Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nfunye Essanyu mu Kuweereza Yakuwa era Njize Ebintu Bingi

Nfunye Essanyu mu Kuweereza Yakuwa era Njize Ebintu Bingi

BWE nnali nkyali muto, buli lwe nnalabanga ennyonyi mu bbanga, nneegombanga okugenda mu nsi endala. Kyokka ekyo kyandabikiranga ng’ekitasoboka.

Bazadde bange baava mu Estonia mu kiseera kya Ssematalo II ne bagenda mu Bugirimaani, era eyo gye banzaalira. Oluvannyuma baateekateeka okugenda e Canada. Ennyumba gye twasooka okubeeramu mu Canada yali ntono era twalina n’enkoko. Twali baavu nnyo, naye waakiri twalina amagi agokulya ku ky’enkya.

Lumu, Abajulirwa ba Yakuwa baasomera maama wange Okubikkulirwa 21:3, 4. Ekyawandiikibwa ekyo kyamukwatako nnyo n’akaaba n’okukaaba. Maama ne taata baatandika okuyiga Bayibuli era oluvannyuma lw’ekiseera kitono baabatizibwa.

Wadde nga bazadde bange baali tebamanyi bulungi Lungereza, baali banyiikivu nnyo mu kuweereza Yakuwa. Kumpi buli Lwamukaaga nze ne mwannyinaze, Sylvia, taata yatutwalanga okubuulira ne bwe yabanga amaze ekiro kyonna ng’akola mu kkolero erimu erisaanuusa ebyuma mu Sudbury, Ontario. Buli wiiki twasomanga Omunaala gw’Omukuumi ng’amaka. Maama ne Taata bannyamba okwagala Yakuwa. Ekyo kyandeetera okwewaayo eri Yakuwa mu 1956 nga nnina emyaka kkumi. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye baali baagalamu Yakuwa, kindeetera okweyongera okwagala okumuweereza.

Bwe nnamaliriza emisomo gyange egya siniya, nnaddirira mu kuweereza Yakuwa. Nnalowooza nti singa mpeereza nga payoniya, sandisobodde kukola ssente zimala kulinnya nnyonyi nsobole okugenda mu nsi ez’enjawulo. Nnafuna omulimu ku leediyo emu ogw’okukuba ennyimba era nnali ngwagala nnyo. Naye nnakolanga lwaggulo era ekyo kyandeetera okwosanga enkuŋŋaana, era nnatandika n’okukolagana n’abantu abatatya Katonda. Kyokka oluvannyuma omuntu wange ow’omunda yannumiriza era ne nkola enkyukakyuka.

Nnasengukira mu kibuga Oshawa, mu Ontario. Era eyo gye nnasisinkana Ray Norman, ne mwannyina Lesli, awamu ne bapayoniya abalala. Ab’oluganda abo bandaga okwagala kungi. Bwe nnalaba essanyu lye baalina kyandeetera okukyusa mu biruubirirwa byange. Bankubiriza okutandika okuweereza nga payoniya, era ekyo nnakikola mu Ssebutemba 1966. Obulamu bwannyumiranga nnyo era nnali musanyufu. Kyokka, waaliwo ebintu ebyali bigenda okubaawo ebyandikyusizza obulamu bwange.

YAKUWA BW’ABAAKO KY’AKUGAMBA OKUKOLA FUBA OKUKIKOLA

Bwe nnali nkyali mu ssomero, nnasaba okuweereza ku Beseri mu Toronto, Canada. Oluvannyuma bwe nnali mpeereza nga payoniya, nnayitibwa okuweereza ku Beseri okumala emyaka ena. Naye olw’okuba nnali nfunye omukwano ogw’oku lusegere ne Lesli, bwe bampita nnatyamu nga ndowooza nti sandizzeemu kumulaba. Oluvannyuma lw’okusaba ennyo, nnakkiriza okugenda okuweereza ku Beseri era nnasiibula Lesli nga ndi munakuwavu.

Bwe nnali ku Beseri nnakolanga gwa kwoza ngoye na kugolola era oluvannyuma nnakola gwa buwandiisi. Mu kiseera ekyo, Lesli yatandika okuweereza nga payoniya ow’enjawulo mu Gatineau, Quebec. Nnamulowoozangako era nneebuuzanga obanga nnali nsazeewo bulungi. Oluvannyuma waliwo ekintu ekyabaawo ekyansanyusa ennyo. Mwannyina wa Lesli, Ray, yayitibwa ku Beseri era twasulanga ffenna. Ekyo kyandeetera okuddamu okuwuliziganya ne Lesli. Twafumbiriganwa nga Febwali 27, 1971, ku lunaku olwasembayo mmalirize obuweereza bwange obw’emyaka ena egyampeebwa okukola ku Beseri.

Nga mpereeza ng’omulabirizi akyalira ebibiina mu 1975

Nze ne Lesli twasindikibwa okuweereza mu kibiina ekyali kyogera Olufalansa mu Quebec. Oluvannyuma lw’emyaka mitono, kyanneewunyisa okulondebwa okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina nga nnina emyaka 28. Nnawulira nga sirina bumanyirivu bumala okusobola okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina, naye ebigambo ebiri mu Yeremiya 1:7, 8 byanzizaamu nnyo amaanyi. Kyokka, Lesli yali afunye obubenje emirundi egiwera era nga kimuzibuwalira okwebaka. N’olwekyo nnalowooza nti obuweereza obwo tetwandibusobodde. Wadde kyali kityo, Lesli yagamba nti, “Yakuwa bw’atugamba okukola ekintu tetwandifubye okukikola?” Twakkiriza obuweereza obwo era twabukolera emyaka 17 nga tuli basanyufu.

Bwe nnali mpeereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina, nnabanga n’eby’okukola bingi era saabanga na budde bumala kubeerako na mukyala wange Lesli. Naye waliwo ekintu ekirala kye nnayiga. Lumu ku Bbalaza ku makya, twawulira akade k’oku mulyango nga kavuga. Kyokka bwe twaggulawo, tewaaliwo muntu yenna okuggyako akasero akaali kabikkiddwako akaalimu ebibala, omuzigo, emigaati, eccupa ya wayini, amagiraasi, era mwalimu n’akabaluwa akaali kagamba nti, “Mukyala wo mutwaleko mu kifo ekimu mwesanyuseemu.” Embeera y’obudde yali nnungi era akasana kaali kaaka. Naye nnagamba Lesli nti tetuggya kusobola kugenda kubanga nnalina emboozi ez’okutegeka. Kye nnamugamba yakitegeera naye kyamunakuwazaamu. Bwe nnatuula ku mmeeza omuntu wange ow’omunda yatandika okunnumiriza. Nnalowooza ku Abeefeso 5:25, 28, awalaga nti nnina okufaayo ku nneewulira ya mukyala wange. Oluvannyuma lw’okusaba nnagamba Lesli nti, “Tugende,” era ekyo kyamusanyusa nnyo. Twagenda mu kifo ekirabika obulungi ku lubalama lw’omugga, era olunaku olwo lwatunyumira nnyo. Oluvannyuma nnasobola okutegeka emboozi zange.

Ekitundu kye twali tuweererezaamu kyali kinene ddala, nga kiva mu British Columbia okutuuka mu Newfoundland. Kati nnali ntambula mu bitundu bingi, ekintu kye nnali njagala ennyo nga nkyali muto. Nnalowooza ku ky’okugenda mu ssomero lya Gireyaadi, naye nnali saagala kugenda mu nsi ndala. Nnalowoozanga nti abaminsani bantu ba njawulo, era nnawuliranga nti nnali sirina bisaanyizo bya kuba muminsani. Ate era nnalowoozanga nti nnyinza okusindikibwa mu nsi emu mu Afirika omuli obulwadde n’entalo. Nnali njagala kuweerereza mu Canada.

TUYITIBWA OKUWEEREREZA MU ESTONIA N’ENSI ENDALA EZEETOOLODDE ENNYANJA BALTIC

Nga ndi mu emu ku nsi ezeetoolodde ennyanja Baltic

Mu 1992, Abajulirwa ba Yakuwa baali basobola okuddamu okubuulira mu lujjudde mu nsi ezaali mu Soviet Union. Ab’oluganda baatubuuza obanga twali tusobola okugenda mu Estonia tukole ng’abaminsani. Ekyo kyatwewuunyisa nnyo, naye twasaba Yakuwa ku nsonga eyo. Era twaddamu okwebuuza nti, ‘Yakuwa bw’atugamba okukola ekintu tetwandifubye okukikola?’ Twakkiriza okugenda, kyokka muli nnagamba nti, ‘Kasita tetugenda mu Afirika.’

Twatandikirawo okuyiga olulimi olwogerwa mu Estonia. Oluvannyuma lw’emyezi mitono, nnasabibwa okukola ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Twalina okukyalira ebibiina 46 n’ebibinja bisatu mu Estonia, Lativia, Luthuania, ne mu Kaliningrad, eky’omu Russia. Ekyo kyali kitegeeza nti twalina okufuba okuyiga olulimi olwogerwa mu Lativia, mu Lithuania, ne mu Russia. Wadde nga tekyali kyangu kuyiga nnimi ezo, bakkiriza bannaffe baakwatibwako nnyo olw’okufuba kwe twakola era baatuyamba. Mu 1999, ofiisi y’ettabi yaggulwawo mu Estonia era nnalondebwa okuweerereza ku kakiiko k’ettabi, awamu ne Toomas Edur, Lembit Reile, era ne Tommi Kauko.

Ku kkono: Nga ndi ku lukuŋŋaana olunene mu Lithuania

Ku ddyo: Akakiiko k’Ettabi bwe kaatandikibwawo mu Estonia, mu 1999

Twamanya Abajulirwa ba Yakuwa bangi abaali baawaŋŋangusibwa mu Siberia. Wadde nga baali baayisibwa bubi nnyo mu kkomera era nga baayawulibwa ku b’omu maka gaabwe, tekyabamalaako ssanyu era baasigala banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Ekyo kyatuyamba okukiraba nti ne mu mbeera enzibu tusobola okugumiikiriza era ne tusigala nga tuli basanyufu.

Twakolanga nnyo okumala emyaka mingi nga tetuwummula, era Lesli yatandika okuwulira nga buli kiseera aba mukoowu nnyo. Tetwakimanyirawo nti Lesli yali afunye obulwadde obwali buyitibwa fibromyalgia, obwamuleeteranga okuwulira obukoowu. Twatandika okulowooza ennyo ku ky’okuddayo e Canada. Bwe twayitibwa okugenda e Patterson, New York, Amerika, mu ssomero eritendeka ab’oluganda abakola ku bukiiko bw’amatabi, nnali sisuubira nti twali tujja kusobola okugenda. Kyokka oluvannyuma lw’okusaba ennyo, twakkiriza okugenda. Ekyo kye twasalawo Yakuwa yakiwa omukisa, kubanga bwe twali mu ssomero eryo Lesli yafuna obujjanjabi bwe yali yeetaaga. Oluvannyuma lwa Lesli okufuna obujjanjabi twaddayo ne tuweereza bulungi.

TUSINDIKIBWA OKUWEEREZA KU SSEMAZINGA OMULALA

Lumu akawungeezi mu 2008, nga tuzzeeyo mu Estonia, nnafuna essimu okuva ku kitebe kyaffe ekikulu nga batubuuza obanga twandisobodde okugenda okuweerereza mu Congo. Nnasoberwa, kubanga baali baagala mbaddemu enkeera. Saasooka kugamba Lesli, kubanga nnali nkimanyi nti teyandyebase ekiro ekyo. Mu kifo kyekyo, nze eyasula nga seebase. Nnamala ekiro ekyo nga nsaba Yakuwa nga mmutegeeza ku bweraliikirivu bwe nnalina ku ky’okugenda mu Afirika.

Olunaku olwaddirira bwe nnakibuulirako Lesli, twagamba nti: “Yakuwa ayagala tugende mu Afirika. Tusobola tutya okumanya nti obuweereza obwo tetubusobola era nti tetusobola ku bunyumirwa okuggyako nga tugenze?” Oluvannyuma lw’okumala emyaka 16 nga tuweerereza mu Estonia, twagenda mu Kinshasa, Congo. Ofiisi y’ettabi yali mu kifo ekisirifu ekyali kirabika obulungi . Ekimu ku bintu Lesli kye yasooka okutimba mu nnyumba yaffe, ke kakaadi ke twajja nako nga tuva e Canada. Ku kkaadi eyo kwali kuwandiikiddwako ebigambo ebigamba nti: “Wonna wooli beera musanyufu.” Oluvannyuma lw’okumanya ab’oluganda abatali bamu, okusomesa abayizi ba Bayibuli, era n’okulaba essanyu eriva mu kuweereza ng’abaminsani, kyatuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’essanyu. Oluvannyuma lw’ekiseera twaweebwa enkizo okukyalira ofiisi z’amatabi mu nsi 13 mu Afirika. Ekyo kyatuleetera okumanya abantu bangi ab’enjawulo era n’okusiima engeri zaabwe. Kati nnali sikyatya kuweerereza mu Afirika, era nneebaza Yakuwa olw’okutusindikayo.

Mu Congo, baatuwa ebika by’emmere bingi, gamba ng’ebiwuka, bye twali tulowooza nti tetusobola kubirya. Naye bwe twalaba ab’oluganda nga bawoomerwa, twagezaako okubirya era naffe ne bituwoomera.

Emirundi egimu twagendanga mu buvanjuba bw’ensi eyo ne tuzzaamu ab’oluganda amaanyi era ne tubawa n’obuyambi bwe baali beetaaga. Mu kitundu ekyo abayeekera baazindanga ebyalo ne batuusa obulabe ku bakazi n’abaana. Ab’oluganda abasinga obungi baali baavu. Wadde kyali kityo, baali balina essuubi mu kuzuukira, nga baagala nnyo Yakuwa n’ekibiina kye, era ekyo kyatukwatako nnyo. Ekyokulabirako kyabwe kyatuleetera okuddamu okulowooza ku nsonga lwaki tuweereza Yakuwa, era n’okunyweza okukkiriza kwaffe. Ab’oluganda abamu baali baafiirwa amayumba gaabwe n’emmere gye baali balimye. Ekyo kyandeetera okukiraba nti ebintu bye tulina bisobola okuggwawo amangu era nti enkolagana yaffe ne Yakuwa y’esinga obukulu. Wadde ng’ab’oluganda abo baalina ebizibu bingi, tebeemulugunyanga. Endowooza ennuŋŋamu gye baalina yatuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twalina era n’okubigumira.

Ku kkono: Nga mpa abanoonyi b’obubuddamu emboozi

Ku ddyo: Nga ntwalira ab’oluganda ab’omu Dungu, eky’omu Congo, obuyambi

TUSINDIKIBWA OKUWEEREZA MU ASIYA

Waaliwo ekintu ekirala ekyatwewuunyisa. Twasabibwa okugenda okuweerereza ku ttabi ly’e Hong Kong. Twali tetulowoozangako kuweerereza mu Asiya! Naye oluvannyuma lw’okulaba emikisa Yakuwa gye yali atuwadde mu buweereza bwaffe, twakkiriza okugenda mu Asiya. Mu 2013, twava mu Afirika ne tuleka mikwano gyaffe.

Okugenda mu Hong Kong yali nkyukakyuka ya maanyi, olw’okuba ekibuga ekyo kirimu abantu bangi okuva mu nsi ez’enjawulo. Olukyayina telwatwanguyira kuyiga. Kyokka ab’oluganda baatwaniriza n’essanyu, era emmere yaabwe yatuwoomera. Emirimu mingi egyakolebwanga ku ofiisi y’ettabi, era ebizimbe ebirala byali byetaagisa. Naye okugula ekizimbe ekirala kyali kya buseere nnyo. N’olwekyo, Akakiiko Akafuzi kaasalawo nti emirimu egimu egyali gikolerwa ku ofiisi y’ettabi eryo gikolebwe mu kitundu ekirala. Ebizimbe ebimu ebya ofiisi y’ettabi eryo byatundibwa. Waayita ekiseera kitono ne tusindikibwa okuweerereza mu South Korea mu 2015, era gye tukyaweerereza n’okutuusa leero. Twalina okuyiga olulimi olulala oluzibu, naye wadde nga twali tetusobola kulwogera bulungi, baganda baffe ne bannyinaffe baatuzzangamu amaanyi nga batugamba nti tujja kuyiga okulwogera obulungi.

Ku kkono: Nga tuli mu Hong Kong

Ku ddyo: Ofiisi y’ettabi ey’omu Korea

BYE TUYIZE NGA TUWEEREZA YAKUWA

Si kyangu okufuna emikwano emippya, naye twakizuula nti bwe tukyaza ab’oluganda, kituyamba okubamanya amangu. Tukirabye nti ab’oluganda balina bingi bye bafaanaganya okusinga ebyo bye batafaanaganya, era Yakuwa yatutonda nga tusobola okukola emikwano mingi.​—2 Kol. 6:11.

Tukirabye nti tulina okutunuulira abantu nga Yakuwa bw’abatunuulira era n’okulaba ebiraga nti Yakuwa atwagala era nti atuwa obulagirizi. Buli lwe twawuliranga nga tuweddemu amaanyi, era ne tubuusabuusa obanga bakkiriza bannaffe batwagala, twaddangayo ne tusoma amabaluwa ne bukaadi mikwano gyaffe bye baali baatuwandiikira. Tulabye engeri Yakuwa gy’abaddenga addamu essaala zaffe, ng’atulaga okwagala era ng’atuzzaamu amaanyi.

Nze ne Lesli tuyize obukulu bw’okufunangayo akadde okubeerako awamu ne bwe tuba nga tulina emirimu mingi. Ate era tuyize nti kikulu okusekamu nga tukoze ensobi, naddala nga tuyiga okwogera olulimi oluppya. Buli kiro tunoonyayo ekintu ekiba kyatusanyusizza mu lunaku olwo ne tukyebaliza Yakuwa.

Mu butuufu nnali sirowooza nti nsobola okuweereza ng’omuminsani, oba okubeera mu nsi endala. Kyokka ndabye nti ebintu byonna bisoboka olw’obuyambi bwa Yakuwa. Bulijjo ntera okujjukira ebigambo bya nnabbi Yeremiya ebigamba nti: “Ai Yakuwa, onnimbye.” (Yer. 20:7) Mazima ddala Yakuwa atuwadde emikisa mingi, nga mw’otwalidde n’okutuukiriza ekirooto kyange eky’okutambulirako mu nnyonyi. Tutambudde mu bifo bingi, bwe nnali nkyali muto bye nnali sisuubira nti ndibituukamu, gamba ng’okukyalira ofiisi z’amatabi ku ssemazinga ttaano. Era ndi musanyufu nti Lesli ampagidde mu buweereza buno obutali bumu.

Bulijjo tukijjukira nti byonna bye tukola, tubikola olw’okuba twagala Yakuwa. Emikisa gye tufuna kati gituleetera okulowooza ku ngeri obulamu gye bulibaamu mu nsi empya nga Yakuwa ‘ayanjuluzza engalo ze, n’awa buli kiramu bye kyagala.’​—Zab. 145:16.