EBIGAMBO EBYOGERWAKO MU BAYIBULI
Olina Okukkiriza?
Okusobola okusanyusa Yakuwa, tulina okuba n’okukkiriza. Kyokka, Bayibuli egamba nti “okukkiriza si kwa bonna.” (2 Bas. 3:2) Omutume Pawulo bwe yali ayogera ku abo abaali bamuyigganya, yagamba nti baali ‘bantu ab’omutawaana era ababi,’ era nti yali ayagala Yakuwa amuwonye abantu abo. Naye ebyo bye yayogera ku kukkiriza birina amakulu magazi. Abantu abamu basalawo okubuusa amaaso obukakafu obwenkukunala obulaga nti eriyo Katonda eyatonda ebintu byonna. (Bar. 1:20) Ate abalala bayinza okugamba nti bakkiririza mu Katonda. Naye ekyo ku bwakyo tekitegeeza nti balina okukkiriza okwa nnamaddala.
Tulina okuba abakakafu nti Yakuwa gy’ali era nti “y’awa empeera” abo abalina okukkiriza okunywevu. (Beb. 11:6) Okukkiriza kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo gwe omutukuvu. Omuntu okusobola okufuna omwoyo omutukuvu, asaanidde okusaba Yakuwa agumuwe. (Luk. 11:9, 10, 13) Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okufuna omwoyo omutukuvu kwe kusoma Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. Oluvannyuma ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma era ne tufuba okubissa mu nkola. Bwe tukola bwe tutyo, omwoyo gwa Yakuwa gusobola okutuyamba okuba n’okukkiriza okunywevu ne kituviirako okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa.