Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okunywerera ku Mukwano Gwo Ne mu Mbeera Enzibu

Okunywerera ku Mukwano Gwo Ne mu Mbeera Enzibu

Gianni ne Maurizio bamaze emyaka 50 nga ba mukwano. Kyokka waliwo ekiseera enkolagana yaabwe lwe yagootaana. Maurizio agamba nti: “Lumu nnakola ensobi ey’amaanyi eyakosa enkolagana yaffe.” Gianni agamba nti: “Maurizio ye yanjigiriza Bayibuli. Nnamwebuuzangako era yannyamba nnyo mu by’omwoyo. N’olwekyo bwe yakola ensobi eyo nnali sikikkiriza nti ddala ye yali agikoze. Ekyo kyampisa bubi nnyo kubanga nnali nkimanyi nti kati twali tetukyasobola kuba ba mukwano. Nnawulira ekiwuubaalo.”

OKUBA n’ow’omukwano owa nnamadala kintu kya muwendo nnyo, era omukwano okuwangaala tekibaawo mu butanwa. Singa wabaawo ekintu ekisobola okumalawo enkolagana gye tulina ne mikwano gyaffe, kiki ekisobola okutuyamba? Tulina kye tusobola okuyigira ku bantu abaali ab’omukwano aboogerwako mu Bayibuli.

MUKWANO GWO BW’AKOLA ENSOBI

Kabaka Dawudi yalina emikwano mingi emirungi. Omu ku mikwano gye egimanyiddwa ennyo yali Yonasaani. (1 Sam. 18:1) Naye Dawudi yalina n’emikwano emirala, gamba nga nnabbi Nasani. Bayibuli tetubuulira ddi lwe baatandika okuba ab’omukwano. Naye eraga nti Dawudi yabuulira Nasani ekyo ekyamuli ku mutima nga bw’oyinza okubuulira mukwano gwo ekyo ekikuli ku mutima. Dawudi yali ayagala okuzimbira Yakuwa ennyumba. Dawudi ateekwa okuba nga yali yeesiga ebigambo bya Nasani kubanga Nasani yali mukwano gwe ate ng’aliko omwoyo gwa Yakuwa.2 Sam. 7:2, 3.

Naye waliwo ekyaliwo ekyateeka omukwano gwabwe mu kabi. Kabaka Dawudi yayenda ku Basuseba, era oluvannyuma n’akola olukwe n’atta Uliya, omwami wa Basuseba. (2 Sam. 11:2-21) Dawudi yali amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa n’obwesigwa era ng’akola eby’obwenkanya. Naye kati yali akoze ekibi eky’amaanyi! Kiki ekyali kituuse ku kabaka oyo eyali omulungi? Yali takiraba nti ekyo kye yali akoze kyali kibi nnyo? Kyandiba nga yalowooza nti yali asobola okukweka Katonda ekibi ekyo?

Kiki Nasani kye yandikoze? Yandirese omuntu omulala okutuukirira Dawudi n’ayogerako naye ku kibi ekyo eky’amaanyi kye yali akoze? Waliwo abalala abaali bamanyi ku lukwe Dawudi lwe yakola okutta Uliya. Kati olwo lwaki Nasani yandisazeewo okwogera ne Dawudi ku nsonga eyo, ate ng’ekyo kyali kiyinza okumalawo omukwano gwabwe? Ate era ekyo kyali kiyinza okuteeka obulamu bwa Nasani mu kabi. Gwe ate oba, Dawudi yali asse Uliya omusajja ataaliko musango.

Katonda yakozesanga Nasani okutuusa obubaka bwe ku bantu. Nasani yali akimanyi nti bwe yandisirise obusirisi, enkolagana ye ne Dawudi teyandisigadde nga nnywevu era omuntu we ow’omunda yandibadde amulumiriza. Mukwano gwe Dawudi yali akoze ekintu ekitasanyusa Yakuwa. Dawudi yali yeetaaga obuyambi asobole okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Dawudi yali yeetaaga ow’omukwano owa nnamaddala okumuyamba. Nasani yamuyamba. Olw’okuba Dawudi yaliko omulunzi w’endiga, Nasani yakozesa ekyokulabirako ekituukirawo era ekyamutuuka ku mutima. Nasani yategeeza Dawudi obubaka obwali buva eri Yakuwa mu ngeri eyamuyamba okulaba nti ekibi kye yali akoze kyali kya maanyi nnyo era mu ngeri eyamuleetera okubaako ky’akolawo.2 Sam. 12:1-14.

Kiki kye wandikoze singa mukwano gwo akola ekibi eky’amaanyi? Oyinza okutandika okulowooza nti singa oyogerako naye ku kibi ekyo omukwano gwammwe guyinza okufa. Oba oyinza okulowooza nti bw’otegeeza abakadde ku kibi kye yakola, oba omuliddemu olukwe. Kiki ky’osaanidde okukola?

Gianni, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Nnakiraba nti Maurizio yali akyuse. Yali takyanneewa nga bwe kyali emabega. Nnasalawo okumutuukirira, wadde ng’ekyo tekyannyanguyira kukikola. Mmuli nneebuuza: ‘Kiki kye nsobola okumugamba ky’atamanyi? Bye mmugamba biyinza okumunyiiza!’ Naye bwe nnajjukira ebintu bye yanjigiriza ng’ansomesa Bayibuli, nnafuna obuvumu okwogera naye. Nange bwe nnabanga nneetaaga okuwabulwa, Maurizio yampabulanga. Nnali saagala kufiirwa mukwano gwe nnalina naye, kyokka era nnali njagala okumuyamba kubanga nnali mmwagala.”

Maurizio agamba nti: “Gianni yayogera nnange mu bwesimbu. Nnali nkimanyi nti ebizibu ebyava mu kibi kye nnakola si ye yali abindeetedde era ne Yakuwa si ye yali abindeetedde. Bwe kityo, nnakkiriza okuwabulwa era oluvannyuma nnaddamu okutereeza enkolagana yange ne Yakuwa.”

MUKWANO GWO NG’ALI MU BUZIBU

Dawudi yalina mikwano gye emirala egyamunywererako ng’ali mu buzibu. Omu ku bo yali Kusaayi, Bayibuli gw’eyogerako nga “mukwano gwa Dawudi.” (2 Sam. 16:16; 1 Byom. 27:33) Kusaayi ayinza okuba nga yali mukungu mu lubiri era yali mukwano gwa Dawudi ow’oku lusegere gwe yabuulirangako ebyama bye.

Abusaalomu mutabani wa Dawudi bwe yagezaako okweddiza entebe y’obwakabaka, Abayisirayiri bangi baamwegattako. Naye ye Kusaayi teyamwegattako. Dawudi bwe yali adduka Abusaalomu, Kusaayi yagenda n’amusisinkana. Dawudi kyamuyisa bubi nnyo okuba nti mutabani we awamu n’abantu abamu be yali yeesiga baali bamuliddemu olukwe. Naye Kusaayi yasigala nga mwesigwa eri Dawudi era n’ateeka obulamu bwe mu kabi okusobola okugootaanya enteekateeka za Abusalomu. Ekyo Kusaayi teyakikola lwa kuba nti yali mukungu mu lubiri, wabula yakikola olw’okuba yali mukwano gwa Dawudi owa nnamaddala.2 Sam. 15:13-17, 32-37; 16:15–17:16.

Leero kisanyusa nnyo okulaba nti ab’oluganda ne bannyinaffe bangi bali bumu wadde nga balina obuvunaanyizibwa bwa njawulo mu kibiina. Bafaayo ku bakkiriza bannaabwe olw’okuba babatwala nga ba muwendo nnyo.

Lowooza ku w’oluganda Federico. Mukwano gwe Antonio yamuyamba okuyita mu kiseera ekizibu ennyo. Federico agamba nti: “Antonio bwe yajja mu kibiina kyaffe, twafuukirawo ab’omukwano. Ffembi twali tuweereza ng’abaweereza mu kibiina, era twanyumirwanga nnyo okukolera awamu. Waayita ekiseera kitono Antonio n’alondebwa okubeera omukadde. Ng’oggyeeko okuba mukwano gwange, Antonio era yali annyamba nnyo mu by’omwoyo.” Oluvannyuma Federico yakola ekibi eky’amaanyi. Amangu ddala yatuukirira abakadde era yaggibwako enkizo ey’okuweereza nga payoniya n’okuba omuweereza mu kibiina. Kiki Antonio kye yakola?

Federico bwe yali mu mbeera enzibu, mukwano gwe Antonio yamuwuliriza era n’amuzzaamu amaanyi

Federico agamba nti: “Nnakiraba nti Antonio yali anfaako nnyo. Yafuba nnyo okumbudaabuda. Yali ayagala nnyo okunnyamba okuddamu okuba omunywevu mu by’omwoyo era teyanjabulira. Yankubiriza okwenyweza mu by’omwoyo era yankubiriza obutalekulira.” Antonio agamba nti: “Nnamala ebiseera bingi nga ndi wamu ne Federico. Nnali njagala ambuulire ebimuli ku mutima.” Oluvannyuma lw’ekiseera, Federico yaddamu okuba omunywevu mu by’omwoyo era n’addamu okuweereza nga payoniya era ng’omuweereza mu kibiina. Antonio agamba nti: “Wadde nga kati tuli mu bibiina bya njawulo, tukyali ba mukwano nnyo.”

WANDIKITUTTE NTI BAKULIDDEMU OLUKWE?

Wandiwulidde otya singa mukwano gwo ow’oku lusegere akwabulira mu kiseera w’osinga okumwetaagira? Kya lwatu nti ekyo kikuyisa bubi nnyo. Osobola okumusonyiwa? Omukwano gwammwe gusobola okuddamu okuba ogw’amaanyi nga bwe gwali edda?

Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe. Yesu yali amaze ebbanga ddene ng’ali wamu n’abatume be abeesigwa era yalina enkolagana ey’oku lusegere nabo. Mu butuufu, baali mikwano gye. (Yok. 15:15) Naye kiki ekyaliwo Yesu bwe yakwatibwa? Abatume bonna badduka. Peetero yali yagamba nti tasobola kwabulira Mukama we, naye mu kiro ekyo kyennyini, yeegaana Yesu!Mat. 26:31-33, 56, 69-75.

Yesu yali akimanyi nti embeera enzibu ennyo gye yayitamu yandigiyiseemu ng’ali yekka. Wadde kyali kityo, abatume be okumwabulira kiteekwa okuba nga kyamuyisa bubi. Kyokka engeri gye yayogeramu n’abatume be ng’amaze okuzuukira, eraga nti teyabasibira kiruyi. Yesu teyadda awo kwogera ku bunafu bwabwe oba ku nsobi ze baali bakoze.

Mu kifo ky’ekyo, yazzaamu Peetero awamu n’abatume abalala amaanyi. Yakiraga nti yali akyabeesiga bwe yabakwasa omulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira. Yesu yakiraga nti abatume abo baali bakyali mikwano gye. Okwagala kwe yabalaga kwabakwatako nnyo. Baali bamalirivu obutaddamu kukola bintu binakuwaza Mukama waabwe. Bwe kityo, baakola n’obunyiikivu omulimu ogw’okubuulira Yesu gwe yawa abagoberezi be.Bik. 1:8; Bak. 1:23.

Lowooza ku mwannyinaffe Elvira eyakola ekintu ekitaasanyusa mukwano gwe Giuliana. Elvira agamba nti: “Giuliana bwe yaŋŋamba nti kye nnali nkoze kyali kimuyisizza bubi, kyannuma nnyo. Yali mutuufu okunyiiga. Naye ekyanneewunyisa kiri nti Giuliana essira teyalissa ku ngeri gye nnali muyisizzaamu wabula ku ngeri enneeyisa yange gye yali eyinza okunkosaamu. Nneebaza Yakuwa olw’okumpa ow’omukwano ng’oyo akulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebibye.”

Kati olwo kiki ky’oyinza okukola singa wabaawo embeera eyinza okwonoona omukwano oguliwo wakati wo n’omuntu omulala? Yogerako ne mukwano gwo oyo ku mbeera eyo mu bwesimbu era mu ngeri ey’ekisa. Era okufaananako Nasani, Kusaayi, ne Yesu, nywerera ku mukwano gwo ne mu mbeera nzibu era beera mwetegefu okumusonyiwa.