Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi

Lwaki omusajja ayogerwako nga “Gundi” yagamba nti bwe yandiwasizza Luusi ‘yandyonoonye’ obusika bwe? (Luus. 4:1, 6)

Mu biseera by’edda, omusajja Omuyisirayiri omufumbo bwe yafanga nga tazadde mwana, waliwo ebibuuzo ebyajjangawo: Kiki ekyandituuse ku ttaka lye? Erinnya lye lyandibadde lisaanawo? Amateeka ga Musa gaayamba mu kuddamu ebibuuzo ebyo.

Omuntu bwe yafanga n’aleka ettaka lye oba bwe yayavuwalanga n’atunda ettaka lye, kiki ekyatuukanga ku ttaka eryo? Muganda w’omufu oba omu ku abo abaamulinangako oluganda olw’oku lusegere, yalinga asobola okununula ettaka eryo. Ekyo kyayambanga ettaka eryo okusigala mu luggya omusajja oyo mwe yabanga ava.​—Leev. 25:23-28; Kubal. 27:8-11.

Ekyo kyayambanga kitya erinnya ly’omufu obutasaanawo? Waaliwo enteekateeka nga muganda w’omufu oba omu ku b’eŋŋanda ze alina okuwasa nnamwandu gwe yabanga alese, nga bwe kyali ku Luusi. Omusajja yabanga asobola okuwasa nnamwandu wa muganda we n’amuzaalamu omusika eyandisikidde ettaka lye, era n’atwala mu maaso erinnya ly’omugenzi. Enteekateeka eyo ey’okwagala yaganyulanga ne nnamwandu.​—Ma. 25:5-7; Mat. 22:23-28.

Lowooza ku ebyo bye tusoma ku Nawomi. Yali yafumbirwa omusajja eyali ayitibwa Erimereki. Erimereki bba wa Nawomi ne batabani baabwe ababiri bwe baafa, Nawomi yasigala talina amulabirira. (Luus. 1:1-5) Bwe yali azzeeyo mu Yuda, Nawomi yagamba Luusi muka mwana we okugamba Bowaazi akole ng’omununuzi w’ettaka lya Erimereki. (Luus. 2:1, 19, 20; 3:1-4) Bowaazi yalina oluganda olw’oku lusegere ne Erimereki. Naye Bowaazi yali akimanyi nti waaliwo omusajja omulala eyalina oluganda olw’oku lusegere n’okusingawo, Bayibuli gw’eyita “Gundi.” N’olwekyo yasalawo nti omusajja oyo y’aba aweebwa omukisa ogusooka ogw’okununula ettaka eryo.​—Luus. 3:9, 12, 13.

Mu kusooka, “Gundi” yali mwetegefu okununula ettaka eryo. (Luus. 4:1-4) Wadde nga kyali kimwetaagisa okubaako ssente z’asasula okugula ettaka eryo, yali akimanyi nti Nawomi yali tasobola kuzaala mwana eyandibadde alisikira okuva ku Erimereki. N’olwekyo, ettaka eryo nalyo lyali ligenda kwongerwa ku busika bwa Gundi. Bwe kityo Gundi yalinga eyali agenda okufunamu.

Kyokka Gundi yakyusa ekirowoozo bwe yakitegeera nti kyali kimwetaagisa okuwasa Luusi. Yagamba nti: “Sijja kukinunula nneme okwonoona obusika bwange.” (Luus. 4:5, 6) Lwaki yagamba bw’atyo?

Gundi oba omuntu omulala bwe yandiwasizza Luusi, Luusi n’azaala omwana ow’obulenzi, omwana oyo ye yandibadde asikira ettaka lya Erimereki. Ekyo ‘kyandyonoonye’ kitya ‘obusika’ bwa Gundi? Bayibuli tetubuulira. Naye zino wammanga ziyinza okuba nga ze zimu ku nsonga.

  • Esooka, ssente ze yandiguzeemu ettaka eryo zandibadde ng’ezifudde obusa, kubanga ettaka lya Erimereki teryandibadde lirye. Lyandibadde lya mwana Luusi gwe yandizadde.

  • Ey’okubiri, yandibadde avunaanyizibwa okulabirira Nawomi ne Luusi.

  • Ey’okusatu, Luusi bwe yandizadde abaana abalala mu Gundi, abaana abo bandibadde bagabana obusika bwe awamu n’abaana be yali ayinza okuba ng’alina.

  • Ey’okuna, bwe kiba nti Gundi teyalina baana babe ku bubwe, omwana Luusi gwe yandizadde yandifunye obwannannyini ku ttaka lye n’erya Erimereki. Gundi bwe yandifudde, ettaka ly’obusika bwe lyandibadde lya mwana eyanditutte erinnya lya Erimereki mu maaso so si erirye. Gundi teyali mwetegefu kufiirwa busika bwe olw’okuyamba Nawomi. Yaleka Bowaazi eyali omununuzi omulala okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Bowaazi yakkiriza okuba omununuzi kubanga yali ayagala “okuzzaawo erinnya ly’omugenzi mu busika bwe.”​—Luus. 4:10.

Kirabika Gundi yali afaayo nnyo ku kukuuma erinnya lye n’obusika bwe. Yali yeefaako yekka. Kyokka wadde nga Gundi yafaayo nnyo ku kukuuma erinnya lye, leero tewali muntu n’omu alimanyi. Yafiirwa n’enkizo ey’ekitalo Bowaazi gye yafuna. Bowaazi y’omu ku abo aboogerwako mu lunyiriri omwava Masiya, Yesu Kristo. Nga Gundi eyali yeefaako yekka era ataali mwetegefu kuyamba abaali mu bwetaavu, yafiirwa nnyo!​—Mat. 1:5; Luk. 3:23, 32.