Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebisobola Okukuyamba Nga Weesomesa

Ebisobola Okukuyamba Nga Weesomesa

Engeri y’Okukozesaamu Ekitundu “Laba Ebipya”

Ekitundu “Laba Ebipya” (What’s New), ekiri ku JW Library® ne ku jw.org kiraga ebintu ebipya ebiba byakateekebwayo, nga muno mwe muli vidiyo, ennyimba, n’ebirala. Oyinza otya okukozesa ekitundu kino okumanya ebintu ebipya ebiba biteereddwayo?

JW Library

  • Ebitundu ebiba wansi w’emitwe egitali gimu bikyusibwamu ne biddamu ne bifulumizibwa. N’olwekyo ebitundu ebiba byakafulumizibwa bwe birabikira wansi wa “Laba Ebipya” (What’s New), osobola okubiwanula. Oluvannyuma osobola okubisoma, era bye biba bisooka ku lukalala.

  • Ebintu ebimu gamba nga magazini, oyinza obutamaliriza kubisoma mu lusoma lumu. Magazini oba ekitabo ky’oba otandiseeko okusoma osobola okukissa mu Favorites, okutuusa lw’onoomaliriza okukisoma.

JW.ORG

Ebintu ebimu gamba ng’amawulire n’ebirango bifulumira ku jw.org kwokka, so si ku JW Library. Okusobola okumanya ebintu ebipya ebiba biteereddwayo, bulijjo keberanga mu kitundu “Laba Ebipya” ku mukutu gwaffe.