Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 25

Abakadde Muyigire ku Gidiyoni

Abakadde Muyigire ku Gidiyoni

“Ebiseera bijja kunzigwaako bwe nnaayogera ku Gidiyoni.”​—BEB. 11:32.

OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa

OMULAMWA a

1. Okusinziira ku 1 Peetero 5:2, buvunaanyizibwa ki abakadde bwe balina?

 ABAKADDE baaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira endiga za Yakuwa ez’omuwendo. Basiima nnyo enkizo eyo, era bafuba ‘okulunda obulungi’ endiga ezo. (Yer. 23:4; soma 1 Peetero 5:2.) Tusiima nnyo okubeera n’abasajja ng’abo mu bibiina byaffe!

2. Kusoomooza ki abakadde abamu kwe bayinza okwolekagana nakwo?

2 Abakadde boolekagana n’okusoomooza okutali kumu nga bafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Kibeetaagisa okukola ennyo okusobola okulabirira ekibiina. Ow’oluganda ayitibwa Tony, aweereza ng’omukadde mu kibiina ekimu mu Amerika, yalina okwongera okuba omwetoowaze bwe kituuka ku kukkiriza obuvunaanyizibwa obutali bumu. Agamba nti: “Mu kiseera ekirwadde kya COVID-19 we kyabalukirawo, nnakola nnyo ekibiina kyaffe kisobole okuba n’enkuŋŋaana era ab’oluganda basobole okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Wadde nga nnafubanga nnyo, waabangawo ebirala ebyetaaga okukolebwa. N’ekyavaamu, nnabulwa ebiseera eby’okusoma Bayibuli, okwesomesa, n’okusaba.” Ilir, aweereza ng’omukadde mu Kosovo, naye alina okusoomooza kwe yafuna. Bwe yali mu kitundu omwali olutalo, kyamuzibuwalira okukolera ku bulagirizi obwamuweebwa ekibiina. Agamba nti: “Ofiisi y’ettabi bwe yampa obuvunaanyizibwa obw’okuyamba bakkiriza bannange abaali mu kifo olutalo we lwali lunyiinyitidde, kyanzibuwalira okwoleka obuvumu. Nnatya nnyo, era n’obulagirizi obwampeebwa bwalabika ng’obutakola.” Tim aweereza ng’omuminsani mu Asiya yazibuwalirwanga okukola ebintu bye yabanga alina okukola mu lunaku. Agamba nti: “Ebiseera ebimu nnakoowanga nnyo nga nfuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nnalina.” Kiki ekisobola okuyamba abakadde aboolekagana n’okusoomooza ng’okwo?

3. Tuganyulwa tutya bwe twekenneenya ekyokulabirako ky’Omulamuzi Gidiyoni?

3 Abakadde balina bye basobola okuyigira ku mulamuzi eyali ayitibwa Gidiyoni. (Beb. 6:12; 11:32) Gidiyoni yalabirira abantu ba Katonda era yabakuuma. (Balam. 2:16; 1 Byom. 17:6) Okufaananako Gidiyoni, abakadde baweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abantu ba Katonda mu biseera bino ebizibu ennyo. (Bik. 20:28; 2 Tim. 3:1) Gidiyoni yayoleka obwetoowaze n’obuwulize, era tusobola okumuyigirako. Ate era yalina okuba omugumiikiriza ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa obwamuweebwa. Ka tube nga tuweereza ng’abakadde oba nedda, tusobola okweyongera okusiima n’okuwagira ab’oluganda abo abafuba ennyo okutulabirira.​—Beb. 13:17.

BWE KIKUZIBUWALIRA OKUBA OMWETOOWAZE

4. Gidiyoni yayoleka atya obwetoowaze?

4 Gidiyoni yali mwetoowaze. b Malayika wa Yakuwa bwe yamugamba nti yali alondeddwa okununula Abayisirayiri mu mukono gw’Abamidiyaani abaali ab’amaanyi ennyo, Gidiyoni yagamba nti: “Oluggya mwe nva lwe lusingayo okuba olutono mu Manase, era nze nsingayo okuba owa wansi mu nnyumba ya kitange.” (Balam. 6:15) Gidiyoni yali yeeraba nti tasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo, naye ye Yakuwa yalaba nti yali asobola. Yakuwa yamuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obutaali bwangu.

5. Ddi lwe kiyinza okuba ekizibu omukadde okwoleka obwetoowaze?

5 Abakadde bafuba nnyo okuba abeetoowaze mu bintu byonna. (Mi. 6:8; Bik. 20:18, 19) Tebeewaana olw’ebyo bye basobola okukola n’ebyo bye baba bakoze; era tebakitwala nti tebalina mugaso olw’ensobi ze baba bakoze. Wadde kiri kityo, ebiseera ebimu omukadde kiyinza okumuzibuwalira okuba omwetoowaze. Ng’ekyokulabirako, ayinza okukkiriza obuvunaanyizibwa obutali bumu, naye ne kimubeerera kizibu okubutuukiriza bwonna. Oba abalala bayinza okumukolokota olw’engeri gy’aba akozeemu ebintu ebimu oba okumutendereza olw’ebyo by’aba akoze. Biki abakadde bye basobola okuyigira ku Gidiyoni ebiyinza okubayamba mu mbeera ng’ezo?

Omukadde omwetoowaze akoppa Gidiyoni ng’asaba obuyambi we kiba kyetaagisizza, gamba ng’okuteekateeka akagaali akakozesebwa mu kubuulira (Laba akatundu 6)

6. Biki abakadde bye bayinza okuyigira ku bwetoowaze bwa Gidiyoni? (Laba n’ekifaananyi.)

6 Saba obuyambi. Omuntu omwetoowaze aba amanyi obusobozi bwe we bukoma. Gidiyoni yayoleka obwetoowaze ng’asaba abalala okumuyamba. (Balam. 6:27, 35; 7:24) Abakadde nabo basaanidde okukola kye kimu. Tony ayogeddwako waggulu agamba nti: “Olw’engeri gye nnakuzibwamu, nnakkirizanga emirimu gyonna egyampeebwanga mu kibiina ne bwe nnabanga sisobola kugikola. N’olwekyo, nnasalawo ensonga eyo tugikubaganyeko ebirowoozo mu kusinza kw’amaka, era ne nsaba mukyala wange ambuulire kye yali alowooza ku nsonga eyo. Nnalaba ne vidiyo ku jw.org erina omutwe, Tendeka Abalala, Beesige, era Bawe Obuvunaanyizibwa nga Yesu bw’Akola.” Tony yatandika okusabanga abalala okumuyambako ku mirimu. Biki ebivuddemu? Agamba nti: “Kati emirimu gyonna mu kibiina gikolebwa bulungi, era nfuna n’obudde okukola ebintu ebinnyamba okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa.”

7. Abakadde bayinza batya okukoppa Gidiyoni abalala bwe babakolokota olw’ebyo bye bakola? (Yakobo 3:13)

7 Sigala ng’oli mukkakkamu abalala bwe bakukolokota. Kiyinza okuzibuwalira abakadde okusigala nga bakkakkamu abalala bwe babakolokota. Ekyokulabirako kya Gidiyoni kisobola okubayamba mu mbeera ng’eyo. Olw’okuba Gidiyoni yali akimanyi nti yali tatuukiridde, yasigala nga mukkakkamu Abeefulayimu bwe baamukolokota olw’ekyo kye yali akoze. (Balam. 8:1-3) Teyabaddamu na busungu. Yakiraga nti mwetoowaze ng’abawuliriza bulungi era ng’abaddamu mu ngeri ey’ekisa. Ekyo kyabaleetera okukkakkana. Abakadde basaanidde okukoppa Gidiyoni nga bawuliriza bulungi era nga baddamu n’obukkakkamu abo ababa babakolokota olw’ebyo bye bakola. (Soma Yakobo 3:13.) Bwe bakola bwe batyo, kyongera okuleetawo emirembe mu kibiina.

8. Abakadde bandyeyisizza batya singa abalala babatendereza? Waayo ekyokulabirako.

8 Ettendo liwe Yakuwa. Gidiyoni bwe baamutendereza olw’okuwangula Abamidiyaani, ettendo yaliwa Yakuwa. (Balam. 8:22, 23) Abakadde bayinza batya okumukoppa? Mu byonna bye baba batuuseeko, ettendo basaanidde kuliwa Yakuwa. (1 Kol. 4:6, 7) Ng’ekyokulabirako, singa abalala basiima omukadde olw’okuyigiriza obulungi, asobola okugamba nti obulagirizi abuggya mu Kigambo kya Katonda, era nti ffenna ekibiina kya Yakuwa kye kitutendeka. Abakadde basaanidde okwekebera okulaba obanga engeri gye bayigirizaamu ereetera abalala okubatendereza oba okutendereza Yakuwa. Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Timothy aweereza ng’omukadde. Bwe yali yaakalondebwa okuweereza ng’omukadde, yayagalanga nnyo okuwa emboozi ya bonna. Agamba nti: “Ennyanjula yange yabanga mpavu, era nnakozesanga eby’okulabirako ebitali byangu. Ekyo kyaleeteranga abalala okuntendereza mu kifo ky’okusiima Yakuwa n’Ekigambo kye Bayibuli.” Timothy yakiraba nti yalina okukyusa mu ngeri gye yali ayigirizaamu, abalala baleme kumutendereza wabula batendereze Yakuwa. (Nge. 27:21) Birungi ki ebivuddemu? Agamba nti: “Bangi baŋŋamba nti emboozi zange zibayambye okwaŋŋanga ebizibu, okugumiikiriza, n’okwoyongera okusemberera Yakuwa. Kati nfuna essanyu lingi okuwulira ebigambo ng’ebyo okusinga lye nnafunanga nga bantendereza.”

BWE KIKUZIBUWALIRA OKUBA OMUWULIZE OBA OKUBA OMUVUMU

Gidiyooni yakendeeza eggye lye n’asigaza abasajja 300 abaalaga nti bali bulindaala (Laba akatundu 9)

9. Obuwulize bwa Gidiyoni n’obuvumu bwe byagezesebwa bitya? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

9 Gidiyoni bye yalondebwa okukulembera Abayisirayiri, yalina okuba omuwulize n’okuba omuvumu. Yalagirwa okusaanyaawo ekyoto kitaawe kwe yali asinziza Bbaali, era obuvunaanyizibwa obwo tebwali bwangu. (Balam. 6:25, 26) Oluvannyuma nga Gidiyoni amaze okukuŋŋaanya eggye lye, emirundi ebiri Yakuwa yamulagira okulikendeeza. (Balam. 7:2-7) Ate era Yakuwa yamulagira okulumba olusiisira lw’abalabe ekiro mu ttumbi.​—Balam. 7:9-11.

10. Mbeera ki eziyinza okuleetera omukadde okuzibuwalirwa okuba omuwulize?

10 Abakadde basaanidde okuba ‘abawulize.’ (Yak. 3:17) Omukadde omuwulize akolera ku Byawandiikibwa ne ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa. Bw’akola bw’atyo, ateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi. Kyokka wadde kiri kityo, oluusi kiyinza okumuzibuwalira okuba omuwulize. Ng’ekyokulabirako, obulagirizi buyinza okujjira okumu okumu oba buyinza okukyuka amangu, ne kimuzibuwalira okubukolerako. Oluusi ayinza okwebuuza obanga kya magezi okukolera ku bulagirizi obumu. Oba ayinza okuweebwa obuvunaanyizibwa obuyinza okussa obulamu bwe mu kabi. Abakadde bayinza batya okukoppa Gidiyoni ne booleka obuwulize mu mbeera ng’ezo?

11. Abakadde bayinza batya okuba abawulize?

11 Wuliriza bulungi obulagirizi era obukolereko. Katonda yabuulira Gidiyoni engeri gye yandisaanyizzaawo ekyoto kya kitaawe, wa we yandizimbidde Yakuwa ekyoto, n’ensolo gye yandiwaddeyo nga ssaddaaka. Gidiyoni teyalonzalonza kukolera ku bulagirizi obwo. Leero abakadde bafuna obulagirizi okuva eri ekibiina kya Yakuwa okuyitira mu mabaluwa, ebirango, n’obulagirizi obulala obutuyamba okusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa n’okwewala ebintu ebiyinza okussa obulamu bwaffe mu kabi. Tusiima nnyo abakadde olw’okugoberera obulagirizi obubaweebwa ekibiina kya Yakuwa. Bwe babugoberera, ffenna mu kibiina tuganyulwa.​—Zab. 119:112.

12. Abakadde basobola batya okukolera ku Abebbulaniya 13:17, bwe wabaawo enkyukakyuka ekoleddwa ekibiina kya Yakuwa?

12 Beera mwetegefu okukyusaamu. Kijjukire nti Yakuwa yagamba Gidiyoni okukendeereza ddala eggye lye. (Balam. 7:8) Gidiyoni ayinza okuba nga yeebuuza nti: ‘Ddala ekyo kyetaagisa? Kinaakola?’ Wadde kyali kityo, yagondera Yakuwa. Leero abakadde bakoppa Gidiyoni nga bakolera ku nkyukakyuka eziba zikoleddwa ekibiina kya Yakuwa. (Soma Abebbulaniya 13:17.) Ng’ekyokulabirako, mu 2014, Akakiiko Akafuzi kaawa obulagirizi obupya ku ssente ezikozesebwa okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’Ebizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene. (2 Kol. 8:12-14) Mu kusooka, ekibiina kya Yakuwa kyawolanga ebibiina ssente oluvannyuma ne bisasula mpolampola. Naye kati ekibiina kya Yakuwa kikozesa ssente eziba ziweereddwayo ebibiina okwetooloola ensi, ne kizimbira abo ababa beetaaga Ebizimbe by’Obwakabaka n’ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene, ne bwe kiba nti ebibiina ebimu tebisobola kuwaayo ssente nnyingi. José bwe yawulira ku nkyukakyuka eyo, yeebuuza obanga ekyo kyandikoze. Muli yagamba nti: ‘Tewali Kizimbe kya Bwakabaka na kimu kijja kuzimbibwa, ebintu si bwe bityo bwe bikolebwa mu kitundu kyaffe.’ Kiki ekyayamba José okuwagira ekyo ekyali kisaliddwawo? Agamba nti: “Ebigambo ebiri mu Engero 3:5, 6 byanzijukiza okwesiga Yakuwa. Ebivudde mu nkyukakyuka eyo birungi. Ebizimbe by’Obwakabaka bingi nnyo bizimbiddwa, era tuyize okuwaayo mu ngeri ez’enjawulo ne wasobola okubaawo okwenkanankana.”

Tusobola okubuulira n’obuvumu ne mu bitundu omulimu gwaffe gye gwawerebwa (Laba akatundu 13)

13. (a) Gidiyoni yali mukakafu ku ki? (b) Abakadde bayinza batya okumukoppa? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Kola n’obuvumu omulimu gwa Yakuwa. Gidiyoni yagondera Yakuwa wadde nga yali atidde era nga n’obuvunaanyizibwa obumuweereddwa bussa obulamu bwe mu kabi. (Balam. 9:17) Bwe yakimanya nti Yakuwa yali naye, yali mukakafu nti ajja kumuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe yali amuwadde obw’okukuuma abantu be. Abakadde ababeera mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa, bakoppa Gidiyoni. Bakubiriza enkuŋŋaana era beenyigira mu mulimu gw’okubuulira wadde ng’ekyo kiyinza okubaviirako okusibibwa, okufiirwa emirimu gyabwe, oba okutulugunyizibwa. c Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, abakadde kijja kubeetaagisa okwoleka obuvumu okusobola okugoberera obulagirizi obunaabaweebwa, wadde nga kiyinza okuteeka obulamu bwabwe mu kabi. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okufuna obulagirizi obukwata ku ngeri y’okubuuliramu obubaka obw’omusango era ne kye tulina okukola okusobola okuwonawo nga tulumbiddwa Googi ow’e Magoogi.​—Ezk. 38:18; Kub. 16:21.

BWE KIBA NGA KIZIBU OKUGUMIIKIRIZA

14. Gidiyoni yayoleka atya obugumiikiriza?

14 Gidiyoni yalina okukola ennyo bwe yali ng’aweereza ng’omulamuzi. Abamidiyaani be yali alwanyisa ekiro bwe badduka, yabagoba okuviira ddala mu Kiwonvu ky’e Yezuleeri okutuuka ku Mugga Yoludaani oguyinza okuba nga gwali gwetooloddwa ebisaka ebiziyivu. (Balam. 7:22) Gidiyoni yakoma ku Mugga Yoludaani? Nedda! Wadde nga ye n’abasajja be 300 baali bakooye, baasomoka omugga ogwo ne beeyongera okugoba Abamidiyaani. Kyaddaaki baabasanga era ne babawangula.​—Balam. 8:4-12.

15. Lwaki oluusi kiyinza okuzibuwalira omukadde okwoleka obugumiikiriza?

15 Ebiseera ebimu omukadde ayinza okuwulira nga mukoowu nnyo mu mubiri ne mu birowoozo, era ng’awulira tasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe obw’okulabirira ekibiina n’ab’omu maka ge. Mu mbeera ng’eyo, abakadde bayinza batya okukoppa Gidiyoni?

Abakadde bazzaamu amaanyi abo abeetaaga obuyambi (Laba akatundu 16-17)

16-17. Kiki ekyayamba Gidiyoni okugumiikiriza, era abakadde basaanidde kuba bakakafu ku ki? (Isaaya 40:28-31) (Laba n’ekifaananyi.)

16 Ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa amaanyi. Gidiyoni yali mukakafu nti Yakuwa yandimuwadde amaanyi, era yagamuwa. (Balam. 6:14, 34) Gidiyoni n’abasajja be baagoba bakabaka babiri ab’Abamidiyaani abayinza okuba nga baali ku ŋŋamira, ate nga bo baali ku bigere. (Balam. 8:12, 21) Kyokka Yakuwa yayamba Abayisirayiri ne bakwata bakabaka abo, era ne bawangula olutalo. Mu ngeri y’emu, abakadde basaanidde okwesiga Yakuwa, oyo ‘atakoowa era atatendewalirwa.’ Ajja kubawa amaanyi wonna we banaaba bageetaagira.​—Soma Isaaya 40:28-31.

17 Lowooza ku Matthew aweereza ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro. Kiki ekimuyamba okugumiikiriza? Agamba nti: “Ndabye obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Abafiripi 4:13. Emirundi mingi bwe mba nkooye nnyo, nsaba Yakuwa okumpa amaanyi ge nneetaaga okusobola okuyamba bakkiriza bannange. Omwoyo omutukuvu gumpa amaanyi ne nsobola okugumiikiriza.” Okufaananako Gidiyoni, abakadde bayinza okufuna ebibasoomooza nga bafuba okulabirira endiga za Yakuwa. Kya lwatu, balina okukikkiriza nti ebintu ebimu tebasobola kubikola era ne bakola ebyo bye basobola. Kyokka basobola okwesiga Yakuwa nti ajja kubayamba era nti ajja kubawa amaanyi ge beetaaga okusobola okugumiikiriza.​—Zab. 116:1; Baf. 2:13.

18. Biki bye tulabye abakadde bye bayinza okukoppa ku Gidiyoni?

18 Abakadde balina bingi bye basobola okuyigira ku Gidiyoni. Basaanidde okuba abeetoowaze bwe kituuka ku mirimu gye bakkiriza okukola, n’engeri gye basaanidde okweyisaamu ng’abalala babakolokota oba nga babatendereza olw’ebyo bye baba bakoze. Basaanidde okuba abawulize era abavumu nnaddala mu kiseera kino ng’enkomerero egenda esembera. Ate era basaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kubayamba okuvvuunuka okusoomooza kwonna kwe bayinza okwolekagana nakwo. Mazima ddala tusiima nnyo abasumba abo abakola ennyo, era ‘abalinga abo tusaanidde okubatwala nga ba muwendo nnyo.’​—Baf. 2:29.

OLUYIMBA 120 Koppa Obuwombeefu bwa Kristo

a Yakuwa yawa Gidiyoni obuvunaanyizibwa obw’okukulembera n’okukuuma abantu be mu kiseera ekyali ekizibu ennyo mu byafaayo by’eggwanga lya Isirayiri. Obuvunaanyizibwa obwo Gidiyoni yabutuukiriza okumala emyaka nga 40. Kyokka yafuna okusoomooza okutali kumu. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo abakadde bye basobola okuyigira ku Gidiyoni bwe boolekagana n’okusoomooza.

b Tukiraga nti tuli beetoowaze nga twetunuulira mu ngeri entuufu, era nga tumanya obusobozi bwaffe we bukoma. Ate era tukiraga nti tuli beetoowaze nga tuwa abalala ekitiibwa era nga tukitwala nti batusinga.​—Baf. 2:3.

c Laba ekitundu “Weeyongere Okuweereza Yakuwa nga Tuwereddwa,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 2019, lup. 10-11, kat. 10-13.