Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 11

Engeri Ebyawandiikibwa Gye Bituyamba Okugumira Ebizibu

Engeri Ebyawandiikibwa Gye Bituyamba Okugumira Ebizibu

“Katonda awa obugumiikiriza.”​—BAR. 15:5.

OLUYIMBA 94 Tusiima Ekigambo kya Katonda

OMULAMWA *

1. Bizibu bya ngeri ki abaweereza ba Yakuwa bye bayinza okwolekagana nabyo?

OLINA ekizibu eky’amaanyi ky’oyolekagana nakyo? Oboolyawo mu kibiina waliwo eyakola ekintu ekyakulumya. (Yak. 3:2) Oba bakozi banno oba bayizi banno bayinza okuba nga bakujerega olw’okuweereza Yakuwa. (1 Peet. 4:3, 4) Oba ab’eŋŋanda zo bayinza okuba nga bagezaako okukuziyiza okujja mu nkuŋŋaana oba okubuulirako abalala ebikwata ku nzikiriza yo. (Mat. 10:35, 36) Ekizibu bwe kiba nga kya maanyi nnyo, oyinza okuwulira ng’oyagala kulekera awo kuweereza Yakuwa. Naye ba mukakafu nti ka kibe kizibu ki ky’oyolekagana nakyo, Yakuwa ajja kukuwa amagezi okukyaŋŋanga n’amaanyi okukigumira.

2. Okusinziira ku Abaruumi 15:4, okusoma Ekigambo kya Katonda kiyinza kutuyamba kitya?

2 Mu Kigambo kye, Yakuwa yawandiisaamu ebintu ebitali bimu ebiraga engeri abantu abatatuukiridde gye baasobola okwaŋŋangamu ebizibu eby’amaanyi. Lwaki? Tusobole okubayigirako. Ekyo kyennyini Yakuwa kye yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiika. (Soma Abaruumi 15:4.) Bwe tusoma ku baweereza ba Katonda abo, tubudaabudibwa era tufuna essuubi. Naye okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu Bayibuli, tetulina kugisoma busomi. Tulina okukkiriza Ebyawandiikibwa okukyusa endowooza yaffe n’okutuuka ku mutima gwaffe. Kiki kye tuyinza okukola bwe tuba nga tunoonya obulagirizi ku ngeri y’okwaŋŋangamu ekizibu ekimu? Tusobola okukola ebintu bino bina: (1Okusaba, (2Okukuba akafaananyi, (3Okufumiitiriza, ne (4Okukolera ku bye tusoma. Tugenda kulaba ekizingirwa mu buli kimu ku bintu ebyo. * Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukozesaamu enkola eyo okubaako bye tuyigira ku bulamu bwa Kabaka Dawudi n’obw’omutume Pawulo.

1. SABA

Nga tonnatandika kusoma Bayibuli saba Yakuwa akuyambe okulaba engeri gy’oyinza okuganyulwa mu ebyo by’ogenda okusoma (Laba akatundu 3)

3. Bw’oba tonnatandika kusoma Bayibuli, kiki ky’osaanidde okukola era lwaki?

3 (1Saba. Bw’oba ogenda kusoma Bayibuli, sooka osabe Yakuwa akuyambe okulaba engeri ebyo by’oba ogenda okusoma gye binaakuganyulamu. Ng’ekyokulabirako, bw’oba onoonya amagezi ku ngeri y’okwaŋŋangamu ekizibu ekimu, saba Yakuwa akuyambe okufuna emisingi mu Kigambo kye eginaakuyamba.​—Baf. 4:6, 7; Yak. 1:5.

2. KUBA AKAFAANANYI

Gezaako okwessa mu bigere by’omuntu gw’oba osomako (Laba akatundu 4)

4. Kiki ekisobola okukuyamba okutegeera obulungi ebyo by’oba osoma mu Bayibuli?

4 (2Kuba akafaananyi. Yakuwa yatuwa obusobozi bw’okukuba akafaananyi. Okusobola okutegeera obulungi ebyo by’oba osoma mu Bayibuli, bw’oba osoma, kuba akafaananyi ku ebyo ebyaliwo era wesse mu bigere by’omuntu aba ayogerwako. Gezaako okulaba ebintu bye yali alaba n’okuwulira nga bwe yali awulira.

3. FUMIITIRIZA

Lowooza nnyo ku ebyo by’osoma ne ku ngeri gye bikukwatako (Laba akatundu 5)

5. Okufumiitiriza kye ki, era oyinza otya okufumiitiriza?

5 (3Fumiitiriza. Okufumiitiriza kwe kulowooza ennyo ku ebyo by’osoma ne ku ngeri gye bikukwatako. Okufumiitiriza kukuyamba okukwataganya obulungi ebyo by’osoma n’osobola okubitegeera obulungi. Okusoma Bayibuli nga tofumiitiriza, kuba ng’okutunuulira obutunuulizi ebintu eby’enjawulo ebigenda okukozesebwa okutimba ekifo. Okufumiitiriza kulinga okutimba ebintu ebyo kinnakimu mu kifo kyabyo ekituufu. Bw’omala okubitimba, osobola okufuna ekifaananyi ekituufu ku ngeri gye birabisaamu ekifo ekyo. Okusobola okufumiitiriza, osobola okwebuuza era n’oddamu ebibuuzo nga bino: ‘Omuntu gwe nsomyeko kiki kye yakolawo okusobola okugonjoola ekizibu? Yakuwa yamuyamba atya? Bye njize biyinza bitya okunnyamba okwaŋŋanga ebizibu?’

4. KOLERA KU BY’OYIZE

Ebyo by’oyize bikolereko osobole okusalawo mu ngeri ey’amagezi, osobole okwongera okufuna emirembe, n’okwongera okunyweza okukkiriza kwo (Laba akatundu 6)

6. Lwaki tulina okukolera ku ebyo bye tuyiga?

6 (4Kolera ku by’oyiga. Yesu yagamba nti bwe tutakolera ku ebyo bye tuyiga, tuba ng’omuntu azimba ennyumba ku musenyu. Akola nnyo naye amaanyi ge gaba gamufiira bwereere. Lwaki? Kubanga omuyaga n’amataba bwe bijja, ennyumba ye esaanawo. (Mat. 7:24-27) Mu ngeri y’emu, singa tusaba, ne tukuba akafaananyi, era ne tufumiitiriza ku bye tusoma naye ne tutabikolerako tuba tumaze biseera. Bwe twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi oba n’okuyigganyizibwa, okukkiriza kwaffe tekujja kuba kunywevu era tetujja kusobola kubigumira. Ku luuyi olulala, bwe tusoma era ne tukolera ku ebyo bye tusoma, kitusobozesa okusalawo obulungi, tweyongera okufuna emirembe, era okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera. (Is. 48:17, 18) Nga tugoberera enkola eyo, ka tulabe kye tuyinza okuyigira ku kintu ekimu ekyaliwo mu bulamu bwa Kabaka Dawudi.

KIKI KY’OYINZA OKUYIGIRA KU KABAKA DAWUDI?

7. Kyakulabirako ky’ani kye tugenda okwekenneenya?

7 Waliwo omu ku mikwano gyo oba ow’eŋŋanda zo eyakola ekintu ekyakulumya? Bwe kiba kityo, ojja kuganyulwa nnyo mu kwekenneenya ebyo ebikwata ku Abusaalomu mutabani wa Kabaka Dawudi, eyalyamu kitaawe olukwe era n’agezaako okwezza obwakabaka.​—2 Sam. 15:5-14, 31; 18:6-14.

8. Kiki ky’oyinza okukola Yakuwa okukuyamba?

8 (1Saba. Ng’olowooza ku ebyo ebikwata ku Dawudi ne Abusaalomu, buulira Yakuwa engeri gy’owuliramu olw’engeri embi gye wayisibwamu. (Zab. 6:6-9) Mubuulire ddala ekikuli ku mutima. Oluvannyuma saba Yakuwa akuyambe okulaba emisingi egisobola okukuyamba okwaŋŋanga embeera eyo enzibu.

9. Mu bufunze, kiki ekyaliwo wakati wa Dawudi ne Abusaalomu?

9 (2Kuba akafaananyi. Lowooza ku ebyo ebyaliwo ne ku ngeri gye byakwata ku Kabaka Dawudi. Abusaalomu mutabani wa Dawudi yamala emyaka ng’asendasenda abantu bamwagale. (2 Sam. 15:7) Abusaalomu bwe yalaba nga kati kye kyali ekiseera ekituufu okutuukiriza kye yali ayagala, yasindika abakessi mu Isirayiri yonna bateeketeeke abantu okumukkiriza okuba kabaka waabwe. Yatuuka n’okusendasenda Akisoferi eyali omu ku mikwano gya Dawudi egy’oku lusegere era omu ku bawi b’amagezi be n’amwegattako mu lukwe lwe yakola. Abusaalomu yeerangirira ku bwakabaka era n’agezaako okukwata Dawudi amutte. Mu kiseera ekyo Dawudi ayinza okuba nga yali mulwadde nnyo. (Zab. 41:1-9) Dawudi bwe yamanya ku lukwe olwo, yadduka mu Yerusaalemi. Oluvannyuma eggye lya Abusaalomu lyalwanagana n’eggye lya Dawudi. Eggye lya Abusaalomu lyawangulwa era Abusaalomu n’attibwa.

10. Kabaka Dawudi yali ayinza kweyisa atya?

10 Kati ate lowooza ku ngeri Dawudi gy’ayinza okuba nga yawuliramu ng’ebyo byonna bigenda mu maaso. Yali ayagala nnyo Abusaalomu era yali yeesiga nnyo Akisoferi. Kyokka bombi baamulyamu olukwe. Baamuleetera ennaku ey’amaanyi era baagezaako n’okumutta. Dawudi yali ayinza okulekera awo okwesiga mikwano gye emirala ng’abateebereza okuba nti nabo bawagira Abusaalomu. Yali asobola okulekera awo okwesiga omuntu yenna era n’adduka yekka. Oba yali ayinza okuggweramu ddala essuubi. Naye tewali na kimu ku bintu ebyo Dawudi kye yakola. Yasobola okwaŋŋanga obulungi embeera eyo. Lwaki yasobola okuggyaŋŋanga?

11. Biki Dawudi bye yakola mu mbeera eyo enzibu?

11 (3Fumiitiriza. Biki by’oyinza okuyigira ku ebyo ebyaliwo? Ddamu ekibuuzo kino, “Biki Dawudi bye yakolawo okwaŋŋanga embeera eyo enzibu?” Dawudi teyabuguutana kutuuka kusalawo mu ngeri etali ya magezi. Ate era teyakkiriza kutya kumuleetera kulemwa kubaako ky’akolawo mu bwangu. Mu kifo ky’ekyo, yasaba Yakuwa amuyambe. Yasaba ne mikwano gye okumuyamba. Ate era yakolera mangu ku ebyo bye yasalawo. Wadde nga Dawudi yafuna obulumi bungi ku mutima. Teyalekera awo kwesiga balala era teyafuna bukyayi. Yeeyongera okwesiga Yakuwa ne mikwano gye.

12. Yakuwa yayamba atya Dawudi?

12 Yakuwa yayamba atya Dawudi? Bw’onoonyereza, ojja kukiraba nti Yakuwa yawa Dawudi amaanyi okusobola okugumira ekizibu ekyo. (Zab. 3:1-8; obugambo obuli waggulu) Yakuwa yawa omukisa ebyo Dawudi bye yasalawo. Ate era yayamba ne mikwano gya Dawudi abeesigwa bwe baali balwana okukuuma kabaka waabwe.

13. Oyinza otya okukoppa Dawudi singa wabaawo omuntu akoze ekintu ekikulumya? (Matayo 18:15-17)

13 (4Kolera ku by’oyize. Weebuuze, ‘Nnyinza ntya okukoppa Dawudi?’ Olina okubaako ky’okolawo mu bwangu okugonjoola ekizibu. Okusinziira ku mbeera ebaawo, oyinza okukolera ku magezi Yesu ge yawa agali mu Matayo essuula 18. (Soma Matayo 18:15-17.) Naye tosaanidde kwanguyiriza kusalawo ng’okyaliko obusungu. Saba Yakuwa akuwe emirembe ku mutima n’amagezi ge weetaaga okusobola okwaŋŋanga embeera eyo. Tolekera awo kwesiga mikwano gyo. Mu kifo ky’ekyo, kkiriza obuyambi bwe bakuwa. (Nge. 17:17) N’ekisinga obukulu, kolera ku magezi Yakuwa g’akuwa mu Kigambo kye.​—Nge. 3:5, 6.

BIKI BY’OSOBOLA OKUYIGIRA KU PAWULO?

14. Mbeera ki eziyinza okukwetaagisa okwekenneenya 2 Timoseewo 1:12-16; 4:6-11, 17-22?

14 Ab’eŋŋanda zo bakuyigganya? Oba mu nsi gy’olimu, omulimu gw’abantu ba Yakuwa gukugirwa nnyo oba gwawerebwa? Bwe kiba kityo, ebyo ebiri mu 2 Timoseewo 1:12-16 ne 4:6-11, 17-22 * bisobola okukuzzaamu amaanyi. Ebiri mu nnyiriri ezo Pawulo yabiwandiika ali mu kkomera.

15. Kiki ky’oyinza okusaba Yakuwa?

15 (1Saba. Nga tonnasoma nnyiriri ezo, tegeeza Yakuwa ekizibu kyo n’engeri gy’owuliramu. Mubuulire ekyo kyennyini ekikuli ku mutima. Oluvannyuma saba Yakuwa akuyambe okulaba emisingi egiri mu ebyo by’osoma ku mbeera Pawulo gye yalimu eginaakuyamba okumanya ky’oyinza okukola mu mbeera yo.

16. Mu bufunze, nnyonnyola embeera Pawulo gye yalimu?

16 (2Kuba akafaananyi. Kuba akafaananyi ng’oli mu mbeera Pawulo gye yalimu. Yali mu kkomera mu Rooma era ng’asibiddwa mu njegere. Emabegako yali yasibibwako naye ku luno yali mukakafu nti yali agenda kuttibwa. Abamu ku banne baali bamwabulidde era yali mukoowu mu mubiri.​—2 Tim. 1:15.

17. Pawulo yali ayinza kweyisa atya?

17 Pawulo yali asobola okumalira ebirowoozo bye ku bintu eby’emabega, n’agamba nti singa yali taweerezza Yakuwa na bunyiikivu oboolyawo teyandisibiddwa. Yali asobola okusalawo okunyiigira abo abaamwabulira mu Asiya era yali asobola okulekera awo okwesiga mikwano gye emirala. Naye tewali na kimu ku ebyo Pawulo bye yakola. Kiki ekyamuyamba okusigala nga mugumu era ng’alina essuubi?

18. Biki Pawulo bye yakola okusobola okwaŋŋanga embeera eyo enzibu?

18 (3Fumiitiriza. Ddamu ekibuuzo kino: “Biki Pawulo bye yakola okusobola okwaŋŋanga embeera enzibu gye yalimu?” Wadde nga Pawulo yali akimanyi nti yali anaatera okuttibwa, teyeerabira nsonga eno enkulu: okuleetera erinnya lya Yakuwa ettendo. Era yeeyongera okulowooza ku ngeri gye yali ayinza okuzzaamu abalala amaanyi. Ate era yasabanga Yakuwa obutayosa. (2 Tim. 1:3) Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo bye ku abo abaamwabulira, yakiraga nti yali asiima nnyo mikwano gye abalina kye baakolawo okumuyamba. Ate era Pawulo yeeyongera okusoma Ekigambo kya Katonda. (2 Tim. 3:16, 17; 4:13) N’ekisinga obukulu, yali mukakafu ddala nti Yakuwa ne Yesu baali bamwagala. Baali tebamwabulidde era baali bajja kumuwa empeera olw’okuweereza n’obwesigwa.

19. Yakuwa yayamba atya Pawulo?

19 Yakuwa yali yagamba Pawulo nti yali ajja kuyigganyizibwa olw’okuba Omukristaayo. (Bik. 21:11-13) Yakuwa yayamba atya Pawulo? Yaddangamu okusaba kwa Pawulo era yamuwa amaanyi. (2 Tim. 4:17) Pawulo yali mukakafu nti yali ajja kufuna empeera gye yali akoleredde ennyo. Yakuwa era yaleetera mikwano gya Pawulo abeesigwa okubaako ebintu bye bakola okumuyamba.

20. Okusinziira ku Abaruumi 8:38, 39, oyinza otya okukoppa Pawulo?

20 (4Kolera ku by’oyize. Weebuuze, ‘Nnyinza ntya okukoppa Pawulo?’ Okufaananako Pawulo tusaanidde okukimanya nti tujja kuyigganyizibwa olw’okukkiriza kwaffe. (Mak. 10:29, 30) Okusobola okusigala nga tuli beesigwa nga tugezesebwa, tusaanidde okunyiikirira okusaba Yakuwa n’okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa. Era bulijjo tulina okukijjukiranga nti ekimu ku bintu ebisinga obukulu kye tuyinza okukola kwe kuleetera Yakuwa ettendo. Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa tasobola kutwabulira era nti tewali kintu muntu yenna ky’asobola kukola kuleetera Yakuwa kulekera awo kutwagala.​—Soma Abaruumi 8:38, 39; Beb. 13:5, 6.

YIGIRA NE KU BANTU ABALALA ABOOGERWAKO MU BAYIBULI

21. Kiki ekyayamba Aya ne Hector okwaŋŋanga embeera enzibu ze baayolekagana nazo?

21 Ka tube nga twolekagana na mbeera ki, ebyo bye tusoma ku bantu aboogerwako mu Bayibuli bisobola okutunyweza. Ng’ekyokulabirako, payoniya ayitibwa Aya abeera mu Japan agamba nti ebyo ebikwata ku Yona byamuyamba okulekera awo okutya okubuulira mu bifo ebya lukale. Omuvubuka ayitibwa Hector abeera mu Indonesia, alina abazadde abataweereza Yakuwa, ekyokulabirako kya Luusi kimuleetera okwagala okweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumuweereza.

22. Oyinza otya okuganyulwa mu bujjuvu mu mizannyo egyesigamiziddwa ku Bayibuli oba mu ebyo ebiri mu kitundu “Koppa Okukkiriza Kwabwe”?

22 Wa w’oyinza okuggya ebyokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli ebisobola okukuzzaamu amaanyi? Vidiyo zaffe, emizannyo egy’okuwuliriza, n’ebyo ebiri mu kitundu “Koppa Okukkiriza Kwabwe” bisobola okukuyamba okukuba akafaananyi ku bintu ebyogerwako mu Bayibuli. * Nga tonnalaba, nga tonnawuliriza, oba nga tonnasoma bintu ebyo ebyanoonyerezebwako obulungi, saba Yakuwa akuyambe okulabamu ensonga z’osobola okukolerako. Weeteeke mu bigere by’omuntu aba ayogerwako. Fumiitiriza ku bintu abaweereza ba Yakuwa abo bye baakola n’engeri Yakuwa gye yabayamba okwaŋŋanga ebizibu. Oluvannyuma laba engeri gy’oyinza okukolera ku ebyo by’oba oyize. Weebaze Yakuwa olw’engeri gy’akuyambyemu. Ate era laga nti osiima obuyambi bw’akuwadde ng’okozesa akakisa konna k’ofuna okuzzaamu abalala amaanyi n’okubayamba.

23. Okusinziira ku Isaaya 41:10, 13, kiki Yakuwa ky’atusuubiza okutukolera?

23 Obulamu mu nsi eno efugibwa Sitaani bujjudde ebizibu era oluusi tuyinza okuwulira nga bituyitiriddeko. (2 Tim. 3:1) Naye tetusaanidde kweraliikirira oba kutya. Yakuwa amanyi bye tuyitamu. Bwe tuba twolekagana n’ebizibu, asuubiza okutuwanirira n’omukono gwe ogwa ddyo ogw’amaanyi. (Soma Isaaya 41:10, 13.) Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba, era Ebyawandiikibwa bituyamba okufuna amaanyi ge twetaaga okusobola okugumira ekizibu kyonna.

OLUYIMBA 96 Ekitabo kya Katonda​—Kya Bugagga

^ lup. 5 Ebyawandiikibwa bingi mu Bayibuli biraga nti Yakuwa ayagala nnyo abaweereza be era abayamba nga boolekagana n’ebizibu. Ekitundu kino kiraga engeri gy’oyinza okwesomesaamu Bayibuli mu ngeri eneekuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu byawandiikibwa by’osoma.

^ lup. 2 Enkola ey’okwesomesa eyogeddwako wano y’emu ku nkola z’oyinza okukozesa. Enkola endala ez’okwesomesa Bayibuli zisangibwa mu Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, wansi w’omutwe omunene “Bayibuli” era wansi w’omutwe omutono “Okusoma Bayibuli n’Okugitegeera.”

^ lup. 14 Ebyawandiikibwa bino temubisoma nga musoma Omunaala gw’Omukuumi ng’ekibiina.

^ lup. 22 Laba ekitundu “Koppa Okukkiriza Kwabwe” ku jw.org.