Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 11

Engeri gy’Oyinza Okweteekerateekera Okubatizibwa

Engeri gy’Oyinza Okweteekerateekera Okubatizibwa

“Kiki ekiŋŋaana okubatizibwa?”​—BIK. 8:36.

OLUYIMBA 50 Essaala Yange ey’Okwewaayo

OMULAMWA a

Okwetooloola ensi, abato n’abakulu, bakulaakulana mu by’omwoyo era babatizibwa (Laba akatundu 1-2)

1-2. Bwe kiba nti tonnaba kutuukiriza bisaanyizo by’okubatizibwa, lwaki ekyo tekisaanidde kukumalamu maanyi? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

 BWE kiba nti oyagala okubatizibwa, weeteereddewo ekiruubirirwa ekirungi ennyo. Oli mwetegefu okubatizibwa? Bwe kiba nti okiraba nti oli mwetegefu era nga n’abakadde bakisemba, tolonzalonza kubatizibwa ku mulundi oguddako lwe wanaabaayo okubatizibwa. Bw’onoobatizibwa, ojja kufuna emikisa mingi mu buweereza bwo eri Yakuwa.

2 Ku luuyi olulala, waliwo eyakugamba nti olina by’olina okusooka okukolako okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa? Oba ggwe kennyini okiraba nti waliwo by’olina okusooka okukolako? Bwe kiba kityo, tosaanidde kuggwaamu maanyi. Osobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa, k’obe ng’oli muto oba ng’oli mukulu.

“KIKI EKIŊŊAANA OKUBATIZIBWA?”

3. Kiki omukungu Omwesiyopiya kye yabuuza Firipo, era kibuuzo ki ekijjawo? (Ebikolwa 8:36, 38)

3 Soma Ebikolwa 8:36, 38. Omukungu Omwesiyopiya yabuuza Firipo, omubuulizi w’enjiri nti: “Kiki ekiŋŋaana okubatizibwa?” Omukungu oyo yali ayagala okubatizibwa, naye ddala yali atuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?

Omukungu Omwesiyopiya yali ayagala okweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa (Laba akatundu 4)

4. Omukungu Omwesiyopiya yakiraga atya nti yali ayagala okweyongera okuyiga ebisingawo?

4 Omukungu oyo “yali agenze e Yerusaalemi okusinza.” (Bik. 8:27) N’olwekyo, ateekwa okuba nga yali yakyuka n’adda mu ddiini y’Ekiyudaaya. Awatali kubuusabuusa, yali yayiga ebikwata ku Yakuwa okuyitira mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Wadde kyali kityo, yali ayagala okuyiga ebisingawo. Mu butuufu, Firipo we yamusangira ku luguudo, yali asoma omuzingo ogwalimu ebyo nnabbi Isaaya bye yawandiika. (Bik. 8:28) Eyo yali mmere nkalubo ey’eby’omwoyo. Omukungu oyo teyali mumativu na njigiriza za Bayibuli ezisookerwako ze yali ayize, wabula yali ayagala okuyiga ebisingawo.

5. Omusajja Omwesiyopiya yakolera atya ku ebyo bye yayiga?

5 Omusajja oyo yali mukungu wa Kandake kabaka omukazi owa Esiyopiya, era “ye yali omuwanika w’eby’obugagga bye byonna.” (Bik. 8:27) N’olwekyo, ateekwa okuba nga yalina eby’okukola bingi. Wadde kyali kityo, yafissangawo obudde okusinza Yakuwa. Teyakoma ku kuyiga mazima kyokka, naye era yafuba okukolera ku ebyo bye yayiga. Eyo ye nsonga lwaki yatindigga olugenda okuva mu Esiyopiya okugenda e Yerusaalemi okusinza Yakuwa. Olugendo olwo luteekwa okuba nga lwali lwetaagisa ssente nnyingi n’ebiseera. Naye omusajja oyo yali mwetegefu okukola kyonna ekyali kyetaagisa okusobola okusinza Yakuwa.

6-7. Okwagala omusajja Omwesiyopiya kwe yalina eri Yakuwa kweyongera kutya?

6 Firipo yayamba omusajja oyo Omwesiyopiya okuyiga ebintu ebipya okuva mu Byawandiikibwa, nga mwe mwali n’eky’okuba nti Yesu ye Masiya. (Bik. 8:34, 35) Omukungu oyo ateekwa okuba nga yakwatibwako nnyo bwe yamanya ekyo Yesu kye yamukolera. Kiki kye yandikozeewo? Yandibadde asobola okusigala mu ddiini y’Ekiyudaaya. Kyokka olw’okuba okwagala kwe yalina eri Yakuwa ne Yesu kweyongera, yasalawo abatizibwe afuuke omu ku bagoberezi ba Kristo. Firipo yakiraba nti omusajja oyo yali atuukiriza ebisaanyizo, era bw’atyo yamubatiza.

7 Bw’okoppa ekyokulabirako ky’omusajja Omwesiyopiya, naawe osobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa. Naawe osobola okwogera nga toliimu kubuusabuusa kwonna nti, “Kiki ekiŋŋaana okubatizibwa?” Kati ka tulabe engeri naawe gy’oyinza okukola ebintu bino bye yakola: Yeeyongera okuyiga ebisingawo, yakolera ku ebyo bye yayiga, era okwagala kwe yalina eri Katonda kweyongera.

WEEYONGERE OKUYIGA

8. Kiki Yokaana 17:3 kye wakukubiriza okukola?

8 Soma Yokaana 17:3. Ebigambo bya Yesu ebyo byakuyamba okusalawo okutandika okuyiga Bayibuli? Bangi ku ffe ebigambo ebyo bye byatuleetera okusalawo okutandika okuyiga Bayibuli. Kyokka ebigambo ebyo era bisobola okutuleetera okweyongera okuyiga. Tetulirekera awo ‘kuyiga bikwata ku Katonda omu ow’amazima.’ (Mub. 3:11) Tujja kweyongera okuyiga ebimukwatako emirembe n’emirembe. Gye tukoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gye tukoma okumusemberera.​—Zab. 73:28.

9. Oluvannyuma lw’okuyiga enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako, kiki kye tusaanidde okweyongera okukola?

9 Okusobola okumanya ebikwata ku Yakuwa, tutandikira ku njigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Mu bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya, enjigiriza ezo yaziyita “ebintu ebisookerwako.” Yali talaga nti “enjigiriza ezisookerwako” si nkulu, wabula yali azigeraageranya ku mata agayamba omwana okukula. (Beb. 5:12; 6:1) Kyokka yakubiriza Abakristaayo bonna obutakoma ku njigiriza ezisookerwako, wabula okweyongera okuyiga ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda. Oyize enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako? Oli mwetegefu okweyongera okukula, kwe kugamba, okweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye?

10. Lwaki abamu bakaluubirirwa okwesomesa?

10 Kyokka bangi ku ffe tetunyumirwa kusoma. Bwe kityo bwe kiri ne gy’oli? Ku ssomero wayiga okusoma n’okwesomesa mu ngeri eyinza okukuganyula? Wanyumirwanga bye wasomanga era n’owulira nti olina by’oyize, oba wali okitwala nti tosobola kubaako bingi by’oyiga mu bitabo? Bwe kiba kityo, toli wekka. Yakuwa asobola okukuyamba. Yakuwa atuukiridde era ye Musomesa asingayo obulungi.

11. Yakuwa akiraga atya nti ye ‘Muyigiriza Asingiridde’?

11 Yakuwa agamba nti ye ‘Muyigiriza wo Asingiridde.’ (Is. 30:20, 21) Mugumiikiriza, wa kisa, era ategeera embeera z’abo b’ayigiriza. Abo b’ayigiriza abanoonyamu ebirungi. (Zab. 130:3) Era tatusuubira kukola ekisukka ku ekyo kye tusobola. Kijjukire nti Yakuwa ye yakola obwongo bwaffe. (Zab. 139:14) Twatondebwa nga twagala okuyiga. Omutonzi waffe ayagala tweyongera okuyiga emirembe n’emirembe, era tube nga tunyumirwa okuyiga. N’olwekyo, kya magezi okuba nga ‘twegomba’ okuyiga amazima agali mu Bayibuli. (1 Peet. 2:2) Weeteerewo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako, era nywerera ku nteekateeka yo ey’okusoma Bayibuli n’okwesomesa. (Yos. 1:8) Yakuwa ajja kukuyamba okunyumirwa by’osoma era weeyongere okuyiga ebimukwatako.

12. Bwe tuba twesomesa, lwaki kikulu nnyo okwekenneenya ebikwata ku Yesu?

12 Fissangawo ebiseera okufumiitiriza ku ngeri Yesu gye yatambuzaamu obulamu bwe n’engeri gye yatuukirizaamu obuweereza bwe. Okutambulira mu bigere bya Yesu kye kintu ekikulu ekijja okukuyamba okuweereza Yakuwa naddala mu kiseera kino ekizibu kye tulimu. (1 Peet. 2:21) Yesu yagamba abagoberezi be nti bandyolekaganye n’ebizibu. (Luk. 14:27, 28) Wadde kiri kityo, yali mukakafu nti abagoberezi be ab’amazima bandisobodde okusigala nga beesigwa eri Katonda nga ye. (Yok. 16:33) Soma ebikwata ku bulamu bwa Yesu era ofube okumukoppa mu bulamu bwo.

13. Kiki bulijjo ky’osaanidde okusabanga Yakuwa, era lwaki?

13 Okumanya obumanya ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda ku bwakyo tekimala. Ensonga enkulu eyandituleetedde okwagala okumanya ebiri mu Kigambo kya Katonda, kwe kweyongera okuyiga ebimukwatako, okumwagala, n’okumukkiririzaamu. (1 Kol. 8:1-3) Nga weeyongera okuyiga, saba Yakuwa akuyambe okuba n’okukkiriza okunywevu. (Luk. 17:5) Yakuwa asanyuka nnyo okuwulira essaala ng’ezo era aziddamu. Okukkiriza okwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu okukwata ku Katonda kujja kukuyamba okukola ekintu ekirala ekyetaagisa.​—Yak. 2:26.

KOLERANGA KU EBYO BY’OYIGA

Ng’amataba tegannabaawo, Nuuwa n’ab’omu maka ge baakolera ku ebyo Yakuwa bye yabategeeza (Laba akatundu 14)

14. Omutume Peetero yalaga atya obukulu bw’okukolera ku ebyo bye tuyiga? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Omutume Peetero yakiraga nti kikulu nnyo abagoberezi ba Kristo okukolera ku ebyo bye bayiga. Yajuliza ebyo Bayibuli by’eyogera ku Nuuwa. Yakuwa yagamba Nuuwa nti yali agenda kuzikiriza abantu ababi abaaliwo mu kiseera kye ng’akozesa amataba. Okumanya obumanya nti amataba gaali gajja, kyali tekijja kuwonyaawo Nuuwa n’ab’omu maka ge. Weetegereze ekyo kye baali bakola ng’amataba tegannajja. Peetero yagamba nti ‘eryato lyali lizimbibwa.’ (1 Peet. 3:20) Nuuwa n’ab’omu maka ge baakolera ku ebyo Yakuwa bye yabategeeza, ne bazimba eryato eddene ennyo. (Beb. 11:7) Ekyo Nuuwa kye yakola, Peetero yakigeraageranya ku kubatizibwa. Yagamba nti: “Ekyo ekifaanana n’ekyo kaakano kibalokola, nga kuno kwe kubatizibwa.” (1 Peet. 3:21) Omulimu gw’okola kati nga weeteekerateekera okubatizibwa, tuyinza okugugeraageranya ku mulimu gw’okuzimba eryato Nuuwa n’ab’omu maka ge gwe baakola okumala emyaka mingi. Biki by’olina okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?

15. Okwenenya mu bwesimbu kizingiramu ki?

15 Ekimu ku bintu ebikulu bye tulina okusooka okukola kwe kwenenya ebibi byaffe mu bwesimbu. (Bik. 2:37, 38) Bwe twenenya mu bwesimbu tubaako enkyukakyuka ze tukola. Walekera awo okwenyigira mu bintu ebitasanyusa Yakuwa, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu, okukozesa ebiragalalagala, oba okwogera mu ngeri etasaana? (1 Kol. 6:9, 10; 2 Kol. 7:1; Bef. 4:29) Bwe kiba nti waliwo ebintu ng’ebyo by’otannaba kulekayo, weeyongere okukola enkyukakyuka. Yogerako n’oyo akuyigiriza Bayibuli, oba saba abakadde mu kibiina bakuyambe. Bw’oba ng’okyali muto era ng’okyabeera ne bazadde bo, basabe bakuyambe okulekayo omuze omubi ogukulemesa okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa.

16. Enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo ezingiramu ki?

16 Ate era kikulu okuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo. Ekyo kizingiramu okubeerangawo mu nkuŋŋaana era n’okuzeenyigiramu. (Beb. 10:24, 25) Bw’otandika okubuulira awamu n’ekibiina, fuba okulaba nti obuuliranga obutayosa. Gy’okoma okwenyigira mu mulimu ogwo oguwonyaawo obulamu, gy’okoma okugunyumirwa. (2 Tim. 4:5) Bw’oba ng’okyali muto era ng’okyabeera ne bazadde bo, weebuuze: ‘Bazadde bange be bankubiriza okugendanga mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, oba nze nneekubiriza okukola ebintu ebyo?’ Bw’oba nga ggwe weekubiriza okukola ebintu ebyo, kiraga nti olina okukkiriza, nti oyagala Yakuwa Katonda era osiima by’akukolera. Ebyo bye bimu ku ‘bikolwa eby’okwemalira ku Katonda,’ era nga birabo by’owa Yakuwa. (2 Peet. 3:11; Beb. 13:15) Ebirabo byonna bye tuwa Katonda waffe awatali kukakibwa, bimusanyusa nnyo. (Geraageranya 2 Abakkolinso 9:7.) Tukola ebintu ebyo olw’okuba tufuna essanyu lingi bwe tuwa Yakuwa ekisingayo obulungi.

WEEYONGERE OKUKULAAKULANYA OKWAGALA KW’OLINA ERI YAKUWA

17-18. Ngeri ki enkulu ejja okukuyamba okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa, era lwaki? (Engero 3:3-6)

17 Ng’ofuba otuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa, ojja kwolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Abantu abamu bayinza okukusekerera olw’okuba okolera ku ebyo by’oyiga, era bayinza n’okugezaako okukuziyiza oba okukuyigganya. (2 Tim. 3:12) Ng’ofuba okwekutula ku muze omubi, olumu n’olumu oyinza okulemererwa n’oddamuko okugwenyigiramu. Oba oyinza okuwulira ng’oweddemu amaanyi bw’olaba nti kizibu nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Kiki ekinaakuyamba okugumiikiriza? Okwagala kw’olina eri Yakuwa kwe kujja okukuyamba.

18 Engeri esinga zonna z’olina, kwe kwagala kw’olina eri Yakuwa. (Soma Engero 3:3-6.) Okwagala okw’amaanyi kw’olina eri Yakuwa kusobola okukuyamba okwaŋŋanga ebizibu. Emirundi mingi Bayibuli eyogera ku kwagala okutajjulukuka Yakuwa kw’alina eri abaweereza be. Olw’okuba Yakuwa alina okwagala okutajjulukuka, tasobola kwabulira baweereza be oba okulekera awo okubaagala. (Zab. 100:5) Watondebwa mu kifaananyi kya Katonda. (Lub. 1:26) Oyinza otya okwoleka okwagala ng’okwo?

Buli lunaku osobola okukiraga nti osiima Yakuwa olw’ebirungi by’akukolera (Laba akatundu 19) b

19. Kiki ekiyinza okukuyamba okweyongera okusiima ebyo byonna Yakuwa by’akukolera? (Abaggalatiya 2:20)

19 Tandika na kusiima. (1 Bas. 5:18) Bulijjo weebuuzenga nti, ‘Yakuwa andaze atya okwagala?’ Oluvannyuma bw’oba osaba, weebaze Yakuwa ng’oyogera ku bintu ebitali bimu by’akukoledde. Okufaananako omutume Pawulo, naawe kitwale nti Yakuwa akulaga okwagala ng’omuntu kinnoomu. (Soma Abaggalatiya 2:20.) Weebuuze, ‘Nange njagala okulaga Yakuwa nti mmwagala?’ Okwagala kw’olina eri Yakuwa kujja kukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali ng’okemeddwa oba ng’oyolekagana n’ebizibu. Kujja kukuleetera okunywerera ku nteekateeka yo ey’eby’omwoyo, nga buli lunaku okyoleka nti oyagala nnyo Kitaawo ow’omu ggulu.

20. Omuntu yeewaayo atya eri Yakuwa, era lwaki okwewaayo okwo kukulu nnyo?

20 Oluvannyuma lw’ekiseera, okwagala kw’olina eri Yakuwa kujja kukuleetera okwewaayo gy’ali ng’oyitira mu kusaba. Kijjukire nti bwe weewaayo eri Yakuwa oba n’essuubi lino ery’ekitalo: Oba osobola okubeera owuwe emirembe gyonna. Bwe weewaayo eri Yakuwa omusuubiza okumuweereza mu mbeera zonna, ennungi n’embi. Obweyamo obwo bukolebwa omulundi gumu; tebuddibwamu. Kyo kituufu nti omuntu bwe yeewaayo eri Yakuwa aba asazeewo ekintu ekikulu ennyo. Kirowoozeeko, waliwo ebintu bingi by’ojja okusalawo mu bulamu bwo, era ng’ebimu ku byo birungi nnyo. Naye mu bintu byonna bye tusobola okusalawo, tewali kisinga kwewaayo eri Yakuwa. (Zab. 50:14) Sitaani ajja kugezaako okunafuya okwagala kw’olina eri Kitaawo ow’omu ggulu, ng’asuubira nti ojja kulekera awo okubeera omwesigwa gy’ali. Tokkirizanga Sitaani kukuwangula! (Yob. 27:5) Okwagala okw’amaanyi kw’olina eri Yakuwa kujja kukuyamba okutuukiriza obweyamo bwo gy’ali, era ojja kweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaawo ow’omu ggulu.

21. Lwaki tuyinza okugamba nti okubatizibwa eba ntandikwa butandikwa?

21 Oluvannyuma lw’okwewaayo eri Yakuwa, yogerako n’abakadde b’omu kibiina kyo ku ky’okubatizibwa. Naye bulijjo osaanidde okukijjukiranga nti okubatizibwa eba ntandikwa butandikwa. Eba ntandikwa ey’okuweereza Yakuwa emirembe n’emirembe. N’olwekyo, weeyongere okukulaakulanya okwagala kw’olina eri Kitaawo ow’omu ggulu. Weeteerewo ebiruubirirwa ebinaakuyamba okweyongera okwagala Yakuwa. Ekyo kijja kukuyamba okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. Olunaku lw’onoobatizibwa lujja kuba lwa ssanyu nnyo gy’oli! Okwagala kw’olina eri Yakuwa n’eri Omwana we ka kweyongere okukula emirembe n’emirembe!

OLUYIMBA 135 Yakuwa Akugamba: ‘Ba wa Magezi, Mwana Wange’

a Okusobola okukulaakulana ne tutuuka ku ddala ery’okubatizibwa, tulina okuba n’ekiruubirirwa ekirungi. Ate era tulina okuba nga tukola ebintu eby’obutuukirivu. Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ekyokulabirako ky’omukungu Omwesiyopiya, tulabe ebintu omuyizi wa Bayibuli by’alina okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa.

b EKIFAANANYI: Mwannyinaffe asiima Yakuwa olw’ebintu ebirungi by’amukolera.