Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 25

OLUYIMBA 7 Yakuwa, Ggwe Maanyi Gaffe

Kijjukirenga nti Yakuwa “Ye Katonda Omulamu”

Kijjukirenga nti Yakuwa “Ye Katonda Omulamu”

“Yakuwa mulamu!”ZAB. 18:46.

EKIGENDERERWA

Tuganyulwa nnyo bwe tukijjukira nti Katonda gwe tusinza ye “Katonda omulamu.”

1. Kiki ekiyamba abantu ba Yakuwa okweyongera okumusinza wadde nga boolekagana n’ebizibu?

 BAYIBULI eraga nti ‘ebiseera bye tulimu bizibu nnyo.’ (2 Tim. 3:1) Ng’oggyeeko ebizibu abantu bonna bye bafuna mu nteekateeka y’ebintu eno, abantu ba Yakuwa boolekagana n’okuziyizibwa awamu n’okuyigganyizibwa. Kiki ekituyamba okweyongera okusinza Yakuwa wadde nga twolekagana n’ebizibu ebyo? Ekintu ekikulu ekituyamba kiri nti tukimanyi nti Yakuwa “ye Katonda omulamu.”—Yer. 10:10; 2 Tim. 1:12.

2. Kiki kye tumanyi ku Yakuwa ekisobola okutuzzaamu ennyo amaanyi?

2 Yakuwa wa ddala era atuyamba nga twolekagana n’ebizibu. Ate era buli kiseera aba mwetegefu okutuyamba. (2 Byom. 16:9; Zab. 23:4) Bwe tukijjukira nti Yakuwa ye Katonda omulamu, kisobola okutuyamba okugumira ekizibu kyonna kye twolekagana nakyo. Lowooza ku Kabaka Dawudi.

3. Kiki Dawudi kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Yakuwa mulamu”?

3 Dawudi yali amanyi Yakuwa era yamwesiganga. Kabaka Sawulo n’abalala bwe baali bamunoonya okumutta, Dawudi yasaba Yakuwa amuyambe. (Zab. 18:6) Oluvannyuma lwa Katonda okuddamu essaala ze era n’amununula, Dawudi yagamba nti: “Yakuwa mulamu!” (Zab. 18:46) Dawudi okwogera ebigambo ebyo, yali talaga bulazi nti Katonda gy’ali. Ekitabo ekimu kigamba nti Dawudi yali akyoleka nti yali yeesiga Yakuwa “nga Katonda omulamu bulijjo abaawo okuyamba abantu be.” Dawudi yali ekimanyi nti Katonda we yali alaba bye yali ayitamu era nti yali mwetegefu okumuyamba. Ekyo kyamuyamba okuba omumalirivu okumuweerezanga n’okumutendereza.—Zab. 18:​28, 29, 49.

4. Okukimanya nti Yakuwa ye Katonda omulamu kituganyula kitya?

4 Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa ye Katonda omulamu, kisobola okutuyamba okumuweereza n’obunyiikivu. Tuba tusobola okugumira ebizibu era tuba bamalirivu okweyongera okumuweereza n’obwesigwa. Ate era tuba bamalirivu okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere naye.

KATONDA OMULAMU AJJA KUKUWA AMAANYI

5. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba abagumu nga twolekagana n’ebizibu? (Abafiripi 4:​13)

5 Tusobola okugumira ekizibu kyonna, ka kibe kinene oba kino, bwe tukijjukira nti Yakuwa mulamu era nti bulijjo w’ali okutuyamba. Asobola okutuyamba okugumira ekizibu kyonna ka kibe kya maanyi kitya. Ye Muyinza w’Ebintu Byonna era asobola okutuwa amaanyi ne tusobola okugumiikiriza. (Soma Abafiripi 4:13.) Ekyo kituyamba obutaterebuka nga twolekagana n’ebizibu. Bwe tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu nga twolekagana n’ebizibu ebitono, kituyamba okuba abakakafu nti ajja kutuyamba nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi.

6. Mbeera ki Dawudi ze yayitamu nga muto ezaamuyamba okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa yalingawo okumuyamba?

6 Lowooza ku mbeera za mirundi ebiri ezaayamba Dawudi okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa yandimuyambyenga. Dawudi bwe yali omuto ng’alunda endiga za kitaawe, lumu eddubu lyajja ne litwala endiga, ate olulala empologoma ye yajja n’etwala endiga. Ku mirundi egyo gyombi Dawudi yagoba ensolo ezo n’ataasa endiga ze zaali zitutte. Naye teyagamba nti ekyo yakikola mu maanyi ge. Yali akimanyi nti Yakuwa ye yamuyamba. (1 Sam. 17:​34-37) Ebyo ebyaliwo Dawudi teyabyerabira. Okubifumiitirizaako kyamuyamba okuba omukakafu nti Katonda omulamu yandimuyambye ne mu biseera eby’omu maaso.

7. Dawudi ebirowoozo yabissa ku ani, era ekyo kyamuyamba kitya okulwanyisa Goliyaasi?

7 Oluvannyuma, kirabika nga Dawudi tannaweza myaka 20, yagendako awaali abalwanyi ba Isirayiri abaali basiisidde okulwana. Yakiraba nti abalwanyi abo baali batidde nnyo olw’Omufirisuuti omuwagguufu eyali ayitibwa Goliyaasi okuvaayo ‘n’asoomooza eggye lya Isirayiri.’ (1 Sam. 17:​10, 11) Abalwanyi abo baatya nnyo olw’okuba ebirowoozo baabissa ku Mufirisuuti oyo ne ku bigambo bye yali ayogera. (1 Sam. 17:​24, 25) Naye ye Dawudi ebirowoozo yabissa walala. Yali akimanyi nti Omufirisuuti oyo bwe yasoomooza eggye lya Isirayiri, yali asoomooza “eggye lya Katonda omulamu.” (1 Sam. 17:26) Dawudi yali alowooza ku Yakuwa. Yali mukakafu nti Katonda eyamuyamba ng’alunda endiga, era yandimuyambye ne mu mbeera eyo. Bwe kityo, Dawudi yalwana ne Goliyaasi, era n’amuwangula!—1 Sam. 17:​45-51.

8. Tuyinza tutya okukuumira Yakuwa mu birowoozo byaffe nga twolekagana n’ebizibu? (Laba n’ekifaananyi.)

8 Naffe tusobola okwaŋŋanga ekizibu kyonna singa tukijjukiranga nti Katonda omulamu mwetegefu okutuyamba. (Zab. 118:6) Tusobola okuba abakakafu nti mwetegefu okutuyamba singa tufumiitiriza ku bintu bye yakola mu biseera eby’emabega. Soma ebintu ebyogerwako mu Bayibuli ebiraga engeri Yakuwa gye yayambamu abaweereza be. (Is. 37:​17, 33-37) Ate era soma ebiri ku mukutu gwaffe jw.org ebiraga engeri Yakuwa gy’azze ayambamu bakkiriza bannaffe mu kiseera kino. Lowooza ne ku ngeri gy’azze akuyambamu. Oboolyawo owulira nti Yakuwa takukolerangako kintu ekyewuunyisa, gamba ng’okukuwonya okuliibwa empologoma oba eddubu. Wadde kiri kityo, ekituufu kiri nti akukoledde ebintu bingi nnyo mu bulamu bwo! Ng’ekyokulabirako, yakuyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye. (Yok. 6:44) Ne mu kiseera kino y’akuyambye okuba nti okyamuweereza. Musabe akuyambe okujjukira engeri gy’azze addamu essaala zo, engeri gye yakuyamba mu kiseera kyennyini we wali weetaagira obuyambi, oba engeri gye yakuyamba okuyita mu kizibu eky’amaanyi nnyo. Okufumiitiriza ku bintu ng’ebyo kijja kukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okukuyamba.

Ebigezo bye twolekagana nabyo birina akakwate n’ensonga enkulu ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa (Laba akatundu 8-9)


9. Tusaanidde kutwala tutya ebizibu bye twolekagana nabyo? (Engero 27:11)

9 Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa mulamu, kituyamba okuba n’endowooza etagudde lubege ku bizibu bye twolekagana nabyo. Mu ngeri ki? Tutandika okukiraba nti ebizibu bye twolekagana nabyo birina akakwate n’ensonga enkulu eriwo wakati wa Yakuwa ne Sitaani. Sitaani agamba nti bwe tufuna ebizibu eby’amaanyi tujja kuva ku Yakuwa. (Yob. 1:​10, 11; soma Engero 27:11.) Naye bwe tusigala nga tuli beesigwa nga twolekagana n’ebizibu, tukiraga nti twagala nnyo Yakuwa era nti Sitaani mulimba. Mu kitundu gy’obeera gavumenti eziyiza omulimu gwaffe, oyolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna, abantu tebaagala kuwuliriza mawulire malungi g’obabuulira, oba oyolekagana n’ekizibu eky’engeri endala? Bwe kiba kityo, kijjukire nti embeera gy’oyitamu ekuwa akakisa okusanyusa omutima gwa Yakuwa. Ate era kijjukirenga nti Yakuwa tasobola kukuleka kwolekagana n’ebigezo by’otosobola kugumira. (1 Kol. 10:13) Ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga okusobola okugumiikiriza.

KATONDA OMULAMU AJJA KUKUWA EMPEERA

10. Kiki Katonda omulamu ky’ajja okukolera abo abamusinza?

10 Yakuwa awa empeera abo abamusinza. (Beb. 11:6) Mu kiseera kino atuwa emirembe era atuyamba okuba abamativu. Ate mu biseera eby’omu maaso ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo. Tuli bakakafu nti Yakuwa ayagala okutuwa empeera era nti alina obusobozi okugituwa. Ekyo kituyamba okusigala nga tumuweereza n’obwesigwa, ng’abaweereza be abaaliwo mu biseera eby’edda bwe baakola. Ekyo kyennyini Timoseewo eyaliwo mu kyasa ekyasooka kye yakola.—Beb. 6:​10-12.

11. Kiki ekyaleetera Timoseewo okukola ennyo mu kibiina? (1 Timoseewo 4:​10)

11 Soma 1 Timoseewo 4:10. Timoseewo yali mukakafu nti Katonda omulamu yandimuwadde empeera. Eyo ye nsonga lwaki yaweereza n’obunyiikivu. Mu ngeri ki? Omutume Pawulo yamukubiriza okwongera okulongoosa mu ngeri gye yali ayigirizaamu mu buweereza ne mu kibiina. Ate era Timoseewo yalina okuteerawo abato n’abakulu ekyokulabirako ekirungi. Era yaweebwa n’obuvunaanyizibwa obutaali bwangu, obwali buzingiramu okuwabula abo abaali beetaaga okuwabulwa. (1 Tim. 4:​11-16; 2 Tim. 4:​1-5) Timoseewo yali mukakafu nti oluusi abalala ne bwe batandirabye ebyo bye yali akola, Yakuwa yali abiraba era yandimuwadde empeera.—Bar. 2:​6, 7.

12. Kiki ekiyamba abakadde okukola n’obunyiikivu omulimu gwabwe? (Laba n’ekifaananyi.)

12 Abakadde nabo basobola kuba abakakafu nti Yakuwa alaba era asiima omulimu omulungi gwe bakola. Ng’oggyeeko okubuulira, okuyigiriza, n’okukyalira abalala okubazzaamu amaanyi, abakadde bangi bayambako mu kuzimba ebizimbe by’ekibiina n’okudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Abalala bali ku bukiiko obukyalira abalwadde oba obwo Obukwanaganya eby’Eddwaliro. Abakadde abeenyigira mu buweereza ng’obwo, ekibiina bakitwala ng’enteekateeka ya Yakuwa so si ey’abantu. Ekyo kibayamba okuweereza n’omutima gwabwe gwonna nga bakakafu nti Yakuwa ajja kubawa empeera.—Bak. 3:​23, 24.

Katonda omulamu ajja kukuwa empeera ng’okola n’obunyiikivu ku lw’ekibiina (Laba akatundu 12-13)


13. Yakuwa atwala atya ebyo bye tukola nga tumuweereza?

13 Si buli omu nti asobola okuweereza ng’omukadde. Naye ffenna tulina kye tusobola okuwa Yakuwa. Katonda waffe asiima nnyo bwe tukola kyonna kye tusobola okumuweereza. Alaba bye tuwaayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna, ka bibe bitono bitya. Asanyuka nnyo bw’alaba nga tufuba okuwanika omukono okubaako kye tuddamu mu nkuŋŋaana wadde nga tulina ensonyi. Era kimusanyusa nnyo bwe tusonyiwa abo ababa batunyiizizza. Ne bw’oba ng’owulira nti ebyo by’okola mu buweereza bwo bitono, ba mukakafu nti Yakuwa abisiima. Akwagala nnyo olw’ekyo ky’okola era ajja kukuwa empeera.—Luk. 21:​1-4.

SIGALA KUMPI NE KATONDA OMULAMU

14. Okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kituyamba kitya okuba abeesigwa gy’ali? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Yakuwa bw’aba owa ddala gye tuli, kitubeerera kyangu okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Ekyo bwe kityo bwe kyali eri Yusufu. Yagaana okukola ekintu eky’obugwenyufu. Katonda yali wa ddala gy’ali, era yali tayagala kumunyiiza. (Lub. 39:9) Yakuwa okusobola okuba owa ddala gye tuli, tulina okufissangawo ebiseera okumusaba n’okusoma Ekigambo kye. Mu ngeri eyo, enkolagana yaffe naye ejja kweyongera okunywera. Okufaananako Yusufu, bwe tunaaba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, tujja kwewala okukola ekintu kyonna ekimunyiiza.—Yak. 4:8.

Okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda kijja kukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali (Laba akatundu 14-15)


15. Kiki kye tuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Bayisirayiri nga bali mu ddungu? (Abebbulaniya 3:​12)

15 Abo abeerabira nti Yakuwa ye Katonda omulamu, kiba kyangu gye bali okumuvaako. Lowooza ku ekyo ekyaliwo ng’Abayisirayiri bali mu ddungu. Baali bakimanyi nti Yakuwa gy’ali, naye baatandika okubuusabuusa nti yandibalabiridde. Baatuuka n’okugamba nti: “Yakuwa ali wakati mu ffe oba nedda?” (Kuv. 17:​2, 7) Oluvannyuma baamujeemera. Kya lwatu nti tetwagala kukoppa ekyokulabirako kyabwe ekibi.—Soma Abebbulaniya 3:12.

16. Kiki ekiyinza okugezesa okukkiriza kwaffe?

16 Ensi ekifuula kizibu gye tuli okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Abantu bangi tebaagala na kukikkiriza nti Katonda gy’ali. Emirundi mingi abo abatagoberera mitindo gya Yakuwa balabika ng’abali obulungi. Ekyo oluusi kiyinza okugezesa okukkiriza kwaffe. Wadde nga tetubuusabuusa nti Katonda gy’ali, tuyinza okutandika okwebuuza obanga ddala anaatuyamba. Omuwandiisi wa Zabbuli 73 yawulirako bw’atyo. Abantu be yalimu baamenyanga amateeka ga Yakuwa, naye ng’alaba ebintu bibagendera bulungi. Ekyo kyamuleetera okwebuuza obanga ddala kyali kisaana okuweereza Katonda.—Zab. 73:​11-13.

17. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

17 Kiki ekyayamba omuwandiisi wa Zabbuli oyo okutereeza endowooza ye? Yafumiitiriza ku ekyo ekyandituuse ku abo abalekera awo okwesiga Yakuwa. (Zab. 73:​18, 19, 27) Ate era yafumiitiriza ku miganyulo egiri mu kuweereza Katonda. (Zab. 73:24) Naffe tusaanidde okufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’atuwadde. Era tusaanidde okulowooza ku ngeri obulamu bwaffe gye bwandibadde singa twali tetuweereza Yakuwa. Okukola ekyo kijja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri gy’ali. Naffe tujja kwogera ng’omuwandiisi wa Zabbuli nti: “Okusemberera Katonda kirungi gye ndi.”—Zab. 73:28.

18. Lwaki tetutya bintu bye tujja okwolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso?

18 Tusobola okugumira ekizibu kyonna kye tufuna mu nnaku zino ez’enkomerero, kubanga tuweereza “Katonda omulamu era ow’amazima.” (1 Bas. 1:9) Katonda waffe wa ddala, era abaako ky’akolawo okuyamba abaweereza be. Yalinga wamu n’abaweereza be mu biseera eby’edda, era ali wamu naffe leero. Tunaatera okwolekagana n’okubonaabona okugenda okusingayo okuba okw’amaanyi wano ku nsi. Naye tetujja kuba ffekka; Yakuwa ajja kuba wamu naffe. (Is. 41:10) Ka bulijjo “tubeere bagumu tugambe nti: ‘Yakuwa ye muyambi wange; Siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?’”—Beb. 13:​5, 6.

OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe