Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 27

Lwaki Tusaanidde Okutya Yakuwa

Lwaki Tusaanidde Okutya Yakuwa

“Abo abatya Yakuwa be baba mikwano gye egy’oku lusegere.”​—ZAB. 25:14.

OLUYIMBA 8 Yakuwa Kye Kiddukiro Kyaffe

OMULAMWA a

1-2. Okusinziira ku Zabbuli 25:14, kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba nga twagala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

 OLOWOOZA ngeri ki ab’emikwano ze beetaaga okuba nazo okusobola okukuuma enkolagana yaabwe? Oboolyawo oyinza okugamba nti kikulu okwagalana n’okuyambagana. Oyinza obutalowooza nti okutya y’emu ku ngeri enkulu ezituyamba okukuuma enkolagana yaffe n’abalala. Kyokka ng’ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino bwe kiraga, abo abaagala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa balina ‘okumutya.’​—Soma Zabbuli 25:14.

2 Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa, ffenna tusaanidde okwongera okumutya mu ngeri entuufu. Naye okutya Yakuwa kitegeeza ki? Tuyinza tutya okuyiga okumutya? Era kiki kye tuyinza okuyigira ku muwanika eyali ayitibwa Obadiya, ku Kabona Asinga Obukulu Yekoyaada, ne ku Kabaka Yekowaasi, bwe kituuka ku kutya Yakuwa?

KITEGEEZA KI OKUTYA KATONDA?

3. Nnyonnyola engeri okutya gye kuyinza okutuyambamu.

3 Bwe tukimanya nti ekintu eky’obulabe kiyinza okututuukako, tuyinza okutya. Okutya okw’engeri ng’eyo kulungi kubanga kutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Okutya okugwa mu lukonko, kitutangira okutambulira okumpi ennyo nalwo. Okutya okutuukibwako obuvune, kituyamba okwewala embeera eyinza okutuleetera okubufuna. Okutya okwonoona enkolagana yaffe ne mukwano gwaffe, kituyamba okwewala okwogera oba okukola ekintu kyonna ekiyinza okumunyiiza.

4. Sitaani ayagala tutye Yakuwa mu ngeri ki?

4 Sitaani ayagala abantu batye Yakuwa mu ngeri etali ntuufu. Atumbula endowooza efaananako n’eyo Erifaazi gye yalina, nti Yakuwa mukambwe, ayagala nnyo okutubonereza, era nti tetusobola kumusanyusa. (Yob. 4:18, 19) Sitaani ayagala tutye Yakuwa mu ngeri embi, tulekere awo okumuweereza. Ekyo okusobola okukyewala, tusaanidde okukulaakulanya okutya Katonda mu ngeri entuufu.

5. Kitegeeza ki okutya Katonda?

5 Omuntu atya Yakuwa mu ngeri entuufu aba amwagala, era aba tayagala kukola kintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana ye naye. Yesu yali “atya Katonda” mu ngeri ng’eyo. (Beb. 5:7) Okutya kwe yalina eri Yakuwa tekwali kwa kukubwa ncukwe. (Is. 11:2, 3) Mu kifo ky’ekyo, yali amwagala nnyo era ng’ayagala okumugondera. (Yok. 14:21, 31) Okufaananako Yesu, tuwa Yakuwa ekitiibwa era tuwuniikirira olw’okwagala kwe, amagezi ge, obwenkanya bwe, n’amaanyi ge. Ate era tukimanyi nti Yakuwa atwagala nnyo era afaayo ku ngeri gye tutwalamu obulagirizi bw’atuwa. Bwe tumujeemera kimunyiiza, ate bwe tumugondera kimusanyusa.​—Zab. 78:41; Nge. 27:11.

TUSOBOLA OKUYIGA OKUTYA KATONDA

6. Ekimu ku bintu ebisobola okutuyamba okuyiga okutya Yakuwa kye kiruwa? (Zabbuli 34:11)

6 Tetuzaalibwa nga tutya Yakuwa. Okutya okwo tulina kukukulaakulanya bukulaakulanya. (Soma Zabbuli 34:11.) Engeri emu gye tuyinza okukulaakulanyamu kwe kwekenneenya ebitonde. Gye tukoma okwekenneenya ebintu ebyatondebwa, gye tukoma okulaba amagezi ga Katonda, amaanyi ge, n’engeri gy’atulagamu okwagala. Ekyo kituleetera okwongera okumuwa ekitiibwa n’okumwagala. (Bar. 1:20) Mwannyinaffe ayitibwa Adrienne agamba nti: “Bwe nneetegereza engeri ebintu Katonda bye yatonda gye biragamu amagezi ge, kindeetera okuwuniikirira era kinnyamba okukitegeera nti Yakuwa amanyi ekyo kye nneetaaga ekisingayo obulungi.” Okufumiitiriza mu ngeri eyo kyaleetera Adrienne okugamba nti: “Sandyagadde kukola kintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yange ne Yakuwa, eyampa obulamu.” Lwaki naawe tofunayo obudde mu wiiki eno n’ofumiitiriza ku kimu ku bitonde bya Yakuwa? Bw’onookola bw’otyo, ojja kwongera okuwa Yakuwa ekitiibwa n’okumwagala.​—Zab. 111:2, 3.

7. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba okuyiga okutya Yakuwa mu ngeri entuufu?

7 Ekintu ekirala ekiyinza okutuyamba okuyiga okutya Yakuwa, kwe kumusaba obutayosa. Gye tukoma okusaba Yakuwa, gy’akoma okuba owa ddala gye tuli. Buli lwe tumusaba okutuyamba okugumiikiriza nga tulina ekizibu, kituyamba okukijjukira nti alina amaanyi mangi. Bwe tumwebaza olw’okutuwa Omwana we ng’ekinunulo, kitujjukiza okwagala okungi kw’alina gye tuli. Ate bwe tumwegayirira atuyambe nga twolekagana n’ekizibu, kitujjukiza nti alina amagezi mangi. Essaala ng’ezo zituyamba okwongera okuwa Yakuwa ekitiibwa. Ate era zituyamba okwongera okuba abamalirivu obutakola kintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe naye.

8. Kiki kye tulina okukola ekisobola okutuyamba okweyongera okutya Yakuwa?

8 Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okweyongera okutya Yakuwa, kwe kusoma Bayibuli nga tulina ekigendererwa eky’okuyigira ku byokulabirako ebirungi, n’ebyokulabirako ebibi ebigirimu. Tugenda kulaba ekyokulabirako ky’omuwanika wa Kabaka Akabu eyali ayitibwa Obadiya, ne Yekoyaada, kabona asinga obukulu. Oluvannyuma tugenda kulaba ebyo bye tusobola okuyigira ku kabaka wa Yuda eyali ayitibwa Yekowaasi, mu kusooka eyali aweereza Yakuwa, kyokka oluvannyuma n’alekera awo okumuweereza.

BEERA MUVUMU NGA OBADIYA

9. Okutya Yakuwa kwayamba kutya Obadiya? (1 Bassekabaka 18:3, 12)

9 Bayibuli egamba nti: “Obadiya yali atya nnyo Yakuwa.” (Soma 1 Bassekabaka18:3, 12.) Okutya okwo kwayamba kutya Obadiya? b Kwamuyamba okuba omwesigwa, ne kiba nti kabaka yamuwa obuvunaanyizibwa obw’okulabiriranga ennyumba ye. (Geraageranya Nekkemiya 7:2.) Ate era okuba nti Obadiya yali atya Katonda, kyamuyamba okuba omuvumu, ekintu kye yali yeetaaga ennyo. Yaliwo mu kiseera kya Kabaka Akabu ‘eyali omubi ennyo mu maaso ga Yakuwa okusinga bakabaka bonna abaamusooka.’ (1 Bassek. 16:30) Ate mukyala wa Akabu, Yezebeeri, eyali asinza Bbaali, yali tayagala Yakuwa era yagezaako okusaanyaawo okusinza okw’amazima mu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi. Yatta ne bannabbi ba Katonda bangi. (1 Bassek. 18:4) Mazima ddala Obadiya yasinza Yakuwa mu kiseera ekyali ekizibu ennyo.

10. Obadiya yayoleka atya obuvumu?

10 Obadiya yayoleka atya obuvumu? Yezebeeri bwe yatandika okunoonya bannabbi ba Katonda okubatta, Obadiya yakweka bannabbi 100 mu mpuku, ‘nga buli kibinja kirimu bannabbi 50, n’abawanga emmere n’amazzi.’ (1 Bassek. 18:13, 14) Ekyo singa Yezebeeri yakimanyaako, Obadiya yandittiddwa. Kya lwatu ateekwa okuba nga yatya nnyo, era yali tayagala kufa. Obadiya yali ayagala nnyo Yakuwa n’abaweereza be okusinga bwe yali ayagala obulamu bwe.

Mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa, ow’oluganda ayolese obuvumu n’aleetera bakkiriza banne ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli (Laba akatundu 11) c

11. Abaweereza ba Yakuwa mu kiseera kino bafaananako batya Obadiya? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Leero abaweereza ba Yakuwa bangi babeera mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa. Bawa ab’obuyinza ekitiibwa; naye okufaananako Obadiya tebakkiriza ba buyinza kubalemesa kuweereza Yakuwa. (Mat. 22:21) Bakiraga nti batya Yakuwa nga bamugondera mu kifo ky’okugondera abantu. (Bik. 5:29) Ate era beeyongera okubuulira amawulire amalungi n’okukuŋŋaana awamu, naye ng’ekyo bakikola mu ngeri ey’amagezi. (Mat. 10:16, 28) Bafuba okulaba nga bakkiriza bannaabwe bafuna emmere ey’eby’omwoyo. Lowooza ku Henri, abeera mu nsi emu mu Afirika, omulimu gwaffe gye gwawerebwa okumala ekiseera. Mu kiseera ekyo, Henri yayambako okutwalira bakkiriza banne ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Yagamba nti: “Ndi muntu wa nsonyi. N’olwekyo ndi mukakafu nti ekyannyamba okuba omuvumu, kwe kuba nti nnali mpa Yakuwa ekitiibwa.” Naawe osobola okuba omuvumu nga Henri? Osobola, singa oyiga okutya Yakuwa mu ngeri entuufu.

BEERA MWESIGWA NGA YEKOYAADA, KABONA ASINGA OBUKULU

12. Yekoyaada, kabona asinga obukulu, ne mukyala we baakiraga batya nti beesigwa eri Yakuwa?

12 Yekoyaada, kabona asinga bukulu, yali atya Yakuwa era ekyo kyamuleetera okubeera omwesigwa n’okukubiriza abalala okusinza Yakuwa. Okusingira ddala obwesigwa bwe bweyoleka Asaliya muwala wa Yezebeeri bwe yezza entebe y’obwakabaka n’atandika okufuga Yuda. Abantu baali batya nnyo Asaliya. Yali wa ttima era ng’ayagala nnyo okufuga. N’olwekyo yagezaako okutta bazzukulu be bonna ab’obulenzi, asobole okweyongera okufuga! (2 Byom. 22:10, 11) Kyokka omu ku bazzukulu be abo eyali ayitibwa Yekowaasi, yawona okuttibwa, kubanga mukyala wa Yekoyaada eyali ayitibwa Yekosabeyaasi yamuwonya. Yekosabeyaasi ne Yekoyaada baamukweka era ne bamulabirira. Mu ngeri eyo baayambako mu kukuuma olunyiriri lwa Dawudi omwavanga bakabaka. Yekoyaada yali mwesigwa eri Yakuwa, era yakola ekituufu n’atatya Asaliya.​—Nge. 29:25.

13. Yekowaasi bwe yali nga wa myaka musanvu, Yekoyaada yaddamu atya okukiraga nti yali mwesigwa?

13 Yekowaasi bwe yali nga wa myaka musanvu, Yekoyaada yaddamu n’akiraga nti yali mwesigwa eri Yakuwa. Waliwo enteekateeka Yekoyaada gye yakola. Enteekateeka eyo bwe yandigenze obulungi, Yekowaasi yandifuuse kabaka era nga ye yali agwanidde okufuga, kubanga yali ava mu lunyiriri lwa Dawudi. Kyokka enteekateeka eyo bwe yandigudde obutaka, Yekoyaada yali asobola okuttibwa. Yakuwa yamuyamba enteekateeka eyo n’egenda bulungi. Abaami n’Abaleevi baayambako Yekoyaada ne bafuula Yekowaasi kabaka, era Asaliya n’attibwa. (2 Byom. 23:1-5, 11, 12, 15; 24:1) Oluvannyuma Yekoyaada yakola “endagaano wakati wa Yakuwa ne kabaka n’abantu, beeyongere okuba abantu ba Yakuwa.” (2 Bassek. 11:17) Yekoyaada “era yateekawo n’abakuumi ku miryango gy’ennyumba ya Yakuwa waleme kubaawo muntu yenna atali mulongoofu mu ngeri yonna ayingira.”​—2 Byom. 23:19.

14. Mikisa ki Yekoyaada gye yafuna olw’okuba omwesigwa eri Yakuwa?

14 Yakuwa yali yagamba nti: “Abo abanzisaamu ekitiibwa be nja okuwa ekitiibwa.” Mazima ddala yawa Yekoyaada empeera. (1 Sam. 2:30) Ng’ekyokulabirako, ebyo ebikwata ku Yekoyaada yabiwandiisa mu Bayibuli tusobole okubiyigirako. (Bar. 15:4) Ate era Yekoyaada bwe yafa, yaweebwa ekitiibwa eky’enjawulo, bwe yaziikibwa “mu Kibuga kya Dawudi gye baaziikanga bakabaka, olw’ebirungi bye yali akoledde Isirayiri, ne Katonda ow’amazima, n’ennyumba ya Katonda.”​—2 Byom. 24:15, 16.

Okufaananako Yekoyaada, okutya Yakuwa kujja kutuleetera okuyamba bakkiriza bannaffe (Laba akatundu 15) d

15. Kiki kye tuyigira ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku Yekoyaada? (Laba n’ekifaananyi.)

15 Bye tusoma ku Yekoyaada bisobola okutuyamba okuyiga okutya Yakuwa. Abakadde basobola okukoppa Yekoyaada nga bafuba okukuuma ekisibo kya Katonda. (Bik. 20:28) Abakaddiye nabo basobola okubaako kye bayigira ku Yekoyaada, nti bwe batya Yakuwa era ne basigala nga beesiga gy’ali, asobola okubakozesa okutuukiriza ekigendererwa kye. Yakuwa tasobola kubaabulira. Ate abo abakyali abato basobola okukoppa engeri Yakuwa gye yayisaamu Yekoyaada nga bawa ekitiibwa bakkiriza bannaabwe abakaddiye, nnaddala abo abamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa. (Nge. 16:31) Ate era ffenna tusobola okubaako ne kye tuyigira ku baami n’Abaleevi abaawagira Yekoyaada. Ka ffenna tuwagirenga ‘abo abatukulembera,’ nga tubagondera.​—Beb. 13:17.

TOBA NGA KABAKA YEKOWAASI

16. Kiki ekyalaga nti Kabaka Yekowaasi yali tagondera Yakuwa n’omutima gwe gwonna?

16 Yekoyaada yayamba Kabaka Yekowaasi okuba omuntu omulungi. (2 Bassek. 12:2) N’ekyavaamu, Kabaka Yekowaasi bwe yali akyali muto, yayagala nnyo okusanyusa Yakuwa. Kyokka oluvannyuma lwa Yekoyaada okufa, Yekowaasi yawuliriza abaami abaali bakyewaggula. Biki ebyavaamu? Ye n’abo be yali afuga ‘baatandika okusinza ebikondo n’ebifaananyi.’ (2 Byom. 24:4, 17, 18) Ekyo kyanakuwaza nnyo Yakuwa era “n’abatumiranga bannabbi okubakomyawo gy’ali . . . , naye ne bagaana okuwuliriza.” Bagaana n’okuwuliriza Zekkaliya mutabani wa Yekoyaada, eyali nnabbi wa Yakuwa era kabona, era nga yali mwana wa ssenga wa Yekowaasi. Yekowaasi yatta Zekkaliya, ekyalaga nti teyasiima ekyo bazadde ba Zekkaliya kye baamukolera.​—2 Byom. 22:11; 24:19-22.

17. Yekowaasi ebintu byamugendera bitya?

17 Yekowaasi teyeeyongera kutya Yakuwa mu ngeri entuufu, era ebintu tebyamugendera bulungi. Yakuwa yali yagamba nti: “Abo abannyooma bajja kunyoomebwa.” (1 Sam. 2:30) Nga wayise ekiseera, eggye lya Busuuli eryali ettono lyawangula eggye lya Yekowaasi ‘eryali eddene ennyo,’ era Yekowaasi n’atuusibwako “ebisago eby’amaanyi.” Oluvannyuma lw’Abasuuli okugenda, Yekowaasi yattibwa abaweereza be nga bamulanga okutta Zekkaliya. Abantu baakiraba nti kabaka oyo eyali omubi yali tagwanira na kuziikibwa “we baaziikanga bakabaka.”​—2 Byom. 24:23-25.

18. Okusinziira ku Yeremiya 17:7, 8, tuyinza tutya okwewala okubeera nga Yekowaasi?

18 Kiki kye tuyigira ku Yekowaasi? Yekowaasi yali ng’omuti ogulina emirandira egitakka nnyo wansi era nga guwaniriddwa enkondo. Yekoyaada eyali ng’enkondo eyo bwe yafa, Yekowaasi yatandika okuwuliriza bakyewaggula, ne kimuviirako okugwa. Ekyokulabirako ekyo kiraga nti tetusaanidde kutya Yakuwa olw’okuba bakkiriza bannaffe, omuli n’ab’omu maka gaffe, bamutya. Okusobola okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, tulina okweyongera okumwagala n’okumussaamu ekitiibwa. Ekinaatuyamba okukola ekyo kwe kwesomesa obutayosa, okufumiitiriza, n’okusaba.​—Soma Yeremiya 17:7, 8; Bak. 2:6, 7.

19. Kiki Yakuwa ky’atwetaagisa?

19 Yakuwa tatusuubira kukola kye tutasobola. Mu bufunze ky’atwetaagisa ky’ekyo ekiri mu Omubuulizi 12:13, awagamba nti: “Tyanga Katonda ow’amazima era okwatenga ebiragiro bye, kubanga ekyo omuntu ky’ateekeddwa okukola.” Okufaananako Obadiya ne Yekoyaada, naffe bwe tuba nga tutya Yakuwa, tujja kusigala nga tuli beesigwa gy’ali, ka bibe bizibu ki bye tunaayolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso. Tewali kijja kutuleetera kwonoona nkolagana yaffe ne Yakuwa.

OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe

a Mu Byawandiikibwa, ekigambo “okutya” kirina amakulu magazi. Okusinziira ku ngeri gye kiba kikozeseddwamu, kiyinza okutegeeza okukubwa encukwe, okuwa ekitiibwa, oba okuwuniikirira olw’ekintu. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tusobola okukulaakulanya okutya okusobola okutuyamba okuba abavumu, n’okuba abeesigwa mu buweereza bwaffe eri Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu.

b Obadiya ayogerwako wano si ye nnabbi Obadiya eyaliwo ebyasa bingi oluvannyuma, era eyawandiika ekitabo ekiri mu Bayibuli ekiyitibwa erinnya lye.

c EBIFAANANYI: Ow’oluganda mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa ng’aleetedde bakkiriza banne emmere ey’eby’omwoyo.

d EBIFAANANYI: Mwannyinaffe omuto mu myaka ng’ayigira ku mwannyinaffe omukulu okukozesa essimu okubuulira; ow’oluganda akuze mu myaka ayoleka obuvumu ng’abuulira mu kifo ekya lukale; ow’oluganda alina obumanyirivu ng’atendeka abalala engeri y’okulabiriramu Ekizimbe ky’Obwakabaka.