Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Oluvannyuma lwa Yesu okuzaalibwa, lwaki Yusufu ne Maliyamu baasigala e Besirekemu mu kifo ky’okuddayo e Nazaaleesi?
Bayibuli tetubuulira. Naye erina by’eyogerako ebiyinza okuba nga bye byabaleetera obutaddayo Nazaaleesi nga Yesu amaze okuzaalibwa.
Malayika yagamba Maliyamu nti ajja kuba olubuto era azaale omwana. Malayika we yabagambira ebigambo ebyo, Maliyamu ne Yusufu baali babeera Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya, ekibuga Yusufu mwe yakulira. (Luk. 1:26-31; 2:4) Oluvannyuma bwe baava e Misiri, baddayo e Nazaaleesi. Eyo Yesu gye yakulira era n’ayitibwa Omunnazaaleesi. (Mat. 2:19-23) Eyo ye nsonga lwaki bwe twogera ku Yesu, Yusufu, ne Maliyamu, tusobola okulowooza ku Nazaaleesi.
Maliyamu yalina omu ku b’eŋŋanda ze eyali ayitibwa Erizabeesi eyali abeera mu Buyudaaya. Yali mukyala wa Zekkaliya kabona, era ye yali maama wa Yokaana Omubatiza. (Luk. 1:5, 9, 13, 36) Maliyamu yakyalira Erizabeesi mu Buyudaaya era yabeerayo okumala emyezi esatu. Oluvannyuma Maliyamu yaddayo e Nazaaleesi. (Luk. 1:39, 40, 56) N’olwekyo Maliyamu ateekwa okuba nga yali amanyi ebitundu by’omu Buyudaaya.
Oluvannyuma, Yusufu yava e Nazaaleesi n’agenda mu Besirekemu olw’okuba kabaka wa Rooma yali ayisizza ekiragiro nti buli omu addeyo mu kibuga ky’ewaabwe ‘yeewandiise.’ Okusinziira ku bunnabbi, Besirekemu kye kifo Masiya gye yalina okuzaalibwa. (Luk. 2:3, 4; 1 Sam. 17:15; 20:6; Mi. 5:2) Oluvannyuma lwa Maliyamu okuzaala, Yusufu teyamutambuza lugendo luwanvu okuddayo e Nazaaleesi ng’ali n’omwana omuwere. Baasigala mu Besirekemu, ekyali mayiro nga mukaaga okuva e Yerusaalemi. N’olwekyo kyandibanguyidde okutwala omwana oyo omuwere mu yeekaalu n’okuwaayo ekiweebwayo ng’Amateeka bwe gaali galagira.—Leev. 12:2, 6-8; Luk. 2:22-24.
Malayika wa Yakuwa yali yagamba Maliyamu nti mutabani we yanditudde ku ‘ntebe ya Dawudi’ era ‘n’afuga nga Kabaka.’ Kirabika Yusufu ne Maliyamu baakitwala nga kikulu okuba nti Yesu yazaalibwa mu kibuga kya Dawudi. (Luk. 1:32, 33; 2:11, 17) Oboolyawo bayinza okuba nga baakitwala nti kyali kya magezi okugira nga babeerayo okutuusa Katonda lwe yandibawadde obulagirizi obulala.
Tetumanyi bbanga lye baali bamaze mu Besirekemu abalaguzisa emmunyeenye we baagenderayo. Mu kiseera ekyo baali babeera mu nnyumba era Yesu yali takyali muwere. (Mat. 2:11) Kirabika mu kifo ky’okuddayo e Nazaaleesi, baasigala mu Besirekemu okumala ekiseera.
Kerode yawa ekiragiro nti “abaana bonna ab’obulenzi mu Besirekemu . . . ab’emyaka ebiri n’okukka wansi” battibwe. (Mat. 2:16) Oluvannyuma lwa malayika okulabula Yusufu ku lukwe olwo, Yusufu ne Maliyamu baatwala omwana e Misiri ne babeera eyo okutuusa Kerode lwe yafa. Oluvannyuma Yusufu yatwala ab’omu maka ge e Nazaaleesi. Kati olwo lwaki tebaddayo Besirekemu? Olw’okuba mu kiseera ekyo Alukerawo, mutabani wa Kerode, eyali ow’ettima ennyo, ye yali afuga mu Buyudaaya. Ate era Malayika yalabula Yusufu ku kabi akandibatuuseeko. N’olwekyo eyo e Nazaaleesi Yusufu yandisobodde bulungi okukulizaayo Yesu.—Mat. 2:19-22; 13:55; Luk. 2:39, 52.
Kirabika Yusufu yafa nga Yesu tannaba kuggulirawo bantu kkubo lya kugenda mu ggulu. N’olwekyo, Yusufu ajja kuzuukizibwa abeere ku nsi. Bangi bajja kusobola okumusisinkana, era ajja kuba asobola okubabuulira ensonga lwaki ye ne Maliyamu baasigala mu Besirekemu oluvannyuma lw’okuzaala Yesu.