Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 23

OLUYIMBA 28 Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa

Yakuwa Atuyita Okuba Abagenyi Be

Yakuwa Atuyita Okuba Abagenyi Be

“Weema yange ejja kuba wamu nabo, era nja kuba Katonda waabwe.”EZK. 37:27.

EKIGENDERERWA

Okutuyamba okweyongera okusiima enkizo Yakuwa gy’atuwa ey’okutuyita okukyala mu weema ye ey’akabonero n’olw’engeri gy’atulabiriramu nga tuzze mu weema ye.

1-2. Nkizo ki Yakuwa gy’awadde abaweereza be abeesigwa?

 OMUNTU bw’akubuuza nti, ‘Yakuwa omutwala otya?’ Oyinza kumuddamu otya? Oyinza okumugamba nti: ‘Mmutwala nga Kitange, Katonda wange, era Mukwano gwange.’ Waliwo n’ebitiibwa ebirala by’osobola okukozesa ku Yakuwa. Naye wali omututteko ng’oyo akukyaza mu weema ye?

2 Kabaka Dawudi yageraageranya enkolagana eriwo wakati wa Yakuwa n’abaweereza be ku nkolagana ebaawo wakati w’abagenyi n’oyo aba abakyazizza. Yagamba nti: “Ai Yakuwa, ani ayinza okukyala mu weema yo? Ani ayinza okubeera ku lusozi lwo olutukuvu?” (Zab. 15:1) Ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa biraga nti tusobola okubeera abagenyi mu weema ya Yakuwa oba nti tusobola okuba mikwano gye. Mazima ddala eyo nkizo ya kitalo nnyo Yakuwa gy’atuwadde!

YAKUWA AYAGALA TUBE BAGENYI BE

3. Ani Yakuwa gwe yasooka okukyaza mu weema ye, era Yakuwa n’omugenyi we baawulira batya?

3 Yakuwa bwe yali nga tannatonda kintu kyonna yali abeera yekka. Kyokka ekiseera kyatuuka n’atonda Omwana we omubereberye. Mu ngeri ey’akabonero yalinga akyazizza omugenyi eyasooka mu weema ye era ekyo kyamusanyusa nnyo. Bayibuli eraga nti Yakuwa yali ‘ayagala nnyo’ Omwana we. Omugenyi wa Yakuwa eyasooka, ‘yasanyukiranga mu maaso ge bulijjo.’—Nge. 8:30.

4. Baani abalala Yakuwa be yakyaza mu weema ye?

4 Oluvannyuma Yakuwa yatonda bamalayika era nabo n’abakyaza mu weema ye. Bamalayika bayitibwa “abaana ba Katonda” era Bayibuli eraga nti basanyuka okubeera awamu ne Yakuwa. (Yob. 38:7; Dan. 7:10) Okumala ekiseera, mikwano gya Yakuwa baali abo bokka be yali abeera nabo mu ggulu. Oluvannyuma yatonda abantu era nabo yali agenda kubakyaza babe abagenyi be. Abamu ku bantu abaali abagenyi mu weema ya Yakuwa mwe muli Enoka, Nuuwa, Ibulayimu, ne Yobu. Bayibuli eraga nti abantu abo baali mikwano gya Yakuwa era baatambula ne “Katonda ow’amazima.”—Lub. 5:24; 6:9; Yob. 29:4; Is. 41:8.

5. Kiki kye tuyiga mu bunnabbi obuli mu Ezeekyeri 37:​26, 27?

5 Ebyasa bwe byagenda biyitawo, Yakuwa yeeyongera okukyaza mikwano gye mu weema ye. (Soma Ezeekyeri 37:​26, 27.) Ng’ekyokulabirako, obunnabbi bwa Ezeekyeri bulaga nti Katonda ayagala abaweereza be abeesigwa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Yasuubiza okukola “nabo endagaano ey’emirembe.” Obunnabbi obwo bwali busonga ku kiseera abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi lwe bandibadde awamu mu weema ya Yakuwa ey’akabonero nga bali “ekisibo kimu.” (Yok. 10:16) Ekiseera ekyo kye tulimu kati!

YAKUWA ATUFAAKO KA WABE WA WE TUBEERA

6. Omuntu atuuka atya okuba omugenyi mu weema ya Yakuwa, era weema eyo esangibwa wa?

6 Mu biseera eby’edda, weema kyabanga kifo omuntu we yalinga awummulira oba we yali afunira obukuumi. Omuntu eyakyalanga mu weema yalinga asuubira okulabirirwa obulungi. Bwe twewaayo eri Yakuwa tuba tukyaziddwa mu weema ye ey’akabonero. (Zab. 61:4) Tuba n’emmere nnyingi nnyo ey’eby’omwoyo era n’abalala ababa bakyaziddwa mu weema ya Yakuwa bafuuka mikwano gyaffe. Weema ya Yakuwa ey’akabonero teri mu kifo kimu kyokka. Oyinza okuba nga wagendako mu nsi endala, oboolyawo ku lukuŋŋaana olunene olw’enjawulo, n’osangayo abalala abali mu weema ya Yakuwa. Weema eyo esangibwa buli wamu awali abaweereza ba Yakuwa.—Kub. 21:3.

7. Lwaki tugamba nti abaweereza ba Yakuwa abaafa nga beesigwa bakyali bagenyi mu weema ya Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

7 Ate abaweereza ba Yakuwa abaafa nga beesigwa? Bakyali bagenyi mu weema ya Yakuwa? Yee! Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Yakuwa akyabajjukira era gy’ali bakyali balamu. Yesu yagamba nti: “Okumanya nti abafu bazuukizibwa, ne Musa yakiraga ng’ayogera ku byaliwo ku kisaka, bwe yayita Yakuwa, ‘Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.’ Si Katonda wa bafu naye wa balamu, kubanga eri ye bonna balamu.”—Luk. 20:​37, 38.

Abaweereza ba Yakuwa abaafa nabo bagenyi mu weema ye (Laba akatundu 7)


EMIGANYULO GYE TUFUNA NE KYE TULINA OKUKOLA

8. Abagenyi ba Yakuwa baganyulwa batya mu kubeera mu weema ye?

8 Nga weema eya bulijjo bw’esobozesa omuntu okuwummula n’okufuna obukuumi, weema ya Yakuwa ey’akabonero esobozesa abagenyi abagirimu okuba n’obukuumi ne batatuukibwako kabi mu by’omwoyo era ne baba n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. Bwe tusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, Sitaani tasobola kutukolako kabi ka lubeerera. (Zab. 31:23; 1 Yok. 3:8) Mu nsi empya, Yakuwa ajja kweyongera okukuuma mikwano gye abeesigwa babe nga tebasobola kutuukibwako kabi mu by’omwoyo era babe nga tebasobola kufa.—Kub. 21:4.

9. Yakuwa abagenyi be abasuubira kweyisa batya?

9 Mazima ddala nkizo ya kitalo nnyo okubeera abagenyi mu weema ya Yakuwa. Tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye, era enkolagana eyo esobola okuba ey’olubeerera. Bwe tuba nga twagala okweyongera okubeera abagenyi ba Yakuwa tusanidde kweyisa tutya? Omuntu bw’akuyita okugenda okumukyalira ewuwe, kya lwatu nti wandyagadde okumanya ebyo by’akusuubiramu. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuba ng’akusuubira nti ojja kuggyamu engato nga tonnaba kuyingira mu nju. Era ekyo okikola awatali kukakibwa. Mu ngeri y’emu, twagala okumanya ebyo Yakuwa by’asuubira mu abo abaagala okweyongera okubeera abagenyi mu weema ye. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okukola kyonna kye tusobola “okumusanyusiza ddala.” (Bak. 1:10) Ate era wadde nga Yakuwa tumutwala nga mukwano gwaffe, tusaanidde okukijjukira nti ye Katonda waffe era Kitaffe gwe tulina okussaamu ennyo ekitiibwa. (Zab. 25:14) N’olw’ekyo, bulijjo tusaanidde okujjukiranga ekyo ky’ali, era ne tumuwa ekitiibwa ky’agwanidde okuweebwa. Bwe tumuwa ekitiibwa ekimugwanira kituyamba okwewala okukola ebintu ebimunyiiza. Bulijjo twagala ‘okuba abeetoowaze nga tutambula ne Katonda waffe!’—Mi. 6:8.

ABAYISIRAYIRI BONNA YAKUWA YABAYISANGA KYENKANYI MU DDUNGU

10-11. Engeri Yakuwa gye yakolaganamu n’Abayisirayiri nga bali mu ddungu lya Sinaayi, eraga etya nti tasosola?

10 Yakuwa abagenyi be bonna abayisa kyenkanyi. (Bar. 2:11) Ekyo tukirabira ku ngeri gye yayisaamu Abayisirayiri nga bali mu ddungu lya Sinaayi.

11 Oluvannyuma lwa Yakuwa okuggya abantu be mu buddu e Misiri, yalonda bakabona okuweerezanga ku weema entukuvu. Abaleevi baalondebwa okukolanga emirimu emirala egyabanga ku weema entukuvu. Abo abaaweerezanga ku weema entukuvu oba abo abaasiisiranga okumpi nayo, Yakuwa yabalabiriranga bulungi okusinga Abayisirayiri abalala bonna? Nedda! Yakuwa tasosola.

12. Engeri Yakuwa gye yayisaamu Abayisirayiri mu ddungu eraga etya nti tasosola? (Okuva 40:38) (Laba n’ekifaananyi.)

12 Buli Muyisirayiri yali asobola okuba n’omukwano ogw’oku lusegere ne Yakuwa k’abe nga yali abeera wala oba kumpi ne weema entukuvu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yakakasa nti Abayisirayiri bonna baali basobola okulaba empagi y’ekire n’empagi ey’omuliro ebyabeeranga waggulu wa weema entukuvu. (Soma Okuva 40:38.) Ekire bwe kyatandikanga okutambula, n’Abayisirayiri abaali basembayo okuba ewala ne weema entukuvu, baali basobola okukiraba ne batandika okusiba ebintu byabwe, okupangulula weema zaabwe, era ne bagendera wamu n’Abayisirayiri abalala bonna. (Kubal. 9:​15-23) Bonna baali basobola okuwulira amaloboozi g’amakondere abiri aga ffeeza agafuuyibwanga Abayisirayiri ne basobola okumanya nti ekiseera kyali kituuse okusitula okweyongerayo ku lugendo lwabwe. (Kubal. 10:2) Kya lwatu nti okubeera okumpi ne weema entukuvu si kye kyali kiraga nti omuntu yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Buli omu mu ggwanga lya Yakuwa eryo eryali lyakatandikibwawo yali asobola okubeera omugenyi mu weema ye era ng’afuna obulagirizi n’obukuumi bwe. Mu ngeri y’emu leero, tusobola okuganyulwa mu kwagala Yakuwa kw’atulaga ne mu bukuumi bw’atuwa ka wabe wa we tubeera ku nsi.

Weema entukuvu okubeera wakati mu lusiisira lw’Abayisirayiri kyalaga nti Yakuwa si musosoze (Laba akatundu 12)


EBYOKULABIRAKO LEERO EBIRAGA NTI YAKUWA TASOSOLA

13. Ne leero lwaki tusobola okugamba nti Yakuwa tasosola?

13 Abamu ku baweereza ba Katonda leero babeera kumpi n’ekitebe kyaffe ekikulu oba ne ofiisi z’amatabi. Abalala baweerereza ku ofiisi ezo. Ekyo kibasobozesa okwenyigira mu bintu bingi ebikolebwa ku ofiisi ezo era bakolagana butereevu n’abo abatwala obukulembeze. Ate abalala baweereza ng’abalabirizi abakyalira ebibiina, oba beenyigira mu buweereza obw’enjawulo obw’ekiseera kyonna obw’engeri endala. Bw’oba ng’oli omu ku baweereza ba Yakuwa abasinga obungi abataweereza mu ngeri ng’eyo, ba mukakafu nti Yakuwa eyatusembeza mu weema ye asiima abagenyi be bonna era bonna abafaako kinnoomu. (1 Peet. 5:7) Abantu ba Katonda bonna bafuna emmere ey’eby’omwoyo, obulagirizi, n’obukuumi bwe beetaaga.

14. Ekyokulabirako ekirala ekiraga nti Yakuwa tasosola kye kiruwa?

14 Ekirala ekiraga nti Yakuwa tasosola kwe kuba nti asobozesa abantu bangi nga bwe kisoboka mu nsi okufuna Bayibuli. Ebyawandiikibwa Ebitukuvu mu kisooka byawandiikibwa mu nnimi zino ssatu: Olwebbulaniya, Olulamayiki, n’Oluyonaani. Abo abasobola okusoma ennimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa, balina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa okusinga abo abatasobola? Nedda.—Mat. 11:25.

15. Kiki ekirala ekiraga nti Yakuwa tasosola? (Laba n’ekifaananyi.)

15 Okuba nti tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa tekisinziira ku buyigirize bwe tulina oba ku busobozi bw’okumanya ennimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa. Abayivu bokka Yakuwa si b’asobozesa okufuna amagezi ge, wabula asobozesa abantu bonna okwetooloola ensi okugafuna, ka babe nga bayivu oba nedda. Ekigambo kye Bayibuli kivvuunuddwa mu nnimi nkumi na nkumi era bwe kityo abantu okwetooloola ensi basobola okuganyulwa mu njigiriza za Bayibuli ne bamanya engeri gye bayinza okuba mikwano gye.—2 Tim. 3:​16, 17.

Okuba nti abantu okwetooloola ensi basobola okufuna Bayibuli, kiraga kitya nti Yakuwa tasosola? (Laba akatundu 15)


SIGALA NG’OSIIMIBWA MU MAASO GA YAKUWA

16. Okusinziira ku Ebikolwa 10:​34, 35, tuyinza tutya okusigala nga tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa?

16 Mazima ddala nkizo ya kitalo nnyo okusembezebwa mu weema ya Yakuwa eya kabonero. Olw’okuba Yakuwa alina ekisa kingi n’okwagala, y’asingayo okusembeza obulungi abagenyi. Ate era olw’okuba tasosola, ffenna atuyita okugenda mu weema ye ka wabe wa we tubeera, k’ebe mbeera ki gye twakuliramu, ka bube buyigirize ki bwe tulina, ka tube ba langi ki, ggwanga ki, myaka emeka, oba ka tube basajja oba bakazi. Kyokka abo bokka abakolera ku mitindo gye be bakkirizibwa okubeera abagenyi be.—Soma Ebikolwa 10:​34, 35.

17. Ebirala ebikwata ku kukyazibwa mu weema ya Yakuwa tuyinza kubisanga wa?

17 Mu Zabbuli 15:​1, Dawudi yabuuza nti: “Ai Yakuwa, ani ayinza okukyala mu weema yo? Ani ayinza okubeera ku lusozi lwo olutukuvu?” Yakuwa yaluŋŋamya Dawudi okuddamu ebibuuzo ebyo mu Zabbuli 15. Mu kitundu ekiddako tugenda kulaba ebimu ku ebyo bye tulina okutuukiriza okusobola okusigala nga tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa.

OLUYIMBA 32 Nywerera ku Yakuwa!