Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 9

Ab’oluganda Abavubuka—Muyinza Mutya Okuleetera Abalala Okubeesiga?

Ab’oluganda Abavubuka—Muyinza Mutya Okuleetera Abalala Okubeesiga?

“Olina ekibinja ky’abavubuka abalinga amatondo g’omusulo.”​—ZAB. 110:3.

OLUYIMBA 39 Weekolere Erinnya Eddungi mu Maaso ga Katonda

OMULAMWA *

1. Kiki ab’oluganda abavubuka kye basaanidde okumanya?

AB’OLUGANDA abavubuka, mulina bingi bye musobola okukola mu kibiina. Bangi ku mmwe mulina amaanyi mangi. (Nge. 20:29) Muli ba mugaso mu kibiina. Muyinza okuba nga mwesunga ekiseera lwe mulirondebwa okuba abaweereza mu kibiina. Kyokka muyinza okuba nga mulowooza nti abalala babatwala nti mukyali bato, oba nti temulina bumanyirivu okusobola okukwasibwa emirimu emikulu mu kibiina. Wadde nga muyinza okuba nga mukyali bato, waliwo ebintu bye musobola okukola kati abalala mu kibiina okusobola okubeesiga n’okubassaamu ekitiibwa.

2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ebimu ebikwata ku Kabaka Dawudi. Ate era tugenda kulabayo ebimu ku bintu ebyaliwo mu bulamu bwa Asa ne Yekosafaati, abaali bakabaka ba Yuda. Tugenda kulaba ebizibu ebitali bimu abasajja abo abasatu bye baayolekagana nabyo, engeri gye baabikwatamu, n’ebyo ab’oluganda abakyali abavubuka bye basobola okubayigirako.

MUYIGIRE KU KABAKA DAWUDI

3. Engeri emu abavubuka gye basobola okuyambamu abakulu mu kibiina y’eruwa?

3 Dawudi bwe yali akyali muto, alina ebintu bye yakugukamu abalala bye baalaba nti byali bya mugaso. Yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda, yakuguka mu kuyimba, era yakozesa obukugu obwo mu ngeri eyaganyula Sawulo, kabaka Katonda gwe yali alonze. (1 Sam. 16:16, 23) Abavubuka, mulina ebintu bye mwakugukamu ebisobola okuganyula abalala mu kibiina? Bangi ku mmwe mulina bye mukuguseemu. Ng’ekyokulabirako, muyinza okuba nga mukirabye nti abamu ku bantu abakulu basiima nnyo bwe mubayambako okumanya engeri gye basobola okukozesaamu tabbuleeti zaabwe, oba kompyuta zaabwe okwesomesa oba okutegeka enkuŋŋaana. Obukugu bwe mulina mu kukozesa ebintu ng’ebyo, busobola okuganyula ennyo abantu ng’abo.

Dawudi yali wa buvunaanyizibwa era nga yeesigika bwe yali alabirira endiga za kitaawe, era yazikuuma ne zitaliibwa ddubu (Laba akatundu 4)

4. Okufaananako Dawudi, ngeri ki ab’oluganda abavubuka ze balina okukulaakulanya? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

4 Dawudi yali wa buvunaanyizibwa era nga yeesigika. Ng’ekyokulabirako, bwe yali akyali muvubuka, yalabirira bulungi endiga za kitaawe. Omulimu ogwo gwali gusobola okussa obulamu bwe mu kabi. Dawudi yagamba Kabaka Sawulo nti: “Omuweereza wo mulunzi wa ndiga za kitaawe, era lumu empologoma yajja n’eggya endiga mu kisibo n’egitwala, ate olulala eddubu nalyo lyakola ekintu kye kimu. Nnabiwondera ne mbikuba ne mbisuuza endiga.” (1 Sam. 17:34, 35) Dawudi yakitwala nti bwali buvunaanyizibwa bwe okukuuma endiga ezo, era yazirwanirira n’obuvumu. Ab’oluganda abakyali abavubuka basobola okukoppa Dawudi nga bakola n’obunyiikivu emirimu egiba gibaweereddwa.

5. Okusinziira ku Zabbuli 25:14, kintu ki ekisinga obukulu ab’oluganda abavubuka kye basaanidde okukola?

5 Dawudi yafuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Enkolagana eyo yali nkulu nnyo okusinga obuvumu bwe yalina n’obukugu bwe yalina mu kukuba ebivuga. Yakuwa teyali Katonda wa Dawudi kyokka, naye era yali mukwano gwe ow’oku lusegere. (Soma Zabbuli 25:14.) Ab’oluganda abavubuka, ekintu ekisingayo obukulu kye musobola okukola kwe kunyweza enkolagana yammwe ne Kitammwe ow’omu ggulu, era ekyo kiyinza okubaviirako okuweebwa enkizo endala.

6. Ndowooza ki ezitali nnungi abamu ze baalina ku Dawudi?

6 Okumu ku kusoomooza Dawudi kwe yafuna, ze ndowooza enkyamu abalala ze baamulinako. Ng’ekyokulabirako, Dawudi bwe yeewaayo okulwanyisa Goliyaasi, Kabaka Sawulo yagezaako okumulemesa ng’amugamba nti: “Oli mwana bwana.” (1 Sam. 17:31-33) Ate ne muganda wa Dawudi naye yagamba Dawudi nti yali mulagajjavu. (1 Sam. 17:26-30) Kyokka Yakuwa ye yali tatwala Dawudi nti mwana bwana oba nti mulagajjavu. Yali amanyi bulungi omuvubuka oyo. Era olw’okuba Dawudi yeesiga mukwano gwe Yakuwa okumuwa amaanyi, yawangula Goliyaasi.​—1 Sam. 17:45, 48-51.

7. Biki by’osobola okuyigira ku Dawudi?

7 Biki by’oyinza okuyigira ku Dawudi? Kikulu okuba omugumiikiriza. Kitwala ekiseera eri abo abakulabye okuva mu buto, okutandika okukutunuulira ng’omuntu omukulu. Naye ba mukakafu nti Yakuwa tatunuulira ekyo ky’oli kungulu kyokka. Amanyi kiki ky’oli, n’ebyo by’osobola okukola. (1 Sam. 16:7) Nyweza enkolagana yo ne Katonda. Ekyo Dawudi yakikola nga yeetegereza ebintu Yakuwa bye yatonda. Dawudi yafumiitiriza ku ekyo ebitonde ebyo kye biraga ku Mutonzi we. (Zab. 8:3, 4; 139:14; Bar. 1:20) Ekintu ekirala ky’osobola okukola, kwe kusabanga Yakuwa okukuwa amaanyi. Ng’ekyokulabirako, abamu ku bayizi banno ku ssomero bakujerega olw’okuba oli Mujulirwa wa Yakuwa? Bwe kiba kityo, saba Yakuwa akuyambe okwaŋŋanga ekizibu ekyo. Era kolera ku magezi agali mu Kigambo kye ne mu bitabo byaffe ne vidiyo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Buli lw’olaba nga Yakuwa akuyambye okwaŋŋanga ekizibu, weeyongera okumwesiga. Ate era abalala bwe bakiraba nti weesiga Yakuwa, batandika okukwesiga.

Ab’oluganda abavubuka basobola okuyamba abalala mu ngeri nnyingi (Laba akatundu 8-9)

8-9. Kiki ekyayamba Dawudi okugumiikiriza okutuusa lwe yafuulibwa kabaka, era kiki ab’oluganda abavubuka kye basobola okumuyigirako?

8 Lowooza ku kusoomooza okulala Dawudi kwe yayolekagana nakwo. Oluvannyuma lw’okufukibwako amafuta okuba kabaka, Dawudi yalina okulindirira emyaka mingi nga tannafuulibwa kabaka wa Yuda mu butongole. (1 Sam. 16:13; 2 Sam. 2:3, 4) Kiki ekyayamba Dawudi okulindirira n’obugumiikiriza ekiseera ekyo kyonna? Mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi, Dawudi yeemalira ku ebyo bye yali asobola okukola mu kiseera ekyo. Ng’ekyokulabirako, bwe yali abeera mu kitundu ky’Abafirisuuti gye yali addukidde okufuna obubudamu, yakozesa ekiseera ekyo okulwanyisa abalabe ba Isirayiri. Mu kukola bw’atyo, yakuuma ensalo z’ekitundu kya Yuda.​—1 Sam. 27:1-12.

9 Kiki ab’oluganda abavubuka kye basobola okuyigira ku Dawudi? Mukozese akakisa konna ke mufuna okuweereza baganda bammwe. Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Ricardo. * Okuviira ddala nga yaakayingira emyaka egy’obutiini, yali ayagala kuweereza nga payoniya owa bulijjo. Naye abakadde baamugamba nti yali tannatuukiriza bisaanyizo. Mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi oba okunyiiga, Ricardo yayongera ku biseera bye yali amala mu kubuulira. Agamba nti: “Bwe ndowooza ku kiseera ekyo, nkiraba nti nnali nneetaaga okulongoosaamu. Nnafuba okuddira buli muntu eyasiimanga obubaka bwaffe. Era nneetegekanga bulungi nga ŋŋenda okuddira omuntu. Nnafuna n’omuyizi wange owa Bayibuli eyasooka. Bwe nneeyongera okufuna obumanyirivu, nnaggwaamu okutya.” Kati Ricardo aweereza nga payoniya owa bulijjo, era muweereza mu kibiina.

10. Kiki lumu Dawudi kye yakola bwe yali nga tannasalawo ku kintu ekikulu?

10 Lowooza ku kintu ekirala ekyaliwo mu bulamu bwa Dawudi. Ye n’abasajja be bwe baali badduse Sawulo, balina we baaleka ab’omu maka gaabwe ne bagenda okulwana. Mu kiseera ekyo abalabe bajja ne balumba era ne bawamba ab’omu maka gaabwe. Dawudi yali asobola okugamba nti yalina obumanyirivu bungi mu kulwana era nti yali asobola okuyiiya engeri y’okununulamu abo abaali bawambiddwa. Naye ekyo si kye yakola. Yasaba Yakuwa okumuwa obulagirizi. Okuyitira mu kabona eyali ayitibwa Abiyasaali, Dawudi yeebuuza ku Yakuwa nti: “Mpondere ekibinja ky’abazigu abo?” Yakuwa yagamba Dawudi okubawondera, era nti yandituuse ku buwanguzi. (1 Sam. 30:7-10) Ekyo kikuyigiriza ki?

Ab’oluganda abavubuka basaanidde okwebuuza ku bakadde okubawa amagezi (Laba akatundu 11)

11. Kiki ky’osaanidde okukola nga tonnabaako ky’osalawo?

11 Bw’obaako ky’ogenda okusalawo, sooka onoonye obulagirizi. Weebuuze ku bazadde bo. Ate era bw’oyogerako n’abakadde abalina obumanyirivu, basobola okukuwa amagezi amalungi. Yakuwa yeesiga abasajja abo, naawe osobola okubeesiga. Abakadde abo Yakuwa abatwala “ng’ebirabo” eri ekibiina. (Bef. 4:8) Bw’okoppa okukkiriza kwabwe, era n’owuliriza amagezi amalungi ge bakuwa, ojja kuganyulwa nnyo. Kati ka tulabe kye tusobola okuyigira ku Kabaka Asa.

MUYIGIRE KU KABAKA ASA

12. Ngeri ki Kabaka Asa ze yalina we yatandikira okufuga?

12 Kabaka Asa bwe yali ng’akyali muvubuka, yali mwetoowaze era nga muvumu. Ng’ekyokulabirako, bwe yadda mu bigere bya kitaawe Abiya nga kabaka, yalwanyisa okusinza ebifaananyi. Era yagamba abantu ab’omu Yuda “okunoonya Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe era n’okukwata Amateeka n’ebiragiro.” (2 Byom. 14:1-7) Ate era Zeera Omwesiyopiya bwe yalumba Yuda ng’alina abasirikale 1,000,000, Asa yakola eky’amagezi n’anoonya obuyambi okuva eri Yakuwa. Yagamba nti: “Ai Yakuwa, eky’okuba nti b’oyamba bangi oba nti tebalina maanyi, si kikulu gy’oli. Tuyambe Ai Yakuwa Katonda waffe, kubanga twesiga ggwe.” Ebigambo ebyo biraga nti Asa yali yeesiga Yakuwa nti asobola okumununula n’abantu be. Asa yeesiga Yakuwa Kitaawe ow’omu ggulu, era yamuyamba “okuwangula Abeesiyopiya.”​—2 Byom. 14:8-12.

13. Kiki oluvannyuma ekyatuuka ku Asa, era lwaki?

13 Tewali kubuusabuusa nti okwaŋŋanga eggye ery’abasirikale 1,000,000 kyali kizibu kya maanyi, naye Asa yasobola okukivvuunuka olw’okuba yeesiga Yakuwa. Naye Asa bwe yafuna ekizibu ekirala ekitaali kya maanyi nnyo teyeebuuza ku Yakuwa. Kabaka omubi owa Isirayiri ayitibwa Baasa bwe yamulumba, Asa obuyambi yabunoonya okuva eri kabaka wa Busuuli. Ekyo kye yasalawo kyavaamu ebizibu! Okuyitira mu nnabbi Kanani, Yakuwa yagamba Asa nti: “Olw’okuba weesize kabaka wa Busuuli n’oteesiga Yakuwa Katonda wo, eggye lya kabaka wa Busuuli lisimattuse mu mukono gwo.” Mu butuufu okuva olwo, Asa yabeeranga n’entalo. (2 Byom. 16:7, 9; 1 Bassek. 15:32) Ekyo kituyigiriza ki?

14. Osobola otya okwesiga Yakuwa, era okusinziira ku 1 Timoseewo 4:12, biki ebijja okuvaamu?

14 Sigala ng’oli mwetoowaze era weeyongere okwesiga Yakuwa. Bwe wabatizibwa, wayoleka okukkiriza okw’amaanyi era wakiraga nti weesiga Yakuwa, era Yakuwa yakuwa enkizo ey’okuba omu ku b’omu maka ge. Naye olina okweyongera okumwesiga. Kiyinza okukwanguyira okwesiga Yakuwa bw’oba ng’olina ebintu ebikulu ennyo by’ogenda okusalawo, naye ate kiri kitya ku bintu ebirala? Kikulu nnyo okwesiga Yakuwa ng’ogenda okusalawo ne ku bintu gamba nga, eby’okwesanyusaamu, omulimu gw’onookola, n’ebiruubirirwa by’oyagala okweteerawo! Teweesigama ku magezi go. Mu kifo ky’ekyo, noonya amagezi okuva mu Bayibuli agakwata ku mbeera yo era ogakolereko. (Nge. 3:5, 6) Bw’okola bw’otyo, ojja kusanyusa Yakuwa era abalala mu kibiina bajja kukussaamu ekitiibwa.​—Soma 1 Timoseewo 4:12.

MUYIGIRE KU KABAKA YEKOSAFAATI

15. Nga bwe kiragibwa mu 2 Ebyomumirembe 18:1-3; 19:2, nsobi ki Kabaka Yekosafaati ze yakola?

15 Kya lwatu nti okufaananako abantu abalala bonna, naawe totuukiridde era ebiseera ebimu ojja kukola ensobi. Naye ekyo tekisaanidde kukulemesa kuweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna. Lowooza ku Kabaka Yekosafaati. Yalina engeri ennungi nnyingi. Bwe yali akyali muvubuka, “yanoonya Katonda wa kitaawe, n’atambulira mu mateeka ge.” Ate era yatuma abaami okugenda mu bibuga bya Yuda byonna okuyigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa. (2 Byom. 17:4, 7) Wadde kyali kityo, oluusi Yekosafaati yasalangawo mu ngeri etali ya magezi. Era lumu bwe yasalawo mu ngeri etali ya magezi, omu ku baweereza ba Yakuwa yajja n’amunenya. (Soma 2 Ebyomumirembe 18:1-3; 19:2.) Ekyo kikuyigiriza ki?

Ab’oluganda abakola emirimu n’obunyiikivu era abeesigika beekolera erinnya eddungi (Laba akatundu 16)

16. Kiki ky’osobola okuyigira ku Rajeev?

16 Kkiriza amagezi agakuweebwa era ogakolereko. Oboolyawo okufaananako abavubuka bangi, kikuzibuwalira okukulembeza ebintu ebisinga obukulu mu bulamu. Toggwaamu maanyi. Lowooza ku w’oluganda Rajeev. Ng’ayogera ku myaka gye egy’obutiini, agamba nti: “Mu myaka egyo oluusi nnawuliranga nga simanyi ngeri ya kukozesaamu bulamu bwange. Okufaananako abavubuka bangi, nnali nnyumirwa nnyo emizannyo n’eby’amasanyu okusinga okugenda mu nkuŋŋaana n’okubuulira.” Kiki ekyayamba Rajeev? Omukadde omu alina amagezi ge yamuwa. Rajeev agamba nti: “Yannyamba okufumiitiriza ku musingi oguli mu 1 Timoseewo 4:8.” Rajeev yakolera ku magezi ago n’alowooza ku ebyo bye yali asaanidde okukulembeza mu bulamu. Agamba nti: “Nnasalawo okukulembeza ebintu eby’omwoyo.” Biki ebyavaamu? Agamba nti: “Nga wayise emyaka mitono oluvannyuma lw’omukadde oyo okumpa amagezi ago, nnafuuka omuweereza mu kibiina.”

SANYUSA KITAAWO OW’OMU GGULU

17. Abantu abakulu batwala batya abavubuka abaweereza Yakuwa?

17 Abantu abakulu babasiima nnyo mmwe abavubuka abaweerereza awamu nabo Yakuwa! (Zef. 3:9) Basiima nnyo obunyiikivu bwe mwoleka nga mukola emirimu gyammwe. Babaagala nnyo.​—1 Yok. 2:14.

18. Nga bwe kiragibwa mu Engero 27:11, Yakuwa atwala atya ab’oluganda abavubuka abamuweereza?

18 Ab’oluganda abavubuka, temukyerabiranga nti Yakuwa abaagala nnyo era abeesiga. Yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero wandibaddewo abavubuka bangi abandibadde bamuweereza kyeyagalire. (Zab. 110:1-3) Akimanyi nti mumwagala era nti mwagala okumuweereza mu ngeri esingayo obulungi. N’olwekyo, mugumiikirize abalala, era nammwe kennyini mwegumiikirize. Bwe mukola ensobi, mukkirize okutendekebwa n’okukangavvula okubaweebwa, era mukutwale ng’okuva eri Yakuwa. (Beb. 12:6) Mukole n’obunyiikivu omulimu gwonna ogubaweebwa. N’okusingira ddala, mu buli kimu kye mukola mufube okusanyusa Kitammwe ow’omu ggulu.​—Soma Engero 27:11.

OLUYIMBA 135 Yakuwa Akugamba: ‘Ba wa Magezi, Mwana Wange’

^ lup. 5 Ab’oluganda abavubuka bwe bagenda beeyongera okukula mu by’omwoyo, baba baagala okuweereza Yakuwa mu ngeri esingawo. Okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okufuuka abaweereza mu kibiina, abalala mu kibiina balina okuba nga babeesiga. Biki ab’oluganda abo bye bayinza okukola abalala okusobola okubeesiga?

^ lup. 9 Amannya agamu gakyusiddwa.