyali yekka (Laba akatundu 3)

3. Yakuwa yakiraga atya nti yali afaayo ku Eriya?

3 Yakuwa afaayo ku baweereza be bonna. Ali kumpi na buli omu ku ffe, era bwe tuwulira nga tuweddemu amaanyi akiraba. (Zab. 145:18, 19) Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yafaayo ku nneewulira ya nnabbi we Eriya n’engeri gye yamuyambamu. Omusajja oyo omwesigwa yaliwo mu kiseera ekizibu ennyo mu byafaayo bya Isirayiri. Ab’obuyinza mu Isirayiri abaali bataagala Yakuwa, baali bayigganya nnyo abo abaali basinza Yakuwa, era okusingira ddala baali baagala kutta Eriya. (1 Bassek. 19:1, 2) Ekintu ekirala ekiyinza okuba nga kyamalamu Eriya amaanyi kwe kuba nti yali alowooza nti ye yekka eyali asigadde aweereza Yakuwa nga nnabbi. (1 Bassek. 19:10) Ekyo Yakuwa yakiraba era n’abaako ky’akolawo mu bwangu okumuyamba. Yakuwa yatuma malayika okukakasa Eriya nti teyali yekka. Yamugamba nti waali wakyaliwo Abayisirayiri bangi abaali batya Yakuwa.​—1 Bassek. 19:5, 18.

4. Makko 10:29, 30 walaga watya engeri Yakuwa gy’afaayo ku baweereza be ng’ab’eŋŋanda n’ab’emikwano babaabulidde?

4 Yakuwa akimanyi nti bwe tulondawo okumuweereza abamu ku ffe tulina bingi bye twefiiriza. Ekimu ku bintu bye tuyinza okufiirwa, bwe buyambi okuva mu b’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe. Oboolyawo ng’alinamu okutya, omutume Peetero yabuuza Yesu nti: “Twaleka ebintu byonna ne tukugoberera, kale tulifuna ki?” (Mat. 19:27) Yesu yagumya abayigirizwa be nti bandifunye oluganda olw’eby’omwoyo. (Soma Makko 10:29, 30.) Era ne Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu asuubiza okuyamba abo abaagala okumuweereza. (Zab. 9:10) Lowooza ku bintu ebimu by’oyinza okukola Yakuwa asobole okukuyamba okwaŋŋanga ekiwuubaalo.

BY’OYINZA OKUKOLA NG’OWULIRA EKIWUUBAALO

5. Lwaki kirungi okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’akuyambamu?

5 Fumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’akuyambamu. (Zab. 55:22) Ekyo kijja kukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mbeera yo. Mwannyinaffe ayitibwa Carol, * ali obwannamunigina era atalina ba ŋŋanda ze mu mazima, agamba nti: “Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’azze annyambamu okwaŋŋanga ebizibu kindeetera okukiraba nti siri nzekka. Era ekyo kinkakasa nti Yakuwa ajja kweyongera okunnyamba ne mu biseera eby’omu maaso.”

6. Ebyo ebiri mu 1 Peetero 5:9, 10 bizzaamu bitya amaanyi abo abalina ekiwuubaalo?

6 Lowooza ku ngeri Yakuwa gy’ayambamu bakkiriza banno abalina ekiwuubaalo. (Soma 1 Peetero 5:9, 10.) Ow’oluganda Hiroshi amaze emyaka emingi nga talina baŋŋanda ze mu mazima agamba nti: “Bw’obeera mu kibiina okiraba nti tewali n’omu atalina bizibu. Okukimanya nti buli omu ku ffe afuba nga bw’asobola okuweereza Yakuwa kituzzaamu amaanyi ffe abatalina baŋŋanda zaffe mu mazima.”

7. Okusaba kukuyamba kutya?

7 Ba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo. Kino kizingiramu okubuuliranga Yakuwa engeri gy’owuliramu. (1 Peet. 5:7) Massiel agamba nti: “Ekimu ku bintu ebikulu ebyannyamba okwaŋŋanga ekiwuubaalo kwe kusaba ennyo Yakuwa.” Mwannyinaffe ono omuto bwe yasalawo okuweereza Yakuwa yawulira ekiwuubaalo olw’okuba ab’eŋŋanda ze baali tebaweereza Yakuwa. Agamba nti: “Nnawulirira ddala nga Yakuwa ye taata wange. Nnamusabanga emirundi mingi buli lunaku ne mmubuulira engeri gye nnabanga mpuliramu.”

Okuwuliriza Bayibuli n’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli ebyakwatibwa mu maloboozi kiyinza okuyamba abo ababeera bokka obutawulira nnyo kiwuubaalo (Laba akatundu 8) *

8. Okusoma n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda kikuyamba kitya?

8 Soma Ekigambo kya Katonda obutayosa era ofumiitirize ku ebyo ebiraga nti Yakuwa akwagala. Mwannyinaffe Bianca alina ab’eŋŋanda ze abamwogerera ebigambo ebimalamu amaanyi agamba nti: “Okusoma n’okufumiitiriza ku bantu aboogerwako mu Bayibuli ne ku baweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kyaffe abaayolekagana n’embeera efaananako ng’eyange kinnyamba nnyo.” Abakristaayo abamu bakwata mu mutwe ebyawandiikibwa ebibudaabuda, gamba nga Zabbuli 27:10 ne Isaaya 41:10. Ate abamu bakirabye nti bwe bakozesa ebitabo ebyakwatibwa mu maloboozi ebiri ku mukutu gwaffe nga bategeka enkuŋŋaana oba nga basoma Bayibuli kibayamba obutawuubaala.

9. Okubeerangawo mu nkuŋŋaana kikuganyula kitya?

9 Fuba okubangawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Ebyo ebiyigirizibwa bijja kukuzzaamu amaanyi, era ojja kweyongera okumanya bakkiriza banno. (Beb. 10:24, 25) Massiel ayogeddwako waggulu agamba nti: “Wadde nga nnalina ensonyi nnyingi, nnamalirira okubangawo mu buli lukuŋŋaana n’okubaako kye nziramu. Ekyo kyannyamba okunyweza enkolagana yange ne bakkiriza bannange.”

10. Lwaki kikulu okukola omukwano n’Abakristaayo abeesigwa?

10 Kola omukwano n’Abakristaayo abeesigwa. Kola omukwano n’abantu mu kibiina b’osobola okubaako ne by’obayigirako. Basobola okuba nga bakulu, oba nga bato ku ggwe era nga baakulira mu mbeera za njawulo. Bayibuli egamba nti, ‘abakadde baba n’amagezi.’ (Yob. 12:12) Abantu abakulu mu myaka nabo balina bingi bye basobola okuyigira ku baweereza ba Yakuwa abato abeesigwa. Dawudi yali muto nnyo ku Yonasaani naye ekyo tekyabalemesa kuba ba mukwano. (1 Sam. 18:1) Dawudi ne Yonasaani buli omu yayamba munne okuweereza Yakuwa wadde nga baali boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. (1 Sam. 23:16-18) Mwannyinaffe Irina atalina baŋŋanda ze mu mazima agamba nti: “Bakkiriza bannaffe basobola okufuuka bazadde baffe oba baganda baffe. Yakuwa asobola okubakozesa okutuyamba obutawulira kiwuubaalo.”

11. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okufuna emikwano egy’oku lusegere?

11 Okukola emikwano emipya kiyinza obutaba kyangu naddala bw’oba ng’olina ensonyi. Mwannyinaffe Ratna, alina ensonyi era eyayiga amazima wadde nga yayigganyizibwa nnyo agamba nti: “Nnali nnina okukikkiriza nti nnali nneetaaga obuyambi bwa bakkiriza bannange.” Kiyinza obutaba kyangu okubuulirako omulala engeri gye weewuliramu, naye bw’okikola, oyo gw’obuuliddeko asobola okufuuka mukwano gwo ow’oku lusegere. Mikwano gyo baba baagala okukuyamba n’okukuzzaamu amaanyi, naye baba beetaaga obabuulire engeri y’okukikolamu.

12. Omulimu gw’okubuulira guyinza gutya okukuyamba okukola emikwano emirungi?

12 Ekimu ku ebyo ekiyinza okukuyamba okukola emikwano, kwe kubuulirako awamu ne bakkiriza banno. Carol, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Okubuulira awamu ne baganda bange, n’okukolera awamu nabo emirimu emirala egy’ekibiina kinnyambye okufuna emikwano mingi emirungi. Emyaka bwe gizze giyitawo, Yakuwa akozesezza mikwano gyange gino okunnyamba.” Mazima ddala kirungi nnyo okukola omukwano n’Abakristaayo abeesigwa. Yakuwa akozesa emikwano ng’egyo okukuzzaamu amaanyi ng’oyolekagana n’embeera ezimalamu amaanyi, gamba ng’ekiwuubaalo.​—Nge. 17:17.

YAMBA ABALALA OKUWULIRA NTI BAAGALIBWA MU KIBIINA

13. Buvunaanyizibwa ki bonna abali mu kibiina bwe balina?

13 Buli omu mu kibiina alina obuvunaanyizibwa okukakasa nti mubaamu emirembe n’okulaga buli omu akirimu okwagala, waleme kubaawo n’omu awulira nti ali yekka. (Yok. 13:35) Ebyo bye tukola ne bye twogera bisobola okuzzaamu ennyo abalala amaanyi! Mwannyinaffe omu yagamba nti: “Bwe nnayiga amazima, bakkiriza bannange bafuuka baganda bange. Sandisobodde kufuuka Mujulirwa wa Yakuwa singa tebannyamba.” Kiki ky’osobola okukola okuyamba abo abatalina baŋŋanda zaabwe mu mazima okuwulira nti baagalibwa?

14. Oyinza otya okukola omukwano ku bapya?

14 Fuba okubakolako omukwano. Kino tuyinza okukikola nga twaniriza n’essanyu abapya ababa bazze mu nkuŋŋaana. (Bar. 15:7) Naye tulina okukola ekisingawo. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, tusaanidde okufuba okubafuula mikwano gyaffe egy’oku lusegere. N’olwekyo beera wa kisa era kirage nti ofaayo ku bapya. Awatali kubayingirira nnyo, fuba okumanya ebyo bye bayinza okuba nga bayitamu. Abamu kiyinza obutabanguyira kukubuulira ngeri gye beewuliramu, n’olwekyo tobakaka kwogera. Mu kifo ky’ekyo, mu ngeri ey’ekisa era ey’amagezi, babuuze ebibuuzo ebibaleetera okukubuulira engeri gye beewuliramu era bawulirize bulungi. Ng’ekyokulabirako, oyinza okubabuuza engeri gye baayigamu amazima.

15. Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bayinza batya okuyamba abalala mu kibiina?

15 Bonna abali mu kibiina bajja kukula mu by’omwoyo singa Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo, okusingira ddala abakadde, babafaako. Melissa, alina maama we eyamuyamba okukulira mu mazima, agamba nti: “Nsiima nnyo ab’oluganda ababadde nga bakitange abaawangayo obudde okubeerako nange era ne balaga nti banfaako. Buli lwe mba nnina kye njagala okwogera wabaawo ampuliriza.” Ow’oluganda omuto ayitibwa Mauricio, eyawulira ekiwuubaalo ng’oyo eyamuyigiriza Bayibuli avudde mu mazima, agamba nti: “Abakadde baakiraga nti banfaako era ekyo kyannyamba nnyo. Baayogerangako nange, baabuulirangako nange, bambuulirangako ebintu ebirungi bye baabanga bayize mu kwesomesa Bayibuli, era bazannyangako nange.” Oluvannyuma Melissa ne Mauricio baayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.

Waliwo omuntu yenna mu kibiina kyo ayinza okuganyulwa ennyo singa ofunayo akadde okubeerako awamu naye? (Laba akatundu 16-19) *

16-17. Ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okuyamba abalala bye biruwa?

16 Baako by’okola okuyamba abalala. (Bag. 6:10) Leo aweereza ng’omuminsani mu kitundu ekyesudde ennyo okuva awali ab’eŋŋanda ze agamba nti: “Emirundi mingi ky’oba weetaaga kye kikolwa eky’ekisa mu kiseera ekituufu. Nzijukira olunaku lumu bwe nnagwa ku kabenje, we nnatuukira awaka nzenna nnali mpulira nga sikyetegeera. Naye ow’oluganda ne mukyala we bampita okuliirako awamu nabo emmere. Sikyajjukira kye twalya, naye nzijukira bampuliriza bulungi. Ekyo kyandeetera okuwulira obulungi!”

17 Ffenna tunyumirwa okugenda mu nkuŋŋaana ennene, kubanga kituwa akakisa okubeerako awamu ne baganda baffe n’okunyumyako nabo ku ebyo bye tuba tuyize mu lukuŋŋaana. Naye Carol eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Mpulira ekiwuubaalo nga ndi mu nkuŋŋaana ennene.” Lwaki awulira ekiwuubaalo? Agamba nti, “Wadde nga mba nneetooloddwa ab’oluganda ne bannyinaffe bangi, emirundi mingi buli omu aba atudde na ba ŋŋanda ze. Ekyo kindeetera ekiwuubaalo.” Abalala bakisanga nga kizibu okubaawo mu lukuŋŋaana olunene olusooka nga baakafiirwa munnaabwe mu bufumbo. Olina gw’omanyi ayolekagana n’embeera ng’eyo? Lwaki tomuyita n’abeerako nammwe ku lukuŋŋaana olunene oluddako?

18. Tuyinza tutya okukolera ku ebyo ebiri mu 2 Abakkolinso 6:11-13 nga tusembeza abalala?

18 Funayo akadde okubeerako awamu n’ab’oluganda. Bw’oba nga weesanyusaamu, yita ab’oluganda ab’enjawulo, naddala abo abalina ekiwuubaalo. Twagala ‘okugaziwa mu mitima gyaffe,’ naddala eri abantu ng’abo. (Soma 2 Abakkolinso 6:11-13.) Melissa eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Twanyumirwanga nnyo mikwano gyaffe bwe baatuyitanga okubakyalira awamu n’ab’eŋŋanda zaabwe, oba okugendako wamu nabo okulambula.” Waliwo omuntu yenna mu kibiina kyo gw’osobola okusembeza?

19. Okusingira ddala ddi lwe kiyinza okuba ekirungi okubeerako awamu ne Bakristaayo bannaffe?

19 Waliwo ebiseera Bakristaayo bannaffe bwe bayinza okusanyuka ennyo bwe tubeerako awamu nabo. Abamu bayinza okukisanga nga kizibu okubeera n’ab’eŋŋanda zaabwe abatasinza Yakuwa nga bakuza ennaku zaabwe. Abalala bawulira ennaku ey’amaanyi olunaku munnaabwe mu bufumbo lwe yafa bwe lutuuka. Bwe tufunayo akadde okubeerako ne baganda baffe aboolekagana n’ebizibu ng’ebyo, tuba tukiraga nti ‘tubafaako mu bwesimbu.’​—Baf. 2:20.

20. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 12:48-50 biyinza bitya okutuyamba bwe tuba nga tuwulira ekiwuubaalo?

20 Waliwo ebintu bingi ebiyinza okuleetera Omukristaayo okuwulira ekiwuubaalo. Naye tetusaanidde kukyerabira nti Yakuwa aba amanyi engeri gye twewuliramu. Emirundi mingi akozesa bakkiriza bannaffe okutuyamba. (Soma Matayo 12:48-50.) Naffe tukiraga nti tusiima Yakuwa olw’obuyambi bw’atuwa okuyitira mu kibiina, nga tukola kyonna ekisoboka okuyamba bakkiriza bannaffe. Ka tube nga tuwulira tutya, tetuli ffekka. Bulijjo Yakuwa aba wamu naffe!

OLUYIMBA 46 Tukwebaza Yakuwa

^ lup. 5 Ebiseera ebimu owulira ekiwuubaalo? Bwe kiba kityo beera mukakafu nti Yakuwa ekyo akiraba era mwetegefu okukuwa obuyambi bwe weetaaga. Mu kitundu kino tugenda kulaba by’osobola okukola okusobola okwaŋŋanga ekizibu ekyo. Ate era tugenda kulaba engeri gy’oyinza okuzzaamu amaanyi bakkiriza banno abalina ekiwuubaalo.

^ lup. 5 Amannya agamu gakyusiddwa.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Ow’oluganda eyafiirwa mukyala we aganyulwa nnyo mu kuwuliriza Bayibuli n’ebitabo ebyakwatibwa mu maloboozi.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne muwala we nga bakyalidde ow’oluganda omu akaddiye era balina kye bamuleetedde.