Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 10

Ffenna mu Kibiina, ka Tuyambe Abayizi ba Bayibuli Okukulaakulana Babatizibwe

Ffenna mu Kibiina, ka Tuyambe Abayizi ba Bayibuli Okukulaakulana Babatizibwe

“Buli kitundu bwe kikola omulimu gwakyo obulungi, omubiri gukula.”​—BEF. 4:16.

OLUYIMBA 85 Musembezaganye

OMULAMWA *

1-2. Baani abasobola okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukulaakulana n’atuuka okubatizibwa?

AMY abeera mu Fiji agamba nti: “Nnali njagala nnyo bye nnali njiga mu Bayibuli, nnali nkiraba nti ge mazima, naye nnamala kutandika kukuŋŋaana wamu n’ab’oluganda ne ndyoka nkola enkyukakyuka ezeetaagisa ne nkulaakulana okutuuka ku kubatizibwa.” Ekyo kituyigiriza ekintu kino ekikulu: Emirundi mingi omuyizi wa Bayibuli bw’ayambibwako abalala mu kibiina, akulaakulana.

2 Buli mubuulizi alina ky’asobola okukolawo okuyamba abantu okwegatta ku kibiina. (Bef. 4:16) Payoniya ayitibwa Leilani abeera mu Vanuatu agamba nti: “Waliwo enjogera egamba nti, omwana akuzibwa ekyalo kyonna. Nkiraba nti bwe kityo bwe kiri ne ku kufuula abantu abayigirizwa; omuntu okujja mu mazima, ayambibwa ekibiina kyonna.” Ab’omu maka omwana mw’ava, ab’emikwano, n’abasomesa bonna babaako ne kye bakolawo okuyamba omwana okukula. Kino bakikola nga bazzaamu omwana amaanyi, era nga bamuyigiriza ebintu ebikulu. Mu ngeri y’emu, ababuulizi mu kibiina bawa omuyizi wa Bayibuli amagezi, bamuzzaamu amaanyi, era bamuteerawo ekyokulabirako ekirungi, ne kimuyamba okukulaakulana okutuuka ku kubatizibwa.​—Nge. 15:22.

3. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyayogerwa Ana, Dorin, ne Leilani?

3 Lwaki omubuulizi alina omuntu gw’ayigiriza Bayibuli asaanidde okukkiriza obuyambi ababuulizi abalala bwe bamuwa? Weetegereze ekyo Ana, payoniya ow’enjawulo abeera mu Moldova, ky’agamba: “Omuyizi wa Bayibuli bw’atandika okukulaakulana, kiba kizibu omuntu omu okukola ku byetaago bye byonna.” Dorin, payoniya ow’enjawulo naye aweereza mu nsi eyo agamba nti: “Emirundi mingi ababuulizi abalala babaako ekintu kye boogera ekikwata ku mutima gw’omuyizi, era ng’ekintu ekyo mba sikirowoozangako.” Ate ye Leilani agamba nti: “Okwagala n’omukwano ebiragibwa omuyizi wa Bayibuli, bimuyamba okumanya nti ddala ali mu bantu ba Yakuwa​—Yok. 13:35.

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Nnyinza ntya okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukulaakulana nga si nze mmuyigiriza?’ Tugenda kulaba kye tusaanidde okukola singa wabaawo atuyita okugenda naye okuyigiriza omuntu Bayibuli ne kye tusobola okukola ng’omuyizi wa Bayibuli atandise okujja mu nkuŋŋaana. Ate era tugenda kulaba engeri abakadde gye basobola okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukulaakulana okutuuka okubatizibwa.

BW’OWEREKERAKO OMULALA KU MUYIZI WA BAYIBULI

Bw’oba olina gw’ogenda okuwerekerako ku muyizi we owa Bayibuli, tegeka ebyo bye muba mugenda okuyigiriza (Laba akatundu 5-7)

5. Buvunaanyizibwa ki bw’oba olina ng’owerekeddeko omulala ku muyizi we owa Bayibuli?

5 Okusingira ddala omusomesa w’omuyizi y’avunaanyizibwa okuyamba omuyizi okutegeera Ekigambo kya Katonda. Omubuulizi bw’akuyita omuwerekereko ku muyizi we, osaanidde okukimanya nti oba ogenda kukolera wamu naye. Obuvunaanyizibwa bwo bwa kumuyambako. (Mub. 4:9, 10) Naye biki by’oyinza okukola okuba omuyambi omulungi nga muyigiriza omuntu Bayibuli?

6. Bw’oba ogenda kuwerekerako omubuulizi ku muyizi we owa Bayibuli, oyinza otya okukolera ku musingi oguli mu Engero 20:18?

6 Weeteeketeeke nga temunnagenda kuyigiriza. Okusookera ddala, buuza omubuulizi akubuulire ebimu ebikwata ku muyizi we owa Bayibuli. (Soma Engero 20:18.) Oyinza okumubuuza nti: “Mbuulira ebimu ebikwata ku muyizi wo? Kiki kye mugenda okusomako? Kiruubirirwa ki ky’oyagala okutuukako ng’omusomesa essomo lino? Waliwo ekintu kyonna kye nsaanidde oba kye sisaanidde kukola oba kwogera nga tumuyigiriza? Kiki ekiyinza okumuzzaamu amaanyi asobole okukulaakulana?” Kya lwatu nti omusomesa tajja kukubuulira bintu eby’omunda ebikwata ku muyizi we, naye ebyo by’akubuulira bijja kukuyamba okwetegeka. Omuminsani ayitibwa Joy ekyo ky’akola ng’alina gw’agenda okutwala ku muyizi we owa Bayibuli. Agamba nti: “Bwe nsooka okwogerako n’oyo gwe ŋŋenda naye ku bintu ebyo, kimuleetera okwagala okuyamba omuyizi wange n’okumanya by’ayinza okwogera nga tuyigiriza.”

7. Lwaki bw’oba ogenda kuwerekerako omuntu ku muyizi we owa Bayibuli osaanidde okutegeka?

7 Bw’oba ogenda kuwerekerako omulala ku muyizi we, kiba kirungi naawe okutegeka ebyo bye muba mugenda okuyigiriza. (Ezer. 7:10) Ow’oluganda Dorin, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Kinsanyusa nnyo oyo aba agenda okumperekerako ku muyizi wange bw’ategeka ebyo bye tuba tugenda okuyigiriza. Bw’akola bw’atyo, aba asobola okwenyigira mu kuyigiriza mu ngeri eganyula omuyizi.” Ate era omuyizi ayinza okukiraba nti, mwembi mweteeseteese bulungi, era ekyo kimuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Ne bwe kiba nti tofunye biseera bimala kutegeka ebyo bye muba mugenda okusomesa, waakiri biyitemu osobole okufuna ensonga enkulu.

8. Osobola otya okukakasa nti essaala gy’osaba nga muli ku muyizi wa Bayibuli ya makulu?

8 Okusaba kikulu nnyo nga tugenze okuyigiriza omuntu Bayibuli. N’olwekyo bw’osabibwa okukulembera mu kusaba, fumiitiriza ku ebyo by’onooyogerako. Bw’okola bw’otyo, essaala yo ejja kuba ya makulu. (Zab. 141:2) Hanae abeera mu Japan, akyajjukira essaala mwannyinaffe omu gye yasaba bwe yali ng’aweerekeddeko oyo eyali amuyigiriza Bayibuli. Agamba nti: “Nnakiraba nti yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era nnawulira nga nange njagala kuba nga ye. Ate bwe yayogera ku linnya lyange ng’asaba, nnawulira nga njagalibwa.”

9. Okusinziira ku Yakobo 1:19, kiki ky’oyinza okukola okusobola okubeera omuyambi omulungi ku muyizi wa Bayibuli?

9 Yamba omusomesa ng’ayigiriza omuyizi we. Payoniya ow’enjawulo ayitibwa Omamuyovbi abeera mu Nigeria agamba nti: “Omuyambi omulungi agoberera ng’oyigiriza. Abaako by’ayogera ebizimba, naye tayogera nnyo ng’akimanyi nti omusomesa y’alina okuwoma omutwe mu kuyigiriza.” Kati olwo ddi lw’oyinza okubaako ky’oyogera era kiki ky’oyinza okwogera nga muli ku muyizi wa Bayibuli? (Nge. 25:11) Wuliriza bulungi ng’omusomesa n’omuyizi boogera. (Soma Yakobo 1:19.) Bw’okola bw’otyo, ojja kusobola okuyambako we kiba kyetaagisa. Kya lwatu nti olina okukozesa amagezi. Ng’ekyokulabirako, tojja kwogera kisusse oba kusala musomesa kirimi ng’alina ensonga gy’annyonnyola oba okuleeta ensonga endala etakwatagana na kye muyigiriza. Naye bw’obaako ky’oyogera mu bumpimpi, bw’owaayo ekyokulabirako, oba bw’obuuza ekibuuzo, oyinza okuyambako mu kutangaaza ensonga eba eyigirizibwa. Emirundi egimu oyinza okuwulira nga tolina kya maanyi ky’oyinza kwongera ku nsonga eba eyogerwako. Naye bw’osiima omuyizi era n’olaga nti omufaako, kirina kinene kye kiyinza okukola okumuyamba okukulaakulana.

10. Ebyo bye wayitamu biyinza bitya okuyamba omuyizi wa Bayibuli?

10 Mubuulire ku bye wayitamu. Bwe kiba nga kituukirawo, mu bumpimpi oyinza okubuulira omuyizi engeri gye wayigamu amazima, engeri gye wavvuunukamu ekizibu ekimu, oba engeri gy’olabyemu omukono gwa Yakuwa mu bulamu bwo. (Zab. 78:4, 7) Ebyo bye wayitamu biyinza okuba ng’omuyizi bye yeetaaga okuwulira. Biyinza okunyweza okukkiriza kwe, oba biyinza okumuyamba okweyongera okukulaakulana n’atuuka okubatizibwa. Era biyinza okumuyamba okulaba engeri gy’ayinza okuvvuunukamu ekizibu ekimu ky’ayolekagana nakyo. (1 Peet. 5:9) Gabriel abeera mu Brazil era kati aweereza nga payoniya, ajjukira ekyamuyamba bwe yali ng’ayiga Bayibuli. Agamba nti: “Bwe nnawulira ku ebyo ab’oluganda bye baali bayiseemu, kyannyamba okukiraba nti Yakuwa alaba ebizibu bye tuba tuyitamu. Okuba nti baasobola okubivvuunuka, kyandaga nti nange nnali nsobola okubivvuunuka.”

OMUYIZI BW’AJJA MU NKUŊŊAANA

Ffenna tusobola okukubiriza omuyizi wa Bayibuli okweyongera okujjanga mu nkuŋŋaana (Laba akatundu 11)

11-12. Lwaki tulina okwaniriza n’essanyu omuyizi wa Bayibuli aba azze mu lukuŋŋaana?

11 Omuyizi wa Bayibuli okusobola okukulaakulana okutuuka ku kubatizibwa, alina okubangawo mu nkuŋŋaana obutayosa, n’okuziganyulwamu. (Beb. 10:24, 25) Emirundi mingi, omusomesa we y’amuyita mu lukuŋŋaana olusooka. Bw’ajja, ffenna tusobola okumukubiriza okweyongera okujjanga mu nkuŋŋaana. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

12 Yaniriza omuyizi n’essanyu. (Bar. 15:7) Omuyizi bw’ayanirizibwa obulungi, ayinza okwagala okweyongera okujjanga mu nkuŋŋaana. Awatali kumuleetera kuggweebwako mirembe, mubuuze n’ebbugumu era mwanjule eri abalala. Tokitwala nti abalala bamufaako; omusomesa we ayinza okubaako ebimukutte oba ng’alina obuvunaanyizibwa obulala bw’akyatuukiriza. Ssaayo omwoyo ku ebyo omuyizi wa Bayibuli by’ayogera, era kirage nti omufaako. Bw’omwaniriza n’essanyu kiyinza kumukwatako kitya? Lowooza ku Dmitrii, eyabatizibwa emyaka mitono emabega, era kati aweereza ng’omuweereza mu kibiina. Ng’ayogera ku lukuŋŋaana lwe yasooka okujjamu, agamba nti: “Ow’oluganda yandaba nga ndi wabweru w’Ekizimbe ky’Obwakabaka nga ndimu okutya, n’ajja n’annyingiza munda. Bangi bajja ne bambuuzaako. Ekyo kyansanyusa nnyo ne kiba nti nnawulira nga nnandyagadde buli lunaku wabeewo enkuŋŋaana. Nnali saanirizibwangako mu ngeri ng’eyo.”

13. Enneeyisa yo eyinza kukwata etya ku muyizi wa Bayibuli?

13 Ssaawo ekyokulabirako ekirungi. Enneeyisa yo eyinza okuviirako omuyizi wa Bayibuli okuba omukakafu nti azudde amazima. (Mat. 5:16) Vitalii, aweereza nga payoniya mu Moldova agamba nti: “Nneetegereza engeri abo abali mu kibiina gye baali batambuzaamu obulamu bwabwe n’engeri gye baali beeyisaamu. Ekyo kyandeetera okuba omukakafu nti ddala Abajulirwa ba Yakuwa batambula ne Katonda.”

14. Ekyokulabirako ky’ossaawo kiyinza kitya okuyamba omuntu okweyongera okukulaakulana?

14 Okusobola okubatizibwa, omuyizi alina okuba ng’akolera ku ebyo by’ayiga. Ekyo oluusi tekiba kyangu. Naye omuyizi bw’alaba engeri gy’oganyulwa mu kukolera ku misingi gya Bayibuli, kiyinza okumuleetera okwagala okukukoppa. (1 Kol. 11:1) Lowooza ku Hanae, eyayogeddwako waggulu. Agamba nti: “Ab’oluganda mu kibiina baali bakolera ku ebyo bye baali banjigiriza. Nnalaba engeri gye nnali nsobola okuba omuntu azzaamu abalala amaanyi, asonyiwa, era n’engeri gye nnali nsobola okwolekamu okwagala. Baayogeranga bulungi ku balala. Nnali njagala okubakoppa.”

15. Engero 27:17 walaga watya nti omuyizi wa Bayibuli bwe yeeyongera okujja mu nkuŋŋaana tusaanidde okumufuula mukwano gwaffe?

15 Omuyizi mufuule mukwano gwo. Omuyizi bwe yeeyongera okujja mu nkuŋŋaana, weeyongere okukiraga nti omufaako. (Baf. 2:4) Nyumyako naye. Awatali kumuyingirira nnyo, oyinza okumwebaza olw’enkyukakyuka yonna gy’aba akoze, era oyinza okumubuuza ebikwata ku kusoma kwe, ku b’omu maka ge, ne ku mulimu gwe. Bw’onyumya naye ku bintu ng’ebyo, kiyinza okubafuula ab’omukwano. Omuyizi bw’omufuula mukwano gwo, kiyinza okumuyamba okukulaakulana n’atuuka okubatizibwa. (Soma Engero 27:17.) Hanae kati aweereza nga payoniya owa bulijjo bw’aba ayogera ku kiseera we yatandikira okujja mu nkuŋŋaana agamba nti: “Bwe nnafuna emikwano mu kibiina, nnatandika okwesunganga enkuŋŋaana, era nnazijjangamu ne bwe nnabanga nkoye. Nnanyumirwa okubeerangako awamu ne mikwano gyange emipya gye nnali nfunye, era ekyo kyannyamba okulekayo emikwano egyali gitasinza Yakuwa. Nnali njagala okweyongera okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa awamu ne baganda bange. N’olwekyo, nnasalawo okubatizibwa.”

16. Kiki ekirala ky’oyinza okukola okuleetera omuyizi wa Bayibuli okuwulira nti musanyufu okuba mu kibiina?

16 Omuyizi bwe yeeyongera okukulaakulana n’okukola enkyukakyuka, muyambe okuwulira nti naye wa mu kibiina. Ekyo oyinza okukikola ng’omusembeza. (Beb. 13:2) Ng’ajjukira ekiseera we yali ayigira Bayibuli, Denis aweereza mu Moldova agamba nti: “Emirundi mingi ab’oluganda baatuyitanga nze ne mukyala wange okubeerako awamu nabo. Baatunyumizanga ku ngeri Yakuwa gye yabanga abayambyemu. Ekyo kyatuzzaamu nnyo amaanyi. Kyatuleetera okuwulira nga naffe twagala okuweereza Yakuwa, era nti obwo bwe bulamu obusingayo obulungi.” Omuyizi wa Bayibuli bw’afuuka omubuulizi, oyinza okumusaba obuulireko wamu naye. Ow’oluganda Diego abeera mu Brazil agamba nti: “Ab’oluganda bangi bansaba okubuulirako wamu nabo. Ekyo kyannyamba okubamanya obulungi. Nnabayigirako ebintu bingi, era ekyo kyannyamba okweyongera okusemberera Yakuwa ne Yesu.”

ABAKADDE BAYINZA BATYA OKUYAMBA ABAYIZI?

Abakadde bwe mukiraga nti mufaayo ku bayizi, kisobola okubayamba okukulaakulana (Laba akatundu 17)

17. Abakadde bayinza batya okuyamba abayizi ba Bayibuli?

17 Abayizi ba Bayibuli mubaweeyo ku budde. Abakadde, okwagala kwe mulaga abayizi ba Bayibuli kusobola okubayamba okukulaakulana ne batuuka okubatizibwa. Osobola okuffissangawo akadde okwogerako n’abayizi ba Bayibuli nga bazze mu nkuŋŋaana? Bajja kukiraba nti obafaako, singa ojjukira amanya gaabwe, naddala ng’obalonda okubaako kye baddamu. Osobola okukola enteekateeka okuwerekerangako ababuulizi nga bagenda okuyigiriza abayizi baabwe? Ekyo kiyinza okuyamba abayizi ba Bayibuli okusinga ne bw’obadde osuubira. Payoniya ayitibwa Jackie abeera mu Nigeria agamba nti: “Abayizi ba Bayibuli bangi beewuunya nnyo bwe bamanya nti ow’oluganda aba amperekeddeko okubayigiriza mukadde mu kibiina. Omu ku bayizi bange yagamba nti: ‘Ekyo pasita wange tasobola kukikola. Akyalira bagagga bokka, ate nga bamaze kumusasula!’” Omuyizi oyo kati ajja mu nkuŋŋaana.

18. Abakadde bayinza batya okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 20:28?

18 Mutendeke ababuulizi era mubazzeemu amaanyi. Abakadde, mulina obuvunaanyizibwa bwa maanyi okuyamba ababuulizi okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe, nga mwe muli n’okubayamba okuba abayigiriza abalungi. (Soma Ebikolwa 20:28.) Omubuulizi bw’aba ng’atya okuyigiriza omuntu Bayibuli ng’oli naye, mugambe nti gwe ojja okuyigiriza. Jackie eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Abakadde batera okumbuuza ebikwata ku bayizi bange aba Bayibuli. Bwe nsanga obuzibu mu kuyigiriza omuntu Bayibuli, bampa amagezi amalungi.” Abakadde balina kinene kye bayinza okukola okuzzaamu ababuulizi amaanyi. (1 Bas. 5:11) Jackie era agamba nti: “Kinsanyusa nnyo abakadde bwe banzizaamu amaanyi era ne baŋŋamba nti basiima okufuba kwange. Ebigambo ebyo biba ng’amazzi agannyogoga ge mba nnywedde ku lunaku olw’akasana. Ebigambo byabwe bindeetera okuwulira nti omulimu gwe nkola ogw’okuyigiriza abantu Bayibuli mulungi, era nneeyongera okufuna essanyu mu mulimu ogwo.”​—Nge. 25:25.

19. Ssanyu ki ffenna lye tuyinza okufuna?

19 Ne bwe kiba nti mu kiseera kino tetulina muntu gwe tuyigiriza Bayibuli, tusobola okuyamba omuntu okukulaakulana mu by’omwoyo. Bwe tweteekateeka obulungi, tusobola okuyamba omusomesa okuyigiriza obulungi omuyizi we owa Bayibuli awatali kwogera kisukkiridde. Abayizi bwe bajja mu nkuŋŋaana, tusobola okubafuula mikwano gyaffe, era tusobola okubateerawo ekyokulabirako ekirungi. Abakadde basobola okuzzaamu abayizi amaanyi nga babafissizaayo ku kadde, era basobola okuzzaamu ababuulizi amaanyi nga babatendeka era nga babasiima. Mazima ddala kituleetera essanyu lingi bwe tubaako ekintu kye tukoze ka kibe kitono kitya okuyamba omuntu okwagala Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu n’okumuweereza.

OLUYIMBA 79 Mubayigirize Basobole Okuba Abanywevu

^ lup. 5 Abamu ku ffe mu kiseera kino tetulina muntu gwe tuyigiriza Bayibuli. Naye ffenna tusobola okuyamba omuntu okukulaakulana n’atuuka okubatizibwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri buli omu ku ffe gy’asobola okuyamba omuyizi wa Bayibuli n’atuuka okubatizibwa.