Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebitundu Ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi Ebitasomebwa mu Kibiina

Ebitundu Ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi Ebitasomebwa mu Kibiina

Ababuulizi bangi bakozesa JW Library® okutegeka enkuŋŋaana, era bagyagala nnyo olw’okuba ekutwala butereevu ku bitundu by’Omunaala gw’Omukuumi ebisomebwa mu kibiina. Naye Omunaala gw’Omukuumi ogusomebwa mu kibiina gutera okubaamu ebitundu ebirala ebitasomebwa mu kibiina naye nga birimu eby’okuyiga bingi. Oyinza otya okuzuula ebitundu ebyo ku JW Library osobole okubiganyulwamu?

  • Wansi w’omutwe ogwa buli kitundu ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogusomebwa mu kibiina waliwo omutwe ogugamba nti, “Additional Reading. Koona ku bigambo “Other articles in this issue” ebiri wansi w’omutwe ogwo, era bijja kukutwala ku lukalala lw’ebiri mu magazini eyo olulaga emitwe gy’ebitundu ebisomebwa mu kibiina n’ennamba yaabyo era n’ebyo ebitasomebwa mu kibiina. Koona ku mutwe gw’ekitundu ekitasomebwa mu kibiina ky’oyagala okusomako.

  • Osobola okuwanula buli Omunaala gw’omukuumi omupya oguba guzze ng’ogenda awasookerwa ku JW Library ku kitundu, “What’s New.” Ggulawo magazini gy’oba owanudde ogenda ku “Ebirimu” osobole okusoma ebitundu byonna ebiba mu magazini eyo.