Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 22

Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubatizibwa

Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubatizibwa

“Buli omu ku mmwe abatizibwe.”​—BIK. 2:38.

OLUYIMBA 72 Okubunyisa Amazima g’Obwakabaka

OMULAMWA *

1. Kiki abayigirizwa ba Yesu kye baagamba ekibiina ky’abantu okukola?

EKIBIINA ekinene ekyalimu abasajja n’abakazi abaali bavudde mu nsi ez’enjawulo era nga boogera ennimi za njawulo kyali kikuŋŋaanye. Waliwo ekintu eky’enjawulo ekyaliwo ku olwo. Abayudaaya abamu baasobola okwogera ennimi z’abantu abo abaali bavudde mu mawanga ag’enjawulo! Wadde ng’ekyo kyali kyewuunyisa, ebyo Abayudaaya bye baabagamba era n’omutume Peetero bye yabagamba byali byewuunyisa nnyo n’okusingawo. Abantu abo baakitegeera nti baali basobola okulokolebwa singa bakyoleka nti bakkiririza mu Yesu Kristo. Baakwatibwako nnyo obubaka obwo ne batuuka n’okubuuza nti: “Tukole ki?” Peetero yabaddamu nti: “Buli omu ku mmwe abatizibwe.”​—Bik. 2:37, 38.

Ow’oluganda ne mukyala we nga bayigiriza omusajja Bayibuli nga bakozesa ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! (Laba akatundu 2)

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

2 Ekyaddirira kyewuunyisa nnyo. Abantu nga 3,000 baabatizibwa ku lunaku olwo, ne bafuuka abayigirizwa ba Kristo. Eyo ye yali entandikwa y’omulimu omunene ogw’okufuula abantu abayigirizwa Yesu gwe yalagira abagoberezi be okukola. Abagoberezi be bakyakola omulimu ogwo n’okutuusa leero. Mu kiseera kyaffe tetusobola kuyigiriza muntu okumala essaawa ntono n’atuuka okubatizibwa. Kiyinza okutwala emyezi egiwerako, omwaka, oba n’okusingawo omuyizi wa Bayibuli okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. Kyetaagisa okufuba kwa maanyi okusobola okuyamba omuntu okufuuka omuyigirizwa wa Kristo. Mu kitundu kino tugenda kulaba by’oyinza okukola okuyamba omuyizi wo owa Bayibuli okufuuka omuyigirizwa wa Yesu omubatize.

YAMBA OMUYIZI WO OWA BAYIBULI OKUKOLERA KU EBYO BY’AYIGA

3. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 28:19, 20, kiki omuyizi wa Bayibuli ky’alina okukola okusobola okubatizibwa?

3 Nga tannabatizibwa, omuyizi wa Bayibuli alina okusooka okukolera ku ebyo by’ayiga. (Soma Matayo 28:19, 20.) Bw’akolera ku ebyo by’ayiga, aba “ng’omusajja ow’amagezi” Yesu gwe yayogerako eyazimba ennyumba ye ku lwazi. (Mat. 7:24, 25; Luk. 6:47, 48) Tuyinza tutya okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukolera ku ebyo by’ayiga? Ka tulabe ebintu bisatu bye tusobola okukola.

4. Tuyinza tutya okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukulaakulana okutuuka ku kubatizibwa? (Laba n’akasanduuko “ Yamba Omuyizi Wo Okweteerawo Ebiruubirirwa n’Okubituukako.”)

4 Yamba omuyizi wo okweteerawo ebiruubirirwa. Lwaki ekyo tusaanidde okukikola? Lowooza ku kyokulabirako kino: Bw’oba ng’ogenda ku lugendo oluwanvu ennyo, oyinza okusalawo okugenda ng’oyimirirako mu bifo ebitali bimu ebirabika obulungi, bw’okola bw’otyo olugendo terukumenya nnyo. Mu ngeri y’emu omuyizi wa Bayibuli bwe yeeteerawo ebiruubirirwa ebyangu okutuukako era n’abituukako, kiyinza okumuleetera okukiraba nti asobola okutuuka ku kiruubirirwa eky’okubatizibwa. Kozesa ebyo ebiri wansi w’ekitundu “Eky’okukolako” ekiri mu katabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! okuyamba omuyizi wo okukulaakulana. Ku buli nkomerero y’essomo, kubaganya naye ebirowoozo ku ngeri ekiruubirirwa ekyo gye kijja okumuyamba okukolera ku ebyo by’aba yaakayiga. Bw’oba olina ekiruubirirwa ekirala eky’enjawulo ky’oyagala omuyizi wo atuukeko, kiwandiike mu mabanga agali wansi w’ekigambo “Ekirala.” Kozesa ekitundu kino okwejjukanyanga ebiruubirirwa omuyizi wo by’asobola okutuukako amangu n’ebyo by’asobola okutuukako oluvannyuma lw’ekiseera.

5. Nga bwe kiragibwa mu Makko 10:17-22, kiki Yesu kye yagamba omusajja omugagga okukola, era lwaki?

5 Yamba omuyizi wo okukola enkyukakyuka mu bulamu bwe. (Soma Makko 10:17-22.) Yesu yali akimanyi nti tekyandibadde kyangu eri omusajja omugagga okutunda ebintu bye. (Mak. 10:23) Naye Yesu yagamba omusajja oyo okukola enkyukakyuka eyo ey’amaanyi mu bulamu bwe. Lwaki? Kubanga Yesu yali amwagala. Oluusi tuyinza obutakubiriza muyizi wa Bayibuli kukola nkyukakyuka emu nga tulowooza nti ekiseera tekinnatuuka kugikola. Abamu kiyinza okubatwalira ekiseera okulekayo ebikolwa ebibi era n’okwambala omuntu omuggya. (Bak. 3:9, 10) Bw’oyanguwa okubuulira omuyizi wo enkyukakyuka gye yeetaaga okukola, ajja kwanguwa okugikola. Bw’omubuulira kye yeetaaga okukolako, kiba kiraga nti omufaako.​—Zab. 141:5; Nge. 27:17.

6. Lwaki tulina okukozesa ebibuuzo ebireetera omuyizi okuwa endowooza ye?

6 Kikulu okubuuza omuyizi ky’alowooza ku nsonga emu. Ekyo kijja kukuyamba okumanya omuyizi wo ky’ategedde, ne ky’akkiriza. Ekyo bwe weemanyiiza okukikola, kijja kukwanguyira okukubaganya naye ebirowoozo ku nsonga endala eziyinza okumuzibuwalira okukkiriza. Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! kirimu ebibuuzo bingi ebireetera omuyizi okuwa endowooza ye. Ng’ekyokulabirako, essomo 04 lirimu ekibuuzo ekigamba nti: “Olowooza Yakuwa awulira atya bw’okozesa erinnya lye?” Ate essomo 09 lirimu ekibuuzo ekigamba nti: “Ebimu ku bintu bye wandyagadde okusaba bye biruwa?” Mu kusooka omuyizi kiyinza obutamwanguyira kuddamu bibuuzo ebimwetaagisa okuwa endowooza ye. Osobola okumuyamba ng’omuyigiriza okufumiitiriza ku byawandiikibwa ne ku bifaananyi ebiri mu kitabo.

7. Oyinza otya okukozesa obulungi ebyokulabirako by’abalala?

7 Omuyizi bw’amanya kye yeetaaga okukola, kozesa ebyokulabirako by’abantu abalala okumukubiriza okukikola. Ng’ekyokulabirako, singa omuyizi wo tekimwanguyira kujja mu nkuŋŋaana, oyinza okumulaga Vidiyo erina omutwe Yakuwa Yandabirira eri wansi w’ekitundu “Laba Ebisingawo” mu ssomo 14. Mu masomo mangi agali mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! ojja kusanga ebyokulabirako ng’ebyo wansi w’omutwe “Yiga Ebisingawo” oba “Laba Ebisingawo.” * Weewale okugeraageranya omuyizi wo n’abantu abalala, oboolyawo ng’omugamba nti, “Bwe kiba nti oyo asobola okukikola, naawe osobola okukikola.” Leka omuyizi wo ekyo akyerabire yekka. Nokolayo ebimu ku bintu ebikulu ebyayamba omuntu ali mu vidiyo okukolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Oboolyawo osobola okunokolayo ekyawandiikibwa kimu ekikulu oba ekintu ekirala ekyakolebwa ekisobola okuyamba omuyizi wo. Buli lwe kiba kituukirawo, laga engeri Yakuwa gye yayambamu omuntu oyo.

8. Tuyinza tutya okuyamba omuyizi okwagala Yakuwa?

8 Yamba omuyizi wo okwagala Yakuwa. Ekyo oyinza kukikola otya? Kozesa buli kakisa k’ofuna okumuyamba okulaba engeri za Yakuwa. Yamba omuyizi wo okukiraba nti Yakuwa ye Katonda omusanyufu era ayamba abo abamwagala. (1 Tim. 1:11; Beb. 11:6) Muyambe okukiraba nti ajja kuganyulwa nnyo singa akolera ku ebyo by’ayiga, era nti emiganyulo egyo giraga okwagala Yakuwa kw’alina gy’ali. (Is. 48:17, 18) Omuyizi wo gy’akoma okwagala Yakuwa, gy’ajja okukoma okwagala okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.​—1 Yok. 5:3.

YAMBA OMUYIZI WO OKUMANYA ABAWEEREZA BA YAKUWA ABALALA

9. Okusinziira ku Makko 10:29, 30, kiki ekisobola okuyamba omuyizi wa Bayibuli okubaako bye yeefiiriza okusobola okubatizibwa?

9 Omuyizi wa Bayibuli okusobola okukulaakulana atuuke okubatizibwa, alina okubaako bye yeefiiriza. Okufaananako omusajja omugagga ayogeddwako waggulu, abayizi ba Bayibuli abamu kiyinza okubeetaagisa okwefiiriza eby’obugagga. Omulimu gwe bakola bwe guba nga gukontana n’emisingi gya Bayibuli, kiba kibeetaagisa okuguleka. Abamu kiyinza okubeetaagisa okwekutula ku mikwano egitaagala Yakuwa. Abalala bayinza okukyayibwa ab’eŋŋanda zaabwe abataagala Bajulirwa ba Yakuwa. Yesu yakiraga nti abantu abamu kiyinza obutabanguyira kwefiiriza bintu ng’ebyo. Naye era yakiraga nti abo abakolera ku ebyo bye yayigiriza, tebajja kwejjusa. Mu kifo ky’ekyo yakiraga nti bandifunye baganda baabwe ab’eby’omwoyo. (Soma Makko 10:29, 30.) Oyinza otya okuyamba omuyizi wo okuganyulwa mu kirabo ekyo eky’omuwendo?

10. Kiki ky’oyigira ku Manuel?

10 Omuyizi wo mufuule mukwano gwo. Kikulu okulaga omuyizi wo nti omufaako. Lwaki? Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Manuel abeera mu Mexico. Ng’ayogera ku kiseera we yayigira Bayibuli, agamba nti: “Buli lwe twabanga tugenda okusoma, oyo eyanjigirizanga Bayibuli yasookanga n’ambuuza ebikwata ku bulamu bwange. Yannyamba okukkakkana ne mba nga nsobola n’okumweyabiza. Nnali nkiraba nti anfaako nnyo.”

11. Abayizi baffe aba Bayibuli baganyulwa batya bwe tuwaayo ebiseera okubeerako nabo?

11 Waayo ebiseera okubeerako awamu n’abayizi bo nga Yesu bwe yawaayo ebiseera okubeerako awamu n’abagoberezi be. (Yok. 3:22) Omuyizi wo bw’aba akulaakulana, oyinza okumukyazaako awaka wo ne munywerako wamu kacaayi, ne muliirako wamu naye emmere, oba ne mulabira wamu programu ya JW Broadcasting. Omuyizi wo ayinza okusiima ennyo, bw’omuyita naddala mu biseera lw’ayinza okuwulira ekiwuubaalo ng’ab’eŋŋanda ze bakuza ennaku zaabwe enkulu. Ow’oluganda Kazibwe abeera mu Uganda agamba nti: “Nnina bingi bye nnayiga ku Yakuwa mu biseera ebirala nga ndi n’omusomesa wange ng’oggyeeko bye nnayigira mu biseera bwe yajjanga okunsomesa. Nnakiraba nti Yakuwa afaayo nnyo ku bantu be era nti abantu be basanyufu. Ekyo nange kye nnali njagala.”

Bw’otwala ababuulizi ab’enjawulo ku muyizi wo, omuyizi kijja kumwanguyira okujja mu nkuŋŋaana (Laba akatundu 12) *

12. Lwaki tusaanidde okugenda n’ababuulizi ab’enjawulo nga tugenda okuyigiriza omuyizi?

12 Genda n’ababuulizi ab’enjawulo ng’ogenda okuyigiriza omuyizi. Oluusi tuyinza okuwulira nti kyangu okugendanga ffekka oba okutwalanga omubuulizi y’omu buli lwe tuba tugenda okuyigiriza omuyizi waffe. Wadde ng’ekyo kiyinza okutwanguyira, kiganyula nnyo omuyizi bwe tutwala ababuulizi ab’enjawulo nga tugenda okumuyigiriza. Dmitrii abeera mu Moldova agamba nti: “Ababuulizi abajjanga okunsomesa, buli omu yabangako engeri ey’enjawulo gy’annyonnyolamu ebintu. Ekyo kyannyamba okulaba engeri ez’enjawulo gye nnali nnyinza okukolera ku ebyo bye nnali njiga. Era kyannyamba obutatya nnyo bwe nnagenda mu lukuŋŋaana lwange olwasooka, kubanga ab’oluganda ne bannyinaffe bangi nnali mbamanyi.”

13. Lwaki tulina okuyamba omuyizi wa Bayibuli okubangawo mu nkuŋŋaana?

13 Yamba omuyizi wo okubangawo mu nkuŋŋaana. Lwaki? Kubanga Yakuwa yalagira abaweereza be okukuŋŋaananga awamu; ekyo kitundu kya kusinza kwaffe. (Beb. 10:24, 25) Okugatta ku ekyo, bakkiriza bannaffe baba baganda baffe ne bannyinaffe ab’eby’omwoyo. Bwe tuba nabo mu nkuŋŋaana, tuba ng’abali awaka nga tuliira wamu ekijjulo. Bw’oyamba omuyizi wo owa Bayibuli okubangawo mu nkuŋŋaana, oba omuyambye okukola ekimu ku bintu ebikulu ennyo kye yeetaaga okukola okusobola okutuuka ku kubatizibwa. Naye kiyinza okumuzibuwalira okutandika okubangawo mu nkuŋŋaana. Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! kiyinza kitya okumuyamba okuvvuunuka okusoomooza kwonna okuyinza okumulemesa okubaawo mu nkuŋŋaana?

14. Tuyinza tutya okukubiriza omuyizi okujja mu nkuŋŋaana?

14 Kozesa essomo 10 ery’ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! okukubiriza omuyizi okujja mu nkuŋŋaana. Ababuulizi abalina obumanyirivu abaasabibwa okugezesa essomo lino ng’ekitabo kino tekinnafulumizibwa bagamba nti, essomo lino lyabayamba nnyo okuleetera abayizi baabwe okutandika okujja mu nkuŋŋaana. Kya lwatu nti tosaanidde kulinda kutuuka ku ssomo lya 10 olyoke okubirize omuyizi okujja mu nkuŋŋaana. Muyite okujja mu nkuŋŋaana amangu ddala nga bwe kisoboka era ekyo weeyongere okukikola. Abayizi baba n’ebintu eby’enjawulo ebiyinza okubalemesa okujja mu nkuŋŋaana. N’olwekyo manya embeera y’omuyizi wo era laba engeri gy’osobola okumuyamba. Toggwaamu maanyi bwe wayitawo ekiseera nga tannatandika kujja mu nkuŋŋaana. Ba mugumiikiriza naye tolekera awo kumukubiriza kujja mu nkuŋŋaana.

YAMBA OMUYIZI WO OKUGGWAAMU OKUTYA

15. Biki abayizi baffe aba Bayibuli bye bayinza okuba nga batya?

15 Ojjukira okutya kwe wafunamu bwe walowooza ku ky’okufuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa? Oboolyawo muli wawulira nti tojja kusobola kubuulira nnyumba ku nnyumba. Oba muli watya nti ab’eŋŋanda zo ne mikwano gyo bayinza okukuyigganya. Bwe kiba kityo, otegeera engeri omuyizi wo owa Bayibuli gy’awuliramu. Yesu yakiraga nti abantu abamu bandibadde n’okutya ng’okwo. Naye yakubiriza abagoberezi be obutaleka kutya kubaleetera kulekera awo kuweereza Yakuwa. (Mat. 10:16, 17, 27, 28) Yesu yayamba atya abagoberezi be okuvvuunuka okutya? Era oyinza otya okumukoppa?

16. Oyinza otya okuyamba omuyizi wo owa Bayibuli okubuulirako abalala by’ayiga?

16 Mpolampola genda ng’otendeka omuyizi wo okubuulirako abalala by’ayiga. Abayigirizwa ba Yesu bayinza okuba nga baatyamu bwe yabasindika okugenda okubuulira. Naye Yesu yabayamba ng’ababuulira gye baalina okubuulira, n’obubaka bwe baalina okubuulira. (Mat. 10:5-7) Oyinza otya okukoppa Yesu? Yamba omuyizi wo okumanya wa w’ayinza okubuulira. Ng’ekyokulabirako, mubuuze oba alinayo omuntu gw’amanyi ayinza okuganyulwa mu kintu ekimu Bayibuli ky’eyigiriza. Muyambe okuteekateeka ekyo ky’anaayogera ng’omulaga engeri ennyangu gy’ayinza okubuulirako abalala amazima ago. Bwe kiba kituukirawo, oyinza okwegezaamu naye nga mukozesa ebyo ebiri wansi w’omutwe “Abamu Bagamba Nti” ne “Omuntu Ayinza Okubuuza Nti,” mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Bwe muba mwegezaamu yamba omuyizi wo okukozesa Bayibuli okuddamu mu ngeri ennyangu era ey’amagezi.

17. Tuyinza tutya okukozesa Matayo 10:19, 20, 29-31 okuyamba omuyizi waffe okwesiga Yakuwa?

17 Yamba omuyizi wo okwesiga Yakuwa. Yesu yagamba abayigirizwa be nti Yakuwa yandibayambye kubanga abaagala. (Soma Matayo 10:19, 20, 29-31.) Naawe osaanidde okujjukizanga omuyizi wo nti Yakuwa ajja kumuyamba. Oyinza okumuyamba okwesiga Yakuwa ng’osaba naye ku bikwata ku biruubirirwa bye. Franciszek abeera mu Poland agamba nti: “Omusomesa wange owa Bayibuli bwe yabanga asaba yayogeranga ku biruubirirwa byange. Bwe nnalaba engeri Yakuwa gye yaddangamu okusaba kwe, amangu ddala nange nnatandika okusaba. Nnakiraba nti Yakuwa yannyamba bwe nnali nnaakafuna omulimu ne nsaba mukama wange ku mulimu anzikirize okugendanga mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne ku lukuŋŋaana olunene.”

18. Yakuwa awulira atya bw’alaba omulimu Abakristaayo gwe bakola?

18 Yakuwa afaayo nnyo ku bayizi baffe aba Bayibuli. Asiima nnyo bw’alaba okufuba Abakristaayo kwe bateekamu okuyamba abantu okufuna enkolagana ennungi naye, era abaagala nnyo. (Is. 52:7) Bw’oba nga mu kiseera kino tolina muntu gw’oyigiriza Bayibuli, era osobola okubaako ky’okolawo okuyamba abayizi ba Bayibuli okukulaakulana okutuuka ku kubatizibwa ng’owerekerako ababuulizi abalala ku bayizi baabwe.

OLUYIMBA 60 Tutaase Obulamu Bwabwe

^ lup. 5 Ekitundu kino kigenda kulaga engeri Yesu gye yayamba abantu okufuuka abayigirizwa be n’engeri gye tusobola okumukoppa. Ate era kigenda kulaga engeri gye tuyinza okukozesaamu ebimu ku ebyo ebiri mu kitabo ekipya Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Ekitabo kino kyategekebwa okuyamba abayizi ba Bayibuli okukulaakulana batuuke okubatizibwa.

^ lup. 7 Osobola okufuna ebyokulabirako ebirala mu (1) Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza wansi w’omutwe “Bayibuli,” “Emiganyulo Egiri mu Kugoberera Obulagirizi bwa Bayibuli,” ne “‘Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu’ (Ebitundu ebifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi)” oba (2) ku JW Library® wansi wa “Ebyokulabirako n’Okubuuza Ebibuuzo.”

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ng’ali wamu ne mukyala we, nga baliko omusajja gwe bayigiriza. Ate ku mirundi emirala, atutteyo ab’oluganda abalala.