EKITUNDU EKY’OKUSOMA 14
Abakadde—Mweyongere Okukoppa Omutume Pawulo
“Munkoppe.”—1 KOL. 11:1.
OLUYIMBA 99 Ab’Oluganda Bukadde na Bukadde
OMULAMWA *
1-2. Ekyokulabirako omutume Pawulo kye yassaawo kiyinza kitya okuyamba bakadde leero?
OMUTUME Pawulo yali ayagala nnyo bakkiriza banne era yafubanga nnyo okubayamba. (Bik. 20:31) Ekyo nabo kyabaviirako okumwagala ennyo. Ng’ekyokulabirako, abakadde b’omu Efeso bwe baakimanya nti baali tebagenda kuddamu kumulaba ‘baakaaba nnyo.’ (Bik. 20:37) Okufaananako Pawulo, abakadde baagala nnyo bakkiriza bannaabwe era bafuba okubayamba. (Baf. 2:16, 17) Kyokka oluusi abakadde boolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Kiki ekiyinza okubayamba okuvvuunuka okusoomooza okwo?
2 Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi abakadde kye basobola okulowoozaako. (1 Kol. 11:1) Pawulo teyalina busobozi nga bwa bamalayika. Yali muntu atatuukiridde era ebiseera ebimu yakaluubirirwanga okukola ekituufu. (Bar. 7:18-20) Ate era yayolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Naye teyalekera awo kukola na bunyiikivu era yasigala nga musanyufu. Abakadde bwe bakoppa Pawulo, basobola okuvvuunuka okusoomooza kwe boolekagana nakwo ne basigala nga basanyufu nga baweereza Yakuwa. Ka tulabe engeri ekyo gye bayinza okukikolamu.
3. Biki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Mu kitundu kino, tugenda kulaba okusoomooza kwa mirundi ena abakadde kwe boolekagana nakwo: (1) okufuna ebiseera ebimala okubuulira n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obulala bwe balina, (2) okufuna obudde okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi, (3) obunafu bwe balina kinnoomu, (4) okukolera awamu ne bakkiriza bannaabwe abatatuukiridde. Tugenda kulaba engeri omutume Pawulo gye yavvuunukamu buli kumu ku kusoomooza okwo era n’engeri abakadde gye bayinza okumukoppa.
OKUFUNA EBISEERA EBIMALA OKUBUULIRA N’OKUTUUKIRIZA OBUVUNAANYIZIBWA OBULALA
4. Lwaki abakadde kiyinza obutababeerera kyangu okuwoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira?
4 Ensonga lwaki kiyinza obutababeerera kyangu. Ng’oggyeeko okuwoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira, abakadde balina obuvunaanyizibwa obulala bungi bwe balina okutuukiriza. Ng’ekyokulabirako, bangi ku bo baba bassentebe mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki oba bakubiriza ekitundu eky’Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina. Ate oluusi baba n’emboozi ze balina okuwa mu nkuŋŋaana. Batendeka ab’oluganda okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’abaweereza mu kibiina era bazzaamu ne bakkiriza bannaabwe abalala amaanyi. (1 Peet. 5:2) Abakadde abamu beenyigira mu mulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka awamu n’ebizimbe ebirala ebikozesebwa ekibiina. Kyokka okufaananako abalala mu kibiina, omulimu ogusinga obukulu omukadde gw’alina okukola gwe gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.—Mat. 28:19, 20.
5. Kyakulabirako ki ekirungi Pawulo kye yassaawo mu kubuulira amawulire amalungi?
5 Ekyokulabirako Pawulo kye yassaawo. Abafiripi 1:10 watulaga ekyayamba Pawulo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe obw’okubuulira. Mu lunyiriri olwo Pawulo yatukubiriza ‘okumanya ebintu ebisinga obukulu.’ Era naye kennyini yakolera ku kubuulirira okwo. Yali yakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okubuulira amawulire amalungi, era obuvunaanyizibwa obwo yali abutwala ng’ekimu ku bintu ebisinga obukulu. Yabuuliranga “mu lujjudde era ne nnyumba ku nnyumba.” (Bik. 20:20) Teyabuuliranga biseera bimu na bimu bye yabanga ataddewo, wabula yakozesanga buli kakisa ke yabanga afunye okubuulira! Ng’ekyokulabirako, bwe yali mu kibuga Asene ng’alinda banne okujja, yabuulira abantu b’omu kibuga ekyo amawulire amalungi era waliwo ebirungi ebyavaamu. (Bik. 17:16, 17, 34) Pawulo ne bwe yali ‘asibiddwa,’ yabuuliranga abo abaabanga bamuli okumpi.—Baf. 1:13, 14; Bik. 28:16-24.
6. Bintu ki Pawulo bye yatendeka abalala okukola?
6 Pawulo yakozesa bulungi ebiseera bye. Yayitanga abalala okumwegattako mu mulimu gw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, mu lugendo lwe olw’obuminsani olwasooka yagenda ne Yokaana Makko, ate ku lugendo lwe olw’okubiri yagenda ne Timoseewo. (Bik. 12:25; 16:1-4) Tewali kubuusabuusa nti Pawulo yafuba okuyigiriza abasajja abo engeri y’okutegekamu ekibiina, engeri y’okuzzaamu abalala amaanyi, n’engeri y’okuyigirizaamu obulungi.—1 Kol. 4:17.
7. Abakadde bayinza batya okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo okuli mu Abeefeso 6:14, 15?
7 Eky’okuyiga. Abakadde basobola okukoppa Pawulo nga tebakoma ku kubuulira nnyumba ku nnyumba, naye era nga baba beetegefu okukozesa buli kakisa ke bafuna okubuulira. (Soma Abeefeso 6:14, 15.) Ng’ekyokulabirako, basobola okubuulira nga bagenze okubaako bye bagula oba nga bali ku mulimu. Oba bwe baba nga bayambako mu kuzimba ekizimbe by’Obwakabaka, basobola okubuulira abantu b’omu kitundu ekyo. Okufaananako Pawulo, abakadde bwe baba babuulira n’abaweereza oba n’abalala, basobola okubatendeka.
8. Oluusi kiki abakadde kye beetaaga okukola?
8 Abakadde tebasaanidde kwemalira ku buvunaanyizibwa bwe balina mu kibiina, ne balemererwa okufuna ebiseera okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Okusobola obutagwa lubege mu nsonga eno, oluusi kiyinza okubeetaagisa obutakkiriza buvunaanyizibwa obumu obuba bubaweebwa. Oluvannyuma lw’okusaba era n’okufumiitiriza, bayinza okukiraba nti bwe bakkiriza obuvunaanyizibwa obumu kiyinza okubalemesa okutuukiriza ebintu ebisinga obukulu. Ebintu ebyo bizingiramu okukubiriza okusinza kw’amaka buli wiiki, okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira, oba okutendeka abaana mu mulimu gw’okubuulira. Abamu kibazibuwalira okugaana obuvunaanyizibwa obumu, naye basaanidde okukimanya nti Yakuwa akiraba nti baagala obutagwa lubege.
OKUZZAAMU ABALALA AMAANYI
9. Kiki ekiyinza okuzibuwalira abakadde okukola?
9 Ensonga lwaki kiyinza obutababeerera kyangu. Abantu ba Yakuwa boolekagana n’ebizibu bingi. Mu nnaku zino ez’enkomerero, ffenna twetaaga okuzzibwamu amaanyi, okuyambibwa, n’okubudaabudibwa. Oluusi abamu beetaaga okuyambibwa okusobola okwewala enneeyisa etali nnungi. (1 Bas. 5:14) Kya lwatu nti abakadde tebasobola kumalawo bizibu byonna abantu ba Yakuwa bye boolekagana nabyo. Wadde kiri kityo, Yakuwa ayagala abakadde okukola kyonna kye basobola okukuuma n’okuzzaamu amaanyi endiga ze. Abakadde bayinza batya okufuna ebiseera eby’okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi, wadde nga balina eby’okukola bingi?
10. Okusinziira ku 1 Abassessalonika 2:7, Pawulo yalaga atya nti yali afaayo ku bakkiriza banne?
10 Ekyokulabirako Pawulo kye yassaawo. Pawulo yasiimanga bakkiriza banne era yabazzangamu amaanyi. Abakadde basaanidde okumukoppa nga bayisa bakkiriza bannaabwe mu ngeri ey’okwagala era ey’ekisa. (Soma 1 Abassessalonika 2:7.) Pawulo yakakasanga bakkiriza banne nti yali abaagala era nti ne Yakuwa yali abaagala. (2 Kol. 2:4; Bef. 2:4, 5) Ab’oluganda mu kibiina yabatwalanga nga mikwano gye, ng’awaayo ebiseera okubeerako nabo. Yakiraga nti yali abeesiga ng’ababuulira ebyali bimweraliikiriza awamu n’obunafu bwe. (2 Kol. 7:5; 1 Tim. 1:15) Kyokka Pawulo teyamaliranga birowoozo ku bizibu bye. Mu kifo ky’ekyo, yali ayagala nnyo okuyamba bakkiriza banne.
11. Lwaki Pawulo yawabulanga bakkiriza banne?
11 Oluusi Pawulo kyamwetaagisanga okuwabula bakkiriza banne. Naye teyabawabulanga olw’okuba yabanga anyiize. Yabawabulanga olw’okuba yali abafaako era ng’ayagala kubayamba baleme kugwa mu bizibu. Yafubanga okulaba nti okuwabula kw’awa abalala kwangu okutegeera era yali ayagala bakukolereko. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yawa Abakkolinso okuwabula okw’amaanyi mu bbaluwa gye yabawandiikira. Oluvannyuma yatuma Tito gye bali. Yali ayagala kumanya engeri ebyo bye yabawandiikira gye byabakwatako. Ng’ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yakimanya nti baali bakoledde ku kuwabula kwe yabawa!—2 Kol. 7:6, 7.
12. Abakadde bayinza batya okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi?
12 Eky’okuyiga. Abakadde basobola okukoppa omutume Pawulo nga bawaayo ebiseera okubeerako awamu ne bakkiriza bannaabwe. Engeri emu ekyo gye bayinza okukikolamu, kwe kutuuka mu nkuŋŋaana nga bukyali ne basobola okunyumyako ne bakkiriza bannaabwe. Emirundi mingi kiba tekyetaagisa kiseera kiwanvu okusobola okuzzaamu ow’oluganda oba mwannyinaffe amaanyi. (Bar. 1:12; Bef. 5:16) Omukadde akoppa Pawulo azzaamu bakkiriza banne amaanyi ng’akozesa Ekigambo kya Katonda, era abakakasa nti Katonda abaagala. Ate era afuba okubalaga okwagala. Afuna ekiseera okunyumyako nabo era akozesa buli kakisa k’afuna okubasiima. Bw’abaako be yeetaaga okuwabula, abawabula ng’akozesa Ekigambo kya Katonda. Ayogera ku kizibu ekibaawo, naye akyogerako mu ngeri ey’ekisa olw’okuba aba ayagala mukkiriza munne akolere ku kuwabula kw’aba amuwadde.—Bag. 6:1.
OBUTAGGWAMU MAANYI OLW’OBUNAFU BWE BALINA
13. Abakadde bayinza kukwatibwako batya olw’obunafu bwe balina?
13 Ensonga lwaki kiyinza obutababeerera kyangu. Abakadde tebatuukiridde. Okufaananako abantu abalala bonna, nabo bakola ensobi. (Bar. 3:23) Oluusi bayinza obutaba na ndowooza nnuŋŋamu ku bunafu bwe balina. Abamu bayinza okumalira ebirowoozo byabwe ku butali butuukirivu bwabwe, ne kibaviirako okuggwaamu amaanyi. Ate abalala bayinza okulowooza nti obunafu bwe balina si bwa maanyi nnyo, ne batafuba kukola nkyukakyuka eziba zeetaagisa.
14. Okusinziira ku Abafiripi 4:13, obwetoowaze bwayamba butya Pawulo okuba n’endowooza ennungi ku bunafu bwe?
14 Ekyokulabirako Pawulo kye yassaawo. Olw’okuba Pawulo yali mwetoowaze, yali akimanyi nti yali yeetaaga obuyambi okusobola okulwanyisa obunafu bwe yalina. Yali yeetaaga amaanyi okuva eri Katonda. Mu kusooka Pawulo yali ayigganya nnyo Abakristaayo. Naye oluvannyuma yakitegeera nti kye yali akola kyali kikyamu, era yali mwetegefu okukyusa endowooza ye n’engeri ze. (1 Tim. 1:12-16) Yakuwa yayamba Pawulo n’afuuka omukadde eyalina okwagala, asaasira abalala, era omwetoowaze. Yali akimanyi nti yalina obunafu obutali bumu, naye teyabumalirako birowoozo, kubanga yali mukakafu nti Yakuwa asonyiwa. (Bar. 7:21-25) Teyakitwala nti yali atuukiridde. Mu kifo ky’ekyo, yafuba nnyo okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo era n’okwesiga Yakuwa okumuyamba okutuukiriza omulimu gwe.—1 Kol. 9:27; soma Abafiripi 4:13.
15. Abakadde bayinza batya okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bunafu bwe balina?
15 Eky’okuyiga. Abakadde tebalondebwa olw’okuba baba batuukiridde. Kyokka Yakuwa abasuubira okukkiriza ensobi zaabwe n’okufuba okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo. (Bef. 4:23, 24) Omukadde asaanidde okukozesa Ekigambo kya Katonda okwekebera era n’okukola enkyukakyuka eziba zeetaagisa. Bw’akola bw’atyo, ajja kuba musanyufu era ajja kutuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwe.—Yak. 1:25.
OKUKOLERA AWAMU NE BAKKIRIZA BANNAABWE ABATATUUKIRIDDE
16. Kiki ekiyinza okubaawo singa omukadde amalira ebirowoozo bye ku butali butuukirivu bw’abalala?
16 Ensonga lwaki kiyinza obutababeerera kyangu. Abakadde kiyinza okubabeerera ekyangu okulaba obutali butuukirivu bwa bakkiriza bannaabwe olw’okuba baba bamaze ekiseera nga bakolera wamu nabo. Bwe bateegendereza, ekyo kiyinza okubaleetera okubanyiigira, obutaba ba kisa gye bali, oba okubasalira omusango. Pawulo yalabula Abakristaayo nti ekyo Sitaani ky’ayagala bakole.—2 Kol. 2:10, 11.
17. Pawulo yali atwala atya bakkiriza banne?
17 Ekyokulabirako Pawulo kye yassaawo. Bulijjo Pawulo yabanga n’endowooza ennuŋŋamu ku bakkiriza banne. Yali amanyi ensobi zaabwe kubanga naye kennyini yakosebwanga olw’ensobi ezo. Naye Pawulo yali akimanyi nti okuba nti mukkiriza munne yabanga akoze ensobi kyali tekitegeeza nti muntu mubi. Yali ayagala nnyo bakkiriza banne era ebirowoozo bye yabissanga ku ngeri zaabwe ennungi. Bakkiriza banne bwe baalemererwanga okukola ekituufu, yakitwalanga nti baali baagala okukola ekituufu era nti baali beetaaga okuyambibwa.
18. Kiki ky’oyigidde ku ngeri Pawulo gye yakwatamu ekizibu Ewudiya ne Suntuke kye baalina? (Abafiripi 4:1-3)
18 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Pawulo gye yakwatamu ensonga eyaliwo wakati wa bannyinaffe babiri abaali mu kibiina ky’e Firipi. (Soma Abafiripi 4:1-3.) Ewudiya ne Suntuke baali bafunye obutakkaanya. Mu kifo ky’okubasalira omusango, Pawulo yassa ebirowoozo bye ku ngeri zaabwe ennungi. Bannyinaffe abo abeesigwa baali bamaze ekiseera kiwanvu nga baweereza Yakuwa. Pawulo yali akimanyi nti Yakuwa yali abaagala. Endowooza ennuŋŋamu gye yabalinako, yamuleetera okubakubiriza okugonjoola obutakkaanya bwe baalina. Olw’okuba Pawulo yassanga ebirowoozo ku ngeri z’abalala ennungi, kyamuyamba okusigala nga musanyufu era n’okuba ow’omukwano eri abalala mu kibiina.
19. (a) Abakadde bayinza batya okusigala nga balina endowooza ennuŋŋamu ku bakkiriza bannaabwe? (b) Ekifaananyi ekiraga ng’omukadde alongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka okiyigiddeko ki?
19 Eky’okuyiga. Abakadde, mulowooze ku ngeri ennungi bakkiriza bannammwe ze balina. Ffenna tetutuukiridde, kyokka buli omu abaako engeri ennungi z’alina. (Baf. 2:3) Kyo kituufu nti oluusi abakadde kibeetaagisa okutereeza endowooza ya bakkiriza bannaabwe. Wadde kiri kityo, okufaananako Pawulo, abakadde tebasaanidde kussa birowoozo byabwe ku ebyo mukkiriza munnaabwe by’aba ayogedde oba by’aba akoze ebitali birungi. Mu kifo ky’ekyo, basaanidde okusa ebirowoozo byabwe ku kwagala mukkiriza munnaabwe kw’alina eri Yakuwa, okuba nti aweereza Yakuwa n’obugumiikiriza, era ne kukuba nti asobola okukola ebirungi. Abakadde abassa ebirowoozo byabwe ku ngeri za bakkiriza bannaabwe ennungi, baleetera bakkiriza bannaabwe okuwulira nti baagalibwa mu kibiina.
MWEYONGERE OKUKOPPA PAWULO
20. Abakadde bayinza batya okweyongera okuganyulwa mu kyokulabirako Pawulo kye yassaawo?
20 Abakadde mujja kuganyulwa nnyo bwe muneeyongera okusoma ku kyokulabirako ekirungi Pawulo kye yassaawo. Musobola okusoma ku kyokulabirako kye mu Watch Tower Publications Index, wansi w’omutwe “Pawulo,” wansi w’omutwe omutono “ekyokulabirako eri abakadde.” Bwe muba musoma ebyo ebiri mu kitundu ekyo, kirungi okwebuuza nti, ‘Ekyokulabirako Pawulo kye yassaawo kiyinza kitya okunnyamba okusigala nga ndi musanyufu nga mpeereza ng’omukadde?’
21. Abakadde bayinza kuba bakakafu ku ki?
21 Abakadde, mukijjukire nti Yakuwa tabasuubira kuba batuukiridde wabula abeetaagisa kuba beesigwa. (1 Kol. 4:2) Yakuwa yasiima Pawulo olw’okumuweereza n’obunyiikivu n’olw’okubeera omwesigwa. Tewali kubuusabuusa nti asiima obuweereza bwammwe. Yakuwa “tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu era nga mukyeyongera okuweereza.”—Beb. 6:10.
OLUYIMBA 87 Jjangu Ozzibwemu Amaanyi
^ Tusiima nnyo emirimu abakadde gye bakola! Mu kitundu kino, tugenda kulaba okusoomooza kwa mirundi ena abakadde kwe boolekagana nakwo. Era tugenda kulaba ekyokulabirako omutume Pawulo kye yassaawo, ekisobola okuyamba abakadde leero okuvvuunuka okusoomooza okwo. Ate era, ekitundu kino kigenda kutuyamba okufumiitiriza ku bintu abakadde bye bayitamu, era ekyo kijja kutusobozesa okweyongera okubaagala n’okubawagira.
^ EBIFAANANYI: Omukadde ng’annyuse okuva ku mulimu, era nga abuulirako mukozi munne amawulire amalungi.
^ EBIFAANANYI: Omukadde ng’anyumyako n’ow’oluganda atayanguyirwa kubeera wamu n’abalala.
^ EBIFAANANYI: Ow’oluganda ng’awa ow’oluganda omulala amagezi, anyiize olw’ekintu ekimu ekibaddewo.
^ EBIFAANANYI: Omukadde tanyiigidde wa luganda awuguliddwa nga balina omulimu gwe bakola.