Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 13

Yakuwa Akukuuma Atya?

Yakuwa Akukuuma Atya?

“Mukama waffe mwesigwa, ajja kubanyweza era abakuume okuva eri omubi.”​—2 BAS. 3:3.

OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa

OMULAMWA *

1. Lwaki Yesu yasaba Yakuwa okukuuma abayigirizwa be?

MU KIRO ekyasembayo amale attibwe, Yesu yali alowooza ku bizibu abayigirizwa be bye baali bagenda okwolekagana nabyo. Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo mikwano gye, yasaba Kitaawe ‘abakuume olw’omubi.’ (Yok. 17:14, 15) Yesu yali akimanyi nti bwe yandimaze okuddayo mu ggulu, Sitaani yandyeyongedde okulwanyisa abo bonna abaagala okuweereza Yakuwa. Kyeyoleka lwatu nti abantu ba Yakuwa bandibadde beetaaga okukuumibwa.

2. Kiki kye tusaanidde okukola Yakuwa okuddamu okusaba kwaffe?

2 Yakuwa yaddamu okusaba kw’Omwana we Yesu kubanga amwagala nnyo. Naffe bwe tufuba okusanyusa Yakuwa, ajja kutwagala era bwe tunaamusaba okutuyamba n’okutukuuma, ajja kuddamu okusaba kwaffe. Olw’okuba Yakuwa ayagala ab’omu maka ge, ajja kweyongera okubalabirira. Akimanyi nti bw’atabalabirira, kireeta ekivume ku linnya lye!

3. Lwaki twetaaga nnyo obukuumi bwa Yakuwa leero?

3 Leero twetaaga nnyo Yakuwa okutukuuma. Sitaani yagobwa mu ggulu era “alina obusungu bungi.” (Kub. 12:12) Asobodde okuleetera abamu ku abo abatuyigganya okulowooza nti bwe batuyigganya, baba ‘baweereza Katonda.’ (Yok. 16:2) Abalala abatakkiririza mu Katonda batuyigganya olw’okuba tetweyisa nga bantu abalala mu nsi bwe beeyisa. K’ebe nsonga ki ereetera abantu okutuyigganya, tetusaanidde kutya. Lwaki? Kubanga Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Mukama waffe mwesigwa, ajja kubanyweza era abakuume okuva eri omubi.” (2 Bas. 3:3) Yakuwa atukuuma atya? Ka tulabeyo engeri bbiri gy’atukuumamu.

YAKUWA ATUWADDE EBY’OKULWANYISA

4. Okusinziira ku Abeefeso 6:13-17, kiki Yakuwa ky’atuwadde okusobola okutukuuma?

4 Yakuwa atuwadde eby’okulwanyisa ebisobola okutukuuma nga tulumbiddwa Sitaani. (Soma Abeefeso 6:13-17.) Eby’okulwanyisa ebyo eby’omwoyo bya maanyi era bikola bulungi! Naye okusobola okutukuuma, tulina okuba nga byonna tubyambadde buli kiseera. Buli kimu ku by’okulwayisa ebyo kikiikirira ki? Ka tubyekenneenye.

5. Olukoba olw’amazima kye ki, era lwaki tulina okulwesiba?

5 Olukoba olw’amazima lukiikirira amazima agali mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli. Lwaki tulina okwesiba olukoba olwo? Kubanga Sitaani ye “kitaawe w’obulimba.” (Yok. 8:44) Amaze emyaka nkumi na nkumi ng’alimba era okulimba akukuguseemu. Mu butuufu, abuzaabuza “ensi yonna”! (Kub. 12:9) Naye amazima agali mu Bayibuli gatukuuma ne tutalimbibwa. Twesiba tutya olukoba olw’amazima? Tulwesiba nga tuyiga amazima agakwata ku Yakuwa, nga tumusinza mu “mwoyo n’amazima,” era nga tuba beesigwa mu bintu byonna.​—Yok. 4:24; Bef. 4:25; Beb. 13:18.

Olukoba: Amazima agali mu Kigambo kya Katonda

6. Eky’omu kifuba eky’obutuukirivu kye ki, era lwaki tulina okukyambala?

6 Eky’omu kifuba eky’obutuukirivu kikiikirira emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Lwaki tusaanidde okukyambala? Ng’eky’omu kifuba bwe kikuuma omutima gw’omusirikale ne gutafumitibwa, eky’omu kifuba eky’obutuukirivu kikuuma emitima gyaffe egy’akabonero, oba ekyo kye tuli munda, ne gitoonoonebwa nsi ya Sitaani. (Nge. 4:23) Yakuwa atusuubira okumwagala n’okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. (Mat. 22:36, 37) N’olwekyo, Sitaani agezaako okutuleetera obutaweereza Yakuwa na mutima gwaffe gwonna ng’afuba okutuleetera okwagala ebintu ebiri mu nsi Yakuwa by’akyawa. (Yak. 4:4; 1 Yok. 2:15, 16) Akakodyo ako bwe katamukolera, agezaako okututiisatiisa tuve ku mitindo gya Yakuwa.

Eky’omu kifuba: Emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu

7. Twambala tutya eky’omu kifuba eky’obutuukirivu?

7 Twambala eky’omu kifuba eky’obutuukirivu nga tukkiriza emitindo gya Yakuwa egikwata ku kituufu n’ekikyamu era nga tugikolerako mu bulamu bwaffe. (Zab. 97:10) Abamu bakitwala nti emitindo gya Yakuwa gikugira nnyo. Naye bwe tulekera awo okutambuliza obulamu bwaffe ku misingi gya Bayibuli, tuba ng’omusirikale eyeeyambulako eky’omu kifuba ng’ali wakati mu lutalo olw’okuba awulira nti kimuzitoowerera. Ekyo nga kiba kya busiru nnyo! Eri abo abaagala Yakuwa, ebiragiro bye “tebizitowa,” wabula biwonyaawo obulamu.​—1 Yok. 5:3.

8. Kitegeeza ki okunaanika engatto mu bigere byaffe nga tuli beetegefu okubuulira amawulire amalungi?

8 Pawulo yatukubiriza okunaanika engatto mu bigere byaffe nga tuli beetegefu okubuulira amawulire amalungi ag’emirembe. Bulijjo tulina okuba abeetegefu okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Bwe tubuulirako abalala obubaka obuli mu Bayibuli, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera. Kizzaamu nnyo amaanyi okuba nti abantu ba Yakuwa okwetooloola ensi bakozesa buli kakisa okubuulira amawulire amalungi, nga bali ku mirimu gyabwe, ku ssomero, mu bifo omukolerwa bizineesi, nga babuulira nnyumba ku nnyumba, nga baliko bye bagula, nga bakyalidde ab’eŋŋanda zaabwe abatali bakkiriza, nga banyumyako ne mikwano gyabwe, oba nga bali waka nga tebasobola kuvaawo. Bwe tukkiriza okutya okutulemesa okubuulira, tuba ng’omusirikale aggyamu engatto ng’ali mu lutalo. Kiba kyangu ebigere bye okufuna obuvune era awo kimubeerera kizibu okwerwanako ng’alumbiddwa, ate era tekiba kyangu gy’ali kugoberera biragiro bya muduumizi we.

Engatto: Okuba abeetegefu okubuulira amawulire amalungi

9. Lwaki tulina okukwata engabo ennene ey’okukkiriza?

9 Engabo ennene ey’okukkiriza ekiikirira okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa. Twesiga Yakuwa nti ajja kutuukiriza ebyo byonna bye yasuubiza. Okukkiriza okwo kutuyamba “okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.” Lwaki tulina okukwata engabo eno ennene? Kubanga etukuuma ne tutatwalirizibwa njigiriza za bakyewaggula oba ne tutaggwaamu maanyi olw’abo abatujerega. Bwe tutaba na kukkiriza, tetusobola kuba na maanyi geetaagisa kunywerera ku kituufu ng’abalala bagezaako okutusendasenda tusambajje emitindo gya Yakuwa. Ku luuyi olulala, buli lwe tugaana okukola ekintu Yakuwa ky’atayagala, nga tuli ku mulimu oba ku ssomero, tuba tukutte engabo yaffe. (1 Peet. 3:15) Era buli lwe tugaana okukola omulimu ogusasula obulungi oguyinza okutulemesa okunywerera ku nteekateeka yaffe ey’okusinza Yakuwa, tuba tukutte engabo yaffe. (Beb. 13:5, 6) Ate era buli lwe tuweereza Yakuwa wadde nga tuyigganyizibwa, tuba tukuumibwa engabo yaffe.​—1 Bas. 2:2.

Engabo: Okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa ne mu bisuubizo bye

10. Enkofiira ey’obulokozi kye ki, era lwaki tulina okugyambala?

10 Enkofiira ey’obulokozi lye ssuubi Yakuwa ly’atuwa. Yakuwa asuubiza nti ajja kuwa empeera abo bonna abakola by’ayagala era nti ne bwe bafa ajja kubazuukiza. (1 Bas. 5:8; 1 Tim. 4:10; Tit. 1:1, 2) Ng’enkofiira bw’ekuuma omutwe gw’omusirikale, essuubi ery’obulokozi likuuma obusobozi bwaffe obw’okulowooza. Mu ngeri ki? Essuubi eryo lituyamba okukuumira ebirowoozo byaffe ku bisuubizo bya Katonda era lituyamba okutunuulira ebizibu mu ngeri entuufu. Twambala tutya enkofiira eyo? Tugyambala nga tufuba okulaba nti endowooza yaffe ekwatagana n’endowooza ya Katonda. Ng’ekyokulabirako, tetussa ssuubi lyaffe mu bya bugagga ebitali bya lubeerera, wabula tulissa mu Katonda.​—Zab. 26:2; 104:34; 1 Tim. 6:17.

Enkoofiira: Essuubi ery’obulamu obutaggwaawo

11. Ekitala eky’omwoyo kye ki, era lwaki tulina okukikozesa?

11 Ekitala eky’omwoyo kye Kigambo kya Katonda, Bayibuli. Ekitala ekyo kirina amaanyi okwanika obulimba obwa buli ngeri n’okusumulula abantu okuva mu buddu obw’enjigiriza ez’obulimba n’emize emibi. (2 Kol. 10:4, 5; 2 Tim. 3:16, 17; Beb. 4:12) Tuyiga okukozesa obulungi ekitala ekyo okuyitira mu kwesomesa n’okutendekebwa kwe tufuna mu kibiina kya Katonda. (2 Tim. 2:15) Ng’oggyeeko eby’okulwanyisa ebyo, waliwo ekintu ekirala eky’amaanyi Yakuwa ky’akozesa okutukuuma. Kintu ki ekyo?

Ekitala: Ekigambo kya Katonda, Bayibuli

TETULWANA FFEKKA

12. Kiki ekirala kye twetaaga, era lwaki?

12 Omusirikale alina obumanyirivu aba akimanyi nti tasobola kulwanyisa ggye ddene n’aliwangula ng’ali yekka; yeetaaga basirikale banne okumuyamba. Mu ngeri y’emu, tetusobola kulwanyisa Sitaani n’abagoberezi be ne tubawangula nga tuli ffekka; twetaaga bakkiriza bannaffe okutuyamba. Yakuwa atuwadde baganda baffe mu nsi yonna okutuyamba.​—1 Peet. 2:17.

13. Okusinziira ku Abebbulaniya 10:24, 25, miganyulo ki gye tufuna mu kubaawo mu nkuŋŋaana?

13 Engeri emu gye tufunamu obuyambi kwe kubaawo mu nkuŋŋaana. (Soma Abebbulaniya 10:24, 25.) Ffenna oluusi tuwulira nga tuweddemu amaanyi era ekyo bwe kibaawo enkuŋŋaana zituzzaamu amaanyi. Ebyo bakkiriza bannaffe bye baddamu mu nkuŋŋaana bituzzaamu amaanyi. Emboozi ezeesigamiziddwa ku Bayibuli n’ebyokulabirako bye balaga, bituyamba okweyongera okuba abamalirivu okuweereza Yakuwa. Ate emboozi ezizimba ze tunyumya ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde, nazo zituzzaamu amaanyi. (1 Bas. 5:14) Ate era enkuŋŋaana zaffe zituwa akakisa okufuna essanyu eriva mu kuyamba abalala. (Bik. 20:35; Bar. 1:11, 12) Waliwo n’engeri endala enkuŋŋaana zaffe gye zituyambamu. Zituyamba okwongera okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu ne gye tuyigirizaamu. Ng’ekyokulabirako, tuyiga okukozesa obulungi ebintu bye tukozesa mu kuyigiriza. N’olwekyo, weetegekerenga bulungi enkuŋŋaana z’ekibiina. Ate olukuŋŋaana bwe luba lugenda mu maaso, wuliriza bulungi. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, kolera ku kutendekebwa kw’oba ofunye. Bw’okola bw’otyo, ojja kufuuka “omusirikale omulungi owa Kristo Yesu.”​—2 Tim. 2:3.

14. Buyambi ki obulala bwe tulina?

14 Tulina n’obuyambi bwa bamalayika abangi ennyo ab’amaanyi. Lowooza ku ekyo malayika omu bw’ati ky’asobola okukola! (Is. 37:36) Kati ate lowooza ku ekyo eggye eddene erya bamalayika kye lisobola okukola. Teri muntu yenna oba dayimooni alina maanyi gatuuka ago ag’eggye lya Yakuwa ery‘amaanyi ennyo. Kigambibwa nti Omujulirwa wa Yakuwa omu omwesigwa bw’aba ne Yakuwa aba asinga abalabe be bonna amaanyi, ka babe bangi kwenkana wa. (Balam. 6:16) Ekyo kituufu nnyo! Era ekyo kijjukirenga buli lw’owulira nti otidde olw’ebyo bakozi banno, bayizi banno, oba ab’eŋŋanda zo abatali Bajulirwa ba Yakuwa bye boogera oba bye bakola. Jjukira nti toli wekka mu lutalo luno. Yakuwa y’akuwa obulagirizi.

YAKUWA AJJA KWEYONGERA OKUTUKUUMA

15. Okusinziira ku Isaaya 54:15, 17, lwaki tewali asobola kulemesa Bajulirwa ba Yakuwa kubuulira?

15 Ensi efugibwa Sitaani erina bingi by’esinziirako okutukyawa. Tetwenyigira mu bya bufuzi na ntalo. Tulangirira erinnya lya Katonda, tubuulira abantu nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja kuleeta emirembe egya nnamaddala, era tutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Twanika Sitaani, omufuzi w’ensi eno, nti mulimba era mussi. (Yok. 8:44) Era tubuulira abantu nti ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa. Wadde kiri kityo, Sitaani n’abagoberezi be tebasobola kutuleetera kulekera awo kubuulira. Tujja kweyongera okutendereza Yakuwa nga tukozesa buli kakisa ke tufuna. Wadde nga Sitaani alina amaanyi mangi, tasobodde kulemesa bubaka bw’Obwakabaka kutuuka ku bantu mu nsi yonna. Ekyo kiri kityo kubanga Yakuwa Katonda atukuuma.​—Soma Isaaya 54:15, 17.

16. Yakuwa anaalokola atya abantu be mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene?

16 Kiki ekijja mu maaso? Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, Yakuwa ajja kutulokola mu ngeri bbiri ezeewuunyisa. Okusooka, ajja kulokola abaweereza be abeesigwa mu kiseera w’anaaleetera bakabaka b’ensi okuzikiriza Babulooni Ekinene, nga gano ge madiini gonna ag’obulimba. (Kub. 17:16-18; 18:2, 4) Oluvannyuma ku Amagedoni ajja kulokola abantu be bw’anaaba azikiriza ebitundu by’enteekateeka ya Sitaani byonna ebinaaba bisigaddewo.​—Kub. 7:9, 10; 16:14, 16.

17. Tuganyulwa tutya mu kusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

17 Bwe tusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, Sitaani tasobola kutukolako kabi ka lubeerera. Mu butuufu, Sitaani y’ajja okuzikirizibwa asaanirewo ddala. (Bar. 16:20) N’olwekyo, yambala eby’okulwanyisa byonna era sigala ng’obyambadde! Olutalo lwe tulimu togezaako kululwana wekka. Yamba bakkiriza banno era goberera obulagirizi bwa Yakuwa. Bw’okola bw’otyo, osobola okuba omukakafu nti Kitaawo ow’omu ggulu akwagala ennyo ajja kukuwa amaanyi era ajja kukukuuma.​—Is. 41:10.

OLUYIMBA 149 Oluyimba olw’Obuwanguzi

^ lup. 5 Bayibuli eraga nti Yakuwa ajja kutunyweza era nti ajja kutukuuma tuleme kutuukibwako kabi mu by’omwoyo oba akabi akalala konna akayinza okutukosa olubeerera. Mu kitundu kino tugenda kuddamu ebibuuzo bino: Lwaki twetaaga okukuumibwa? Yakuwa atukuuma atya? Era kiki kye tulina okukola okusobola okuganyulwa mu buyambi Yakuwa bw’atuwa?