Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Akitwala nga Kikulu bw’Ogamba nti “Amiina”

Yakuwa Akitwala nga Kikulu bw’Ogamba nti “Amiina”

OKUSINZA kwaffe Yakuwa akutwala nga kukulu. “Assaayo omwoyo era n’awuliriza” abaweereza be, era buli kye bakola okumutendereza akitwala nga kikulu, ka kibe kitono kitya. (Mal. 3:16) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kigambo kye twogera enfunda n’enfunda. Kino kye kigambo “amiina.” Ekigambo ekyo ekitono nakyo Yakuwa akitwala nga kikulu? Yee! Okusobola okumanya ensonga lwaki kiri kityo, ka tulabe amakulu g’ekigambo ekyo n’engeri gye kikozesebwamu mu Bayibuli.

“ABANTU BONNA BALIDDAMU NTI, ‘AMIINA!’”

Ekigambo ky’Oluganda “amiina” kitegeeza “kibeere bwe kityo,” oba “mazima ddala.” Kyavvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “ba mwesigwa,” “weesigike.” Ekigambo ekyo oluusi kyakozesebwanga mu by’amateeka. Omuntu bwe yamalanga okulayira, yagambanga nti “amiina” okukakasa nti bye yabanga ayogedde byali bituufu era nti yali avunaanyizibwa ku ebyo ebyandivudde mu ebyo bye yabanga ayogedde. (Kubal. 5:22) Bwe yagambanga “amiina” mu lujjudde kyabanga kimukakatako nnyo okukolera ku bigambo bye.​—Nek. 5:13.

Ekyokulabirako ekirungi ekiraga emu ku ngeri ekigambo “amiina” gye kyakozesebwamu kisangibwa mu Ekyamateeka essuula 27. Abayisirayiri bwe bandimaze okuyingira mu Nsi Ensuubize, bandibadde bakuŋŋaanira wakati w’Olusozi Ebbali n’Olusozi Gerizimu okuwuliriza Amateeka nga gasomebwa. Baali tebalina kuwuliriza buwuliriza naye era baalina okukyoleka mu bigambo nti baali bakkiriza Amateeka ago. Ekyo baakikola nga baddamu nti “Amiina!” buli lwe baawuliranga ng’ebyo ebyandivudde mu kumenya amateeka ago bisomeddwa. (Ma. 27:15-26) Teeberezaamu ng’owulira amaloboozi g’abasajja nkumi na kumi, abakazi, n’abaana, nga baddamu mu ddoboozi ery’omwanguka! (Yos. 8:30-35) Kya lwatu tebeerabira bigambo bye baayogera ku olwo. Era Abayisirayiri abo baakolera ku bigambo byabwe, kubanga Bayibuli egamba nti: “Abayisirayiri beeyongera okuweereza Yakuwa ennaku zonna eza Yoswa n’ennaku zonna ez’abakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa era abaali bamanyi byonna Yakuwa bye yakolera Isirayiri.”​—Yos. 24:31.

Yesu naye yakozesa ekigambo “amiina” okukakasa obutuufu bw’ebyo bye yayogera, naye yakikola mu ngeri ya njawulo. Mu kifo ky’okuddamu nti “amiina” (mu Luganda kyavvuunulwa nga “Mazima ddala”) nga waliwo omuntu aliko ky’ayogedde, ye Yesu yasookanga kwogera ekigambo amiina okulaga nti kye yabanga agenda okwogera kituufu. Oluusi yaddiŋŋananga ekigambo ekyo n’agamba nti “amiina amiina.” (Mat. 5:18; Yok. 1:51) Mu ngeri eyo yakakasa abo abaali bamuwuliriza nti ebigambo bye byali bituufu ddala. Yesu yali asobola okwogera bw’atyo kubanga Katonda gwe yalonda okutuukiriza ebisuubizo bye byonna.​—2 Kol. 1:20; Kub. 3:14.

“ABANTU BONNA NE BAGAMBA NTI, ‘AMIINA!’ ERA NE BATENDEREZA YAKUWA”

Abayisirayiri era baakozesanga ekigambo “amiina” nga batendereza era nga basaba Yakuwa. (Nek. 8:6; Zab. 41:13) Bwe baagambanga amiina oluvannyuma lw’omuntu okubakulembera mu kusaba, baabanga balaga nti bakkiriziganyizza n’ebyo bye yabanga ayogedde mu kusaba. Bwe kityo bonna abaabangawo beenyigiranga mu kusinza Yakuwa mu ngeri eyo era baafunanga essanyu. Ekyo kye kyaliwo Kabaka Dawudi bwe yaleeta ssanduuko ya Yakuwa e Yerusaalemi. Ku mukolo ogwaddirira, Dawudi yasaba essaala eviira ddala ku mutima eyali mu ngeri ey’oluyimba esangibwa mu 1 Ebyomumirembe 16:8-36. Ebigambo bye yayogera byakwata nnyo ku bonna abaaliwo ne kiba nti, ‘abantu bonna baagamba nti, “Amiina!” era ne batendereza Yakuwa.’ Mazima ddala abantu abo baasanyuka nnyo okusinziza awamu Yakuwa.

Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka nabo baakozesanga ekigambo “amiina” nga batendereza Yakuwa. Abawandiisi ba Bayibuli baakozesa nnyo ekigambo ekyo mu mabaluwa ge baawandiika. (Bar. 1:25; 16:27; 1 Peet. 4:11) Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti n’ebitonde eby’omwoyo ebiri mu ggulu bitendereza Yakuwa nga bigamba nti: “Amiina! Mutendereze Ya!” (Kub. 19:1, 4) Abakristaayo abaasooka baddangamu nti “amiina” oluvannyuma lw’essaala ezaasabibwanga mu nkuŋŋaana zaabwe. (1 Kol. 14:16) Naye ekigambo ekyo tebaamalanga gakyogera nga tebalowoozezza.

ENSONGA LWAKI KIKULU OKUGAMBA NTI “AMIINA”

Oluvannyuma lw’okulaba engeri ekigambo “amiina” gye kizze kikozesebwamu, kyangu okulaba ensonga lwaki kikulu okugamba nti “amiina” oluvannyuma lw’essaala. Bwe tugamba nti “amiina” ku nkomerero y’essala gye tuba tusabye, tuba tulaga nti bye twogedde tubitegeeza. Ate bwe tugamba “amiina” mu ddoboozi ery’omwanguka oba mu kasirise nga waliwo atukulembedde mu kusaba, tuba tulaga nti tukkiriziganya n’ebigambo by’ayogedde. Lowooza ne ku nsonga endala lwaki kikulu okugamba nti “amiina.”

Tussaayo omwoyo nga tusaba kubanga okusaba kitundu kya kusinza kwaffe. Bwe tuba tusaba tuba tusinza Yakuwa, era ekyo tukyoleka nga tukkiriziganya n’ebyo ebiba byogeddwa mu ssaala n’engeri gye tweyisaamu ng’essaala egenda mu maaso. Olw’okuba twagala okuddamu nti “amiina” mu bwesimbu, kituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ng’essaala egenda mu maaso era n’okugissaako omwoyo.

Abaweereza ba Yakuwa tuli bumu. Omuntu bw’atukulembera mu kusaba, ffenna mu kibiina tuba tuwuliriza ekintu kye kimu. (Bik. 1:14; 12:5) Ffenna bwe tuddiramu awamu nti “amiina,” kituyamba okwongera okuba obumu. Bwe tuddamu nti “amiina” mu ddoboozi ery’omwanguka oba mu mutima gwaffe, kisobola okuleetera Yakuwa okukola kye tumusabye.

Bwe tugamba nti “amiina” tuleetera Yakuwa ettendo

Tutendereza Yakuwa. Yakuwa alaba buli kimu kye tukola nga tumusinza. (Luk. 21:2, 3) Amanya ebigendererwa byaffe n’ebyo ebiri mu mutima gwaffe. Ne bwe kiba nti enkuŋŋaana tuziwulirizza ku ssimu, bwe tuddamu nti “amiina” Yakuwa akiraba. Tuba twegasse ku baganda baffe abali mu lukuŋŋaana okumutendereza.

Ekigambo “amiina” kye twogera kiyinza okulabika ng’ekitono, naye kikulu nnyo. Ekitabo ekimu ekinnyonnyola ebigambo ebiri mu Bayibuli kigamba nti: “Abantu ba Katonda bwe bagamba nti “amiina” baba booleka obwesige, okukkiriza, n’essuubi ebiri mu mitima gyabwe.” N’olwekyo, ka buli ekigambo kyaffe “amiina” kibe nga kikkirizibwa mu maaso ga Yakuwa.​—Zab. 19:14.